1 พงศ์กษัตริย์ 1 TNCV - 1 Bassekabaka 1 LCB

1 พงศ์กษัตริย์
Elegir capítulo 1

Thai New Contemporary Bible

1 พงศ์กษัตริย์ 1

อาโดนียาห์ตั้งตนเป็นกษัตริย์

1เมื่อกษัตริย์ดาวิดทรงชรามากแล้ว แม้จะห่มผ้าสักกี่ผืนก็ไม่อุ่น ข้าราชบริพารจึงกราบทูลว่า “ควรหาสาวพรหมจารีมาอยู่งานถวายการปรนนิบัติให้ นอนแนบเคียงพระวรกายเพื่อฝ่าพระบาทจะทรงอบอุ่น”

พวกเขาจึงเฟ้นหาหญิงงามทั่วอิสราเอล ในที่สุดก็เลือกอาบีชากชาวชูเนม จึงนำตัวนางมาเข้าเฝ้า หญิงสาวนั้นงดงามมาก คอยดูแลถวายการปรนนิบัติ แต่กษัตริย์ไม่ได้มีความสัมพันธ์ใกล้ชิดกับนาง

ฝ่ายอาโดนียาห์ราชโอรสของพระนางฮักกีท กำเริบเสิบสานและกล่าวว่า “เราจะเป็นกษัตริย์” ดังนั้นจึงจัดรถม้าศึก พลขับ[a]และเกณฑ์คนห้าสิบคนให้วิ่งนำขบวน (ราชบิดาของเขาไม่เคยห้ามปรามหรือถามว่า “เหตุใดเจ้าจึงทำเช่นนั้น?” เขายังเป็นคนหล่อเหลา เกิดถัดจากอับซาโลม)

อาโดนียาห์คบคิดกับโยอาบบุตรนางเศรุยาห์และปุโรหิตอาบียาธาร์ซึ่งสนับสนุนตน แต่ปุโรหิตศาโดก เบไนยาห์บุตรเยโฮยาดา ผู้เผยพระวจนะนาธัน ชิเมอี เรอี[b] และราชองครักษ์ของดาวิดไม่ได้ร่วมอยู่ฝ่ายอาโดนียาห์

อาโดนียาห์ถวายแกะ วัว กับลูกวัวขุนที่ศิลาแห่งโศเฮเลทใกล้เอนโรเกล เขาได้เชิญโอรสทั้งปวงของดาวิดและบรรดาข้าราชบริพารของยูดาห์มาร่วมพิธี 10 แต่ไม่เชิญผู้เผยพระวจนะนาธัน เบไนยาห์ราชองครักษ์ และโซโลมอนพระอนุชา

11 ผู้เผยพระวจนะนาธันจึงไปทูลถามพระนางบัทเชบาพระมารดาของโซโลมอนว่า “พระนางทรงทราบหรือไม่ว่าอาโดนียาห์โอรสของพระนางฮักกีทตั้งตนเป็นกษัตริย์แล้ว โดยที่กษัตริย์ดาวิดไม่ทรงทราบเรื่องเลย? 12 ข้าพระบาทขอถวายคำปรึกษาเพื่อพระนางจะทรงสงวนชีวิตของพระนางกับโอรสโซโลมอนไว้ได้ 13 คือโปรดเสด็จไปเข้าเฝ้ากษัตริย์และทูลถามว่า ‘ฝ่าพระบาททรงปฏิญาณกับหม่อมฉันแล้วไม่ใช่หรือว่า “โซโลมอนลูกของเจ้า จะได้เป็นกษัตริย์ครองราชบัลลังก์สืบต่อจากเรา” แล้วทำไมอาโดนียาห์จึงขึ้นเป็นกษัตริย์?’ 14 แล้วขณะที่พระนางกำลังทูลกษัตริย์อยู่ ข้าพระบาทจะเข้าไปกราบทูลยืนยัน”

15 พระนางบัทเชบาจึงเสด็จเข้าไปในห้องประทับของกษัตริย์ซึ่งทรงชรามากแล้ว อาบีชากชาวชูเนมกำลังอยู่งานถวายการปรนนิบัติ 16 บัทเชบาคุกเข่าแล้วกราบลงต่อหน้ากษัตริย์

กษัตริย์ตรัสถามว่า “เจ้าประสงค์สิ่งใด?”

