Deutéronome 13 – BDS & LCB

La Bible du Semeur

Deutéronome 13:1-19

Ne suivez pas les faux prophètes !

1Vous obéirez à tout ce que je vous commande et vous l’appliquerez, sans rien y ajouter et sans rien en retrancher13.1 Voir Dt 4.2 ; Ap 22.18-19..

2Peut-être un prophète apparaîtra-t-il un jour parmi vous, ou un visionnaire qui vous donnera un signe miraculeux ou vous annoncera un prodige13.2 Pour les v. 2-6, sur les faux prophètes, voir aussi Jr 23.25-32.. 3Si le signe ou le prodige annoncé s’accomplit, et s’il vous dit : « Allons suivre d’autres dieux que vous ne connaissez pas et rendons-leur un culte », 4vous n’écouterez pas les paroles de ce prophète ou de ce visionnaire, car l’Eternel votre Dieu se servira de lui pour vous mettre à l’épreuve, afin de voir si vous l’aimez réellement de tout votre cœur et de tout votre être. 5C’est à l’Eternel votre Dieu que vous rendrez un culte, c’est lui que vous craindrez ; vous obéirez à ses commandements, vous l’écouterez, c’est à lui seul que vous rendrez un culte, et c’est à lui seul que vous vous attacherez. 6Quant à ce prophète ou ce visionnaire, il sera puni de mort pour avoir prêché la désobéissance à l’Eternel votre Dieu, qui vous a fait sortir d’Egypte et vous a libérés de l’esclavage, car il aura voulu vous entraîner hors du chemin que l’Eternel votre Dieu vous a ordonné de suivre. Ainsi, vous ferez disparaître le mal du milieu de vous.

Ne vous laissez pas entraîner par un proche !

7Si ton frère, fils de ta mère, ou ton fils ou ta fille, ou la femme que tu serres contre ton cœur, ou ton ami intime essaie de te séduire en secret en te disant : « Allons rendre un culte à d’autres dieux que ni toi ni tes ancêtres n’avez connus, 8des dieux d’entre les divinités des peuples étrangers, proches ou lointains, qui habitent d’une extrémité de la terre à l’autre », 9tu n’accepteras pas sa suggestion et tu ne l’écouteras pas ; bien plus, tu ne t’apitoieras pas sur lui, tu ne l’épargneras pas et tu ne couvriras pas sa faute. 10Au contraire, tu as le devoir de le faire périr. Ta main se lèvera la première sur lui pour le mettre à mort, puis tout le peuple t’imitera. 11Tu le lapideras pour le faire mourir13.11 Par cette exécution à coups de pierre (lapidation), chaque membre du peuple se désolidarisait du coupable et exprimait son accord avec le jugement, ainsi que sa volonté d’éradiquer le mal et de maintenir le respect de la Loi. Les témoins accusateurs jetaient les premières pierres (v. 10 ; 17.7)., parce qu’il a cherché à te détourner de l’Eternel ton Dieu qui t’a fait sortir d’Egypte où tu étais esclave. 12Tout Israël l’apprendra et sera saisi de crainte, et l’on ne recommencera pas à commettre un tel méfait au milieu de vous.

Le châtiment des Israélites infidèles

13Si vous entendez dire que, dans l’une des villes que l’Eternel ton Dieu vous donne pour y habiter, 14des vauriens13.14 Littéralement : des hommes, fils de Bélial (cf. 1 S 1.16 ; 2.12 ; 25.17). Plus tard, le mot Bélial sera utilisé comme nom de Satan (2 Co 6.15). de votre propre peuple ont entraîné les habitants en disant : « Allons rendre un culte à d’autres dieux que vous ne connaissez pas ! », 15vous ferez des recherches, vous mènerez une enquête approfondie en interrogeant les gens avec soin. Si la chose est vraie, s’il est établi qu’une telle abomination a été commise chez vous, 16vous ferez périr par l’épée tous les habitants de cette ville ainsi que le bétail. Vous la détruirez avec tout ce qu’elle contient pour la vouer à l’Eternel. 17Vous rassemblerez toutes ses richesses au milieu de la place et vous brûlerez entièrement la ville et tous ses biens pour l’Eternel votre Dieu. Elle restera pour toujours un monceau de ruines et ne sera plus jamais rebâtie. 18Vous ne mettrez la main sur rien de ce qui, voué à la malédiction, a été détruit, afin que l’ardente colère de l’Eternel s’apaise. Il vous accordera sa compassion et vous fera grâce en vous rendant nombreux, comme il l’a promis à vos ancêtres, 19si vous l’écoutez pour obéir à tous ses commandements que je vous transmets aujourd’hui et pour faire ce qu’il considère comme juste.

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 13:1-18

1Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, 2era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe b’otomanyangako), 3towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. 4Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga. 5Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, n’abanunula mu nnyumba ey’obuddu, nnabbi oyo ng’akusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw’otyo ekibi ekiri mu mmwe, bw’onookimalangamu.

6Omuntu yenna, ne bw’abanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gw’oyagala ennyo ow’okulusegere, n’akusendasendanga mu kyama ng’agamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe b’otomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako, 7bakatonda ab’abantu ababeetoolodde, ab’oku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gy’etandikira ne gy’ekoma, 8tomuwulirizanga, so by’anaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga. 9Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo. 10Onoomukubanga amayinja n’omutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 11Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe n’omu anaddangayo okukola ekibi ng’ekyo.

12Bw’owuliranga mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa okubeerangamu, 13nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu b’omu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako, 14kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo, 15kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga n’ekitala, awamu n’ebisolo byabwe bye balunda byonna. 16Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi eky’omu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna n’omunyago gwako n’omuliro, ng’ekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu eky’olubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa. 17Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa ky’onoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, n’akulaganga okwagala kwe, n’akwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, 18kubanga onoogonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, n’okolanga ebisaanidde mu maaso ga Mukama Katonda wo.