โยนาห์ 3 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

โยนาห์ 3:1-10

โยนาห์ไปยังนีนะเวห์

1แล้วมีพระดำรัสจากองค์พระผู้เป็นเจ้ามาถึงโยนาห์เป็นครั้งที่สองว่า 2“จงไปนีนะเวห์นครใหญ่ และประกาศแก่ชาวกรุงนั้นตามที่เราสั่งเจ้า”

3โยนาห์ก็เชื่อฟังพระดำรัสขององค์พระผู้เป็นเจ้าและไปยังนีนะเวห์ นครนั้นใหญ่มาก ต้องใช้เวลาสามวันจึงเดินทางทั่ว 4ในวันแรกโยนาห์ตั้งต้นเดินเข้าไปในกรุงนั้น เขาประกาศว่า “อีกสี่สิบวันนีนะเวห์จะถูกทำลาย” 5ชาวนีนะเวห์ก็เชื่อพระเจ้า พวกเขาประกาศให้มีการถืออดอาหาร แล้วชาวกรุงทุกคนตั้งแต่ผู้ใหญ่ที่สุดจนถึงผู้น้อยที่สุดสวมเสื้อผ้ากระสอบ

6เมื่อกษัตริย์นีนะเวห์ทรงทราบเรื่องนี้ ก็ทรงลุกขึ้นจากบัลลังก์ ถอดฉลองพระองค์ออก เอาเสื้อผ้ากระสอบคลุมพระองค์ และประทับในกองฝุ่นธุลี 7แล้วทรงออกประกาศในกรุงนีนะเวห์ว่า

“โดยพระราชกฤษฎีกาของกษัตริย์ และขุนนางทั้งหลาย

“ห้ามไม่ให้ผู้ใดหรือสัตว์ตัวใดกินหรือดื่มอะไร 8แต่ให้ทั้งคนและสัตว์ห่มตัวด้วยผ้ากระสอบ ให้ทุกคนทูลอ้อนวอนพระเจ้าอย่างเร่งด่วน และให้เลิกทำชั่ว เลิกการทารุณ 9ใครจะรู้ได้ พระเจ้าอาจจะทรงอดกลั้นพระทัยไว้ และด้วยพระเมตตา พระองค์อาจจะทรงหันจากพระพิโรธอันรุนแรง เพื่อเราจะไม่ต้องพินาศ”

10เมื่อพระเจ้าทอดพระเนตรการกระทำของพวกเขาและเห็นเขาเลิกทำชั่ว ก็ทรงเอ็นดูสงสารและไม่ได้ทำลายพวกเขาตามที่ทรงคาดโทษไว้

Luganda Contemporary Bible

Yona 3:1-10

Yona Agondera Mukama

13:1 Yon 1:1Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti, 2“Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”

3Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. 4Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” 53:5 Dan 9:3; Luk 11:32Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.

63:6 Yob 2:8, 13; Ez 27:30-31Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu. 73:7 2By 20:3Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti,

Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be:

“Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; 83:8 Zab 130:1; Yon 1:6naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. 93:9 a 2Sa 12:22 b Yo 2:14Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”

103:10 a Am 7:6 b Yer 18:8 c Kuv 32:14Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.