Yeremiya 21:1-14, Yeremiya 22:1-30, Yeremiya 23:1-8 LCB

Yeremiya 21:1-14

Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya

Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, “Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”

Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; ggwe ennyumba ya Dawudi,

“ ‘kino Mukama ky’agamba:

Musale emisango mu bwenkanya,

mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,

obusungu bwange buleme kuvaayo

bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,

nga tewakyali n’omu abuziyiza.

Laba nkugguddeko olutalo,

ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,

ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,

mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?

Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”

Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,

era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,

gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”

bw’ayogera Mukama.

Read More of Yeremiya 21

Yeremiya 22:1-30

Omusango eri Bakabaka Ababi

Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”

Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,

“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,

ng’entikko y’olusozi Lebanooni,

ddala ddala nzija kukufuula ddungu,

ng’ebibuga ebitaliimu bantu.

Ndikusindikira abakuzikiriza,

buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,

era balitema emivule gyo egisinga obulungi

ne bagisuula mu muliro.

“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

Temukaabira kabaka afudde

oba okumukungubagira,

wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,

kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.

Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,

ebisenge bye ebya waggulu ku butali bwenkanya

abantu b’ensi ye n’abakozeseza bwereere

n’atabasasula mpeera yaabwe.

Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene

n’ebisenge ebya waggulu ebigazi ennyo.’

Kale nnaakola amadirisa amanene

nnaateekamu emivule

era nnaasiigako langi emyufu.

“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?

Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa?

Yakola ebituufu eby’obwenkanya.

Noolwekyo byonna

byamugendera bulungi.

Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu

kale byonna ne bimugendera bulungi.

Ekyo si kye kitegeeza okummanya?”

bw’ayogera Mukama.

“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe

biri ku magoba ag’obukuusa,

ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango

ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”

Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,

“Tebalimukungubagira;

‘Kikafuuwe, mukama wange!’

Kikafuuwe,

obugagga bwe!

Aliziikibwa

nga bwe baziika endogoyi,

akululwe asuulibwe ebweru w’enzigi za Yerusaalemi.”

“Genda mu Lebanooni okaabe,

leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.

Kaabira ku Abalimu,

kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.

Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga

naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’

Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,

togonderanga ku ddoboozi lyange.

Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,

n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.

Olwo okwatibwe ensonyi

oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.

Mmwe abali mu Lebanooni,22:23 lwe lubiri oluli mu Yerusaalemi

abesulira mu bizimbe eby’emivule,

nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!

Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. “Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,

ekimenyese, ekitaliiko ayagala?

Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,

basuulibwe mu nsi gye batamanyi?

Ayi ggwe ensi, ensi,

wulira ekigambo kya Katonda!

Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako

kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,

alituula ku ntebe ya Dawudi

oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

Read More of Yeremiya 22

Yeremiya 23:1-8

Ettabi Ettukuvu

“Zibasanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga z’ekisibo kyange!” bw’ayogera Mukama. Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ebikwata ku basumba abalabirira abantu bange nti, “Kubanga musaasaanyizza abantu bange ne mubagoba ne mutabalabirira, nzija kubaleetako ebibonerezo olw’ebibi bye mukoze,” bw’ayogera Mukama. “Nze kennyini nzija kukuŋŋaanya abaasigalawo ku kisibo kyange okuva mu mawanga gonna gye nabagobera, mbakomyewo mu kisibo kyabwe, gye banaabalira ebibala beeyongere obungi. Ndibawa abasumba abanaabalabirira, era tebaliddayo kutya oba kuggwaamu maanyi, era tewaabe n’omu abula,” bw’ayogera Mukama.

“Ennaku zijja,

lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,

Kabaka alikulembera n’amagezi

akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.

Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa

ne Isirayiri alibeera mu mirembe.

Lino lye linnya lye balimuyita:

Mukama Obutukuvu Bwaffe.

“Noolwekyo ennaku zijja, abantu lwe batalyogera nate nti, ‘Ddala nga Mukama bwali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu Misiri,’ bwayogera Mukama, naye bagambe nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu, eyaggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe ku bwabwe,” bw’ayogera Mukama.

Read More of Yeremiya 23