เฉลยธรรมบัญญัติ 22 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

เฉลยธรรมบัญญัติ 22:1-30

1หากท่านเห็นวัวหรือแกะของเพื่อนบ้านหลงมา อย่านิ่งดูดาย จงนำมันกลับไปคืนเจ้าของ 2หากเจ้าของอยู่ไกลหรือท่านไม่รู้ว่าใครเป็นเจ้าของ จงพามันไปที่บ้านของท่าน และดูแลมันจนกว่าเจ้าของจะมาถามหา จึงคืนมันให้เขา 3ไม่ว่าจะเป็นลา เสื้อผ้า หรือสิ่งใดๆ ของเขาที่สูญหาย อย่านิ่งดูดาย

4เมื่อท่านเห็นลาหรือวัวของเพื่อนบ้านล้มอยู่ตามทาง อย่านิ่งดูดาย จงเข้าไปช่วยเหลือให้มันยืนขึ้นได้อีก

5สตรีอย่าสวมเครื่องแต่งกายของบุรุษและบุรุษก็อย่าสวมเครื่องแต่งกายของสตรี เพราะพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านทรงรังเกียจผู้ที่ทำเช่นนั้น

6หากพบรังนกริมทาง หรือบนต้นไม้ หรือที่พื้น และมีแม่นกกกไข่หรือลูกของมัน อย่าจับทั้งแม่นกและลูกนก 7ท่านอาจจับลูกนกไว้ แต่จงปล่อยแม่นกไป เพื่อประโยชน์สุขของท่าน และเพื่อท่านจะมีชีวิตยืนยาว

8เมื่อสร้างบ้านใหม่ จงก่อขอบรอบหลังคาเพื่อท่านจะไม่นำความผิดมาสู่บ้านของท่านเนื่องจากมีคนพลัดตกลงมาตาย

9อย่าหว่านเมล็ดพืชสองชนิดปนกันในสวนองุ่นของท่าน หากท่านทำ ทั้งผลองุ่นและพืชพันธุ์นั้นจะเป็นมลทิน22:9 หรือถูกริบไปยังสถานนมัสการ

10อย่าเอาวัวกับลาเข้าเทียมแอกด้วยกัน

11อย่าสวมเสื้อผ้าที่ทอจากด้ายขนสัตว์ปนด้ายลินิน

12ท่านจงเย็บพู่ห้อยไว้ที่มุมทั้งสี่ของเสื้อคลุม

การทำผิดในชีวิตสมรส

13หากชายใดแต่งงานและหลังจากที่หลับนอนกับภรรยาแล้วไม่ชอบนาง 14จึงทำให้นางเสื่อมเสียชื่อเสียงโดยพูดให้ร้ายว่า “ข้าพเจ้าแต่งงานกับหญิงนี้ แต่เมื่อเข้าหานาง กลับไม่พบหลักฐานที่พิสูจน์ว่านางเป็นสาวพรหมจารี” 15บิดามารดาของหญิงนั้นต้องนำข้อพิสูจน์พรหมจารีของนางมาให้ผู้อาวุโสประจำเมืองพิจารณาที่ประตูเมือง 16ผู้เป็นบิดาจะกล่าวแก่บรรดาผู้อาวุโสว่า “ข้าพเจ้ายกบุตรสาวให้เป็นภรรยาของชายผู้นี้ แต่เขาไม่ชอบนาง 17และตอนนี้เขามาพูดให้นางเสื่อมเสียว่า ‘ข้าพเจ้าพบว่า ลูกสาวของท่านไม่ใช่สาวพรหมจารี’ แต่นี่เป็นข้อพิสูจน์ความเป็นพรหมจารีของบุตรสาวของข้าพเจ้า” แล้วคลี่ผ้าออกให้คณะผู้อาวุโสของเมืองนั้นดู 18ผู้อาวุโสจะนำชายผู้นั้นมาลงโทษ 19และปรับเขาเป็นเงินหนัก 100 เชเขล22:19 1 เชเขล คือเงินหนักประมาณ 11.5 กรัม มีค่าเท่ากับค่าแรงสองเดือน เช่นเดียวกับข้อ 29 มอบให้แก่บิดาของหญิงนั้น เพราะเขาทำให้หญิงพรหมจารีชาวอิสราเอลเสียชื่อเสียง นางยังคงเป็นภรรยาของเขาต่อไป เขาจะหย่ากับนางไม่ได้ตลอดชีวิต