17 พระนางทูลว่า “ฝ่าพระบาททรงปฏิญาณไว้กับหม่อมฉันผู้รับใช้ของฝ่าพระบาทในพระนามของพระยาห์เวห์พระเจ้าของฝ่าพระบาทว่า ‘โซโลมอนลูกของเจ้าจะได้เป็นกษัตริย์ครองราชบัลลังก์สืบต่อจากเรา’ 18 แต่บัดนี้กลับกลายเป็นว่าอาโดนียาห์ขึ้นเป็นกษัตริย์องค์ใหม่โดยที่ฝ่าพระบาทผู้ทรงเป็นกษัตริย์ไม่ได้ทรงทราบเรื่องเลย 19 อาโดนียาห์ได้ถวายวัว ลูกวัวขุน กับแกะมากมาย ทั้งได้เชิญโอรสทั้งปวงของฝ่าพระบาท ปุโรหิตอาบียาธาร์ แม่ทัพโยอาบ แต่ไม่เชิญโซโลมอนผู้รับใช้ของฝ่าพระบาท 20 ข้าแต่กษัตริย์ อิสราเอลทั้งปวงกำลังจับตาดูว่าจะทรงเลือกใครขึ้นครองราชย์สืบต่อจากฝ่าพระบาท 21 มิฉะนั้นแล้วทันทีที่ฝ่าพระบาททรงล่วงลับไปอยู่กับบรรพบุรุษ พวกเขาจะปฏิบัติต่อหม่อมฉันกับลูกโซโลมอนเหมือนเป็นอาชญากร”

22 ขณะที่พระนางกำลังทูลกษัตริย์ ผู้เผยพระวจนะนาธันก็มาถึง 23 พวกเขาจึงทูลกษัตริย์ว่า “ผู้เผยพระวจนะนาธันมารอเข้าเฝ้า” นาธันจึงเข้ามาหมอบกราบลงต่อหน้ากษัตริย์

24 และกราบทูลว่า “ฝ่าพระบาททรงแต่งตั้งอาโดนียาห์เป็นกษัตริย์ครองราชบัลลังก์สืบต่อจากฝ่าพระบาทแล้วหรือ? 25 วันนี้เขาได้ถวายวัว ลูกวัวขุน กับแกะมากมาย และเชิญโอรสทุกพระองค์ของฝ่าพระบาท แม่ทัพนายกอง และปุโรหิตอาบียาธาร์ ขณะนี้พวกเขากำลังเลี้ยงฉลองและโห่ร้องว่า ‘กษัตริย์อาโดนียาห์ จงทรงพระเจริญ!’ 26 แต่ข้าพระองค์ผู้รับใช้ของฝ่าพระบาท ปุโรหิตศาโดก เบไนยาห์บุตรเยโฮยาดา และโซโลมอนผู้รับใช้ของฝ่าพระบาทไม่ได้รับเชิญ 27 ฝ่าพระบาททรงกระทำการครั้งนี้ไปโดยไม่ทรงอนุญาตให้เหล่าข้าพระบาททราบหรือว่าใครคือผู้ที่จะครองราชย์สืบต่อจากฝ่าพระบาท?”

ดาวิดตั้งโซโลมอนเป็นกษัตริย์

28 กษัตริย์ดาวิดตรัสว่า “เรียกบัทเชบามานี่สิ” พระนางจึงเข้ามายืนอยู่ต่อหน้า

29 แล้วกษัตริย์ตรัสปฏิญาณว่า “องค์พระผู้เป็นเจ้าผู้ทรงช่วยเหลือเราให้พ้นจากความยากลำบากทั้งปวงนั้นทรงพระชนม์อยู่แน่ฉันใด 30 วันนี้เราจะทำตามที่ได้ปฏิญาณไว้กับเจ้าในพระนามของพระยาห์เวห์พระเจ้าแห่งอิสราเอลฉันนั้น คือโซโลมอนลูกของเจ้าจะได้เป็นกษัตริย์สืบต่อจากเรา และจะครองบัลลังก์แทนเรา”

31 บัทเชบาจึงหมอบซบลงกับพื้น และคุกเข่าทูลว่า “ขอให้กษัตริย์ดาวิดเจ้านายของหม่อมฉันทรงพระเจริญเป็นนิตย์!”

