เฉลยธรรมบัญญัติ 4 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

เฉลยธรรมบัญญัติ 4:1-49

บัญชาให้เชื่อฟัง

1อิสราเอลเอ๋ย บัดนี้จงฟัง4:1 หรือเชื่อฟังกฎหมายและบทบัญญัติซึ่งข้าพเจ้าจะสอน จงปฏิบัติตามเพื่อท่านจะมีชีวิตอยู่และเข้าไปครอบครองดินแดนที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของบรรพบุรุษของท่านกำลังยกให้ท่าน 2อย่าเพิ่มเติมหรือตัดทอนข้อความใดๆ ในบทบัญญัตินี้ แต่จงปฏิบัติตามพระบัญชาของพระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านซึ่งข้าพเจ้ามอบให้แก่ท่าน

3ท่านก็ได้เห็นกับตาแล้วถึงสิ่งที่องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงกระทำที่บาอัลเปโอร์ พระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านทรงประหารทุกคนที่ติดตามพระบาอัลแห่งเปโอร์ 4แต่ทุกคนที่ยึดมั่นในพระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านยังมีชีวิตอยู่ตราบจนทุกวันนี้

5ดูเถิด ข้าพเจ้าได้สอนกฎหมายและบทบัญญัติตามที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของข้าพเจ้าทรงบัญชาแก่ท่าน เพื่อท่านจะปฏิบัติตามในดินแดนที่ท่านจะเข้ายึดครอง 6จงปฏิบัติตามอย่างเคร่งครัด เพื่อแสดงให้ประชาชาติทั้งหลายเห็นถึงสติปัญญาและความเข้าใจของท่าน เมื่อพวกเขาได้ยินถึงกฎหมายเหล่านี้ พวกเขาจะกล่าวว่า “ชนชาติยิ่งใหญ่นี้มีปัญญาและมีความเข้าใจจริงๆ” 7ชาติใดเล่าที่ยิ่งใหญ่ขนาดมีพระเจ้าของพวกเขาอยู่ใกล้ชิดอย่างที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของเราทรงอยู่ใกล้ชิดเราทุกครั้งที่เราทูลอธิษฐานต่อพระองค์? 8และมีชาติใดเล่าที่ยิ่งใหญ่ขนาดมีกฎหมายและบทบัญญัติอันชอบธรรมเหมือนบทบัญญัติซึ่งข้าพเจ้ามอบให้พวกท่านในวันนี้?

9แต่จงรักษาตัวรักษาใจของท่านให้ดีเพื่อท่านจะไม่หลงลืมสิ่งที่ท่านเห็นกับตา ไม่ปล่อยให้สิ่งเหล่านี้เลือนรางจากใจตราบชั่วชีวิต จงสอนลูกหลานสืบต่อกันไป 10จงรำลึกถึงวันที่ท่านยืนอยู่ต่อหน้าพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านทั้งหลายที่ภูเขาโฮเรบ เมื่อพระองค์ได้ตรัสกับข้าพเจ้าว่า “จงเรียกประชากรมาชุมนุมต่อหน้าเรา เพื่อฟังถ้อยคำของเรา เพื่อเขาจะเรียนรู้ที่จะยำเกรงเราตราบเท่าที่เขายังมีชีวิตอยู่บนแผ่นดินนี้ และเพื่อเขาจะสอนบัญญัติของเราแก่ลูกหลาน” 11ท่านทั้งหลายได้เข้ามาใกล้และยืนอยู่ที่เชิงเขาซึ่งมีไฟลุกโชติช่วงขึ้นสู่ท้องฟ้า รายรอบด้วยเมฆดำและความมืดทึบ 12แล้วองค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับท่านจากเปลวไฟ ท่านได้ยินพระดำรัสแต่ไม่ได้เห็นรูปพรรณสัณฐานของพระองค์ มีแต่พระสุรเสียงเท่านั้น 13พระองค์ทรงประกาศพันธสัญญาของพระองค์ คือบัญญัติสิบประการซึ่งพระองค์ทรงบัญชาให้ท่านปฏิบัติตาม แล้วทรงจารึกบัญญัตินั้นไว้บนศิลาสองแผ่น 14ครั้งนั้นเององค์พระผู้เป็นเจ้าทรงบัญชาให้ข้าพเจ้าสอนกฎหมายและบทบัญญัติซึ่งท่านจะต้องปฏิบัติตามในดินแดนที่ท่านกำลังจะข้ามแม่น้ำจอร์แดนเข้าไปยึดครอง

