Trois jeunes Juifs dans la fournaise
La statue d’or
1Le roi Nabuchodonosor fit faire une statue d’or de trente mètres de haut et de trois mètres de large. Il la fit ériger dans la plaine de Doura, dans la province de Babylone. 2Puis il convoqua les satrapes, les préfets, les gouverneurs, les conseillers, les trésoriers, les juristes, les magistrats et tous les dirigeants des provinces, pour l’inauguration de la statue qu’il avait fait dresser3.2 La traduction de certains titres des fonctionnaires babyloniens reste incertaine.. 3Alors les satrapes, les préfets, les gouverneurs, les conseillers, les trésoriers, les juristes, les magistrats et tous les dirigeants des provinces s’assemblèrent pour l’inauguration de la statue que le roi Nabuchodonosor avait érigée et ils se tinrent debout face à la statue élevée par le roi.
4Un héraut proclama à voix forte : A vous, hommes de tous peuples, nations et langues, on vous fait savoir 5qu’au moment où vous entendrez le son du cor, du fifre, de la cithare, de la lyre, de la harpe, de la double flûte et de toutes sortes d’instruments de musique3.5 L’identification de certains de ces instruments de musique est incertaine., vous vous prosternerez devant la statue d’or que le roi Nabuchodonosor a fait ériger, et vous l’adorerez. 6Celui qui refusera de se prosterner devant elle et de l’adorer sera jeté aussitôt dans la fournaise où brûle un feu ardent.
7C’est pourquoi au moment où tous les gens entendirent le son du cor, du fifre, de la cithare, de la lyre, de la harpe, et de toutes sortes d’instruments de musique, ces hommes de tous peuples, de toutes nations et de toutes langues se prosternèrent et adorèrent la statue d’or que le roi Nabuchodonosor avait fait ériger.
Refus de l’idolâtrie
8Sur ces entrefaites, certains astrologues vinrent porter des accusations contre les Juifs. 9Ils s’adressèrent au roi Nabuchodonosor et lui dirent : Que le roi vive éternellement ! 10O roi, Sa Majesté a promulgué un édit ordonnant que tout homme se prosterne et adore la statue d’or dès qu’il entendrait le son du cor, du fifre, de la cithare, de la lyre, de la harpe, de la double flûte et de toutes sortes d’instruments de musique. 11Cet édit précise que quiconque refusera de se prosterner et d’adorer la statue sera jeté dans la fournaise où brûle un feu ardent. 12Or, il y a des hommes de Juda auxquels tu as confié l’administration de la province de Babylone, à savoir Shadrak, Méshak et Abed-Nego : ces hommes-là ne t’ont pas obéi, ô roi ; ils n’adorent pas tes dieux et ne se prosternent pas devant la statue d’or que tu as fait ériger.
13Alors Nabuchodonosor s’irrita et entra dans une grande colère ; il ordonna de faire venir Shadrak, Méshak et Abed-Nego. On les amena donc devant le roi.
14Celui-ci prit la parole et leur demanda : Est-il vrai, Shadrak, Méshak et Abed-Nego, que vous n’adorez pas mes dieux et que vous ne vous prosternez pas devant la statue d’or que j’ai érigée ? 15Maintenant, si vous êtes prêts, au moment où vous entendrez le son du cor, du fifre, de la cithare, de la lyre, de la harpe, de la double flûte et de toutes sortes d’instruments de musique, prosternez-vous et adorez la statue que j’ai faite. Si vous refusez de l’adorer, vous serez jetés aussitôt dans la fournaise où brûle un feu ardent. Et quel est le dieu qui pourrait alors vous délivrer de mes mains ?
16Shadrak, Méshak et Abed-Nego répondirent au roi : O Nabuchodonosor, il n’est pas nécessaire de te répondre sur ce point. 17Si le Dieu que nous servons peut nous délivrer de la fournaise où brûle un feu ardent, ainsi que de tes mains, ô roi, qu’il nous délivre ! 18Mais même s’il ne le fait pas, sache bien, ô roi, que nous n’adorerons pas tes dieux et que nous ne nous prosternerons pas devant la statue d’or que tu as fait ériger.
19Alors Nabuchodonosor fut rempli de fureur contre Shadrak, Méshak et Abed-Nego, et son visage devint blême. Il reprit la parole et ordonna de chauffer la fournaise sept fois plus que d’habitude.
20Puis il commanda à quelques soldats vigoureux de sa garde, de ligoter Shadrak, Méshak et Abed-Nego et de les jeter dans la fournaise ardemment chauffée. 21Aussitôt les trois hommes furent ligotés tout habillés avec leurs pantalons, leurs tuniques et leurs turbans3.21 La traduction des noms de vêtements est incertaine., et jetés dans la fournaise où brûlait un feu ardent. 22Mais comme, sur l’ordre du roi, on avait fait chauffer la fournaise au maximum, les flammes qui en jaillissaient firent périr les soldats qui y avaient jeté Shadrak, Méshak et Abed-Nego. 23Quant à Shadrak, Méshak et Abed-Nego, ils tombèrent tous les trois ligotés au milieu de la fournaise où brûlait un feu ardent.
