Левит 6 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Левит 6:1-30

1Вечный сказал Мусо:

2– Если кто-то согрешит и нарушит верность Вечному, обманув другого, солгав о том, что ему было вверено, или оставлено на его попечение, или украдено им, 3а также если он найдёт чьё-либо пропавшее добро и не скажет об этом, если он поклянётся ложно в чём-нибудь или совершит какой-нибудь другой грех, каким грешат люди; 4если он согрешит и этим провинится, то он должен возвратить всё, что украл или взял вымогательством, что было доверено ему или то, что пропало, а он нашёл, 5или то, в чём он клялся ложно, что бы это ни было. Он должен возместить всё целиком, добавить к этому пятую часть стоимости и отдать хозяину в тот день, когда приносит жертву повинности. 6А в расплату он должен привести к священнослужителю жертву повинности Вечному: барана из отары, соответствующей стоимости и без изъяна. 7Тогда священнослужитель очистит его перед Вечным, и он будет прощён за всё, что сделал и в чём провинился.

Дополнительные правила о жертве всесожжения

8Вечный сказал Мусо:

9– Дай Хоруну и его сыновьям повеление: «Вот правила о всесожжении: пусть жертва всесожжения остаётся на жертвеннике, где она была сожжена, всю ночь до утра, и пусть на жертвеннике поддерживают огонь. 10Пусть священнослужитель наденет льняную одежду и льняное нижнее бельё, сметёт пепел жертвы всесожжения, которую пожрало на жертвеннике пламя, и положит рядом с жертвенником. 11Затем пусть он снимет эту одежду, наденет другую и вынесет пепел за лагерь, на чистое место. 12Огонь на жертвеннике нужно поддерживать, он не должен угасать. Пусть каждое утро священнослужитель подкладывает дрова, кладёт на огонь всесожжение и сжигает жир жертв примирения. 13Огонь нужно поддерживать на жертвеннике постоянно, он не должен угасать».

Дополнительные правила о жертве хлебного приношения

14«Вот правила о хлебном приношении: сыновья Хоруна должны приносить его перед Вечным, к жертвеннику. 15Священнослужитель должен взять пригоршню лучшей муки и масла вместе с благовониями, что на хлебном приношении, и сжечь памятную часть на жертвеннике как благоухание, приятное Вечному. 16Хорун и его сыновья съедят остаток приношения. Есть же его нужно пресным на святом месте, во дворе шатра встречи. 17Приношение должно быть выпечено без закваски. Я даю им это как их долю в огненных жертвах Мне. Подобно жертве за грех и жертве повинности – это великая святыня. 18Всякий потомок Хоруна мужского пола может есть это. Это его постоянная доля в огненных жертвах Вечному в грядущих поколениях. Всё, что прикоснётся к этому, станет свято».

19Ещё Вечный сказал Мусо:

20– Вот приношение, которое Хорун и его сыновья должны приносить Вечному в день, когда они принимают помазание: полтора килограмма лучшей муки как постоянное хлебное приношение – половину утром и половину вечером. 21Готовь его с маслом на противне, пропитай его как следует маслом и разломай на куски; это будет благоухание, приятное Вечному. 22Сын, который будет преемником Хоруна, помазанным священнослужителем, будет готовить приношение. Это постоянная доля Вечного, её следует сжигать целиком. 23Любое хлебное приношение священнослужителя следует сжигать целиком. Его нельзя есть.

Дополнительные правила о жертве за грех

24Вечный сказал Мусо:

25– Скажи Хоруну и его сыновьям: «Вот правила о жертве за грех: её следует закалывать перед Вечным на том месте, где закалывают жертву всесожжения. Это великая святыня. 26Священнослужитель, который приносит эту жертву, должен есть её в святом месте, во дворе шатра встречи. 27Всё, что прикоснётся к мясу жертвы, станет свято, а если её кровь брызнет на одежду, выстирай её в святом месте. 28Глиняный горшок, в котором готовится мясо, нужно разбить, а если оно готовится в бронзовом, горшок нужно очистить и вымыть. 29Все мужчины в семье священнослужителей могут есть это. Это великая святыня. 30Но жертву за грех, кровь которой вносят в шатёр встречи, чтобы совершить очищение в святилище, есть нельзя. Её нужно сжечь».