32 กษัตริย์ดาวิดตรัสสั่งว่า “จงเรียกปุโรหิตศาโดก ผู้เผยพระวจนะนาธัน และเบไนยาห์บุตรเยโฮยาดามา” เมื่อพวกเขามาถึง 33 กษัตริย์ตรัสกับพวกเขาว่า “จงนำข้าราชบริพารของเราไปกับเจ้า และให้ลูกโซโลมอนขี่ล่อของเราไปที่กีโฮน 34 ให้ปุโรหิตศาโดกและผู้เผยพระวจนะนาธันเจิมตั้งเขาเป็นกษัตริย์อิสราเอลที่นั่น จงเป่าแตรและโห่ร้องว่า ‘กษัตริย์โซโลมอนจงทรงพระเจริญ!’ 35 จากนั้นจงกลับมากับเขา ให้เขานั่งบนบัลลังก์ครองราชย์แทนเรา เราได้แต่งตั้งเขาเป็นกษัตริย์อิสราเอลและยูดาห์”

36 เบไนยาห์บุตรเยโฮยาดาทูลว่า “อาเมน ขอพระยาห์เวห์พระเจ้าของฝ่าพระบาททรงประกาศเช่นนั้นเถิด 37 ขอองค์พระผู้เป็นเจ้าสถิตกับโซโลมอนเหมือนที่สถิตกับฝ่าพระบาทมาแล้ว เพื่อกระทำให้ราชบัลลังก์ของพระองค์ยิ่งใหญ่กว่าของกษัตริย์ดาวิดเจ้านายของข้าพระบาท!”

38 ฉะนั้นปุโรหิตศาโดก ผู้เผยพระวจนะนาธัน เบไนยาห์บุตรเยโฮยาดา พวกเคเรธีและเปเลทจึงลงไปเชิญโซโลมอนประทับบนล่อของดาวิดและนำเสด็จไปยังกีโฮน 39 ปุโรหิตศาโดกนำน้ำมันจากพลับพลาศักดิ์สิทธิ์บรรจุในเขาสัตว์มาเจิมตั้งโซโลมอน แล้วพวกเขาเป่าแตรและคนทั้งปวงโห่ร้องว่า “ขอกษัตริย์โซโลมอนจงทรงพระเจริญ!” 40 จากนั้นเขาทั้งปวงตามเสด็จโซโลมอนกลับมา มีการเป่าขลุ่ยครึกครื้นรื่นเริงเป็นการใหญ่ เสียงสนั่นหวั่นไหวจนแผ่นดินสะท้าน

41 อาโดนียาห์และแขกรับเชิญทั้งปวงได้ยินเสียงกระหึ่มขณะกำลังจะเสร็จสิ้นงานเลี้ยง เมื่อได้ยินเสียงแตร โยอาบถามว่า “เหตุใดจึงมีเสียงอึกทึกครึกโครมทั่วเมืองนี้?”

42 พูดยังไม่ทันขาดคำ โยนาธานบุตรของปุโรหิตอาบียาธาร์ก็เข้ามา อาโดนียาห์กล่าวว่า “เข้ามาเถิด เจ้าเป็นคนดี จะต้องมีข่าวดีมาบอก”

43 โยนาธานเรียนว่า “ไม่เป็นเช่นนั้น! กษัตริย์ดาวิดเจ้าเหนือหัวของเราทรงตั้งโซโลมอนเป็นกษัตริย์แล้ว 44 พระองค์ทรงให้โซโลมอนไปยังกีโฮนพร้อมด้วยปุโรหิตศาโดก ผู้เผยพระวจนะนาธัน เบไนยาห์บุตรเยโฮยาดา คนเคเรธี และคนเปเลท โซโลมอนทรงประทับบนล่อของกษัตริย์ 45 แล้วปุโรหิตศาโดกกับผู้เผยพระวจนะนาธันเจิมตั้งโซโลมอนเป็นกษัตริย์ที่กีโฮน พวกเขาฉลองครื้นเครงมาตลอดทาง ทั่วทั้งเมืองจึงพากันเอิกเกริก นี่คือเสียงที่ท่านได้ยิน 46 ยิ่งกว่านั้นโซโลมอนขึ้นประทับเหนือราชบัลลังก์ 47 และเหล่าข้าราชบริพารเข้าเฝ้าถวายพระพรแด่กษัตริย์ดาวิด และกราบทูลว่า ‘ขอพระเจ้าของฝ่าพระบาททรงให้พระนามของโซโลมอนเลื่องลือยิ่งกว่าฝ่าพระบาท และราชบัลลังก์ของพระองค์ยิ่งใหญ่กว่าของฝ่าพระบาทเถิด!’ แล้วกษัตริย์ดาวิดทรงโน้มกราบลงนมัสการบนแท่นที่บรรทม 48 แล้วตรัสว่า ‘สรรเสริญพระยาห์เวห์พระเจ้าแห่งอิสราเอลผู้ทรงให้ข้าพระองค์ได้เห็นทายาทครองบัลลังก์ของข้าพระองค์ในวันนี้’ ”

