Exode 29 – BDS & LCB

La Bible du Semeur

Exode 29:1-46

Sur l’investiture d’Aaron et de ses fils

1Voici comment tu procéderas à l’égard d’Aaron et de ses fils pour les consacrer à mon service comme prêtres.

Tu prendras un jeune taureau et deux béliers sans défaut, 2du pain sans levain, des gâteaux sans levain pétris à l’huile et des galettes sans levain arrosées d’huile, faites de fleur de farine de froment. 3Tu les mettras tous dans la même corbeille pour les apporter avec le taureau et les deux béliers.

4Tu feras approcher Aaron et ses fils de l’entrée de la tente de la Rencontre et tu les laveras à l’eau. 5Puis tu prendras les vêtements sacrés et tu feras endosser à Aaron la tunique, la robe de l’éphod, l’éphod et le pectoral, et tu le ceindras avec la ceinture de l’éphod. 6Tu le coifferas du turban sur lequel tu fixeras le diadème de consécration. 7Ensuite, tu prendras l’huile d’onction et tu la répandras sur sa tête pour l’oindre. 8Tu feras approcher ses fils et tu les revêtiras de leurs tuniques. 9Tu ceindras Aaron et ses fils d’une ceinture et tu les coifferas de turbans. Ainsi tu conféreras l’investiture à Aaron et à ses fils, et le sacerdoce leur appartiendra en vertu d’une ordonnance en vigueur à perpétuité.

10Tu amèneras le taureau devant la tente de la Rencontre ; Aaron et ses fils poseront leurs mains sur la tête du taureau 11que tu égorgeras ensuite en ma présence à l’entrée de la tente de la Rencontre. 12Tu prendras de son sang et tu en appliqueras avec ton doigt sur les cornes de l’autel. Tu répandras tout le reste du sang sur le socle de l’autel. 13Puis tu prendras toute la graisse qui recouvre les entrailles, ainsi que le dessus du foie et les deux rognons avec la graisse qui les entoure et tu feras brûler le tout sur l’autel. 14Mais tu brûleras la chair du taureau, sa peau et ses excréments à l’extérieur du camp. C’est un sacrifice pour le péché.

15Ensuite tu prendras le premier bélier, Aaron et ses fils poseront leurs mains sur sa tête. 16Tu l’égorgeras et tu aspergeras de son sang sur tous les côtés de l’autel. 17Puis tu le découperas en morceaux, tu laveras ses entrailles et ses pattes et tu les disposeras sur les quartiers de viande et sur sa tête. 18Tu brûleras tout le bélier sur l’autel : c’est un holocauste29.18 Le terme français holocauste vient d’un mot grec qui signifie : « entièrement brûlé ». On ignore le sens du mot hébreu correspondant. Voir Lv 1. offert à l’Eternel, un sacrifice à l’odeur apaisante, consumé par le feu pour l’Eternel.

19Enfin, tu prendras le second bélier, Aaron et ses fils poseront leurs mains sur sa tête. 20Tu l’égorgeras et tu prendras de son sang pour l’appliquer sur le lobe de l’oreille droite d’Aaron et de ses fils, sur le pouce de leur main droite et sur le gros orteil de leur pied droit, puis tu aspergeras de sang les quatre faces de l’autel. 21Tu prendras du sang qui sera sur l’autel, et de l’huile d’onction, et tu en aspergeras Aaron et ses vêtements, ses fils et leurs vêtements. Ainsi, lui et ses fils ainsi que leurs vêtements seront consacrés.

22Tu prendras la graisse du bélier, sa queue, la graisse qui recouvre les entrailles, le dessus du foie, les deux rognons et la graisse qui les entoure, ainsi que le gigot droit – car il s’agit d’un bélier d’investiture. 23Tu prendras aussi une miche de pain, un gâteau à l’huile et une galette prélevée dans la corbeille des pains sans levain déposée devant l’Eternel. 24Tu placeras le tout dans les mains d’Aaron et de ses fils et tu les leur feras offrir à l’Eternel avec un geste de présentation. 25Ensuite, tu les reprendras de leurs mains et les feras brûler sur l’autel au-dessus de l’holocauste, en sacrifice à l’odeur apaisante, consumé par le feu, pour l’Eternel.

26Tu prendras la poitrine du bélier pour la consécration d’Aaron et tu l’offriras à l’Eternel avec le geste de présentation. Ce morceau te reviendra comme ta part. 27Tu consacreras la poitrine qui aura été présentée à l’Eternel et le gigot provenant du bélier d’investiture pour Aaron et pour ses fils. 28Cette contribution des Israélites appartiendra à Aaron et à ses fils selon une ordonnance en vigueur à perpétuité, car c’est un prélèvement sur les offrandes des Israélites, sur leurs sacrifices de communion pour l’Eternel. 29Les vêtements sacrés d’Aaron reviendront après lui à ses descendants, qui les porteront lorsqu’on leur conférera l’onction pour les investir de leur charge. 30Celui de ses fils qui lui succédera comme prêtre et qui pénétrera dans la tente de la Rencontre pour officier dans le lieu saint, les portera pendant sept jours.

