利未记 13 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 13:1-59

有关麻风病的条例

1耶和华对摩西亚伦说:

2“如果有人皮肤上长肿包、皮疹或白斑,出现麻风病13:2 麻风病”此处为传统译法,希伯来文的意思指包括麻风病在内的各种严重皮肤病。症状,要将他带到祭司亚伦亚伦做祭司的子孙那里。 3祭司要检查患处,如果患处凹陷,患处的毛发变白,就是麻风病,要宣布他是不洁净的。 4如果那人的患处有白斑,没有凹陷,患处的毛发也没有变白,祭司要把他隔离七天。 5第七天,祭司要再次检查患处,如果患处没有恶化,没有扩散,祭司要把他再隔离七天。 6第七天,祭司要再次检查,如果患处颜色变淡,也没有扩散,祭司要宣布他是洁净的。他患的不过是皮疹,他要洗净衣物,便会洁净。 7如果祭司已查看并宣布他是洁净的,但皮疹又扩散,他必须再去见祭司。 8祭司检查时,如果发现皮疹已扩散,就要宣布他是不洁净的,患了麻风病。

9“如果有人患麻风病,必须将他带到祭司面前。 10祭司检查时,如果发现他皮肤上有白色肿包,毛发变白,患处出现疮口, 11他就是患了慢性麻风病,祭司要宣布他是不洁净的。他无须被隔离,因他已经不洁净。 12如果他的麻风病已扩散,头上脚上到处可见, 13祭司就要检查。如果发现麻风病已扩散到他全身,全身的皮肤变白,祭司就要宣布他是洁净的。 14但如果他身上出现溃烂之处,他便不洁净。 15祭司看到他身上的溃烂之处,就要宣布他是不洁净的,因为那溃烂之处表明他患了麻风病。 16如果溃烂之处痊愈并变白,他就要去见祭司。 17祭司检查时,若发现溃烂之处确已变白,就要宣布他是洁净的,他便洁净了。

18“如果有人身上长疮,又痊愈了, 19但原患处出现白色肿包或白里带红的斑,他就要去让祭司检查。 20祭司检查时,若发现患处凹陷,患处的毛发变白,就要宣布他是不洁净的。这是疮变成了麻风病。 21但祭司检查时,若发现患处没有白毛,没有凹陷,肉色变淡,就要把他隔离七天。 22隔离期间,若患处扩散,祭司要宣布他是不洁净的,是患了麻风病。 23如果患处的斑原样未变,没有扩散,便是疮疤,祭司要宣布他是洁净的。

24“如果有人被火烧伤,患处变白或白中带红, 25祭司要检查他的患处。如果患处的毛发变白,伤口凹陷,他的烧伤已变成麻风病,祭司要宣布他是不洁净的,因为他患了麻风病。 26祭司检查时,若发现患处没有白毛,伤口没有凹陷,颜色变淡,就要把他隔离七天。 27第七天,祭司要再次检查,若发现患处扩散,就要宣布他是不洁净的,因为他患了麻风病。 28如果患处没有扩散,颜色变淡,就是烧伤引起的肿包,祭司要宣布他是洁净的,因为那不过是烧伤的疤痕。

29“如果有男女头上或下巴长疮, 30祭司要检查患处,若发现患处凹陷,上面有黄色细毛,就要宣布那人是不洁净的,因为那是疥癣,是麻风病。 31祭司检查时,若发现患处没有凹陷,没有黑毛,就要将那人隔离七天。 32第七天,祭司要检查患处,若发现疥癣没有扩散,上面没有黄毛,患处没有凹陷, 33那人要剃去头发和胡须,但不可剃患处的毛发。祭司要将他再隔离七天。 34第七天,祭司要再次检查,若发现疥癣没有扩散,患处没有凹陷,就要宣布那人是洁净的。那人要洗净衣服,便洁净了。 35那人洁净以后,疥癣若再次扩散, 36祭司就要再次检查。如果疥癣确已扩散,祭司不必再找黄毛,那人是不洁净的。 37如果祭司看到疥癣原样未变,患处长出黑毛,那人就已经痊愈,是洁净的。祭司要宣布那人是洁净的。

38“如果有男女身上长白斑, 39祭司要检查患处,若发现斑呈灰白色,就是皮疹,那人是洁净的。

40“如果有人脱发,成了秃头,他是洁净的。 41如果有人前额脱发,他只是前额光秃,仍是洁净的。 42如果在光秃的头上或前额上长出白里带红的疮,那就是麻风病。 43祭司要检查患处,若发现疮周围肿胀,看起来像麻风病, 44就是得了麻风病,那人是不洁净的。祭司要宣布那人是不洁净的。

