2 ซามูเอล 1 TNCV - 2 Samwiri 1 LCB

2 ซามูเอล
Elegir capítulo 1

Thai New Contemporary Bible

2 ซามูเอล 1

ดาวิดทราบข่าวว่าซาอูลสิ้นพระชนม์

1หลังจากซาอูลสิ้นพระชนม์แล้ว ดาวิดกลับมาจากการพิชิตชาวอามาเลขและพักอยู่ที่เมืองศิกลากได้สองวัน ในวันที่สาม มีชายคนหนึ่งมาจากค่ายของซาอูล เสื้อผ้าขาดวิ่น และฝุ่นเต็มศีรษะ เขาหมอบกราบลงต่อหน้าดาวิดแสดงความเคารพ

ดาวิดถามว่า “เจ้ามาจากไหน?”

เขาตอบว่า “ข้าพเจ้าหนีมาจากค่ายของอิสราเอล”

ดาวิดถามว่า “เกิดอะไรขึ้น? บอกเราสิ”

เขาตอบว่า “ทหารของเราเตลิดหนี หลายคนถูกฆ่าตาย กษัตริย์ซาอูลและโยนาธานราชโอรสสิ้นพระชนม์แล้ว”

ดาวิดจึงถามชายหนุ่มที่มาส่งข่าวว่า “เจ้ารู้ได้อย่างไรว่ากษัตริย์ซาอูลและโยนาธานราชโอรสสิ้นพระชนม์แล้ว?”

เขาตอบว่า “ข้าพเจ้าอยู่บนภูเขากิลโบอา เห็นกษัตริย์ซาอูลทุ่มพระกายลงบนหอก รถม้าศึกของศัตรูก็ประชิดเข้ามา เมื่อพระองค์เห็นข้าพเจ้า ก็ร้องเรียกให้เข้าไปหา แล้วข้าพเจ้าทูลถามว่า ‘จะทรงให้ข้าพระบาททำสิ่งใด?’

“พระองค์ตรัสถามว่า ‘เจ้าเป็นใคร?’

“ข้าพเจ้าทูลว่า ‘เป็นชาวอามาเลขพระเจ้าข้า’

“พระองค์จึงตรัสว่า ‘มาฆ่าเราทีเถิด เราใกล้จะตายแล้ว แต่ก็ไม่ตายเสียที’

10 “ข้าพเจ้าจึงปลงพระชนม์ เพราะเห็นว่าจะไม่รอดแน่ๆ แล้วข้าพเจ้าก็เอามงกุฎกับทองต้นพระกร[a]มาให้ท่านผู้เป็นเจ้านายของข้าพเจ้า”

11 แล้วดาวิดกับพรรคพวกทั้งหมดจึงฉีกเสื้อผ้าของตน 12 พวกเขาพากันไว้ทุกข์ ร่ำไห้ และถืออดอาหารจนถึงเวลาเย็น เพื่อไว้อาลัยแด่กษัตริย์ซาอูล และโยนาธานราชโอรส และเพื่อไพร่พลขององค์พระผู้เป็นเจ้าและชาวอิสราเอลซึ่งสิ้นชีวิตในสงคราม

13 ดาวิดพูดกับชายหนุ่มที่นำข่าวมาว่า “เจ้ามาจากไหน?”

เขาตอบว่า “ข้าพเจ้าเป็นลูกคนต่างด้าวชาวอามาเลข”

14 ดาวิดถามว่า “ทำไมเจ้าจึงกล้าทำลายผู้ที่องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงเจิมตั้งไว้?”

15 แล้วดาวิดสั่งคนของตนว่า “เอาเขาไปฆ่าเสีย!” คนของดาวิดก็ฆ่าเขา 16 เพราะดาวิดได้กล่าวแล้วว่า “เจ้าสมควรตาย เพราะเจ้าเองได้สารภาพว่า ‘ข้าพเจ้าได้ฆ่าผู้ที่องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงเจิมตั้งไว้’”

ดาวิดไว้อาลัยซาอูลและโยนาธาน

17 แล้วดาวิดคร่ำครวญไว้อาลัยแด่กษัตริย์ซาอูลกับโยนาธานราชโอรส 18 และบัญชาให้สอนบทคร่ำครวญนี้แก่ชนยูดาห์ (บันทึกไว้ในหนังสือแห่งยาชาร์) ความว่า

19 “โอ อิสราเอลเอ๋ย ศักดิ์ศรีของเจ้านอนสิ้นชีพอยู่บนที่สูงของเจ้า
วีรชนแกล้วกล้าล้มลงเสียแล้วหนอ!

