Esdras 7 – BDS & LCB

La Bible du Semeur

Esdras 7:1-28

Le voyage d’Esdras à Jérusalem

1Plus tard, sous le règne d’Artaxerxès, empereur de Perse7.1 Plusieurs rois perses ont porté ce nom. Il s’agit certainement d’Artaxerxès Ier (voir note 4.7). La venue d’Esdras daterait donc de 458 av. J.-C. (voir v. 7). Les événements relatés dans ce chapitre se sont donc passés environ 60 ans après les précédents., vivait un homme nommé Esdras. Ses ancêtres en ligne directe étaient Seraya, Azaria, Hilqiya, 2Shalloum, Tsadoq, Ahitoub, 3Amaria, Azaria, Merayoth, 4Zerahya, Ouzzi, Bouqqi, 5Abishoua, Phinéas, Eléazar, fils d’Aaron le grand-prêtre.

6Cet Esdras vint de Babylone. C’était un spécialiste de la Loi possédant une connaissance approfondie de la Loi de Moïse, que l’Eternel, le Dieu d’Israël, avait donnée à son peuple. L’Eternel son Dieu était avec Esdras, si bien que l’empereur lui accorda tout ce qu’il demandait.

7La septième année7.7 Voir note v. 1. du règne d’Artaxerxès, un certain nombre d’Israélites : des prêtres et des lévites, des musiciens, des portiers et des desservants du Temple partirent pour Jérusalem. 8Esdras vint avec eux à Jérusalem au cinquième mois de la septième année du règne de l’empereur. 9Il avait fixé le départ de Babylone au premier jour du premier mois et il arriva à Jérusalem le premier jour du cinquième mois grâce à la protection bienveillante de son Dieu. 10En effet, Esdras prenait grand soin d’étudier la Loi de l’Eternel et de l’appliquer, ainsi que d’enseigner les lois et le droit aux Israélites.

Le document d’Artaxerxès remis à Esdras

11Voici la copie du document que l’empereur Artaxerxès remit à Esdras, le prêtre et spécialiste de la Loi, qui était versé dans la connaissance des lois et des commandements de l’Eternel, pour Israël :

12« Artaxerxès7.12 Les v. 12-26 sont de nouveau en araméen : ils reproduisent le document royal rédigé dans la langue diplomatique de l’époque., le roi des rois, au prêtre Esdras, spécialiste de la Loi du Dieu du ciel, etc. 13J’ai donné ordre que tous les Israélites, les prêtres et les lévites qui résident dans mon royaume et qui désirent aller à Jérusalem aillent avec toi. 14Moi, le roi et mes sept conseillers, nous t’envoyons faire une enquête dans le territoire de Juda et à Jérusalem, pour voir comment y est observée la Loi de ton Dieu qui est entre tes mains. 15Tu es également chargé d’y apporter l’argent et l’or que le roi et ses conseillers ont offerts au Dieu d’Israël qui a sa demeure à Jérusalem. 16Tu emporteras aussi tout l’argent et l’or que tu auras collecté dans toute la province de Babylone et les dons volontaires faits par le peuple et les prêtres pour le temple de leur Dieu qui est à Jérusalem. 17Avec cet argent, tu auras soin d’acheter là-bas des taureaux, des béliers, des agneaux, avec les offrandes de céréales et de vin qui doivent les accompagner, et tu les offriras sur l’autel du temple de votre Dieu à Jérusalem. 18Quant au reste de l’argent et de l’or, vous en ferez ce que toi et tes compatriotes jugerez bon de faire, conformément à la volonté de votre Dieu.

19Tu déposeras devant le Dieu de Jérusalem les ustensiles du culte qui te seront remis pour le service du temple de ton Dieu. 20Concernant les autres dépenses qu’il te sera nécessaire d’effectuer pour le temple de ton Dieu, tu les feras payer par la trésorerie royale7.20 C’est-à-dire, dans ce cas, par les impôts perçus dans les provinces à l’ouest de l’Euphrate (voir 6.8).. 21Moi, l’empereur Artaxerxès, je donne l’ordre à tous les trésoriers de la province à l’ouest de l’Euphrate de faire exactement tout ce que le prêtre Esdras, spécialiste de la Loi du Dieu du ciel, vous demandera, 22jusqu’à concurrence de 3 500 kilogrammes d’argent, 45 000 litres de blé, 4 500 litres de vin, 4 500 litres d’huile et du sel à volonté. 23On se conformera scrupuleusement à tout ce qui est ordonné par le Dieu du ciel pour qu’il ne se mette pas en colère contre mon empire et contre mes descendants.

24Enfin, nous vous notifions qu’il n’est permis de prélever ni taxe, ni impôt, ni droit de péage sur aucun des prêtres, des lévites, des musiciens, des portiers, des desservants et des serviteurs de ce temple. 25Quant à toi, Esdras, nomme, conformément aux sages instructions de la Loi de ton Dieu que tu possèdes, des juges et des magistrats chargés de rendre la justice à tous ceux qui, dans la province à l’ouest de l’Euphrate, connaissent les lois de ton Dieu. Quant à ceux qui ne les connaissent pas, tu les leur feras connaître.

