Johannesʼ Åbenbaring 14 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

Johannesʼ Åbenbaring 14:1-20

Lammet og den nye sang fra de 144.000

1Derefter så jeg, at Lammet pludselig stod på Zions bjerg. Sammen med det så jeg 144.000, som havde Lammets navn og dets Fars navn skrevet på panden. 2Så hørte jeg en buldren fra Himlen, der lød som et mægtigt vandfald eller en vedvarende torden. Det var som en utrolig mængde af harpespillere, 3der spillede og sang foran Guds trone, de fire levende væsener og de 24 medregenter. Det var en ny sang, som kun de 144.000, der var blevet løskøbt fra jorden, kunne lære. 4Det er dem, som ikke er blevet urene ved at dyrke afguder. De er uskyldsrene som jomfruer. Det er dem, der følger Lammet, hvor det end går. De er løskøbt ud af menneskeheden som den første høst for Gud og for Lammet. 5Der kommer ikke et usandt ord fra deres mund, og der er intet at udsætte på dem.

De tre engles budskab til hele jordens befolkning

6Derefter så jeg en engel flyve rundt på himlen. Den forkyndte det evige budskab om tro på Kristus på ethvert sprog til alle folkeslag over hele jorden. 7„Giv Gud den ære, der tilkommer ham,” råbte englen. „Dommens time er kommet. Bøj jer for ham, der skabte himlen og jorden, havet og alle vandkilderne.”

8Endnu en engel fulgte efter. Han råbte: „Hun er faldet! Det store Babylon, som forførte alle nationerne til at drikke af sin berusende og besnærende vin, er faldet.”

9En tredje engel fulgte efter, og han råbte: „De, der tilbeder uhyret og dets statue og tager imod dets mærke på panden eller på hånden, 10vil få Guds vrede at føle i fuldt mål. De vil opleve en nådesløs straf, hvor de bliver pint i ild og svovl for øjnene af de hellige engle og Lammet. 11Røgen fra deres pinested vil i al evighed stige op, og hverken dag eller nat vil der være nogen lindring for dem, der tilbeder uhyret og dets statue, og som tager imod dets mærke.”

12Men for alle dem, der tilhører Gud, dem, der holder fast ved hans befalinger og troen på Jesus, gælder det om at være udholdende.

13Så hørte jeg en stemme fra Himlen sige: „Skriv: ‚Velsignede er alle de, der fra nu af dør i troen på deres Herre.’ Ja, siger Ånden, så kan de få lov til at hvile ud efter den hårde kamp, for deres gerninger taler deres sag.”

Jordens høst, et introduktionsbillede til Guds sidste strafudmåling

14Derefter så jeg pludselig en hvid sky, og på skyen sad en skikkelse, som lignede et menneske.14,14 Eller: „en menneskesøn”. På hebraisk er „menneskesøn” et udtryk, der betyder „menneske”. Han havde en guldkrone på hovedet og en skarp segl i hånden. 15En anden engel kom ud fra den himmelske helligdom og råbte til ham, der sad på skyen: „Sving din segl over jorden og høst. Tiden er inde, for kornet er klar til høst.” 16Han, som sad på skyen, svang sin segl over jorden, og jordens korn blev høstet.

17Bagefter kom endnu en engel ud fra helligdommen med en skarp segl i hånden. 18En engel mere kom til syne, denne gang fra alteret, og han havde magt over ilden. Han råbte til englen med den skarpe segl: „Brug din segl og skær klaserne af jordens vinstok, for druerne er klar til høst.” 19Så svang englen sin segl over jorden, skar druerne af jordens vinstok og kastede dem i Guds vredes mægtige persekar. 20Druerne blev trådt i persekarret uden for byen, og fra karret strømmede der en flod af blod, der var 1.600 stadier14,20 De 1.600 stadier svarer til knap 300 km. Da 4 er menneskehedens og jordens tal, er det sandsynligt, at 4x4x100 har symbolsk betydning og står for det rent menneskelige uden guddommeligt islæt. 3 er tallet for det guddommelige og himmelske. lang og så dyb, at en hest ville synke i til halsen.

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 14:1-20

Oluyimba lwa Banunule

1Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo. 2Ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga liyira ng’ekiyiriro eky’amazzi amangi n’okubwatuka kw’eggulu kwali kw’amaanyi nnyo. Eddoboozi eryo lyali ng’okuyimba okw’abayimbi nga bakuba n’ennanga zaabwe. 3Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi. 4Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga. Baanunulibwa mu bantu ab’omu nsi ne beewaayo ng’ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’Endiga. 5Si ba bulimba era tebaliiko kya kunenyezebwa.

Bamalayika Abasatu

6Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu. 7N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi zonna.”

8Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.”

9Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo, 10oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga. 11Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo. 12Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa.”

13Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.”

“Balina omukisa ddala,” bw’ayogera Omwoyo. “Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.”

Okukungula kw’Ensi

14Ne ndaba, era laba, ekire ekyeru era nga kiriko akituddeko eyali afaanana ng’Omwana w’Omuntu eyalina engule eya zaabu ku mutwe gwe era ng’akutte ekiwabyo ekyogi mu mukono gwe. 15Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.” 16Bw’atyo eyali atudde ku kire n’awuuba ekiwabyo kye era n’akungula ensi.

17Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu ey’omu ggulu era naye ng’alina ekiwabyo ekyogi. 18Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.” 19Bw’atyo malayika n’awuuba ekiwabyo ekyogi ku nsi, n’akuŋŋaanyiza ebibala ebyo mu ssogolero ly’obusungu bwa Katonda. 20Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).