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 6:1-30

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2“Omuntu bw’anaayonoonanga n’amenya obwesigwa eri Mukama olw’okulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bw’anabbiranga munne, 3oba bw’anaazuulanga ebyali bibuze naye n’alimba; oba bw’anaalayiranga eby’obulimba, oba bw’anaayonoonanga mu bintu ng’ebyo byonna abantu mwe batera okwonoona, 4bw’anaayonoonanga bw’atyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye n’abizuula, 5oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango. 6Era anaaleeteranga kabona ekiweebwayo eri Mukama olw’omusango, nga kya ndiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ogibaliriddemu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. 7Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna by’anaabanga akoze n’azza omusango.”

Ebiweebwayo Ebyokebwa

8Mukama n’agamba Musa nti, 9“Lagira Alooni ne batabani be nti: Lino lye tteeka ery’ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa enkeera, era omuliro gw’omu kyoto gunaabanga gwaka ebbanga lyonna. 10Awo kabona anaayambalanga ebyambalo bye ebya bafuta, ng’asooseemu eby’omunda ebya bafuta ku mubiri gwe, n’addira evvu eriri mu kyoto ery’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto, n’alissa wabbali w’ekyoto. 11Aneeyambulangamu ebyambalo ebyo, n’ayambala ebyambalo ebirala, n’asitula evvu n’alitwala ebweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu eky’emikolo ng’egyo. 12Omuliro gunaasigalanga nga gwaka ebbanga lyonna, teguuzikirenga. Buli nkya kabona anaayongerangako enku ku kyoto; era anaatereezangako ekiweebwayo ekyokebwa ng’akitegese bulungi; era anaayokerangako amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe. 13Omuliro gunaasigalanga gwaka ku kyoto ebbanga lyonna; teguuzikirenga.

Ebiweebwayo eby’Emmere ey’Empeke

14“Era lino ly’etteeka ery’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke. Batabani ba Alooni banaaleetanga ekiweebwayo ekyo awali Mukama mu maaso g’ekyoto. 15Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulungi obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’amafuta gaako ag’omuzeeyituuni n’obubaane bwonna, ebiri ku kiweebwayo ekyo, n’akyokya ku kyoto nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 16Batabani ba Alooni banaalyanga ekisigaddewo, naye nga tebaliiramu kizimbulukusa mu kifo ekyo ekitukuvu; banaakiriiranga mu luggya lw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 17Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogw’oku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango. 18Buli mwana mulenzi ava mu Alooni anaayinzanga okukiryako, ng’etteeka ery’emirembe gyonna bwe ligamba erifa ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Buli anaabikwatangako anaafuukanga mutukuvu.”

19Mukama n’agamba Musa nti, 20“Kino ky’ekiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta ag’omuzeeyituuni: ekitundu eky’ekkumi ekya liita bbiri, nga kilo emu ey’obuwunga obulungi, nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kisalirwa wakati ekitundu ekimu, enkya, n’ekitundu ekirala, akawungeezi. 21Bunaafumbibwanga n’amafuta ag’omuzeeyituuni ku fulampeni, ne butabulwa bulungi, ne buweebwayo eri Mukama nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. 22Kabona ow’omu baana ba Alooni anaabanga afukiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni okumusikira, y’anaakiwangayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira emirembe gyonna; ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga. 23Buli kiweebwayo kyonna eky’emmere ey’empeke kabona ky’anaawangayo kinaayokebwanga bulambalamba; tekiiriibwenga.”

Ebiweebwayo olw’Ekibi

24Mukama n’agamba Musa nti, 25“Tegeeza Alooni ne batabani be nti bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’ekibi. Ekiweebwayo olw’ekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo. 26Kabona anaakiwangayo olw’ekibi y’anaakiryanga. Kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 27Buli ekinaakoonanga ku nnyama y’ekiweebwayo ekyo, kinaafuukanga kitukuvu; era ogumu ku musaayi gwakyo bwe gunaamansukiranga ekyambalo, kinaayozerwanga mu kifo ekitukuvu. 28Ensaka ey’ebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga; naye bwe kinaafumbirwanga mu nsaka ey’ekyuma, eneekuutibwanga n’emunyunguzibwamu n’amazzi. 29Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kiweebwayo kitukuvu nnyo. 30Naye ekiweebwayo olw’ekibi, omusaayi gwakyo nga guleeteddwako mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu olw’okwetangirira mu kifo ekyo ekitukuvu, tekiiriibwenga, kyonna kinaayokebwanga.