Начало 21 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Начало 21:1-34

Рождение Исхака

1Вечный, как Он и сказал, был милостив к Сарре и выполнил Своё обещание: 2Сарра забеременела и родила Ибрахиму сына, когда тот уже состарился, в то самое время, как обещал ему Аллах. 3Ибрахим дал своему новорождённому сыну, которого родила ему Сарра, имя Исхак. 4Когда его сыну Исхаку исполнилось восемь дней, Ибрахим обрезал его, как велел ему Аллах. 5Ибрахиму было сто лет, когда у него родился сын Исхак.

6Сарра сказала:

– Аллах заставил меня смеяться; каждый, кто услышит об этом, рассмеётся вместе со мной21:6 Или: «будет смеяться надо мной». Здесь присутствует игра слов, связанная с именем Исхак («он смеётся»)., – 7и добавила: – Кто бы сказал Ибрахиму, что Сарра будет кормить грудью? Но я родила ему сына в его старости.

8Ребёнок вырос и был отнят от груди. В тот день, когда Исхак был отнят от груди, Ибрахим устроил большой пир.

Изгнание Хаджар и Исмаила, сына Ибрахима

9Сарра увидела, что сын, которого египтянка Хаджар родила Ибрахиму, насмехается над Исхаком, 10и сказала Ибрахиму:

– Прогони эту рабыню и её сына, потому что сын этой рабыни не разделит наследства с моим сыном Исхаком.

11Ибрахим был сильно огорчён, потому что это был его сын. 12Но Аллах сказал ему:

– Не огорчайся из-за мальчика и рабыни. Послушайся Сарры и сделай всё, как она говорит, потому что через Исхака ты будешь иметь обещанное потомство21:12 Букв.: «семя».. 13Но Я произведу народ и от сына рабыни, потому что и он – твой потомок.

14На другой день рано утром Ибрахим взял еды и бурдюк с водой и дал Хаджар: положил их ей на плечи и отослал её прочь вместе с ребёнком. Она отправилась в путь и блуждала в пустыне Беэр-Шева. 15Когда вода в бурдюке кончилась, она оставила мальчика под кустом 16и, отойдя, села неподалёку, на расстоянии выстрела из лука, потому что думала: «Не стану смотреть, как мальчик умирает». И сидя там поблизости, она разрыдалась.

17Аллах услышал плач мальчика, и Ангел Аллаха обратился к Хаджар с небес и сказал ей:

– Что с тобой, Хаджар? Не бойся: Аллах услышал, как плачет мальчик там, где он лежит. 18Вставай, подними мальчика и возьми его за руку, потому что Я произведу от него великий народ.

19Тут Аллах открыл ей глаза, и она увидела колодец с водой. Она пошла, наполнила бурдюк водой и напоила мальчика.

20Аллах был с мальчиком. Исмаил вырос, поселился в пустыне и стал стрелком из лука. 21Он жил в пустыне Паран, и мать взяла для него жену из Египта.

Договор между Ибрахимом и Ави-Маликом

22В то время Ави-Малик, пришедший в сопровождении Фихола, начальника его войска, сказал Ибрахиму:

– Аллах с тобой во всём, что ты делаешь. 23Поклянись же мне здесь перед Аллахом, что ты не поступишь вероломно ни со мной, ни с моими детьми, ни с моим потомством. Окажи мне и стране, в которой ты живёшь как пришелец, ту же милость, какую я оказал тебе.

24Ибрахим сказал:

– Клянусь.

25Потом Ибрахим упрекнул Ави-Малика за колодец с водой, который захватили слуги Ави-Малика. 26Но Ави-Малик сказал:

– Я не знаю, кто это сделал. Ты не говорил мне, и до сего дня я не слышал об этом.

27Ибрахим привёл мелкий и крупный скот и дал Ави-Малику, и они заключили союз. 28Ибрахим отделил из стада семь молодых овец, 29и Ави-Малик спросил Ибрахима:

– Что означают эти семь молодых овец, которых ты отделил особо?

30Он ответил:

– Прими от меня семь этих молодых овец как свидетельство того, что я выкопал этот колодец, и он мой.

31Вот почему то место было названо Беэр-Шева («колодец семи, колодец клятвы»): ведь они оба дали там клятву.

32Заключив договор в Беэр-Шеве, Ави-Малик и Фихол, начальник его войска, вернулись на землю филистимлян. 33Ибрахим посадил в Беэр-Шеве тамариск и призвал там имя Вечного, Кто есть Бог навеки. 34Ибрахим жил на земле филистимлян долгое время.

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 21:1-34

Okuzaalibwa kwa Isaaka

1Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu, era n’akolera Saala kye yasuubiza. 2Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Katonda kye yamugamba. 3Ibulayimu n’atuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka. 4Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira. 5Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa.

6Saala n’agamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.” 7Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”

Agali ne Isimayiri Bagobwa

8Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.21:8 Abaana baggyibwanga ku mabeere oluvannyuma lw’emyaka ebiri oba esatu, era gwabanga mukolo munene ddala 9Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka. 10N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”

11Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. 12Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. 13Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.” 14Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.

Agali ne Isimayiri mu Ddungu

15Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti. 16Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.

17Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. 18Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”

19Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi.

20Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa. 21Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri.

Ibulayimu Alagaana n’Abimereki

22Mu kiseera ekyo Abimereki ng’ali ne Fikoli omukulu w’eggye lye n’agamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli ky’okola: 23kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana w’omwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bw’olinkola nze n’ensi mw’ozze.”

24Ne Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nkulayiridde.”

25Awo Ibulayimu ne yeemulugunya eri Abimereki olw’oluzzi lwe abaddu be lwe baamunyagako. 26Abimereki n’amugamba nti, “Simanyi n’omu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lw’okintegeezeezza olwa leero.” 27Awo Ibulayimu n’addira endiga n’ente n’abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.

28Awo Ibulayimu n’ayawulako endiga enduusi musanvu okuva mu kisibo kye. 29Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?” 30N’amuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti nze nasima oluzzi olwo.”

31Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beeruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira. 32Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu w’eggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti.

33Ibulayimu n’asimba omuti omumyulimu mu Beeruseba n’akaabiririra eyo erinnya lya Mukama, Katonda Ataggwaawo. 34Ibulayimu ne yeeyongera okutambulatambula mu nsi y’Abafirisuuti okumala ennaku nnyingi.