45“患麻风病的人必须撕裂衣服,披头散发,遮住脸的下半部,高喊‘不洁净!不洁净!’ 46只要病不痊愈,他就不洁净,要独自住在营外。

霉变衣物的条例

47“如果衣物出现霉斑,不论是羊毛衣、细麻衣、 48羊毛织品、细麻织品,还是皮革或皮革制品, 49只要发现霉斑是绿色或红色的,那就是霉变,要拿给祭司检查。 50祭司检查后,要把那衣物隔离七天。 51第七天,祭司要再次检查,若发现衣物、编织品或皮革上的霉斑蔓延,那衣物就是不洁净的。 52不论那是衣服、羊毛或细麻织品,还是皮革制品,祭司都必须把它烧掉,因为那是霉变。必须烧掉霉变的衣物。 53如果祭司发现衣服、编织品或皮革上的霉斑没有蔓延, 54就要吩咐人洗净衣物,再隔离七天。 55之后,祭司要再次检查洗过的衣物,若发现霉斑原样未变,即使没有蔓延,那衣物也是不洁净的。无论衣物里面还是外面霉变,都必须把它烧掉。 56如果祭司发现洗过后霉斑退色,就要把霉变的部分从衣服、皮革、编织品上撕下来。 57以后衣物、编织品或皮革上若再次出现霉斑,便是旧患复发,要把它烧掉。 58如果洗过衣服、编织品或皮革后,霉斑消失了,要再洗一次就洁净了。

59“羊毛衣、细麻衣、编织品或皮革制品出现霉变时,以上条例可用来鉴定这些衣物是否洁净。”

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 13:1-59

Amateeka ku Ndwadde Ez’oku Lususu Ezikwata

1Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, 2“Omuntu yenna bw’anaabanga n’akazimbye ku lususu lw’omubiri gwe, oba awabutuse, oba awali akatulututtu, ne wafaanana ng’awali endwadde ey’ebigenge, aleetebwenga eri Alooni kabona, oba eri omu ku batabani be bakabona. 3Kabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bw’anaasanganga ng’obwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, ng’olwo ebyo bigenge. Kabona bw’anaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti omuntu oyo si mulongoofu. 4Naye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lw’omubiri gwe, ate nga n’obwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 5Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga omuntu oyo; bw’anaasanganga ng’awazimbye teweeyongedde, era nga n’obulwadde obwo tebusaasaanye ku lususu, anaayongeranga okumusibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. 6Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, kale bw’anaasanganga ng’obuzimbu tebukyalabika nnyo, era obulwadde obwo nga tebusaasaanye ku lususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga kubadde kubutuka bubutusi. Omuntu oyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga mulongoofu. 7Naye okubutuka okwo bwe kunaasaasaananga ku lususu oluvannyuma lw’okweyanjula eri kabona amulangirire nti mulongoofu, anaateekwanga okuddayo eri kabona yeeyanjule buto. 8Kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’okubutuka kusaasaanye ku lususu ku mubiri, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ng’ebyo bigenge.

Amateeka g’Ebigenge ne kwe Bitegeererwa

9“Omuntu yenna bw’anaakwatibwanga ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona. 10Kabona anaamukeberanga, bw’anaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza n’obwoya, era awazimbye nga waliwo n’ennyama y’omubiri erungudde, 11ebyo binaabanga bigenge eby’olutentezi ku lususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Taasibibwenga mu kalantiini, kubanga amaze okutegeererwawo nga bw’atali mulongoofu.

12“Naye singa ebigenge bisaasaana ku lususu ne bituuka wonna wonna okuva ku mutwe gw’omuntu oyo okutuuka ku bigere nga kabona bw’asobola okulaba, 13kale kabona anaakeberanga omuntu oyo; bwe kinaazuulibwanga ng’ebigenge bibunye omubiri gw’omuntu oyo gwonna, anaamulangiriranga nga bw’ali omulongoofu; kubanga omubiri gwe gwonna gufuuse mweru, oyo mulongoofu. 14Naye ku lususu lw’omuntu oyo bwe kunaalabikangako ennyama erungudde taabenga mulongoofu. 15Kabona anaakeberanga ennyama eyo erungudde, n’amulangirira nga bw’atali mulongoofu. Ennyama erungudde si nnongoofu, kubanga bigenge. 16Naye singa ennyama erungudde ekyuka n’efuuka enjeru, omuntu oyo anajjanga eri Kabona. 17Kabona anaamukeberanga, bw’anaazuulanga ng’olususu olulwadde lufuuse lweru, anaalangiriranga omulwadde oyo okuba omulongoofu; bw’atyo anaabanga mulongoofu.