20แต่หากคำกล่าวหาเป็นความจริง และไม่มีหลักฐานพิสูจน์ว่าหญิงนั้นเป็นสาวพรหมจารี 21นางจะถูกนำตัวไปที่ประตูบ้านของบิดา และให้ชาวเมืองนั้นเอาหินขว้างนางให้ตาย นางได้ทำสิ่งที่น่าละอายในอิสราเอลโดยปล่อยตัวให้ผู้ชายทั้งๆ ที่ยังไม่ได้ออกเรือน ท่านจะต้องขจัดความชั่วร้ายออกไปจากหมู่พวกท่าน

22ชายใดถูกจับได้ในขณะนอนกับภรรยาของคนอื่น ทั้งตัวเขาและหญิงผู้คบชู้จะต้องมีโทษถึงตาย ท่านจะต้องขจัดความชั่วร้ายออกไปจากอิสราเอล

23ชายใดพบสาวพรหมจารีซึ่งหมั้นแล้วและหลับนอนกับเธอในเมือง 24ทั้งคู่จะต้องถูกนำตัวไปที่ประตูเมืองและถูกหินขว้างตาย เพราะเหตุที่ฝ่ายหญิงไม่ได้ร้องขอความช่วยเหลือ และฝ่ายชายได้ละเมิดพรหมจารีคู่หมั้นของคนอื่น ท่านต้องขจัดความชั่วร้ายออกไปจากหมู่พวกท่าน

25แต่หากเหตุการณ์นี้เกิดขึ้นนอกเมือง ชายผู้ข่มขืนหญิงสาวที่ผู้อื่นหมั้นหมายไว้แล้วต้องตายเพียงคนเดียว 26อย่าทำอะไรฝ่ายหญิง เพราะนางไม่ได้ทำบาปอะไรที่สมควรตาย กรณีนี้คล้ายคลึงกับกรณีที่มีคนทำร้ายเพื่อนบ้านถึงแก่ความตาย 27เพราะเหตุเกิดที่นอกเมืองหญิงสาวนั้นอาจส่งเสียงร้องแล้ว แต่ไม่มีใครได้ยินจึงไม่มีใครช่วยนางออกมา

28ชายใดถูกจับได้ว่าข่มขืนสาวพรหมจารีที่ยังไม่ได้หมั้นหมาย 29เขาจะต้องจ่ายเงินหนัก 50 เชเขลแก่บิดาของหญิงนั้นและแต่งงานกับนาง เพราะเขาได้ละเมิดหญิงนั้น เขาจะหย่ากับนางไม่ได้ตลอดชีวิตของเขา

30อย่าให้ผู้ใดแต่งงานกับภรรยาของบิดา เขาจะต้องไม่หยามเกียรติบิดา

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 22:1-30

Okuyambagana

122:1 Kuv 23:4-5Bw’olabanga ente ya munno, oba endiga ye, ng’ebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga n’ogizzaayo ewa nnyiniyo. 2Nannyini yo bw’abanga tasula kumpi naawe, obanga nannyini yo tomumanyi, ogireetanga mu maka go n’obeeranga nayo okutuusa nannyini yo lw’alijja ng’aginoonya; olwo nno n’olyoka ogimuddiza. 3Okolanga bw’otyo ng’osanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno ky’anaabanga abuliddwa kyokka ggwe n’okironda. Tolemanga kuyamba munno ng’ali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bw’onoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.