49 ถึงตอนนี้แขกรับเชิญทั้งหลายของอาโดนียาห์ผุดลุกขึ้นด้วยความตกใจ และหนีกันไปคนละทิศคนละทาง 50 ส่วนอาโดนียาห์หนีเข้าไปจับเชิงงอนของแท่นบูชาไว้ด้วยความกลัวโซโลมอน 51 เมื่อมีผู้ไปทูลโซโลมอนว่า “อาโดนียาห์กลัวฝ่าพระบาทจึงจับเชิงงอนของแท่นบูชาไว้และกล่าวว่า ‘ขอให้กษัตริย์โซโลมอนปฏิญาณกับเราในวันนี้ว่าจะไม่ประหารชีวิตผู้รับใช้ของพระองค์ด้วยดาบ’ ”

52 โซโลมอนตรัสตอบว่า “ถ้าเขาทำตัวดี ผมสักเส้นของเขาก็จะไม่ร่วงลงพื้น แต่หากพบสิ่งใดไม่ดีในตัวเขา เขาจะต้องตาย” 53 กษัตริย์โซโลมอนจึงส่งคนไปนำตัวอาโดนียาห์มาจากแท่นบูชา อาโดนียาห์เข้ามากราบลงต่อหน้า โซโลมอนก็ตรัสว่า “กลับไปบ้านของท่านเถิด”

Notas al pie

  1. 1:5 หรือม้า
  2. 1:8 หรือชิเมอีและเพื่อนๆของเขา

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

1 Bassekabaka 1

Adoniya yeefuula Kabaka

1Awo kabaka Dawudi bwe yali akaddiye nnyo, nga ne bwe bamubikka takyabuguma, abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.” Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka. Omuwala oyo yali mulungi nnyo; n’ajjanjabanga kabaka era n’amuweerezanga, naye kabaka teyamumanya.

Awo Adoniya[a] mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ng’ayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali n’abeebagala embalaasi, n’abasajja amakumi ataano ab’ebigere okuddukiranga mu maaso ge. Kitaawe n’atamunenya ku mubuuza nti, “Lwaki weeyisa bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga y’adda ku Abusaalomu.

Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya[b] ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira. Naye Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, ne Nasani nnabbi, ne Simeeyi, ne Leeyi, n’abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala tebaali ku ludda lwa Adoniya.

Adoniya n’attira endiga n’ente n’ebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, n’ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n’abakungu bonna aba Yuda, 10 naye n’atayita Sulemaani muganda we wadde Nasani nnabbi, newaakubadde Benaya, newaakubadde abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala.

11 Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi? 12 Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani. 13 Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’ 14 Laba bw’onooba ng’okyayogera ne kabaka, nange nnaayingira ne nkakasa ebigambo byo.”

15 Awo Basuseba n’agenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza. 16 Basuseba n’akka n’afukamirira kabaka.

Kabaka n’amubuuza nti, “Nkukolere ki?”

17 N’amuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’ 18 Naye kaakano Adoniya alidde obwakabaka, newaakubadde mukama wange kabaka, tokimanyi. 19 Asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise. 20 Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe y’obwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe. 21 Bw’otookole bw’otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw’olyebakira awamu ne bajjajjaabo, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa babi.”

22 Awo bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n’ayingira. 23 Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo n’ayingira mu maaso ga kabaka, era n’avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.