ห้ามกราบไหว้รูปเคารพ

15พวกท่านไม่ได้เห็นรูปพรรณสัณฐานใดๆ ขององค์พระผู้เป็นเจ้าในวันที่พระองค์ตรัสกับท่านจากไฟที่ภูเขาโฮเรบ ฉะนั้นจงระวังตัวให้ดี 16เพื่อท่านจะไม่พินาศ โดยสร้างรูปจำลองของพระองค์ ไม่ว่าจะเป็นรูปเคารพในลักษณะใดๆ ก็ตาม ไม่ว่าจะมีลักษณะเหมือนผู้ชายหรือผู้หญิง 17เหมือนสัตว์ต่างๆ ในแผ่นดินหรือนกในอากาศ 18เหมือนสัตว์เลื้อยคลานหรือสัตว์น้ำ 19และเมื่อท่านเงยหน้าดูท้องฟ้าและเห็นดวงอาทิตย์ ดวงจันทร์ และดวงดาวอันเป็นวัตถุในท้องฟ้าทั้งปวง อย่าปล่อยใจไปกราบไหว้สิ่งเหล่านั้น และนมัสการสิ่งต่างๆ ที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านทรงปล่อยให้ชนชาติอื่นๆ ทั้งปวงทั่วใต้ฟ้าปฏิบัติ 20แต่ส่วนท่าน องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงนำออกมาจากเตาหลอมเหล็ก คือออกจากอียิปต์เพื่อเป็นประชากรในกรรมสิทธิ์ของพระองค์อย่างที่เป็นอยู่เดี๋ยวนี้

21องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงพระพิโรธข้าพเจ้าเพราะพวกท่านและทรงสัญญาอย่างหนักแน่นว่า ข้าพเจ้าจะไม่ได้ข้ามแม่น้ำจอร์แดนเข้าสู่ดินแดนอันอุดมสมบูรณ์ซึ่งพระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านจะประทานให้เป็นกรรมสิทธิ์ของท่าน 22ข้าพเจ้าจะต้องตายในดินแดนฟากนี้ จะไม่ได้ข้ามแม่น้ำจอร์แดนไป ส่วนท่านจะข้ามไปยึดครองดินแดนอันอุดมสมบูรณ์นั้น 23จงระวัง อย่าลืมพันธสัญญาที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านทรงกระทำไว้กับท่าน อย่าสร้างรูปเคารพเป็นรูปทรงใดๆ ให้กับตนตามที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านทรงห้ามไว้ 24เพราะพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านทรงเป็นไฟอันเผาผลาญ เป็นพระเจ้าผู้ทรงหึงหวง

25ในอนาคตเมื่อท่านลงหลักปักฐานในดินแดนนั้นและมีลูกมีหลาน หากท่านเสื่อมทรามจนสร้างรูปเคารพใดๆ ซึ่งเป็นการกระทำที่ชั่วร้ายในสายพระเนตรของพระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านและยั่วยุพระพิโรธของพระองค์ 26วันนี้ข้าพเจ้าขอให้ฟ้าดินเป็นพยานว่าไม่ช้าท่านจะพินาศย่อยยับจากดินแดนซึ่งพวกท่านกำลังจะข้ามแม่น้ำจอร์แดนเข้าไปครอบครอง ท่านจะอยู่ที่นั่นได้ไม่นานและจะพินาศไปอย่างแน่นอน 27องค์พระผู้เป็นเจ้าจะทรงขับไล่ท่านให้กระจัดกระจายไปอยู่ท่ามกลางชนชาติต่างๆ ท่านจะเหลือรอดเพียงไม่กี่คนท่ามกลางประชาชาติเหล่านั้น 28ที่นั่นท่านจะนมัสการบรรดาเทพเจ้าที่มนุษย์สร้างขึ้นจากไม้และหิน ซึ่งมองก็ไม่เห็น ฟัง กิน หรือดมอะไรก็ไม่ได้ 29แต่หากท่านแสวงหาพระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านที่นั่น ท่านจะพบพระองค์หากท่านแสวงหาพระองค์อย่างสุดจิตสุดใจ 30เมื่อท่านทุกข์ลำเค็ญเพราะสิ่งทั้งปวงนี้เกิดขึ้นแก่ท่านในเวลาต่อมา ท่านจะหวนกลับมาหาพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านและเชื่อฟังพระองค์ 31เพราะพระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านทรงเป็นพระเจ้าผู้ทรงเมตตา พระองค์จะไม่ทรงทอดทิ้ง หรือทำลายท่าน หรือลืมพันธสัญญาที่ทรงให้ไว้กับบรรพบุรุษของท่านซึ่งพระองค์ทรงยืนยันกับพวกเขาโดยคำปฏิญาณ