31Puis tu prendras le bélier de l’investiture et tu en feras cuire la viande dans un lieu saint. 32Aaron et ses fils mangeront la viande du bélier et le pain qui est dans la corbeille à l’entrée de la tente de la Rencontre. 33Ils mangeront ces offrandes par lesquelles est accompli le rite d’expiation pour leur donner l’investiture et les rendre saints. Aucun autre membre du peuple n’en mangera, car ce sont des choses saintes. 34S’il reste jusqu’au lendemain de la viande de la victime d’investiture et du pain, tu brûleras ce reste ; on ne le mangera pas, car ce sont des choses saintes.

35Tu accompliras donc pendant sept jours pour Aaron et ses fils les rites d’investiture, exactement comme je te l’ai ordonné. 36Chaque jour, tu offriras un taureau en sacrifice d’expiation pour le péché, et tu purifieras l’autel au moyen de cette expiation que tu accompliras pour lui. Ensuite, tu y répandras de l’huile d’onction pour le consacrer. 37Tu renouvelleras ces rites d’expiation pour l’autel pendant sept jours afin de le consacrer. Après cela, il sera éminemment saint et tout ce qui le touchera sera saint.

Les deux holocaustes quotidiens

38Voici ce que tu feras : chaque jour, à perpétuité, tu offriras sur l’autel deux agneaux âgés d’un an. 39L’un d’eux sera offert le matin, l’autre à la nuit tombante. 40Avec le premier agneau, tu joindras trois kilogrammes de fleur de farine pétrie avec un litre et demi d’huile fine ; puis tu verseras un litre et demi de vin comme libation29.40 En hébreu : un dizième d’épha de fleur de farine, pétrie avec un quart de hîn d’huile fine ; puis tu verseras un quart de hîn de vin…. 41Tu accompagneras le sacrifice du soir des mêmes offrandes de farine, d’huile et de vin que celui du matin. C’est un sacrifice à l’odeur apaisante consumé par le feu pour l’Eternel. 42C’est un holocauste que vous offrirez à perpétuité de génération en génération, à l’entrée de la tente de la Rencontre devant l’Eternel, à l’endroit où je vous convoquerai pour m’y entretenir avec toi.

L’Eternel : le Dieu des Israélites

43C’est là que je rencontrerai les Israélites, et ma gloire rendra ce lieu saint. 44Je consacrerai la tente de la Rencontre et l’autel, je consacrerai aussi Aaron et ses fils pour qu’ils soient mes prêtres. 45J’habiterai au milieu des Israélites et je serai leur Dieu, 46et ils sauront que c’est moi, l’Eternel, leur Dieu, qui les ai fait sortir d’Egypte pour habiter au milieu d’eux ; oui, je suis l’Eternel, leur Dieu.

Luganda Contemporary Bible

Okuva 29:1-46

Okwawula Bakabona

1“Bino by’onookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, n’endiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo. 2Era onookola mu buwunga bw’eŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole n’amafuta ag’omuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, n’obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 3Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu n’ente n’endiga ebbiri. 4Leeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, obanaaze n’amazzi. 5Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; 6omusibe n’ekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala eky’oku mutwe. 7Ddira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. 8Leeta batabani be obambaze amakooti, 9obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.

Ekiweebwayo olw’Ebibi

10“Onooleeta ente eyo ento mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe, 11n’olyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12Onoddira omusaayi ogw’ente eyo omutonotono, n’ogusiiga n’olugalo lwo ku mayembe ag’oku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi w’ekyoto. 13Onoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto. 14Naye ennyama y’ente eyo n’eddiba lyayo, n’obusa bwayo, byokere ebweru w’olusiisira. Ekyo ky’ekiweebwayo olw’ekibi.

Ekiweebwayo Ekyokye

15“Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gw’endiga emu; 16otte endiga eyo, n’oddira omusaayi gwayo n’ogumansa buli wantu ku kyoto. 17Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe, 18endiga yonna ogyokere ku kyoto. Ekyo ky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokye, eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweebwayo ku muliro eri Mukama.

Ekiweebwayo ku Kwawulibwa

19“Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo; 20onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola. 21Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe.

22“Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona. 23Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere; 24ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25Onoobibaggyako, n’obyokera ku kyoto ng’obyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama; kye kiweebwayo eri Mukama ekyokye mu muliro. 26Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 27Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be. 28Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.

29“Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga. 30Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.

Emmere ku Kwawulibwa

31“Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu; 32Alooni ne batabani be balye ku nnyama y’endiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 33Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34Era singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.

35“Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bw’onookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu; 36era buli lunaku ojja kuwaayo seddume y’ente emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, olw’okusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze. 37Ojja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa

38“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 39Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.

42“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe. 43Era awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange.

44“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona. 45Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe. 46Awo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”