18“Omuntu bw’anaabanga alwadde ejjute ku lususu lwe, naye ne liwona, 19kyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona. 20Kabona anaakeberangawo, bw’anaasanganga nga wennyise okusinga olususu, nga n’obwoya bwawo bufuuse bweru; kale kabona analangiriranga omuntu oyo nga bw’atali mulongoofu. Obwo bulwadde bwa bigenge ebifulumidde awo awaali ejjute. 21Naye kabona bw’anaakeberangawo, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, ate nga tewennyise okusinga olususu era nga tewakyalabika nnyo, kale kabona anaasibanga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 22Naye obulwadde obwo bwe bunaasaasaananga ku lususu, kale kabona analangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu, ebyo nga bigenge. 23Naye obuzimbu bwe bunaasigalanga mu kifo kimu ne butasaasaana, eyo eneebanga nkovu ya jjute, era kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti mulongoofu.

24“Singa wabaawo ku lususu lw’omuntu awayidde omuliro, awo awali ennyama eyidde ne wazimba, ne wafuuka watwakaavu oba weeru, 25kabona anaakeberangawo, obwoya bwawo bwe bunaabanga bufuuse bweru, ate nga walabika ng’awennyise okusinga olususu, ebyo nga bigenge bye bifulumye ku lususu oluyidde. Kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu; ebyo binaabanga bigenge. 26Naye kabona bw’anaakeberanga awo awayidde, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, era nga tewennyise kusinga lususu, naye nga tewakyalabika nnyo, kabona anaasibiranga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 27Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaamukeberanga, kale bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaana ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ebyo nga bigenge. 28Naye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ng’awazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga eyo y’enkovu ku lususu awaayokebwa omuliro.

29“Omusajja oba omukazi bw’anaalwalanga ebbwa ku mutwe oba ku kalevu, 30kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwe linaabanga lyennyise okusinga olususu, nga n’obwoya obulirimu bwa kyenvu ate nga bwa matalaga; kale kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; eryo nga lye bbwa erisiiwa, nga bye bigenge eby’oku mutwe oba eby’oku kalevu. 31Kabona bw’anaakeberanga ebbwa erisiiwa, n’asanga nga teryennyise kuyisa lususu, ate nga mu lyo nga temuliimu bwoya buddugavu, kale kabona anaasibiranga omuntu oyo alina ebbwa erisiiwa mu kalantiini amalemu ennaku musanvu. 32Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bw’anaasanganga ng’okusiiwa tekusaasaanye, ate nga mu bbwa temuliimu bwoya bwa kyenvu, era ng’awasiiwa tewennyise kusinga lususu, 33omuntu oyo asaananga amwebwe okuggyako awo awalwadde wokka; ate kabona anaamusibiranga mu kalantiini ennaku endala musanvu. 34Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga awo awasiiwa, okusiiwa bwe kunaabanga tekusaasaanye ku lususu, ate nga tewennyise kusinga lususu, kale, kabona anaalangiriranga omuntu oyo nga bw’ali omulongoofu; era omuntu oyo anaayozanga engoye ze n’abeera mulongoofu. 35Naye okusiiwa bwe kunaasaasaananga ku lususu ng’amaze okulongooka, 36kabona anaayongeranga okumukebera, bw’anaasanganga ng’okusiiwa kusaasaanye ku lususu, kabona taanoonyenga bwoya bwa kyenvu mu bbwa eryo; omuntu oyo si mulongoofu. 37Naye mu kulaba kwa kabona, okusiiwa bwe kunaabanga tekweyongedde, nga n’obwoya obwa kyenvu bukuze mu bbwa, olwo ng’okusiiwa kuwonye, era omuntu oyo nga mulongoofu era kabona naye anaamulangiriranga nti mulongoofu.

38“Omusajja oba omukazi bw’anaabanga n’obutulututtu obweru ku mubiri gwe, 39kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’obutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lw’omuntu oyo, ye aba mulongoofu.