พระยาห์เวห์ทรงเป็นพระเจ้า

32จงมองย้อนดูประวัติศาสตร์ตั้งแต่ครั้งพระเจ้าทรงสร้างมนุษย์ไว้ในโลก มองจากฟ้าข้างนี้ถึงฟ้าข้างโน้น เคยมีอะไรที่ยิ่งใหญ่อย่างนี้เกิดขึ้นมาก่อนหรือ? มีใครเคยได้ยินอะไรอย่างนี้ด้วยหรือ? 33มีคนชาติใดบ้างที่ยังมีชีวิตอยู่หลังจากได้ยินพระสุรเสียงของพระเจ้าตรัสออกมาจากไฟเหมือนที่ท่านได้ประสบมา? 34มีพระใดเล่าที่นำชนชาติหนึ่งออกมาจากอีกชนชาติหนึ่งมาเป็นของพระองค์เองโดยการทดสอบ โดยหมายสำคัญและการอัศจรรย์ โดยสงคราม โดยพระหัตถ์อันทรงฤทธิ์และพระกรที่เหยียดออก โดยพระราชกิจอันยิ่งใหญ่และน่าครั่นคร้าม เหมือนที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านได้ทรงกระทำเพื่อท่านในอียิปต์ต่อหน้าต่อตาท่าน?

35พระองค์ทรงสำแดงสิ่งเหล่านี้เพื่อให้พวกท่านรู้ว่าพระยาห์เวห์ทรงเป็นพระเจ้า นอกจากพระองค์แล้วไม่มีพระเจ้าอื่นใด 36จากฟ้าสวรรค์พระองค์ทรงให้ท่านได้ยินพระสุรเสียงเพื่อท่านจะอยู่ในโอวาท ในโลกพระองค์ทรงโปรดให้ท่านเห็นไฟมหึมาของพระองค์ และท่านได้ยินพระดำรัสจากไฟนั้น 37ทั้งนี้เพราะพระองค์ทรงรักบรรพบุรุษของท่านและทรงเลือกสรรวงศ์วานของเขาเหล่านั้น พระองค์จึงทรงนำท่านออกจากอียิปต์ด้วยพระองค์เองและด้วยฤทธานุภาพอันยิ่งใหญ่ของพระองค์ 38ทรงขับไล่ชนชาติต่างๆ ซึ่งยิ่งใหญ่และเข้มแข็งกว่าท่านมากนัก และประทานดินแดนของพวกเขาเหล่านั้นให้เป็นกรรมสิทธิ์ของท่านดังเช่นทุกวันนี้

39ในวันนี้จงรับรู้และจำใส่ใจว่าพระยาห์เวห์ทรงเป็นพระเจ้าทั้งในฟ้าสวรรค์เบื้องบนและแผ่นดินโลกเบื้องล่าง ไม่มีพระเจ้าอื่นใด 40จงปฏิบัติตามกฎหมายและพระบัญชาของพระองค์ซึ่งข้าพเจ้าแจ้งท่านในวันนี้ เพื่อท่านกับลูกหลานจะอยู่เย็นเป็นสุข และอาศัยอยู่ยาวนานในแผ่นดินซึ่งพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านประทานแก่ท่านตลอดไป

เมืองลี้ภัย

(กดว.35:6-34; ฉธบ.19:1-14; ยชว.20:1-9)

41จากนั้นโมเสสกำหนดเมืองสามเมืองทางฟากตะวันออกของแม่น้ำจอร์แดน 42สำหรับเป็นเมืองลี้ภัยของผู้ที่ฆ่าคนตายโดยไม่เจตนาและไม่ได้วางแผนการร้ายไว้ล่วงหน้า เขาจะได้หนีไปเมืองลี้ภัยเมืองใดเมืองหนึ่งเพื่อรักษาชีวิตของตนไว้ 43โดยให้เผ่ารูเบนลี้ภัยไปเมืองเบเซอร์บนที่ราบสูงในถิ่นกันดาร ให้เผ่ากาดไปเมืองราโมทในกิเลอาด และให้เผ่ามนัสเสห์ไปเมืองโกลานในบาชาน