422:4 Kuv 23:5Bw’onoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ng’egudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.

Omusajja Okwefaanaanyiriza Omukazi, oba Omukazi Okwefaanaanyiriza Omusajja

5Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so n’omusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.

622:6 Lv 22:28Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu ky’ennyonyi ku muti, oba ku mabbali g’ekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.

722:7 Ma 4:40Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga n’agenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu n’obuwangaazi.

Akasenge ak’Okukugira Akasolya

8Bwe muneezimbiranga enju empya ey’akasolya akatereevu22:8 akasolya akatereevu Ennyumba ez’omu bitundu ebyo zaalinanga akasolya akatereevu, omuntu kwe yayinzanga okutambulira, oba oluusi n’okwebakako ng’obudde bw’ekiro bwa bbugumu nnyo akatali keesulifu, mukolangako akasenge waggulu okwebungulula akasolya ako, kalyoke kaziyizenga omuntu okuva eyo waggulu n’agwa wansi, n’aleeteranga ennyumba eyo omusango olw’omusaayi ogunaabanga guyiise.

Obutatabulatabulanga Bintu bya Njawulo

922:9 Lv 19:19Wakati w’ennyiriri z’emizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala by’emizabbibu n’eby’emmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga.

1022:10 2Ko 6:14Ente n’endogoyi temuzigattanga wamu ne muzisibanga ku kikoligo kye kimu eky’ekyuma kye munaabanga mulimisa.

1122:11 Lv 19:19Temwambalanga ngoye ezinaabanga zirukiddwa n’ewuzi z’ebyoya by’endiga nga zigattiddwa wamu n’ewuzi eza linena.

1222:12 Kbl 15:37-41; Mat 23:5Mutunganga emijunga ku buli nsonda ennya ez’eminagiro gyammwe gye munaayambalanga.

Amateeka ag’Enkolagana y’Abasajja n’Abakazi

1322:13 Ma 24:1Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa, 14n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,” 15Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera. 16Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. 17Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo. 1822:18 Kuv 18:21Abakulembeze abakulu b’ekibuga ekyo banaatwalanga bba w’omuwala, banaasookanga okumukubamu. 19Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi22:19 sekeri za ffeeza kikumi zenkanankana kilo emu; banaaziwanga kitaawe w’omuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka g’omusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo by’alimala nga mulamu.

20Naye singa omusajja nga by’anaabanga ayogedde bya mazima, nga n’obujulizi obukakasa ng’omuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze, 2122:21 Lub 34:7; Ma 13:5; 23:17-18; Bal 20:6; 2Sa 13:12kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.

2222:22 Lv 20:10; Yk 8:5Omusajja bw’anaakwatibwanga nga yeebase n’omukyala w’omusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa n’omukyala gw’anaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.

23Bwe wanaabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa afumbirwe, omusajja n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye, 2422:24 nny 21-22; 1Ko 5:13*munaabaleetanga bombi ku wankaaki w’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye n’atakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.

25Naye omusajja bw’anaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale n’amukwata ne yeebaka naye olw’empaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo y’anattibwanga. 26Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula. 27Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.

2822:28 Kuv 22:16Omusajja bw’anasisinkananga omuwala embeerera naye nga taliiko amwogereza, n’amukwata ne yeebaka naye, ne bakwatibwa nga bali mu kikolwa ekyo, 29omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo anaasasulanga kitaawe w’omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano.22:29 Sekeri za ffeeza amakumi ataano Zenkanankana nga kitundu kya kilo Omusajja anaawasanga omuwala oyo okuba mukazi we, kubanga anaabanga amaze okumusobyako. Era taamugobenga okumala ebbanga lyonna omusajja oyo nga mulamu.

3022:30 Lv 18:8; 20:11; Ma 27:20; 1Ko 5:1Omusajja taawasenga mukyala wa kitaawe aleme kuweebuulanga kitiibwa kya buliri bwa kitaawe.