Ezeekyeri 30:1-26, Ezeekyeri 31:1-18 LCB

Ezeekyeri 30:1-26

Okukungubagira Misiri

Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Mwekaabireko mwogere nti,

“Zibasanze ku lunaku olwo”

kubanga olunaku luli kumpi,

olunaku lwa Mukama luli kumpi,

olunaku olw’ebire

eri bannaggwanga.

Ekitala kirirumba Misiri,

n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.

Bwe balifiira mu Misiri,

obugagga bwe bulitwalibwa

n’emisingi gyayo girimenyebwa.’

Obuwesiyopya, ne Puuti30:5 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.

“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Abawagira Misiri baligwa,

n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa.

Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene

baligwa n’ekitala,

bw’ayogera Mukama Katonda.

Balirekebwawo

wakati mu nsi endala ezalekebwawo,

n’ebibuga byabwe

biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.

Olwo balimanya nga nze Mukama

bwe ndikuma ku Misiri omuliro,

n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.

“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.

“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri

nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.

Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,

balireetebwa okuzikiriza ensi.

Baligyayo ebitala byabwe

ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.

Ndikaza emigga gya Kiyira,

ne ntunda ensi eri abantu ababi;

nga nkozesa bannaggwanga,

ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.

Nze Mukama nkyogedde.

“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe

ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.

Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,

era ensi yonna ndigireetako entiisa.

Ndifuula Pasulo okuba amatongo,

ne Zowani ndikikumako omuliro

ne mbonereza n’ab’omu No.

Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,

ekigo kya Misiri eky’amaanyi,

era ndimalawo n’ebibinja bya No.

Ndikuma omuliro ku Misiri,

ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,

ne No balitwalibwa omuyaga,

ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.

Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi

baligwa n’ekitala,

n’ebibuga biriwambibwa.

Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,

bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,

era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.

Alibikkibwa n’ebire

era n’ebyalo bye biriwambibwa.

Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,

bategeere nga nze Mukama.’ ”

Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”

Read More of Ezeekyeri 30

Ezeekyeri 31:1-18

Olugero olw’Omuvule gwa Lebanooni

Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti,

“ ‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?

Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni,

nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira;

ogwali omuwanvu ennyo,

nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.

Amazzi gaaguliisanga,

n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya,

n’emigga gyagyo

ne gigwetooloola wonna,

ne giweerezanga n’amatabi gaagyo

eri emiti gyonna egy’omu ttale.

Kyegwava gukula ne guwanvuwa

okusinga emiti gyonna egy’omu kibira,

n’amatabi gaagwo amanene

ne geeyongera obunene,

n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa

ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.

Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga

ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,

n’ensolo enkambwe ez’oku ttale

ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,

n’amawanga gonna amakulu

ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.

Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo,

n’amatabi gaagwo amanene,

kubanga emirandira gyagwo

gyasima awali amazzi amangi.

Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda

tegyayinza kuguvuganya,

newaakubadde emiberoosi okwenkana

n’amatabi gaagwo amanene;

n’emyalamooni nga tegifaanana

matabi gaagwo amatono,

so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda

ogugwenkana mu bulungi.

Nagulungiya n’amatabi amangi,

emiti gyonna egy’omu Adeni

egyali mu nnimiro ya Katonda

ne gigukwatirwa obuggya.

“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.

“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.

“ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.

“ ‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Read More of Ezeekyeri 31