Dommerbogen 13 – BPH & LCB

Bibelen på hverdagsdansk

Dommerbogen 13:1-25

Samsons fødsel

1Israels folk gjorde igen, hvad der var ondt i Herrens øjne. Så udleverede han dem til filistrene, der undertrykte dem i 40 år.

2På den tid boede der en mand ved navn Manoa fra Dans stamme i byen Zora. Hans kone kunne ikke blive gravid, så de havde ingen børn. 3En dag viste Herrens engel sig for Manoas kone og sagde til hende: „Du har aldrig kunnet få børn, men du vil snart blive gravid og føde en søn! 4Du må ikke drikke vin eller øl eller spise kød fra noget urent dyr.13,4 I 3.Mos. 11 omtales en række dyr, som ikke må spises, da de betragtes som urene dyr. 5Du må heller ikke klippe din søns hår, for han skal være naziræer og særligt indviet til at tjene Gud fra fødslen af. Han skal tage de indledende skridt til at befri Israel fra filistrenes undertrykkelse.”

6Kvinden gik straks til sin mand og sagde: „En mand fra Gud viste sig for mig. Han så ud som en Herrens engel, frygtindgydende! Jeg spurgte ikke, hvor han kom fra, og han sagde ikke, hvad han hed. 7Men han sagde: Du skal blive gravid og føde en søn! Du må ikke drikke vin eller øl eller spise noget, der er ceremonielt urent. Drengen skal nemlig være naziræer og særligt indviet til Gud fra fødslen af og indtil han dør.”

8Da bad Manoa til Gud: „Herre, lad dit sendebud komme tilbage til os og forklare os, hvordan vi skal opdrage den dreng, du vil give os.” 9Gud hørte hans bøn, og englen viste sig igen for Manoas kone, mens hun sad ude på marken. Hendes mand var der ikke, 10så hun løb straks hjem til ham og sagde: „Nu er han der igen, den mand, som viste sig for mig forleden!”

11Manoa skyndte sig med sin kone og spurgte manden: „Var det dig, der talte til min kone forleden?” „Ja, det var mig,” svarede han. 12„Når nu det sker, som du har lovet, hvordan skal vi så opdrage drengen?” 13-14Herrens engel svarede: „Din kone skal gøre, som jeg sagde. Hun må hverken spise druer eller rosiner eller drikke vin eller øl, og hun må ikke spise noget, der er ceremonielt urent.”

15-16Så sagde Manoa: „Vi vil gerne slagte et gedekid og give dig et måltid mad, hvis du vil vente lidt.” Englen svarede: „Selvom jeg venter, vil jeg ikke spise jeres mad. Men hvis I vil ofre et gedekid, så giv det som et brændoffer til Herren.” (Det var ikke gået op for Manoa, at det virkelig var en engel).

17„Sig os dit navn,” fortsatte Manoa, „så vi kan ære dig og fortælle om dig til andre, når dit ord er gået i opfyldelse, og drengen er født.” 18„Hvorfor spørger du om det?” svarede englen. „Mit navn er overnaturligt.”

19Derefter tog Manoa et gedekid og noget korn og ofrede det til Herren på en klippe. For øjnene af Manoa og hans kone gjorde Herren en overnaturlig ting: 20Da flammerne slog op fra alteret mod himlen, steg englen opad midt i flammerne. Da Manoa og hans kone så det, faldt de på knæ med ansigtet mod jorden i tilbedelse. 21Men englen forsvandt og viste sig aldrig for dem igen. Da gik det op for Manoa, at det var Gud selv i form af en engel. 22„Vi har set Gud!” udbrød han. „Det er den visse død!” 23Men hans kone svarede: „Hvis Herren ville slå os ihjel, ville han da ikke have taget imod vores brændoffer eller vist sig for os og fortalt os den vidunderlige nyhed, at vi vil få en søn!”

24Da hun senere fødte en søn, kaldte hun ham Samson. Drengen voksede op, og Herren velsignede ham. 25Og Guds Ånd begyndte at komme over ham med styrke og kraft ved Dans Lejr13,25 På hebraisk: Mahane-Dan mellem Zora og Eshtaol.

Luganda Contemporary Bible

Balam 13:1-25

Okuzaalibwa kwa Samusooni

1Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama kyeyava abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka amakumi ana. 2Ne wabaawo omusajja ow’e Zola, ow’omu kika ky’Abadaani, erinnya lye Manowa, eyalina mukazi we nga mugumba. 3Malayika wa Mukama Katonda n’alabikira omukazi n’amugamba nti, “Laba, kaakano, oli mugumba era atazaalanga ku mwana, naye oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi. 4Laba nga tonywa envinnyo, newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. 5Kubanga, laba, oliba olubuto n’ozaala omwana wabulenzi, era tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba Muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”

6Awo omukazi n’agenda n’ategeeza bba, ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gy’avudde, ate era naye tambulidde linnya lye. 7Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga envinnyo newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era bw’atyo bw’aliba ennaku ez’obulamu bwe zonna.’ ”

8Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Ayi Mukama wange, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.” 9Katonda n’awulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda n’akomawo eri omukazi, n’amusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye. 10Awo omukazi n’ayanguwa n’adduka n’ategeeza bba ng’agamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”

11Manowa n’agolokoka n’agoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja n’amugamba nti, “Ggwe musajja eyayogera eri mukazi wange?” Malayika n’amuddamu nti, “Ye nze.” 12Manowa n’amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, biragiro ki bye tuligoberera nga tukuza omulenzi?” 13Malayika wa Mukama Katonda n’addamu Manowa nti, “Ebyo byonna bye nagamba mukazi wo ateekwa okubikola. 14Mukazi wo tateekwa kulya kibala ekiva mu zabbibu, newaakubadde okunywa envinnyo, newaakubadde okunywa ekitamiiza, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Ateekwa okukola buli kintu kye namulagira.” 15Awo Manowa n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Sigala wano naffe, tukuteekereteekere akabuzi akato.” 16Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama. 17Awo Manowa n’abuuza malayika wa Mukama Katonda nti, “Erinnya lyo ggwe ani, ekigambo ky’oyogedde bwe kirituukirira tulyoke tukuseemu ekitiibwa?”

18Malayika wa n’amuddamu nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Lisukka okutegeera.” 19Awo Manowa n’addira akabuzi akato, n’ekiweebwayo eky’empeke, n’abiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Mukama n’akola eky’ekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba. 20Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda n’akkira mu muliro gw’ekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ng’obwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka. 21Malayika wa Mukama bw’ataddayo kweraga gye bali, Manowa ne mukazi we ne bategeera ng’abadde malayika wa Mukama Katonda.

22Manowa n’agamba mukazi we nti, “Tugenda kufa kubanga tulabye Katonda.” 23Naye mukazi we n’amugamba nti, “Singa Mukama Katonda yabadde wa kututta, teyandisiimye kiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’empeke okuva gye tuli, newaakubadde okutulaga ebintu bino byonna, wadde okututegeeza kino.”

24Awo omukazi n’azaala omwana wabulenzi, n’amutuuma Samusooni. Omwana n’akula, Mukama Katonda n’amuwa omukisa. 25Omwoyo wa Mukama Katonda n’atandika okukolera mu Samusooni ng’ali mu Makanedani ekiri wakati w’e Zola ne Esutaoli.