Dieu intervient
24C’est alors que le roi Nabuchodonosor fut saisi de stupeur ; il se leva précipitamment et, s’adressant à ses conseillers, il demanda : N’avons-nous pas jeté trois hommes tout ligotés dans le feu ?
Ils répondirent au roi : Bien sûr, Majesté.
25– Eh bien, reprit le roi, je vois quatre hommes sans liens qui marchent au milieu du feu sans subir aucun dommage corporel ; et le quatrième a l’aspect d’un fils des dieux.
26Puis Nabuchodonosor s’approcha de la porte de la fournaise où brûlait un feu ardent et se mit à crier : Shadrak, Méshak et Abed-Nego, serviteurs du Dieu très-haut, sortez de là et venez ici !
Alors, Shadrak, Méshak et Abed-Nego sortirent du milieu du feu. 27Les satrapes, les préfets, les gouverneurs et les conseillers du roi se rassemblèrent autour de ces hommes : ils constatèrent que le feu n’avait eu aucun effet sur leurs corps, qu’aucun cheveu de leur tête n’avait été brûlé, que leurs vêtements n’avaient pas été endommagés et qu’ils ne sentaient même pas l’odeur du feu.
28Alors Nabuchodonosor s’écria : Loué soit le Dieu de Shadrak, de Méshak et d’Abed-Nego, qui a envoyé son ange pour délivrer ses serviteurs qui se sont confiés en lui et qui ont désobéi à mon ordre. Ils ont préféré risquer leur vie plutôt que de se prosterner et d’adorer un autre dieu que le leur. 29Voici donc ce que je décrète : Tout homme – de quelque peuple, nation ou langue qu’il soit – qui parlera d’une manière irrespectueuse du Dieu de Shadrak, de Méshak et d’Abed-Nego sera mis en pièces et sa maison sera réduite en un tas de décombres, parce qu’il n’existe pas d’autre Dieu qui puisse sauver ainsi les hommes.
30Ensuite le roi fit prospérer Shadrak, Méshak et Abed-Nego dans la province de Babylone.
Le rêve du grand arbre
31Le roi Nabuchodonosor adresse ce message à tous les peuples, à toutes les nations et aux gens de toutes langues qui habitent la terre entière : Que votre paix soit grande !
32Il m’a paru bon de vous faire connaître les signes extraordinaires et les prodiges que le Dieu très-haut a accomplis envers moi.
33« Que ses signes extraordinaires sont grands
et ses prodiges éclatants !
Son règne est un règne éternel
et sa domination ╵subsiste d’âge en âge. »
Ekibumbe kya Zaabu n’Ekikoomi ky’Omuliro
1Kabaka Nebukadduneeza n’abumbisa ekifaananyi ekya zaabu, obugulumivu mita amakumi abiri mu musanvu n’obugazi mita bbiri ne sentimita nsanvu, n’alagira kiteekebwe mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ly’e Babulooni. 2N’atumya abaamasaza, n’abaamagombolola, n’abemiruka, n’abawi b’amagezi, n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, bajje ku mukolo ogw’okuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. 3Awo abaamasaza, n’abafuzi, n’abamateeka, n’abawi b’amagezi n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, ne bakuŋŋaana ku mukolo ogw’okuwonga ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
4Awo omulanzi n’ayogerera waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mulagiddwa, mmwe abantu, n’amawanga, n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, 5bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. 6Omuntu yenna atalivuunama n’akisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.”
7Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, amawanga gonna n’ensi n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
8Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bawawaabira Abayudaaya. 9Ne bagenda eri Kabaka Nebukadduneeza ne bamugamba nti, “Wangaala, ayi kabaka! 10Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, ateekwa okuvuunama n’asinza ekifaananyi kya zaabu, 11era buli atalivuunama n’akisinza alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 12Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ez’essaza ery’e Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
13Awo Nebukadduneeza n’asunguwala nnyo n’alagira baleete Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego gy’ali; ne baleetebwa mu maaso ga kabaka. 14Nebukadduneeza n’ababuuza nti, “Ebigambo bye mpulira bituufu nti mmwe Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego temuweereza bakatonda bange, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nabumbisa? 15Kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, mwetegeke okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nabumbisa. Naye bwe mutaakisinze, ku ssaawa eyo yennyini munaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, kale tulyoke tulabe katonda oyo anaayinza okubawonya mu mukono gwange.” 16Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ayi Nebukadduneeza, tekitugwanira kwewolereza mu maaso go ku nsonga eyo. 17Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka. 18Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
19Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’amaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ng’ajjudde obuswandi. N’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase. 20N’alagira abamu ku baserikale be ab’amaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’oluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro. 21Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe eby’ekitiibwa, ne seruwale zaabwe, n’eminagiro gyabwe n’engoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 22Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga n’ekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ez’omuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego. 23Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
24Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya n’agolokoka mangu n’abuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?”
Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.”
25N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”
26Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka omuliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.”
Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. 27Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.
28Nebukadduneeza n’ayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. 29Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”
30Awo kabaka n’akuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza ery’e Babulooni.