历代志上 11 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志上 11:1-47

大卫做以色列人的王

1以色列人都聚集到希伯仑来见大卫,对他说:“我们是你的骨肉同胞。 2从前,即使扫罗做王的时候,率领以色列人出征打仗的仍是你。你的上帝耶和华也曾应许让你做祂以色列子民的牧者和首领。” 3以色列的长老都到希伯仑大卫王,大卫与他们在耶和华面前立约,他们膏立大卫以色列的王,这应验了耶和华借撒母耳所说的话。 4大卫以色列众人来到耶路撒冷,即耶布斯。那时耶布斯人住在那里。 5耶布斯人对大卫说:“你攻不进来。”可是,大卫攻取了锡安的堡垒,即后来的大卫城。 6大卫说:“谁先攻打耶布斯人,谁就做元帅。”洗鲁雅的儿子约押首先进攻,于是就做了元帅。 7大卫占据了堡垒,因此那堡垒就叫大卫城。 8大卫又从米罗开始,在四围修建城墙,其余的部分由约押修建。 9大卫日渐强盛,因为万军之耶和华与他同在。

大卫的勇士

10以下是大卫手下众勇士的统领,他们和以色列百姓竭力拥护大卫做王,正如耶和华对以色列的应许。 11大卫的勇士有哈革摩尼雅朔班,他是三勇士之首,曾在一次交战中挥矛刺死了三百人。 12其次是亚合朵多的儿子以利亚撒,他是三勇士之一。 13他曾在巴斯·达闵大卫一起抵抗非利士人。那里有一块大麦田,以色列人战败逃跑, 14他们却坚守阵地,奋勇杀敌。耶和华使以色列人大获全胜。 15一次,三十位勇士中有三位到亚杜兰洞附近的磐石那里见大卫,当时非利士的军队驻扎在利乏音谷。 16那时大卫留守在堡垒里,非利士人的驻军在伯利恒17大卫渴了,说:“真想有人打一些伯利恒城门旁的井水给我喝!” 18那三位勇士就冲过非利士人的营地,到伯利恒城门旁的井打水,带回来给大卫大卫却不肯喝,他把水浇奠在耶和华面前, 19说:“我的上帝啊!这三人冒死去打水,这些水就像是他们的血,我决不能喝。”因此,大卫不肯喝。这是三勇士的事迹。

20约押的兄弟亚比筛是这三个勇士的统领,他曾挥矛刺死三百人,在三勇士中出了名, 21最有声望,因此做了他们的统领,只是不及前三位勇士。

22甲薛耶何耶大的儿子比拿雅是位勇士,做过非凡的事。他曾杀死摩押的两个勇猛战士,也曾在下雪天跳进坑中杀死一头狮子, 23还曾杀死一个两米多高的埃及巨人。当时埃及人拿着织布机轴般粗的长矛,比拿雅只拿着棍子迎战,他夺了对方的长矛,用那矛刺死了对方。 24这是耶何耶大的儿子比拿雅的事迹,他在这三个勇士中出了名, 25比那三十个勇士更有声望,只是不及前三位勇士。大卫派他做护卫长。

26其他勇士有约押的兄弟亚撒黑伯利恒朵多的儿子伊勒哈难27哈律沙玛比伦希利斯28提哥亚益吉的儿子以拉亚拿突亚比以谢29户沙西比该亚合以莱30尼陀法玛哈莱尼陀法巴拿的儿子希立31便雅悯支派基比亚利拜的儿子以太比拉顿比拿雅32迦实溪户莱亚拉巴亚比33巴路米押斯玛弗沙本以利雅哈巴34基孙哈深的众子、哈拉沙基的儿子约拿单35哈拉沙甲的儿子亚希暗吾珥的儿子以利法勒36米基拉希弗比伦亚希雅37迦密希斯罗伊斯拜的儿子拿莱38拿单的兄弟约珥哈基利的儿子弥伯哈39亚扪洗勒、为洗鲁雅的儿子约押拿兵器的比录拿哈莱40以帖以拉以帖迦立41乌利亚亚莱的儿子撒拔42示撒的儿子亚第拿——吕便支派中率领三十人的首领、 43玛迦的儿子哈难弥特尼约沙法44亚施他拉乌西亚亚罗珥何坦的儿子沙玛耶利45提洗申利的儿子耶叠和他的兄弟约哈46玛哈未以利业伊利拿安的儿子耶利拜约沙未雅摩押伊特玛47以利业俄备得米琐巴雅西业

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 11:1-47

Dawudi Afuuka Kabaka wa Isirayiri Yonna

1Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo. 2Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”

3Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.

4Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu. 5Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.

6Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo. 7Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi. 8N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga. 9Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye.

Abasajja Abazira aba Dawudi

10Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali; 11Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu.

12Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu. 13Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti. 14Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.

15Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 16Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu. 17Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.” 18Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama. 19N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa.

Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo.

20Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu. 21Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.

22Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma. 23Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa. 24Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi. 25Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.

26Abasajja abazira ab’eggye baali:

Asakeri muganda wa Yowaabu,

ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,

27ne Sammosi Omukalooli,

ne Kerezi Omuperoni;

28ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

ne Abiyezeeri Omwanasosi,

29ne Sibbekayi Omukusasi,

ne Irayi Omwakowa,

30ne Makalayi Omunetofa,

ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa,

31ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini,

ne Benaya Omupirasoni,

32ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,

ne Abiyeeri Omwalubasi,

33ne Azumavesi Omubakalumi,

ne Eriyaba Omusaaluboni,

34batabani ba Kasamu Omugizoni,

ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;

35ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali,

ne Erifali mutabani wa Uli,

36ne Keferi Omumekera,

ne Akiya Omuperoni,

37ne Kezulo Omukalumeeri,

ne Naalayi mutabani wa Ezubayi,

38ne Yoweeri muganda wa Nasani,

ne Mibukali mutabani wa Kaguli;

39ne Zereki Omwamoni,

ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,

40ne Ira Omuyisuli,

ne Galebu Omuyisuli,

41ne Uliya Omukiiti,

ne Zabadi mutabani wa Akulayi,

42ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye,

43ne Kanani mutabani wa Maaka,

ne Yosafaati Omumisuni,

44ne Uzziya Omwasutaloosi,

ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri,

45ne Yediyayeri mutabani wa Simuli,

ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi,

46ne Eryeri Omumakavi,

ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu,

47ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.