以赛亚书 30 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 30:1-33

依靠埃及徒劳无益

1耶和华说:

“我悖逆的儿女有祸了!

他们不遵行我的旨意,

按自己的计划行事;

未经我同意,擅自与人结盟,

不断犯罪。

2他们不求问我便去埃及

想得到法老的保护和荫庇。

3然而,法老的保护和荫庇必成为他们的耻辱。

4虽然他们的官长和使臣已到琐安哈内斯

5但他们必蒙羞,

因为埃及人对他们毫无用处,

没有任何帮助和益处,

带给他们的只有羞愧和耻辱。”

6以下是关于南地动物的预言:

他们的使臣用驴驮着财物,

用骆驼驮着珍宝,

穿过公狮、母狮、蝮蛇和飞蛇出没的艰险之地,

前往一个对他们毫无用处的国家。

7埃及的帮助是徒然的,

所以我称她为“没用的海怪30:7 海怪”希伯来文是“拉哈伯”,埃及的别名。”。

8耶和华对我说:

“现在,你去当着他们的面把这些话刻在版上,

记在书卷上,

永远留给后世作明证。

9他们是悖逆的民族,

是说谎的儿女,

不肯听从耶和华的教导。

10他们对先见说,

‘你们不要再看异象了。’

又对先知说,

‘不要再教导我们是非对错。

给我们说些好听的话,

讲些虚幻的事吧。

11让开!不要挡我们的路!

不要再给我们讲以色列圣者的事。’

12因此,以色列的圣者说,

‘因为你们藐视我的话,

依仗欺压之能和诡诈之术,

13你们的罪恶必像一堵断裂、凸起的高墙,

摇摇欲坠,瞬间倒塌,

14又像瓦器一样被摔得粉碎,

找不到一块可以用来从火炉中取炭或从水池里舀水的碎片。’”

15主耶和华——以色列的圣者说:

“你们回转、安息便可得到拯救;

你们安静、信靠便可得到力量。

但你们却不肯。

16你们说,‘不,我们要骑马奔逃。’

所以你们必奔逃。

你们又说,‘我们要骑快马逃跑。’

所以追赶你们的人必疾驰如飞。

17他们一人叱喝,

必吓得你们千人逃跑;

他们五人叱喝,

你们必全部逃跑,

以致余剩的人少得像山顶上的旗杆、高岗上的旗帜。”

18因此,耶和华正在等候,

准备施恩给你们,

祂必怜悯你们。

因为耶和华是公义的上帝,

等候祂的人有福了!

19住在耶路撒冷锡安百姓啊,你们必不再哭泣。祂听到你们的呼求后必恩待你们;祂听见后必应允你们。 20虽然主让你们经苦难、历艰辛,但你们的教师必不再隐藏,你们必亲眼看见你们的教师。 21不管你们向左还是向右,都会听见背后有声音说:“这是正路,踏上去吧!” 22你们必抛弃自己那些镀金包银的偶像,把它们当作污秽之物丢掉,对它们说:“去吧!”

23你们撒种,主必降雨,并使你们五谷丰登。那时,你们的牲畜必在宽阔的草场上吃草; 24耕田的牛和驴必吃用叉子和铲子扬净、拌上盐的饲料。 25在你们的敌人被杀戮、城楼倒塌的日子,你们的高山冈陵上必有溪水奔流。 26耶和华包扎他百姓的创伤,医治祂子民的伤口时,月亮必发出太阳般的光辉,太阳的光辉必增加七倍,灿烂得好像七个太阳同时发光。

27看啊,耶和华从远方来,

伴着滚滚浓烟,

祂的怒气如烈火,

话语充满愤怒,舌头好像烈焰。

28祂的气息像淹到人颈项的洪流。

祂必像筛子一样筛列国,

毁灭他们,并把嚼环放在列邦口中,

引他们走上歧途。

29但你们必欢唱,好像晚上庆祝节期;你们必充满喜乐,好像人们吹着笛子登耶和华的山、到以色列磐石那里。 30耶和华必使人听见祂威严的声音,在愤怒、烈焰、暴雨、雷轰和冰雹中让人看见祂降罚的臂膀。 31亚述人听见耶和华的声音必心惊胆战,祂必用杖击打他们。 32耶和华的刑杖每责打他们一下,祂的子民必击鼓弹琴。祂必在战场上挥手击打他们。 33焚烧之地——陀斐特早已为亚述王预备好了,那里又宽又深,堆着许多木柴,耶和华的气必如同一股硫磺火点燃那些木柴。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 30:1-33

Zirisanze Eggwanga Ejjeemu

1“Zibasanze abaana abajeemu,

Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza

ne batta omukago30:1 Kino kyogera ku kutta omukago ne Misiri awatali Mwoyo wange

ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.

2“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,

ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,

n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri

okuba obuddukiro.

3Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,

n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.

4Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani

n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,

5buli muntu aliswazibwa

olw’eggwanga eritabagasa,

abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,

okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.

6Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:

Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku

ne batawaanyizibwa

mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,

erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa

nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,

n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira

nga boolekedde ensi etaliimu magoba.

7Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.

Kyenva muyita Lakabu

ataliiko kyayinza kukola.

8Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,

okiwandiike ku mizingo,

kibabeererenga obujulizi

obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.

9Weewaawo bano bantu bajeemu,

baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.

10Bagamba abalabi nti,

“Temuddayo kufuna kwolesebwa,”

N’eri bannabbi boogera nti,

“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.

Mututegeeze ebitusanyusa,

mulagule ebituwabya.

11Muve mu kkubo lino,

mukyame muve ku luguudo luno,

mulekeraawo okututegeeza

ku Mutukuvu wa Isirayiri.”

12Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Olw’okugaana obubaka buno,

ne mwesiga okunyigirizibwa,

ne mwesiga omulimba,

13ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,

alimu enjatika era azimbye,

okutemya n’okuzibula ng’agudde.

14Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,

n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,

era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika

okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,

oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”

15Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,

mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,

naye temufuddeeyo.

16Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’

Kyoliva odduka.

Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’

Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.

17Abantu olukumi balidduka

olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;

Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,

olidduka,

Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,

ng’ebendera eri ku kasozi.”

18Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;

era agolokoka okukulaga okusaasira.

Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,

balina omukisa bonna abamulindirira.

19Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,30:20 keberako mu bitabo ebirala okwongera okunnyonnyolwa ebigambo ebyo abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go. 21Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”

23Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.

27Laba, erinnya lya Mukama liva wala

n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;

emimwa gye gijjudde ekiruyi,

n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.

28Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi

agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.

Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa

era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.

29Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;

omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere

ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.

30Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,

alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.

31Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,

alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.

32Buli muggo Mukama gw’anakukubanga

n’oluga lwe olubonereza,

guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,

ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.

33Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;

ky’ateekebwateekebwa kabaka.

Ekinnya kyakyo eky’omuliro

kiwanvu era kigazi,

kijjudde omuliro n’enku;

omukka gwa Mukama

gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.