บทนำสู่บทบัญญัติ

44ต่อไปนี้คือบทบัญญัติซึ่งโมเสสมอบให้ชนอิสราเอล 45เป็นข้อกำหนด กฎหมาย และบทบัญญัติซึ่งโมเสสให้ไว้เมื่อพวกเขาออกจากอียิปต์ 46และมาอยู่ที่หุบเขาใกล้เบธเปโอร์ ด้านตะวันออกของแม่น้ำจอร์แดน ในดินแดนซึ่งเคยเป็นของกษัตริย์สิโหนของชาวอาโมไรต์ผู้ครอบครองในเฮชโบน โมเสสและชนชาติอิสราเอลได้พิชิตเขาขณะออกมาจากอียิปต์ 47และยึดครองดินแดนของเขาและของกษัตริย์โอกแห่งบาชาน กษัตริย์ทั้งสองของชาวอาโมไรต์ทางฟากตะวันออกของแม่น้ำจอร์แดน 48ดินแดนนี้เริ่มจากอาโรเออร์ตรงริมโกรกธารอารโนนจดภูเขาสีรีออน4:48 ฉบับ Heb. ว่าสิยอน (คือเฮอร์โมน) 49รวมทั้งดินแดนอาราบาห์ทั้งหมดทางฟากตะวันออกของแม่น้ำจอร์แดนจนถึงทะเลตาย4:49 ภาษาฮีบรูว่าทะเลอาราบาห์แถบลาดเขาปิสกาห์

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 4:1-49

Musa Alagira Abantu Okuba Abawulize

14:1 Ma 5:33; 8:1; 16:20; 30:15-20; Ez 20:11; Bar 10:5Kale nno kaakano, muwulire, Ayi Isirayiri, mutege amatu eri amateeka n’ebiragiro bye ŋŋenda okubayigiriza. Mubigonderenga era mubigobererenga, muliba balamu, mulyoke muyingire mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy’abawa mugyetwalire ebeere obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 24:2 Ma 12:32; Yos 1:7; Kub 22:18-19Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbategeeza.

34:3 Kbl 25:1-9; Zab 106:28Mwerabirako n’amaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza; 4naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu leero.

5Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka n’ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, n’okugyefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 64:6 a Ma 30:19-20; Zab 19:7; Nge 1:7 b Yob 28:28Mugagobererenga n’obwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe n’obutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu b’eggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.” 74:7 a 2Sa 7:23 b Zab 46:1; Is 55:6Kubanga ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna bakatonda b’abantu baalyo okumpi n’abantu abo, nga ffe bwe tulina Mukama Katonda waffe, abeera okumpi naffe buli lwe tumukoowoola? 8Era ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna amateeka n’ebiragiro eby’obwenkanya nga bino bye nteeka mu maaso gammwe leero?

94:9 a Nge 4:23 b Lub 18:19; Bef 6:4 c Zab 78:5-6“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe. 104:10 Kuv 19:9, 16Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe. 114:11 Kuv 19:18Mwasembera ne muyimirira wansi w’olusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire n’ekizikiza ekikutte.’ 124:12 Kuv 20:22Bw’atyo Mukama Katonda n’ayogera nammwe ng’asinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga y’ebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka. 134:13 a Ma 9:9, 11 b Kuv 24:12; 31:18Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande by’amayinja ebibiri, n’abalagira okugagobereranga. 14Era mu kaseera ako Mukama Katonda n’andagira mbayigirize amateeka n’ebiragiro bye musaana okugonderanga, nga muli mu nsi gye mugenda okwefunira ng’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, nga mumaze okusomoka Yoludaani.

Okusinza Bakatonda abalala Kuwerebwa

154:15 a Is 40:18 b Yos 23:11“Ku lunaku olwo Mukama Katonda bwe yayogera gye muli ng’asinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo, 164:16 Kuv 20:4-5; 32:7; Ma 5:8; Bar 1:23mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi, 17oba ebifaanana ng’ensolo ez’oku nsi, oba ng’ennyonyi ezibuuka mu bbanga, 18oba ebifaanana ng’ebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ng’ebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi w’ettaka. 194:19 a Ma 17:3; Yob 31:26 b 2Bk 17:16; 21:3; Bar 1:25Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu. 204:20 a 1Bk 8:51; Yer 11:4 b Kuv 19:5; Ma 9:29Naye mmwe, Mukama yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be ab’obusika bwe, nga bwe muli leero.

