Josué 15 – BDS & LCB

La Bible du Semeur

Josué 15:1-63

Le territoire de la tribu de Juda

1Le territoire que le tirage au sort attribua aux familles de la tribu de Juda s’étendait au sud jusqu’à la frontière d’Edom dans le désert de Tsîn vers le Néguev à l’extrême sud. 2Leur frontière méridionale partait de la baie qui se trouve à la pointe de la mer Morte, face au Néguev, 3et passait au sud de la montée des Scorpions pour aller en direction de Tsîn, passer au sud de Qadesh-Barnéa, et remonter par Hetsrôn vers Addar, d’où elle tournait en direction de Qarqaa. 4De là, elle passait par Atsmôn et débouchait au torrent d’Egypte pour aboutir à la mer Méditerranée. Telle est votre frontière méridionale.

5A l’est, la frontière était constituée par la mer Morte jusqu’à l’embouchure du Jourdain. Au nord, elle partait de la baie qui est à l’embouchure du Jourdain 6et remontait vers Beth-Hogla pour passer au nord de Beth-Araba jusqu’à la pierre dite de Bohân, l’un des fils de Ruben. 7La frontière montait ensuite vers Debir, depuis la vallée d’Akor, puis se dirigeait au nord vers Guilgal15.7 Un Débir différent de celui de Jos 10.38-39 et un Guilgal à ne pas confondre avec celui de 4.19-20 près de Jéricho., en face de la montée d’Adoummim du côté sud du torrent. Puis elle passait près des sources d’Eyn-Shémesh et débouchait sur Eyn-Roguel. 8Alors elle remontait par la vallée de Ben-Hinnom sur le flanc sud de la montagne des Yebousiens où se trouve Jérusalem, pour s’élever vers le sommet situé en face à l’ouest de la vallée de Hinnom, et à l’extrémité nord de la plaine des Rephaïm. 9De ce sommet, elle s’incurvait vers la source de Nephtoah et se dirigeait vers les villes de la montagne d’Ephrôn avant de tourner en direction de Baala, c’est-à-dire Qiryath-Yearim. 10De là, elle tournait du côté ouest vers le mont Séir et longeait le versant nord de la montagne des Forêts – ou mont Kesalôn – pour redescendre à Beth-Shémesh et passer à Timna. 11De là, elle gagnait le versant nord d’Eqrôn, et s’incurvait vers Shikrôn, passait par le mont Baala puis à Yabnéel, pour déboucher sur la mer Méditerranée. 12La mer Méditerranée constituait la frontière ouest du territoire attribué aux familles de la tribu de Juda.

Caleb conquiert son domaine

13Caleb, fils de Yephounné, reçut une part du territoire de Juda, comme l’Eternel l’avait ordonné à Josué. On lui donna Hébron qui s’appelait Qiryath-Arba, du nom d’Arba, l’ancêtre d’Anaq15.13 Pour les v. 13-19, voir Jg 1.10-15.. 14Caleb en déposséda les trois descendants d’Anaq : Shéshaï, Ahimân et Talmaï. 15De là, il partit attaquer les habitants de Debir – qui s’appelait autrefois Qiryath-Sépher.

16Caleb promit sa fille Aksa en mariage à celui qui battrait et prendrait Qiryath-Sépher. 17Son neveu Otniel, fils de son frère Qenaz, s’en rendit maître, et Caleb lui donna sa fille Aksa en mariage. 18Lorsqu’elle fut arrivée auprès de son mari, elle l’engagea à demander un certain champ à son père Caleb. Puis elle sauta de son âne, et Caleb lui demanda : Quel est ton désir ?

19Elle lui répondit : Accorde-moi un cadeau. Puisque tu m’as établie dans une terre aride, donne-moi aussi des points d’eau !

Et Caleb lui donna les sources supérieures et les sources inférieures. 20Tel est le patrimoine de la tribu de Juda pour ses familles.

Les villes de Juda

21Voici quelles étaient les villes situées dans la partie méridionale du territoire de Juda, près de la frontière d’Edom, dans le Néguev ; Qabtséel, Eder, Yagour, 22Kina, Dimôna, Adada, 23Qédesh, Hatsor, Itân, 24Ziph, Télem, Bealoth, 25Hatsor-Hadatta, Qeriyoth-Hetsrôn, appelée aussi Hatsor, 26Amam, Shema, Molada, 27Hatsar-Gadda, Heshmôn, Beth-Paleth, 28Hatsar-Shoual, Beer-Sheva, Bizyotya15.28 Au lieu de Bizyotya, l’ancienne version grecque et Né 11.27 ont : et les localités voisines., 29Baala, Iyim, Atsem, 30Eltolad, Kesil, Horma, 31Tsiqlag, Madmanna, Sansanna, 32Lebaoth, Shilhim, Aïn et Rimmôn : soit en tout : vingt-neuf villes et les villages qui en dépendent.

33Dans le Bas-Pays se trouvaient les villes suivantes15.33 Cette région de la plaine côtière située entre la Judée montagneuse et la Philistie ne sera en grande partie occupée par Israël qu’après la victoire de David. : Eshtaol, Tsorea, Ashna, 34Zanoah, Eyn-Gannim, Tappouah, Enam, 35Yarmouth, Adoullam, Soko, Azéqa, 36Shaaraïm, Aditaïm, Guedéra et Guedérotaïm : soit quatorze villes avec les villages qui en dépendent. 37Tsenân, Hadasha, Migdal-Gad, 38Dileân, Mitspé, Yoqtéel, 39Lakish, Botsqath, Eglôn, 40Kabbôn, Lahmas, Kitlish, 41Guedéroth, Beth-Dagôn, Naama et Maqqéda, soit seize villes avec les villages qui en dépendent. 42Libna, Eter, Ashân ; 43Yiphtah, Ashna, Netsib, 44Qeïla, Akzib et Marésha : soit neuf villes et les villages qui en dépendent. 45Il y avait aussi Eqrôn avec les villes qui en dépendaient et ses villages. 46Toutes les villes et tous les villages aux alentours d’Ashdod, situés entre Eqrôn et la mer, 47Ashdod et Gaza avec les villes qui en dépendaient et leurs villages jusqu’au torrent d’Egypte et jusqu’à la côte de la Méditerranée.

48Dans la région montagneuse15.48 La région montagneuse au sud de Jérusalem., il y avait les villes de Shamir, Yattir, Soko, 49Danna, Qiryath-Sanna appelée aussi Debir, 50Anab, Eshtemo, Anim, 51Goshen, Holôn et Guilo : soit onze villes avec les villages qui en dépendent. 52Il y avait de plus : Arab, Douma, Esheân, 53Yanoum, Beth-Tappouah, Aphéqa, 54Houmeta, Qiryath-Arba, c’est-à-dire Hébron, et Tsior : soit neuf villes et les villages qui en dépendent, 55Maôn, Karmel, Ziph, Youtta, 56Jizréel, Yoqdeam, Zanoah, 57Qaïn, Guibéa et Timna : dix villes et les villages qui en dépendent. 58Halhoul, Beth-Tsour, Guedor, 59Maarath, Beth-Anoth et Elteqôn : six villes et les villages qui en dépendent. 60Qiryath-Baal, appelée aussi Qiryath-Yearim, et Rabba : deux villes et les villages qui en dépendent. 61Dans le désert15.61 La région calcaire et stérile, à l’est et au sud de Jérusalem, qui borde la mer Morte. étaient situées les villes de Beth-Araba, Middin, Sekaka, 62Nibshân, Ir-Hammélah et Eyn-Guédi : six villes et les villages qui en dépendent.

63Les descendants de Juda ne réussirent pas à déposséder les Yebousiens qui habitaient à Jérusalem, de sorte qu’ils y vivent encore aujourd’hui avec les gens de Juda.

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 15:1-63

Ensalo za Yuda

1Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.

2N’ensalo yaabwe ey’oluuyi olwo okuva ku Nnyanja ey’Omunnyo w’eva, ku kikono ekitunudde mu bukiikaddyo; 3n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka; 4n’eyita ku Azumoni n’ekoma ku mugga ogw’e Misiri, n’eryoka esibira ku nnyanja. Eno ye yali ensalo yaabwe ey’obukiikaddyo.

5N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo.

N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu. 6N’eyambuka n’eyita ku Besukogula n’eyita ku luuyi lw’ebuvanjuba bwa Besualaba n’eyambuka okutuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni. 7Era n’erinnya ku Debiri okuva mu kiwonvu Akoli, n’egenda ku luuyi olw’obukiikakkono, n’edda e Girugaali emitala w’ekkubo eryambuka ku Adummimu, ekiri emitala w’omugga mu bukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ku mazzi ag’e Ensemesi, n’esala n’ekoma ku Enerogeri. Awo n’eryoka eyita ku kiwonvu kya Kinomu ku luuyi lw’ebugwanjuba ekyali ku nkomerero ey’ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw’obukiikakkono. 8Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono; 9ne yeeyongera okuva ku ntikko y’olusozi n’etuuka ku luzzi olw’amazzi ga Nefutoa, ne yeeyongerayo n’etuuka ku bibuga eby’oku lusozi Efuloni, n’etuuka ku Baala, ye Kiriyasuyalimu, 10n’ewetamu okuva e Baala ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku lusozi Sayiri n’eyita n’etuuka ku mabbali g’olusozi Yealimu ku luuyi olw’omu bukiikakkono, ye Kyesaloni, n’ekka ku Besusemesi, n’eyita ku Timuna, 11n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.

12Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo.

Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Kalebu

13Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki. 14Kalebu n’agobamu abaana abasatu aba Anaki: Sesayi ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki. 15N’ava eyo n’alumba abaali mu Debiri, edda eyayitibwanga Kiriasuseferi. 16Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.” 17Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akikuba, Kalebu n’amuwa Akusa muwala we amuwase.

18Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?” 19N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.

Omugabo gwa Yuda

20Guno gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali.

21Ebibuga ebyali bisemberayo ddala mu bukiikaddyo mu Negebu eri ensalo ya Edomu byali,

Kabuzeeri, n’e Ederei n’e Yaguli, 22n’e Kina n’e Dimona, n’e Adada, 23n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Isunani, 24n’e Zifu, n’e Teremu n’e Beyaloosi, 25n’e Kazolukadatta, n’e Keriosukezulooni, ye Kazoli, 26n’e Amamu n’e Sema, n’e Molada, 27n’e Kazalugadda n’e Kesuboni, n’e Besupereti 28n’e Kazalusuwali, n’e Beeruseba n’e Biziosia 29n’e Baala n’e Yimu, n’e Ezemu, 30n’e Erutoladi n’e Kyesiri n’e Koluma, 31n’e Zikulagi, n’e Madumanna, n’e Samusanna, 32n’e Lebaosi, n’e Sirukimu, n’e Ayini, n’e Limmoni. Ebibuga byonna awamu amakumi abiri mu mwenda, n’ebyalo byabyo.

33Era ne mu nsi ey’ensenyi Esutaoli, n’e Zola, n’e Asuna, 34n’e Zanowa n’e Engannimu, n’e Tappua, n’e Enamu, 35n’e Yalamusi n’e Adulamu, n’e Soko, n’e Azeka 36n’e Saalayimu, n’e Adisaimu, n’e Gedera, n’e Gederosaimu, ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.

37Zenani, n’e Kadasa, n’e Migudalugadi, 38n’e Dirani, n’e Mizupe, n’e Yokuseeri, 39n’e Lakisi, n’e Bozukasi, n’e Eguloni, 40n’e Kabboni, n’e Lamamu, n’e Kitulisi, 41n’e Gederosi, Besudagoni, n’e Naama, n’e Makkeda, ebibuga kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.

42Libuna n’e Eseri, n’e Asani, 43n’e Ifuta n’e Asuna, n’e Nezibu, 44n’e Keira, n’e Akuzibu, n’e Malesa, ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

45Ekuloni n’ebibuga byamu n’ebyalo byakyo, 46okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, ebibuga byonna ebiriraanye Asudodi n’ebyalo byabyo; 47Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.

48Ne mu nsi ey’ensozi,

Samiri, n’e Yattiri, n’e Soko, 49ne Danna, ne Kiriasusanna, ye Debiri, 50ne Anabu, n’e Esutemoa, n’e Animu, 51n’e Goseni, n’e Koloni, n’e Giro, ebibuga kkumi na kimu n’ebyalo byabyo.

52Alabu, n’e Duma, n’e Esani, 53n’e Yanimu, n’e Besutappua, n’e Afeka, 54n’e Kumuta n’e Kiriasualuba, ye Kebbulooni, n’e Zioli ebibuga mwenda n’ebyalo byabyo.

55Mawoni, n’e Kalumeeri, n’e Zifu, n’e Yuta, 56n’e Yezuleeri, n’e Yokudeamu, n’e Zanoa, 57Kaini, n’e Gibea, n’e Timuna, ebibuga kkumi n’ebyalo byabyo.

58Kalukuli, Besuzuli, n’e Gedoli; 59n’e Maalasi, n’e Besuanosi, n’e Erutekoni, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

60Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, n’e Laaba ebibuga bibiri n’ebyalo byabyo.

61Mu ddungu:

Besualaba, n’e Middini, n’e Sekaka, 62n’e Nibusani, n’ekibuga eky’omunnyo, n’e Engedi, ebibuga mukaaga n’ebyalo byabyo.

63Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu; Abayebusi ne babeera wamu n’abaana ba Yuda mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.