列王纪下 2 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪下 2:1-25

以利亚被接到天上

1耶和华用旋风接以利亚升天之前,以利亚以利沙正在离开吉甲的路上。 2以利亚以利沙说:“你留在这里吧,耶和华吩咐我去伯特利。”以利沙说:“我凭永活的耶和华和你的性命起誓,我决不离开你。”于是二人前往伯特利3伯特利的众先知出来见以利沙,问他:“你知道耶和华今天要接走你师傅吗?”他说:“我知道,请不要作声。”

4以利亚以利沙说:“你留在这里吧,耶和华差遣我去耶利哥。”以利沙说:“我凭永活的耶和华和你的性命起誓,我决不离开你。”于是二人前往耶利哥5耶利哥的众先知来见以利沙,问他:“你知道耶和华今天要接走你师傅吗?”他说:“我知道,请不要作声。”

6以利亚以利沙说:“你留在这里吧,耶和华差遣我去约旦河。”以利沙说:“我凭永活的耶和华和你的性命起誓,我决不离开你。”于是二人继续前行。 7先知中有五十人跟他们来到约旦河,远远地站着,他们二人则站在河边。 8以利亚脱下外衣卷起来,用它击打河水,水立即左右分开,二人脚踏干地而过。

9到对岸后,以利亚以利沙说:“在我被接走之前,你要我为你做什么?”以利沙说:“请将你的灵加倍地给我。” 10以利亚说:“这是个很难的要求。不过,我被接走的时候,如果你看得见我,就可以得到,否则就得不到。” 11他们边走边谈,忽然有火马拉的火车把他们二人隔开,以利亚乘着旋风升上了天。 12以利沙见此情景,便喊道:“我父啊!我父啊!以色列的战车和骑兵啊!”以利沙以利亚消失在天空中,就悲伤地把自己的衣服撕成两半。

13他拿起以利亚身上掉下来的外衣,回到约旦河边, 14用它击打河水,说:“以利亚的上帝耶和华在哪里呢?”河水就左右分开,以利沙便过了河。

15耶利哥的先知们从远处看见他,就说:“以利亚的灵降在以利沙身上了。”他们就上前迎接,俯伏在他面前, 16说:“仆人们这里有五十个壮士,请让他们去寻找你师傅吧,或许耶和华的灵把他放在某座山上或某个山谷里了。”以利沙说:“你们不要派人去找了。” 17他们再三恳求,以利沙难以推辞,就让他们派人去了。他们派去了五十人,找了三天也没有找到。 18他们回来的时候,以利沙仍在耶利哥。他对他们说:“我不是早就告诉你们不要去吗?”

以利沙行神迹

19耶利哥城的人对以利沙说:“我主,你看这城地势很好,只是水不好,地里长不出庄稼。” 20以利沙说:“拿一个新碗装些盐给我。”他们就去照办。 21以利沙走到水源那里,把盐倒在水中说:“耶和华说,‘我洁净了这水,从此它不会再使人死亡,也不会再使土地贫瘠。’” 22果然如以利沙所说,那里的水变好了,直到如今。

23以利沙从那里去伯特利,正在赶路的时候,从城里出来一群少年讥笑他说:“秃头,上去吧!秃头,上去吧!” 24以利沙转身看着他们,奉耶和华的名咒诅他们。林中随即走出来两只母熊,咬死了其中的四十二个少年。 25以利沙伯特利上了迦密山,又从迦密山回到撒玛利亚

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 2:1-25

Okutwalibwa kwa Eriya mu Ggulu

1Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali, 2Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri2:2 Beseri kyali kibuga kikulu okuviira ddala mu biseera bya bajjajja aboogerebwako mu Bayibuli (Lub 12:8; 22:10-22; 35:1-5). Yerobowaamu yali azimbyeyo yeekaalu okuvuganya ne Yeekaalu eyali ezimbiddwa mu Yerusaalemi (1Bk 12:28-33). Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne baserengeta bonna e Beseri. 3Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”

Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”

4Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne bagenda bonna e Yeriko.

5Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”

6Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne batambula bombi.

7Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani. 8Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.

9Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.” 10N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi. 12Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.

13Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga. 14N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.

15Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira. 16Ne bamugamba nti, “Laba, ffe abaddu bo tulina abasajja abazira amakumi ataano. Bagende banoonye mukama wo, osanga Omwoyo wa Mukama amututte n’amuteeka ku bumu ku busozi oba mu kiwonvu.”

Erisa n’abaddamu nti, “Temutawaana, era temubatuma.”

17Naye bwe baamuwaliriza, n’atendewalirwa, n’abagamba nti, “Kale, mubatume.” Awo ne batuma abasajja amakumi ataano, ne banoonya okumala ennaku ssatu naye ne batamulaba. 18Bwe bakomawo gy’ali mu Yeriko, n’abagamba nti, “Saabalabudde obutagenda?”

Okutukuzibwa kwa Mazzi

19Awo abasajja ab’omu kibuga ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, ekibuga kino kiri mu kifo kirungi, nga nawe bw’olaba, naye amazzi gaamu mabi, era n’ensi si njimu.” 20N’abagamba nti, “Mundeetere ebbakuli empya nga mutaddemu omunnyo.” Ne bagimuleetera. 21N’aserengeta ku nsulo ey’amazzi, n’ayiwamu omunnyo, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.’ ” 22Amazzi ne galongooka, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Erisa bwe kyali, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.

Abavubuka basekerera Erisa

23Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!” 24N’akyuka n’abatunuulira, n’abakolimira mu linnya lya Mukama. Awo ebisolo ebinene bibiri eby’ekika eky’eddubu ne biva mu kibira ne bitaagulataagula abavubuka amakumi ana mu babiri ku bo. 25Ne yeeyongerayo n’alaga ku Lusozi Kalumeeri, oluvannyuma n’addayo e Samaliya2:25 Erisa yabeeranga mu Samaliya..