กิจการของอัครทูต 19 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

กิจการของอัครทูต 19:1-41

เปาโลในเมืองเอเฟซัส

1ขณะอปอลโลอยู่ที่เมืองโครินธ์เปาโลเดินทางไปตามถนนที่ผ่านดินแดนด้านในและมาที่เมืองเอเฟซัส เขาพบสาวกบางคนที่นั่น 2และถามว่า “เมื่อ19:2 หรือหลังจาก ท่านเชื่อท่านได้รับพระวิญญาณบริสุทธิ์หรือไม่?”

พวกเขาตอบว่า “ไม่ เราไม่เคยแม้แต่ได้ยินว่ามีพระวิญญาณบริสุทธิ์”

3ดังนั้นเปาโลจึงถามว่า “ถ้าเช่นนั้น ท่านได้รับบัพติศมาอะไร?”

พวกเขาตอบว่า “บัพติศมาของยอห์น”

4เปาโลจึงกล่าวว่า “บัพติศมาของยอห์นคือบัพติศมาที่แสดงการกลับใจใหม่ ยอห์นได้บอกประชาชนให้เชื่อในพระองค์ผู้ซึ่งมาภายหลังท่านคือให้เชื่อในพระเยซู” 5เมื่อได้ฟังเช่นนี้พวกเขาก็รับบัพติศมาเข้าใน19:5 หรือบัพติศมาในพระนามขององค์พระเยซูเจ้า 6เมื่อเปาโลวางมือบนพวกเขาพระวิญญาณบริสุทธิ์ก็เสด็จมายังคนเหล่านี้ พวกเขาก็พูดภาษาแปลกๆ19:6 หรือภาษาอื่นๆและพยากรณ์ 7คนทั้งหมดนี้เป็นผู้ชายมีประมาณสิบสองคน

8เปาโลเข้าไปในธรรมศาลาและกล่าวด้วยใจกล้าเป็นเวลาสามเดือน ชี้แจงเรื่องอาณาจักรของพระเจ้าด้วยเหตุผลอย่างน่าเชื่อถือ 9แต่บางคนใจดื้อด้านไม่ยอมเชื่อและพูดให้ร้าย “ทางนั้น” ต่อหน้าสาธารณชน ดังนั้นเปาโลจึงพาพวกสาวกแยกไปและพวกเขาไปอภิปรายกันที่ห้องประชุมของทีรันนัสทุกวัน 10เขาทำเช่นนี้อยู่สองปีจนชาวยิวและชาวกรีกทั้งปวงในแคว้นเอเชียได้ยินพระวจนะขององค์พระผู้เป็นเจ้า

11พระเจ้าทรงกระทำการอัศจรรย์ที่พิเศษกว่าปกติผ่านทางเปาโล 12กระทั่งเมื่อนำผ้าเช็ดหน้ากับผ้ากันเปื้อนที่แตะถูกตัวเขาไปวางบนตัวคนเจ็บป่วย คนเหล่านั้นก็จะหายโรคและวิญญาณชั่วก็ออกไปจากเขา

13ชาวยิวบางคนไปตามที่ต่างๆ แล้วขับไล่วิญญาณชั่วโดยพยายามออกพระนามขององค์พระเยซูเจ้าเหนือคนที่ถูกผีสิง พวกเขาจะสั่งว่า “ในพระนามพระเยซูซึ่งเปาโลประกาศ เราสั่งเจ้าให้ออกมา” 14บุตรชายเจ็ดคนของเสวาหัวหน้าปุโรหิตชาวยิวก็ทำเช่นนี้ 15วันหนึ่งวิญญาณชั่วตอบพวกเขาว่า “พระเยซูน่ะข้ารู้จักและข้าก็เคยได้ยินเรื่องเปาโลแต่พวกเจ้าเป็นใครกัน?” 16แล้วคนที่มีวิญญาณชั่วสิงก็กระโจนเข้าใส่และเอาชนะพวกเขาทั้งหมด คนนั้นทุบตีพวกเขาจนต้องเผ่นหนีจากบ้านทั้งๆ ที่เปลือยกายและเลือดไหล

17เมื่อเรื่องนี้ไปถึงหูชาวยิวและชาวกรีกในเมืองเอเฟซัสพวกเขาทั้งปวงพากันเกรงกลัวจับใจและพระนามขององค์พระเยซูเจ้าก็เป็นที่ยกย่องอย่างสูง 18บัดนี้หลายคนที่เชื่อมาสารภาพการกระทำที่ชั่วร้ายอย่างเปิดเผย 19คนที่ใช้เวทมนตร์คาถานำม้วนตำราของตนมาเผาทิ้งต่อหน้าสาธารณชน ตำราเหล่านั้นรวมแล้วคิดเป็นเงินถึง 50,000 แดรกมา19:19 1 แดรกมาคือเหรียญเงิน 1 เหรียญมีค่าเท่ากับค่าแรง 1 วัน 20โดยเหตุนี้พระวจนะขององค์พระผู้เป็นเจ้าจึงแพร่ออกไปอย่างกว้างไกลและเกิดผลมากยิ่งขึ้น

