Второзаконие 11 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Второзаконие 11:1-32

Великие дела Всевышнего

1Любите Вечного, своего Бога, и всегда соблюдайте Его требования, установления, законы и повеления. 2Я не обращаюсь к вашим детям, которые не знали и не видели наказания Вечного, вашего Бога. Вспомните сегодня Его величие, Его могучую и простёртую руку, 3знамения и чудеса, которые Он сотворил в Египте с фараоном, царём Египта, и со всей его страной, 4то, что Он сделал с египетским войском, с его конями и колесницами, как Он утопил их в водах Тростникового моря, когда они гнались за вами, и как Вечный погубил их. 5Ваши дети не видели то, что Он сделал для вас в пустыне, пока вы не пришли сюда, 6и что Он совершил с Датаном и Авирамом, сыновьями рувимита Элиава, когда земля разверзлась прямо посреди народа Исроила и поглотила их с их семьями, шатрами и всеми живыми существами, которые им принадлежали11:6 См. Чис. 16:1-35.. 7Ваши собственные глаза видели все великие дела, которые совершил Вечный.

8Итак, соблюдайте все повеления, которые я даю вам сегодня, чтобы быть сильными, войти в землю, куда вы идёте, и завладеть ею, 9и чтобы долго жить на земле, которую Вечный клялся отдать вашим предкам и их потомкам, на земле, где течёт молоко и мёд. 10Земля, куда вы идёте, чтобы завладеть ею, не похожа на землю Египта, откуда вы пришли, где вы сажали семена и орошали поля собственными усилиями, как в огороде. 11Земля, куда вы идёте, чтобы завладеть ею, – это земля гор и долин, которая пьёт дождь с неба. 12Это земля, о которой заботится Вечный, ваш Бог; взгляд Вечного, вашего Бога, круглый год обращён на неё.

13Если вы будете верно слушаться Моих повелений, которые Я даю вам сегодня, – любить Вечного, вашего Бога, и служить Ему от всего сердца и от всей души, – 14то Я буду в срок посылать дожди на вашу землю, осенние и весенние дожди, чтобы у вас было зерно, молодое вино и масло. 15Я дам вам богатые пастбища для скота, и вы будете есть и насыщаться.

16Берегитесь, иначе вы соблазнитесь и, уклонившись, станете служить другим богам и будете поклоняться им. 17Тогда гнев Вечного вспыхнет против вас, и Он запрёт небеса, и не будет дождя, и земля не станет приносить урожай, и вы вскоре будете истреблены с благодатной земли, которую даёт вам Вечный.

Важность наставления потомков

18Сохраните Мои слова в сердцах и умах; навяжите их как напоминания на руку и обвяжите ими лбы. 19Учите им своих детей, говорите о них, когда сидите дома и когда идёте по дороге, когда ложитесь спать и когда встаёте. 20Напишите их на дверных косяках и на воротах своего дома, 21чтобы вы и ваши дети прожили на земле, которую Вечный клялся дать вашим предкам, столько дней, сколько небеса находятся над землёй.

22Если вы будете тщательно соблюдать все повеления, которые я даю вам, чтобы вы им следовали, – любить Вечного, вашего Бога, ходить всеми путями Его и хранить верность Ему, – 23то Вечный прогонит от вас все другие народы, и вы выселите тех, кто многочисленнее и сильнее вас. 24Любая земля, куда ступит ваша нога, станет вашей: ваша земля будет простираться от пустыни до Ливана, от реки Евфрат до Средиземного моря11:24 Букв.: «западного моря».. 25Никто не в силах будет противостоять вам. Вечный, ваш Бог, как Он и обещал вам, наведёт страх и ужас перед вами на всю землю, где бы вы ни шли.

26Смотрите, сегодня я предлагаю вам благословение и проклятие. 27Благословение, если вы будете слушаться повелений Вечного, вашего Бога, которые я даю вам сегодня. 28А проклятие, если вы не будете слушаться повелений Вечного, вашего Бога, свернёте с пути, который я указываю вам, и пойдёте за другими богами, которых не знали раньше. 29Когда Вечный, ваш Бог, введёт вас в землю, в которую вы идёте, чтобы завладеть ею, вы должны провозгласить там, на горе Геризим, благословения, а на горе Гевал – проклятия. 30Вы знаете, что эти горы находятся за Иорданом, к западу от дороги, рядом с великими деревьями Море, в земле тех ханонеев, которые живут в Иорданской долине в окрестностях Гилгала. 31Вы перейдёте Иордан, чтобы пойти и завладеть землёй, которую даёт вам Вечный, ваш Бог. Когда вы завладеете ею и будете там жить, 32то смотрите, соблюдайте все установления и законы, которые я даю вам сегодня.

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 11:1-32

Ekiragiro ky’Okwagalanga Mukama Katonda

1Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye by’akukuutira, n’ebiragiro bye, n’amateeka ge ennaku zonna. 2Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi; 3era abataalaba ku byamagero bye yakola n’ebintu byonna bye yakolera wakati mu Misiri, ku Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’eri ensi ye yonna; 4ne bye yakola eggye lya Misiri n’embalaasi zaalyo n’amagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi ag’omu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, n’agamalirawo ddala n’okutuusa leero. 5Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna Mukama bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu n’okutuuka wano mu kifo kino, 6era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira n’ab’omu maka gaabwe bonna, n’eweema ez’ensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini. 7Naye mmwe bennyini mwe mwabiraba n’amaaso gammwe, ebintu ebyo ebikulu Mukama by’azze akola.

Ekiragiro ky’Okukwatanga Amateeka

8Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere n’amaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani, 9bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ng’eyo ye nsi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva. 11Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi ey’ensozi n’ebiwonvu, enywa amazzi g’enkuba agava mu ggulu. 12Ye nsi Mukama Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.

13Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, 14kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo ey’empeke, weefunire ne wayini omusu n’amafuta. 15Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere n’okkuta.

16Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga. 17Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gy’abawa.

Abaana Abato Okuyigirizibwanga Amateeka

18Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. 19Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga. 20Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi, 21mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.

22Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako; 23kale, Mukama anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi z’amawanga ago agabasinga mmwe obunene era n’amaanyi. 24Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. 25Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.

Omukisa n’Ekikolimo

26Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo. 27Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; 28ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi. 29Mukama Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogyetwalire ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, n’ekikolimo ku lusozi Ebali. 30Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali. 31Muli kumpi okusomoka omugga Yoludaani mwefunire ensi Mukama Katonda wammwe gy’abawa. Bwe mulimala okugyetwalira, nga mwe mubeera, 32mwegenderezenga nnyo mugonderenga amateeka gonna, n’ebiragiro bye nteeka mu maaso gammwe leero.