20 “อย่าแจ้งข่าวนี้ในเมืองกัท
อย่าประกาศข่าวนี้ตามถนนหนทางในอัชเคโลน
หาไม่แล้วธิดาแห่งฟีลิสเตีย[b]จะกระหยิ่มยิ้มย่อง
หาไม่แล้วเหล่าบุตรีของผู้ที่ไม่ได้เข้าสุหนัตจะลิงโลดยินดี

21 “โอ ภูเขากิลโบอา
ขออย่าให้เจ้าได้รับฝนหรือหยาดน้ำค้าง
ขออย่าให้ท้องทุ่งเกิดธัญญาหารเพื่อเป็นเครื่องบูชา[c]
เพราะที่นั่นโล่ของผู้เกรียงไกรถูกเหยียดหยาม
โล่ของซาอูลไม่ได้ชโลมด้วยน้ำมันอีกแล้ว

22 “ธนูของโยนาธานดื่มเลือดไม่หยุด
และกินเนื้อของผู้มีกำลัง
ดาบของซาอูล
ไม่กลับมาเปล่า

23 “ซาอูลและโยนาธาน
ยามอยู่ทรงเป็นที่รักและน่าชื่นชม
ยามสิ้นไม่ทรงพรากจากกัน
ทรงว่องไวกว่านกอินทรี
แข็งแกร่งกว่าราชสีห์

24 “โอ เหล่าธิดาแห่งอิสราเอล[d]
จงร่ำไห้ให้กับซาอูล
ผู้ทรงแต่งกายให้เธอด้วยอาภรณ์สีแดงเข้มและสิ่งงดงาม
และตกแต่งอาภรณ์ของเธอด้วยเครื่องประดับทองคำ

25 “วีรชนแกล้วกล้าล้มลงกลางสมรภูมิ!
โยนาธานนอนสิ้นชีพอยู่บนที่สูงของเจ้า
26 โอ โยนาธาน พี่น้องของข้าพเจ้าเอ๋ย ข้าพเจ้าอาลัยถึงท่าน
ท่านเป็นที่รักยิ่งของข้าพเจ้า
ความรักที่ท่านมีต่อข้าพเจ้านั้นล้ำเลิศ
ล้ำเลิศยิ่งกว่าความรักของสตรี

27 “วีรชนแกล้วกล้าล้มลงเสียแล้ว!
อาวุธยุทโธปกรณ์ก็พินาศไป!”

Notas al pie

  1. 1:10 คือ เครื่องประดับรัดต้นแขน
  2. 1:20 คือ ชาวฟีลิสเตีย
  3. 1:21 ในภาษาฮีบรูข้อความนี้มีความหมายไม่ชัดเจน
  4. 1:24 คือ ชาวอิสราเอล

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

2 Samwiri 1

Dawudi ategeezebwa Okufa kwa Sawulo

1Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki. Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.

Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.” Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.” Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”

Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca. Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’

“N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’

“Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’

“N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’

10 “Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”

11 Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe. 12 Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala. 13 Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.” 14 Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?” 15 Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta. 16 Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”

Dawudi Akungubagira Sawulo ne Yonasaani

17 Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we, 18 n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,

19 “Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo!
    Ab’amaanyi nga bagudde!

20 “Temukyogeranga mu Gaasi,[a]
    temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni,[b]
abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka,
    abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.

21 “Mmwe ensozi za Girubowa,
    muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba,
    newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo.
Kubanga eyo engabo[c] ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa
    n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
22 Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega
    n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu,
olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga,
    n’amasavu g’ab’amaanyi.

23 “Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa,
    ne mu kufa tebaayawukana.
Baali bangu okusinga empungu,
    era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.

24 “Mmwe abawala ba Isirayiri,
    mukaabire Sawulo,
eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima,
    eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.

25 “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!
    Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
26 Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani,
    kubanga wali mukwano gwange ddala.
Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo,
    nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.

27 “Ab’amaanyi nga bagudde,
    n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”

Notas al pie

  1. 1:20 Gaasi kyali kibuga ky’Abafirisuuti
  2. 1:20 Asukulooni kyali kibuga by’Abafirisuuti.
  3. 1:21 Engabo zaakolebwanga mu maliba, ne gasiigibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Omuzigo gwe gwagikuumanga obutavunda, ate era ne guziyiza n’obusaale okuyitamu mu ngabo. Engabo ezoogerebwako wano zaali zisaabye omusaayi nga tezikyayinzika kukozesebwa mu ntalo.