Луко 18 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Луко 18:1-43

Притча о настойчивой вдове

1Желая показать ученикам, что следует всегда молиться и не унывать, Исо рассказал им такую притчу:

2– В одном городе был судья, который не боялся Всевышнего и не стыдился людей. 3В том же городе жила вдова, которая постоянно ходила к нему и умоляла: «Защити меня от моего противника». 4Некоторое время судья ей отказывал, но в конце концов решил: «Пусть я Всевышнего не боюсь и с людьми не считаюсь, 5но так как эта вдова постоянно надоедает мне, то я разрешу её тяжбу, иначе она замучит меня своими просьбами».

6И Повелитель сказал:

– Слышите, что сказал несправедливый судья? 7Так неужели Всевышний не защитит Своих избранных, которые взывают к Нему день и ночь? Неужели Он будет медлить с помощью? 8Говорю вам: Он без промедления защитит их. Но когда Ниспосланный как Человек придёт, то найдёт ли Он веру на земле?

Притча о блюстителе Закона и сборщике налогов

9Тем, кто был уверен в собственной праведности и с презрением смотрел на других, Исо рассказал такую притчу:

10– Два человека пришли во двор храма помолиться. Один из них был блюститель Закона, а другой – сборщик налогов. 11Блюститель Закона, встав, молился о себе так: «О Всевышний, благодарю Тебя, что я не такой, как другие люди: воры, мошенники, неверные супруги или как этот сборщик налогов. 12Я пощусь два раза в неделю и даю в храм десятую часть со всякого дохода». 13А сборщик налогов, стоя вдали, не смел даже глаз к небу поднять, но бил себя в грудь и говорил: «О Всевышний, будь милостив ко мне, грешнику». 14Говорю вам, что именно этот человек пошёл домой оправданным перед Всевышним, а не первый. Потому что каждый возвышающий себя будет унижен, а каждый принижающий себя будет возвышен.

Благословение младенцев

(Мат. 19:13-15; Мк. 10:13-16)

15Некоторые люди приносили к Исо даже младенцев, чтобы Он прикоснулся к ним и благословил. Ученики же, увидев это, не подпускали их. 16Но Исо попросил поднести к Нему младенцев и сказал:

– Пусть дети приходят ко Мне, не запрещайте им, потому что подобные им – подданные Царства Всевышнего. 17Говорю вам истину: кто не примет Царство Всевышнего, как ребёнок, тот не войдёт в него.

Разговор с богатым начальником

(Мат. 19:16-29; Мк. 10:17-30)

18Один начальник спросил Его:

– Добрый Учитель, что мне делать, чтобы наследовать вечную жизнь?

19– Почему ты называешь Меня добрым? – ответил Исо. – Никто не добр, кроме одного Всевышнего. 20Ты знаешь повеления: «не нарушай супружескую верность», «не убивай», «не кради», «не лжесвидетельствуй», «почитай отца и мать»…18:20 См. Исх. 20:12-16; Втор. 5:16-20.

21– Всё это я соблюдаю ещё с дней моей юности, – сказал он. 22Услышав это, Исо сказал ему:

– Одного тебе ещё не хватает. Продай всё, что у тебя есть, и раздай деньги бедным, и тогда у тебя будет сокровище на небесах. Потом приходи и следуй за Мной.

23Когда начальник услышал это, он опечалился, потому что был очень богат. 24Исо посмотрел на него и сказал:

– Как трудно богатым войти в Царство Всевышнего! 25Легче верблюду пройти сквозь игольное ушко, чем богатому войти в Царство Всевышнего.

26Те, кто это слышал, спросили:

– Кто же тогда вообще может быть спасён?

27Исо сказал:

– Невозможное человеку возможно Всевышнему.

28Тогда Петрус сказал:

– Вот мы оставили всё, что у нас было, и пошли за Тобой.

29Исо сказал им:

– Говорю вам истину, каждый, кто оставил дом, или жену, или братьев, или родителей, или детей ради Царства Всевышнего, 30получит во много раз больше в этой жизни, а в будущем – жизнь вечную.

Исо Масех в третий раз говорит о Своей смерти и воскресении

(Мат. 20:17-19; Мк. 10:32-34)

31Исо, отведя двенадцать учеников в сторону, сказал им:

– Вот мы идём в Иерусалим, и там исполнится всё написанное пророками о Ниспосланном как Человек. 32Он будет отдан язычникам (римлянам), те будут глумиться над Ним, унижать Его, плевать в Него, 33бичевать и затем убьют. Но на третий день Он воскреснет.

34Ученики ничего из этого не поняли; всё, что Он сказал, было для них закрыто, и они не догадывались, что Он имел в виду.

Исцеление слепого нищего

(Мат. 20:29-34; Мк. 10:46-52)

35Когда Исо подходил к Иерихону, у дороги сидел слепой и просил милостыню. 36Услышав, что мимо идёт толпа, он спросил, что происходит.

37– Идёт Исо из Назарета, – сказали ему.

38Тогда слепой закричал:

– Исо, Сын Довуда!18:38 Сын Довуда – один из титулов Масеха. Согласно Книге Пророков ожидаемый Масех (т. е. праведный Царь и Освободитель) должен был быть потомком царя Довуда (см. Ис. 11:1-5; Иер. 23:5-6). Сжалься надо мной!

39Те, что шли впереди, стали говорить, чтобы он замолчал, но слепой кричал ещё громче:

– Сын Довуда, сжалься надо мной!

40Исо остановился и велел, чтобы этого человека подвели к Нему. Когда тот подошёл, Исо спросил его:

41– Что ты хочешь, чтобы Я сделал для тебя?

– Повелитель, я хочу видеть, – ответил слепой.

42Исо сказал ему:

– Прозри! Твоя вера исцелила тебя.

43Слепой сразу же обрёл зрение и пошёл за Исо, славя Всевышнего. И весь народ, увидев это, также восхвалял Всевышнего.

Luganda Contemporary Bible

Lukka 18:1-43

Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi

1Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, 2“Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. 3Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’

4“Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, 5naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”

6Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. 7Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? 8Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”

9Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti, 10“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza. 11Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono. 12Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’

13“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

14“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

Yesu n’Abaana Abato

15Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta. 16Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda. 17Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”

Omukungu Omugagga

18Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” 19Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 20Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”

21N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”

22Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”

23Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo. 24Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

26Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”

27Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”

28Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”

29Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, 30atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

31Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

34Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza

35Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. 36Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?” 37Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”

38Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!” 39Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”

40Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, 41“Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!” 42Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.” 43Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.