26Tous ceux qui n’observent pas exactement la Loi de ton Dieu et la loi de l’empereur, seront condamnés soit à la peine capitale, soit à l’exil, soit à la confiscation de leurs biens, soit à l’emprisonnement. »

Louange

27Béni soit l’Eternel, le Dieu de nos ancêtres, qui a disposé l’empereur à donner une telle splendeur au temple de l’Eternel à Jérusalem, 28et qui m’a témoigné sa bonté dans mes rapports avec l’empereur, ses conseillers, et tous les plus hauts fonctionnaires impériaux. Ainsi fortifié parce que l’Eternel mon Dieu était avec moi, j’ai pu rassembler des chefs d’Israël pour qu’ils partent avec moi.

Luganda Contemporary Bible

Ezera 7:1-28

Ezera Akomawo e Yerusaalemi

1Awo oluvannyuma lw’ebyo, mu biro eby’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Kirukiya, 2muzzukulu wa Sallumu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Akitubu, 3muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Merayoosi, 4muzzukulu wa Zerakiya, muzzukulu wa Uzzi, muzzukulu wa Bukki, 5muzzukulu wa Abisuwa, muzzukulu wa Finekaasi, muzzukulu wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona asinga obukulu, 6n’ava e Babulooni. Yali munnyonnyozi w’amateeka mukugu mu mateeka, Mukama Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka n’amuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa Mukama Katonda we gwali wamu naye. 7Abamu ku bantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abaaweerezanga mu yeekaalu, ne bagenda wamu naye e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi.

8N’atuuka mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka oyo. 9Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye. 10Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya Mukama, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri.

Ebbaluwa Kabaka Alutagizerugizi gye yawandiikira Ezera

11Eno ye kopi ey’ebbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omusomesa, omusajja eyali omukugu mu nsonga ez’amateeka n’ebiragiro bya Mukama eri Isirayiri.

12Alutagizerugizi, kabaka wa bakabaka,

Eri Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu:

Nkulamusizza.

13Nteeka etteeka nga buli muntu ow’omu ggwanga lya Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, awulira okugenda e Yerusaalemi naawe, ayinza okugenda. 14Otumiddwa kabaka n’abakungu be omusanvu ab’oku ntikko okugenda okunoonyereza ku bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi nga mugoberera etteeka lya Katonda wammwe, lye mumanyi obulungi. 15Bwe muba nga mugenda mutwale effeeza ne zaabu kabaka n’abakungu be bye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isirayiri, atuula mu Yerusaalemi, 16awamu n’effeeza ne zaabu yonna gye muliggya mu ssaza lya Babulooni, n’ebiweebwayo eby’obuwa abantu ne bakabona bye baliwaayo ku lwa yeekaalu ya Katonda waabwe mu Yerusaalemi. 17Ensimbi ezo mulizikozesa okugula ente ennume, n’endiga ennume, n’abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byako eby’obutta, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa era munaabiweerangayo ku kyoto eky’omu yeekaalu ya Katonda wammwe mu Yerusaalemi.

18Ggwe ne baganda bo Abayudaaya, kye mulisiima okukolamu effeeza ne zaabu erifikkawo kiriva gye muli ng’okusiima kwa Katonda wammwe bwe kuli. 19Ebintu byonna ebibaweereddwa okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe mubiwangayo olw’okusinza Katonda wa Yerusaalemi. 20N’ekintu ekirala kyonna kye muliba mwetaaze okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe, kinaggyibwanga mu ggwanika lya kabaka.

21Kaakano, nze kabaka Alutagizerugizi nteeka etteeka nga ndagira abawanika bonna abali mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati okuwanga Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu, by’anaabasabanga 22n’okutuusa ku ttani ssatu n’ekitundu eza ffeeza, oba kilo enkumi bbiri mu bibiri ez’eŋŋaano, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’envinnyo, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’amafuta, oba n’omunnyo gwe baliba baagala gwonna. 23Ekintu kyonna ekyalagirwa Katonda w’eggulu, kiribaweebwa mu bungi, ku lwa yeekaalu ya Katonda w’eggulu. Kale kiki ekirimuleetera okusunguwalira kabaka ne batabani be? 24Ate era mutegeere nga temusaana kuwooza musolo, oba empooza ey’engeri yonna ku kabona yenna newaakubadde Abaleevi newaakubadde abayimbi newaakubadde abakuumi ab’oku nzigi newaakubadde abaweereza ab’omu yeekaalu newaakubadde abaddu abalala ab’omu nnyumba ya Katonda eyo.

25“Naawe, ggwe Ezera, ng’okozesa amagezi Katonda ge yakuwa, londa abaami n’abalamuzi, abanaalamulanga abantu bonna ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, abamanyi amateeka ga Katonda wo, era oyigirize n’abo abatagamanyi. 26Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, n’etteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.”

27Mukama Katonda w’abajjajjaffe atenderezebwe ayolesezza kabaka okuwa ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi ekitiibwa, 28era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’abawi b’amagezi be ab’oku ntikko, n’abakungu ba kabaka bonna, n’olw’omukono gwa Mukama Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.