24 Nasani n’ayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era y’alituula ku ntebe yo? 25 Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’ 26 Naye nze omuddu wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n’omuddu wo Sulemaani, tatuyise. 27 Kino mukama wange kabaka, okikoze n’ototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka ey’obwakabaka, oluvannyuma lwe?”

28 Awo Kabaka Dawudi n’addamu nti, “Muyite Basuseba.” Basuseba n’ajja awali kabaka n’ayimirira mu maaso ge.

29 Awo kabaka n’alayira ng’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu eyannunula mu buli kabi konna; 30 era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”

31 Awo Basuseba n’avuunama ku ttaka mu maaso ga kabaka ng’agamba nti, “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale emirembe gyonna!” 32 Kabaka Dawudi n’ayogera nti, “Muyite Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada bayingire.” Bwe bajja mu maaso ga kabaka, 33 n’abagamba nti, “Mutwale abaweereza[c] ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni. 34 Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale.’ 35 Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.”

36 Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka nti, “Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize. 37 Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!”

38 Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi[d] ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni. 39 Zadooki kabona n’aggya ejjembe ery’amafuta mu weema,[e] n’afuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.” 40 Abantu bonna ne bambuka okumugoberera nga bafuuwa endere, era nga basanyuka essanyu lingi, ettaka n’okwatika ne lyatika olw’oluyoogaano olunene.

41 Adoniya n’abagenyi be bonna ne bawulira oluyoogaano bwe baali nga bamaliriza okulya. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly’ekkondeere, n’abuuza nti, “Ekibuga nga kiyoogaana?” 42 Awo bwe yali ng’akyayogera laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n’atuuka. Adoniya n’ayogera nti, “Yingira kubanga omusajja omulungi nga ggwe ateekwa kuba ng’aleese mawulire malungi.”

43 Yonasaani n’addamu nti, “Nedda. Mukama waffe Kabaka Dawudi, obwakabaka abuwadde Sulemaani, 44 era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka. 45 Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni, era bambuse okuvaayo nga bajaguza, n’ekibuga kiwuumira ddala. Okwo kwe kuleekaana kwe muwulira. 46 Kaakano Sulemaani atudde ku ntebe ey’obwakabaka. 47 N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye, 48 n’agamba nti, ‘Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isirayiri, akkirizza amaaso gange okulaba omusika ku ntebe yange ey’obwakabaka leero.’ ”

49 Abagenyi ba Adoniya bonna olwawulira ebyo ne beekanga nnyo, ne basituka ne basaasaana. 50 Adoniya n’aggwaamu amaanyi olwa Sulemaani okulya obwakabaka, era n’agenda ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto. 51 Awo ne babuulira Sulemaani nti, “Adoniya atidde kabaka Sulemaani era yeekutte ku mayembe g’ekyoto. Agambye nti, ‘Kabaka Sulemaani andayirire leero nti tajja kutta muddu we n’ekitala.’ ”

52 Sulemaani n’addamu nti, “Bw’alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bw’alirabikamu ekibi, alifa.” 53 Awo Kabaka Sulemaani n’atuma abasajja, ne baggya Adoniya ku kyoto. N’ajja n’avuunamira kabaka Sulemaani, Sulemaani n’amugamba nti, “Weddireyo ewuwo.”

Notas al pie

  1. 1:5 Adoniya ye yali mutabani wa Dawudi owookuna (2Sa 3:4) ng’aweza emyaka nga asatu mu etaano. Amunoni, ne Abusaalomu, ne Kiriyaabu (eyafa nga muto) bonna baali baafa
  2. 1:7 Zeruyiya ye yali mwannyina Dawudi.
  3. 1:33 Abaweereza mu nsonga eno kitegeeza eggye lya kabaka erimukuuma
  4. 1:38 Abakeresi n’Abaperesi baali bakuumi ba Dawudi ab’oku mwanjo. Baava Kuleete ne Bufirisuuti (2Sa 8:18)
  5. 1:39 Eweema eyogerwako wano ye weema Dawudi gye yakolera essanduuko ey’endagaano ya Katonda. Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu eyazimbibwa, ng’Abayisirayiri bakyali mu ddungu, yali ekyali e Gibyoni (3:4; 2Sa 6:17)