40“Omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ku mutwe gwe zonna, anaabeeranga kyemwa, naye nga mulongoofu. 41Era omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ez’omu maaso nga ku kyenyi, oyo anaabanga wa kiwalaata eky’omu bwenyi, kyokka nga mulongoofu. 42Naye mu mutwe omutali nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi bwe munaabangamu akafo akalwadde ebbwa nga kalungudde keeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, ebyo nga bigenge bye bifulumye mu mutwe ogutaliimu nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi. 43Kale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bw’anaasanganga ng’akafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ng’ebigenge bwe biba nga biri ku lususu olw’omubiri, 44omuntu oyo anaabanga mugenge, nga si mulongoofu. Kabona anaamulangiriranga nga bw’atali mulongoofu, olw’obulwadde obwo mu mutwe gwe.

45“Omuntu anaalwalanga ebigenge anaayambalanga engoye njulifu, n’enviiri z’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziduumuuka, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw’engulu n’atambula nga bw’aleekaana nti, ‘Siri mulongoofu! Siri mulongoofu!’ 46Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira.

Ebigenge mu Byambalo

47“Obulwadde bw’ebigenge bwe bunaalabikanga mu byambalo by’omusajja oba eby’omukazi, ebyambalo ebyo nga bikoleddwa mu byoya by’endiga oba mu bafuta oba maliba, 48oba mu nfunyiro ne mu ntabiro z’ebyambalo by’ebyoya by’endiga, oba mu bafuta oba mu maliba, oba mu kyambalo ekya buli ngeri yonna ekitungiddwa mu maliba; 49era obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nga bwa langi ya kiragalalagala oba myufumyufu, nga buli mu kyambalo oba mu nfunyiro oba mu ntabiro zaakyo, oba mu kyambalo kyonna ekitungiddwa mu maliba; obwo nga bulwadde bwa bigenge, era bunaalagibwanga kabona. 50Kabona anaakeberanga obulwadde obwo, anaasibiranga ekintu ekyo omuli obulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 51Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga obulwadde obwo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde obwo bauaasanye mu kyambalo, mu nfunyiro oba mu butungiro oba mu maliba, oba mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, ng’amanya ng’obulwadde obwo bwa bigenge ebitta n’omuntu; ekyo ekyambalo nga si kirongoofu. 52Kabona anaayokyanga ebyambalo ebyo, obanga obulwadde buli mu nfunyiro oba mu ntabiro ez’ebyambalo ebya bafuta oba eby’ebyoya by’endiga, oba ebirala byonna ebitungiddwa mu maliba, kubanga obwo bwe bulwadde bw’ebigenge ebittira ddala. Ebyambalo ebyo binaayokebwanga mu muliro.

53“Kabona bw’anaabanga akebedde ekyambalo ekirimu obulwadde, n’asanga nga tebusaasaanye mu kyambalo, ne mu nfunyiro zaakyo, oba ne mu ntabiro, oba ne mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, 54kale kabona anaalagiranga ne bayoza ekyambalo ekyo omuli obulwadde, n’ayongera okukisibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. 55Awo kabona anaakeberanga ekyambalo ekyo ekyoze, bw’anaasanganga ng’erangi y’akafo awali obulwadde tekyuse, newaakubadde ng’obulwadde tebusaasaanye, ekyambalo ekyo nga si kirongoofu. Mukyokyanga mu muliro, awali ebigenge ne bwe wanaabanga mu kyambalo mu maaso oba mu mabega gaakyo. 56Naye kabona bw’anaakeberanga n’asanga nga bwe bamaze okwoza ekyambalo, akafo ako awali obulwadde tekakyalabika nnyo, akafo ako anaakayuzangamu mu kyambalo ekyo, oba mu ddiba oba mu kiruke kyonna ekyambalwa. 57Naye obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nate mu kyambalo, oba mu kyambalo eky’eddiba oba ekiruke, nga busaasaanye, kale munaayokyanga mu muliro ekyambalo ekyo omuli obulwadde. 58Naye mu kyambalo kyonna, oba ekyambalo eky’eddiba oba ekiruke, obulwadde bwe buggwangamu nga kimaze okwozebwa, kale kinaayozebwanga omulundi ogwokubiri, ne kiba kirongoofu.”

59Eryo lye tteeka ery’obulwadde bw’ebigenge mu byambalo by’ebyoya by’endiga, oba linena, oba ebiruke obulusi, oba ebitunge mu maliba mu ngeri ezitali zimu, erinaasinziirwangako okulangirira obanga ekyambalo kirongoofu oba si kirongoofu.