214:21 Kbl 20:12; Ma 1:37“Ate n’ekirala, Mukama yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawa okubeera obusika bwammwe. 224:22 Ma 3:25Naye nze kinsaanira okufiira wano mu nsi eno kaakano mwe tuli, sigenda kusomoka mugga Yoludaani; naye mmwe muligusomoka ne mwefunira ensi eyo ennungi okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 234:23 a nny 9, 16 b Kuv 20:4Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola. 244:24 Kuv 24:17; Ma 9:3; Beb 12:29Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda ow’obuggya.

Ekibonerezo olw’Okusinza Bakatonda Abalala

254:25 2Bk 17:2, 17“Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga, 264:26 Ma 30:18-19; Is 1:2; Mi 6:2nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna. 274:27 Lv 26:33; Ma 28:36, 64; Nek 1:8Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza. 284:28 a Ma 28:36, 64; 1Sa 26:19; Yer 16:13 b Zab 115:4-8; 135:15-18Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza. 294:29 a 2By 15:4; Is 55:6 b Yer 29:13 c Ma 30:1-3, 10Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna. 304:30 Ma 31:29; Yer 23:20; Kos 3:5Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako n’olaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera eby’oluvannyuma, n’omugonderanga. 314:31 2By 30:9; Nek 9:31; Zab 116:5; Yon 4:2Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.

Isirayiri, Eggwanga Eddonde

324:32 a Ma 32:7; Yob 8:8 b Lub 1:27 c Mat 24:31“Kale, weebuuze leero ku byafaayo eby’ebiro eby’edda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu n’amuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako? 334:33 Kuv 20:22; Ma 5:24-26Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ng’ayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu? 344:34 a Kuv 6:6 b Kuv 7:3 c Ma 7:19; 26:8 d Kuv 13:3 e Ma 34:12Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?

354:35 Ma 32:39; 1Sa 2:2; Is 45:5, 18“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala. 364:36 Kuv 19:9, 19Yakuleka n’owulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, n’owulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo. 374:37 a Ma 10:15 b Kuv 13:3, 9, 14Olw’okubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi y’e Misiri ng’akozesa obuyinza bwe obungi. 384:38 Ma 7:1; 9:5Yakuwangulira amawanga amakulu era agakusinga ggwe amaanyi, alyoke akuyingize mu nsi yaabwe, era agikuwe ggwe okubeeranga obusika bwo nga bwe kiri leero.

394:39 nny 35; Yos 2:11“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala. 404:40 a Lv 22:31; Ma 5:33 b Ma 5:16 c Ma 6:3, 18; Bef 6:2-3Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira.”

Ebibuga eby’Obuddukiro

41Awo Musa n’ayawula ebibuga bisatu ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, 42nga mu bibuga ebyo, omuntu yenna anaabanga asse muntu munne nga tagenderedde, mw’anaddukiranga, kubanga munne anaabanga amusse mu butanwa nga tamuliiko kiruyi kubanga tabangako mulabe we; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo yeewonye naye okuttibwa. 43Bino bye byali ebibuga ebyo: Bezeri, nga kiri mu ddungu mu nsi engulumivu kyokka nga waggulu mbyabyatavu, nga kye ky’Abalewubeeni; ne Lamusi mu Gireyaadi, nga kye ky’Abagaadi; ne Golani mu Basani, nga ky’ekitundu ky’Abamanase abaagabana oluuyi olwo.

Musa Ayanjula Amateeka

44Gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g’abaana ba Isirayiri, 45era ono ye kalonda w’obujulirwa, n’amateeka, n’ebiragiro, Musa bye yategeeza abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, 464:46 Kbl 21:26; Ma 3:29nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bw’omugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa n’abaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi ey’e Misiri. 47Ensi eyo baali bagitutte awamu n’ensi ya Ogi kabaka wa Basani, abo nga be bakabaka ababiri abaabanga ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani. 484:48 a Ma 2:36 b Ma 3:9Ensi eyo yali eva ku Aluweri ekiri ku njegoyego y’Ekiwonvu Alunoni n’okutuuka ku lusozi olunene Siriyoni era olwo ye Kerumooni, 49n’ezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga.