2 Chroniques 2 – BDS & LCB

La Bible du Semeur

2 Chroniques 2:1-17

Salomon enrôle des ouvriers et commande les matériaux pour la construction du Temple

1Salomon enrôla 70 000 hommes pour le transport des matériaux, 80 000 hommes pour extraire et tailler les pierres dans la montagne et 3 600 contremaîtres pour surveiller les travaux.

2Salomon envoya des messagers à Hiram2.2 Voir 1 Ch 14.1. Hébreu : Houram, une variante du nom Hiram. De même au v. 10 et en 8.2, 18 ; 9.10, 21., le roi de Tyr, pour lui dire : Veuille faire pour moi ce que tu as fait pour mon père David, à qui tu as fourni des cèdres pour qu’il puisse se construire un palais afin d’y habiter. 3A présent, je vais bâtir un temple en l’honneur de l’Eternel, mon Dieu, et qui lui sera consacré. Nous y brûlerons devant lui des parfums aromatiques, nous y disposerons en permanence les rangées de pain qui doivent être exposés devant lui2.3 Voir Lv 24.5-9., et nous lui offrirons des holocaustes matin et soir. Nous y célébrerons les jours de repos, les nouvelles lunes et les fêtes cultuelles de l’Eternel notre Dieu. Ceci sera accompli à perpétuité en Israël. 4Le temple que je vais bâtir sera grand, car notre Dieu est plus grand que tous les dieux. 5Mais qui donc serait capable de bâtir un temple à sa mesure, alors que le ciel dans toute son immensité ne peut le contenir ? Et moi-même, qui suis-je pour ériger un temple pour l’Eternel ? Je peux tout au plus construire un lieu où l’on brûlera des sacrifices devant lui. 6Maintenant, veuille donc m’envoyer un homme expert dans le travail de l’or, de l’argent, du bronze et du fer, dans la teinture des étoffes en pourpre, en carmin et en violet, et qui s’y connaisse dans l’art de la sculpture. Il collaborera avec mes propres spécialistes en Juda et à Jérusalem, ceux que mon père David a préparés. 7Veuille aussi m’expédier du Liban des bois de cèdre, de cyprès et de santal, car je sais que tes bûcherons savent s’y prendre pour couper le bois. Mes ouvriers travailleront avec les tiens. 8Que l’on me prépare une grande quantité de bois, car le temple que je vais construire sera très grand et magnifique. 9Je donnerai à tes bûcherons 6 000 tonnes de blé, 4 000 tonnes d’orge, 900 000 litres de vin et 900 000 litres d’huile.

10Hiram, le roi de Tyr, envoya une lettre à Salomon dans laquelle il disait : « C’est parce que l’Eternel aime son peuple qu’il t’a établi roi sur lui. »

11Par ailleurs, il dit : « Béni soit l’Eternel, le Dieu d’Israël, qui a fait le ciel et la terre, de ce qu’il a donné au roi David un fils plein de sagesse, de bon sens et d’intelligence, qui bâtira un temple à l’Eternel et un palais royal pour lui-même ! 12Je t’envoie donc aussitôt un spécialiste particulièrement habile, il s’appelle Houram-Abi, 13et il est fils d’une femme de la tribu de Dan et d’un père tyrien. Il sait travailler l’or, l’argent, le bronze et le fer, la pierre et le bois ; il sait teindre les étoffes en pourpre et en violet, travailler les tissus de fin lin et de carmin. Il connaît tout l’art de la sculpture. Il saura réaliser tout projet qui lui sera confié. Il travaillera avec tes propres artisans et avec ceux de mon seigneur David, ton père. 14Maintenant, que mon seigneur fasse parvenir à ses serviteurs le blé, l’orge, l’huile et le vin dont il a parlé. 15Quant à nous, nous abattrons au Liban tous les arbres dont tu auras besoin, nous te les amènerons en radeaux par mer jusqu’à Jaffa2.15 Le port d’Israël (Jon 1.3), mentionné depuis le partage du pays (Jos 19.46), qui reste le plus grand port du pays d’Israël. d’où tu les feras transporter à Jérusalem. »

16Salomon fit le compte de tous les étrangers qui vivaient dans le pays d’Israël, après le recensement fait par son père David. Il y en avait 153 6002.16 Voir 1 Ch 22.2.. 17Il en affecta 70 000 aux transports, 80 000 comme tailleurs de pierres dans la montagne et 3 600 à la surveillance des travaux de tous ces ouvriers.

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 2:1-18

Enteekateeka z’Okuzimba Yeekaalu

1Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka. 2N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga.

3Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti,

“Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu. 4Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri.

5“Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna. 6Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?

7“Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.

8“Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo 9okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa. 10Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.”

11Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti,

“Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”

12N’ayongerako na kino nti,

Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri.

13“Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi, 14ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.

15“Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza, 16tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”

17Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga. 18N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.