Второзаконие 12 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Второзаконие 12:1-32

О единственном месте для поклонения Всевышнему

1Вот установления и законы, которым вы должны старательно следовать все дни, пока вы будете жить на земле, которую Вечный, Бог ваших предков, отдал вам во владение. 2Полностью уничтожьте все места, где народы, которых вы выселяете, служат своим богам: на высоких горах, на холмах и под тенистыми деревьями. 3Разрушьте их жертвенники, расколите священные камни и сожгите в огне столбы Ашеры. Разбейте истуканы их богов и сотрите в тех местах всякую память о них.

4Вы не должны служить Вечному, вашему Богу так, как они служат своим богам. 5Вы должны искать Вечного, вашего Бога, лишь на том месте, которое Он выберет среди всех ваших родов для поклонения Ему. Туда вы и должны приходить, 6туда приносите всесожжения и жертвы, десятины и особые дары, посвящённые по обету, добровольные приношения и первородное ваших стад и отар. 7Там, в присутствии Вечного, вашего Бога, вы и ваши семьи будете есть и радоваться всему, что сотворят ваши руки, потому что Вечный, ваш Бог, благословил вас.

8Вы не должны поступать так, как мы поступаем сегодня, – каждый, как ему кажется верным, 9потому что вы ещё не достигли мест покоя и наследия, которое Вечный, ваш Бог, даёт вам. 10Но вы перейдёте Иордан и поселитесь в земле, которую Вечный, ваш Бог, отдаёт вам в наследие, и Он даст вам покой от всех врагов вокруг вас, чтобы вы жили в безопасности.

11Тогда к месту, которое Вечный, ваш Бог, выберет для поклонения Ему, вы должны приносить всё, что я повелеваю вам: всесожжения и жертвы, десятины и особые дары, всё лучшее из имущества, что вы посвятили Вечному по обету. 12Веселитесь там перед Вечным, вашим Богом, вы, ваши сыновья и дочери, слуги и служанки, левиты из ваших городов, у которых нет ни собственного надела, ни наследия. 13Берегитесь, не приносите всесожжения там, где вам заблагорассудится. 14Приносите жертвы только в том месте, которое Вечный выберет в одном из ваших родов, и там соблюдайте всё, что я повелеваю вам.

Об употреблении мяса

15Впрочем, вы можете закалывать скот в любом из городов и есть столько мяса, сколько вам хочется по благословению, которое Вечный, ваш Бог, даёт вам, как если бы это было мясо газели или оленя. Все люди, ритуально нечистые и чистые, могут есть его. 16Но вы не должны есть кровь. Выливайте её на землю, как воду. 17Вы не должны есть у себя в городах десятины от зерна, молодого вина и масла, первородное ваших стад и отар, добровольные приношения, особые дары или всё то, что вы посвятили по обету. 18Всё это вы должны есть в присутствии Вечного, вашего Бога, на том месте, которое Вечный, ваш Бог, укажет вам, – все вы, ваши сыновья и дочери, слуги и служанки, левиты из ваших городов, – есть и радоваться перед Вечным, вашим Богом, всему, что сделали ваши руки. 19Смотрите, не пренебрегайте левитами, когда будете жить в своей земле.

20Когда Вечный, ваш Бог, расширит границы ваших земель, как Он и обещал вам, и вы захотите мясного и скажете: «Съем-ка я мяса», то тогда можете есть столько, сколько захотите. 21Если место, которое Вечный, твой Бог, выберет для поклонения Ему, будет слишком далеко от вас – можете закалывать скот из стад и отар, которые дал вам Вечный, и есть столько, сколько захотите у себя в городах, как я повелел вам. 22Ешьте их, как если бы это были газель или олень. И нечистый, и чистый человек может есть их.

Запрет употреблять в пищу кровь

23Но не ешьте кровь, потому что кровь – это жизнь, и вы не должны есть жизнь вместе с мясом. 24Вы не должны есть кровь; выливайте её на землю, как воду. 25Не ешьте её, и тогда с вами и с вашими детьми всё будет благополучно, потому что это будет правильно в глазах Вечного.

26Берите посвящённые вещи и то, что вы обещали отдать по обету, и приходите туда, куда укажет Вечный. 27Приносите свои всесожжения – и мясо, и кровь – на жертвенник Вечного, своего Бога. Кровь жертв вы должны выливать у жертвенника12:27 Или: «на жертвенник». Вечного, вашего Бога, а мясо можете съесть. 28Смотрите, следуйте всем установлениям, которые я даю вам, и тогда с вами и с вашими детьми всегда всё будет благополучно, потому что это правильно в глазах Вечного, вашего Бога.

Предупреждение об идолослужении

29Вечный, ваш Бог, искоренит перед вами народы, которые вы собираетесь завоёвывать и выселять. Но когда вы прогоните их и поселитесь на их земле, 30когда все они будут истреблены, тогда будьте осторожны и не угодите в западню, не интересуйтесь их богами и не говорите: «Как эти народы служат своим богам? Я буду делать точно так же». 31Вы не должны служить Вечному, вашему Богу, так, как они служат своим богам, потому что они творят всевозможные мерзости, которые Вечный ненавидит. Они даже сжигают своих сыновей и дочерей в огне как жертву своим богам.

32Смотрите, не делайте то, что я запрещаю вам. Не прибавляйте к этому ничего и ничего не убавляйте.

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 12:1-32

Ekyoto Kimu Kyokka eky’Ebiweebwayo

1Gano ge mateeka n’ebiragiro bye musaana okukwatanga n’obwegendereza, nga muli mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjaabo gy’akuwadde okubeera obutaka bwo ebbanga lyonna lye mulimala ku nsi. 2Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene, 3bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.

4Mukama Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola. 5Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza; 6awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe. 7Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

8Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde, 9kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw’abawa. 10Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe; 11kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama. 12Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n’abaweereza bammwe abasajja, n’abaweereza bammwe abakazi, n’Abaleevi ab’omu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe. 13Weekuumanga n’otaweerayo biweebwayo by’omu buli kifo kyonna ky’onoolabanga. 14Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka Mukama ky’anaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mw’onookoleranga ebyo byonna bye nkulagira.

Ebiragiro ku Biweebwayo ebitali bya bulijjo

15Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli Mukama Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga. 16Wabula omusaayi temugulyanga; munaaguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 17Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo. 18Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo. 19Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu ku nsi.

20Mukama Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 21Ekifo, Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala n’ewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ez’omu bisibo byo ne mu biraalo byo Mukama by’anaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. 22Onoogiryanga nga bw’onoolyanga empeewo n’enjaza. Abalongoofu n’abatali balongoofu bonna banaalyanga. 23Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ng’olya ennyama. 24Togulyanga; oguyiwanga wansi ku ttaka ng’amazzi. 25Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, n’abaana bo, ng’okoze ebituufu mu maaso ga Mukama.

26Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna by’oneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga n’obitwalanga mu kifo Mukama ky’anaabanga akulondedde. 27Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi, ku Kyoto kya Mukama Katonda wo. Omusaayi gw’ebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya Mukama Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya. 28Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

Okulabula ku Kusinza bakatonda abalala

29Amawanga ago g’ogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, Mukama agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bw’obanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, n’okugibeeramu n’ogibeeramu, 30era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?” 31Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

32Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.