21ภายหลังเหตุการณ์เหล่านี้เปาโลตกลงใจว่าจะไปกรุงเยรูซาเล็มโดยผ่านทางแคว้นมาซิโดเนียและอาคายา เขากล่าวว่า “หลังจากได้ไปที่นั่นแล้วเราต้องไปเยี่ยมกรุงโรมด้วย” 22เปาโลส่งผู้ช่วยของเขาสองคนคือทิโมธีกับเอรัสทัสไปแคว้นมาซิโดเนียขณะที่เขาอยู่ในแคว้นเอเชียต่ออีกหน่อยหนึ่ง

การจลาจลในเมืองเอเฟซัส

23ครั้งนั้นเกิดเหตุวุ่นวายครั้งใหญ่เกี่ยวกับ “ทางนั้น” 24ช่างเงินคนหนึ่งชื่อเดเมตริอัสเป็นคนทำรูปจำลองสถานบูชาของเทวีอารเทมิสด้วยเงิน ซึ่งทำรายได้ให้พวกช่างฝีมือไม่น้อย 25เขาเรียกประชุมช่างเหล่านั้นกับคนงานในธุรกิจที่เกี่ยวข้องมาและกล่าวว่า “ท่านทั้งหลาย ท่านย่อมทราบอยู่ว่าธุรกิจนี้สร้างรายได้ให้เราอย่างมาก 26ท่านก็ได้เห็นและได้ยินที่เปาโลคนนี้ชักจูงผู้คนมากมายให้หลงทางทั้งในเอเฟซัสนี้กับทั่วแคว้นเอเชียก็ว่าได้ เขาพูดว่ารูปเคารพที่มนุษย์สร้างขึ้นไม่ได้เป็นเทพเจ้าเลย 27สิ่งนี้เป็นอันตรายเพราะไม่เพียงแต่จะทำให้การค้าของเราเสียชื่อ ยังทำให้ผู้คนเสื่อมศรัทธาในวิหารของเทวีอารเทมิสผู้ยิ่งใหญ่ด้วย และเทวีเองที่ผู้คนกราบไหว้ทั่วแคว้นเอเชียและทั่วโลกจะถูกปล้นความยิ่งใหญ่อันศักดิ์สิทธิ์ของพระนางไป”

28เมื่อพวกเขาทั้งหลายได้ยินดังนั้นก็โกรธจัดและเริ่มตะโกนว่า “เทวีอารเทมิสของชาวเอเฟซัสนั้นยิ่งใหญ่!” 29ไม่ช้าทั่วทั้งเมืองก็โกลาหล ผู้คนจับกายอัสกับอาริสทารคัสผู้เป็นเพื่อนร่วมทางของเปาโลจากแคว้นมาซิโดเนียและพากันกรูเข้าไปในที่ซึ่งคนทั้งเมืองใช้ประชุมกัน 30เปาโลอยากจะแสดงตัวต่อหน้าฝูงชนแต่พวกสาวกไม่ยอม 31แม้แต่เจ้าหน้าที่บางคนของแคว้นนั้นซึ่งเป็นเพื่อนของเปาโลยังส่งข่าวมาขอร้องไม่ให้เขาเข้าไปในสถานที่นั้น

32ที่ประชุมวุ่นวายมากบางคนตะโกนว่าอย่างนี้บางคนว่าอย่างนั้น ประชาชนส่วนใหญ่ไม่รู้ด้วยซ้ำว่าตัวเองไปที่นั่นทำไม 33พวกยิวผลักอเล็กซานเดอร์ให้ออกไปข้างหน้าและบางคนในฝูงชนก็ตะโกนแนะว่าเขาควรพูดอะไร เขาโบกมือให้เงียบเพื่อจะแก้ต่างต่อหน้าประชาชน 34แต่เมื่อพวกนั้นเห็นว่าเขาเป็นยิวก็ร้องเป็นเสียงเดียวกันราวสองชั่วโมงว่า “เทวีอารเทมิสของชาวเอเฟซัสนั้นยิ่งใหญ่!”

35เจ้าหน้าที่ของเมืองนั้นทำให้ฝูงชนเงียบแล้วกล่าวว่า “ชนชาวเอเฟซัส ใครๆ ก็รู้ไม่ใช่หรือว่าเมืองเอเฟซัสคือผู้ดูแลวิหารของเทวีอารเทมิสผู้ยิ่งใหญ่ตลอดจนเทวรูปของพระนางซึ่งตกลงมาจากฟ้าสวรรค์? 36ฉะนั้นในเมื่อข้อเท็จจริงเหล่านี้ไม่อาจปฏิเสธได้ท่านทั้งหลายก็ควรนิ่งสงบ ไม่ทำอะไรวู่วาม 37พวกท่านนำตัวคนเหล่านี้มาที่นี่ทั้งๆ ที่พวกเขาก็ไม่ได้ปล้นวิหารต่างๆ หรือลบหลู่เทวีของเรา 38แล้วถ้าเดเมตริอัสกับพวกพ้องช่างฝีมือมีเรื่องจะร้องทุกข์เกี่ยวกับใครคนใดคนหนึ่งศาลก็เปิดอยู่และผู้ตรวจการก็มี พวกเขาสามารถฟ้องร้องได้ 39หากท่านมีข้อหาอื่นใดก็ต้องตกลงกันในที่ประชุมตามกฎหมาย 40เหตุการณ์วันนี้ทำให้เราเสี่ยงต่อการตกเป็นผู้ก่อการจลาจลเพราะเราไม่มีเหตุผลที่จะอธิบายความวุ่นวายครั้งนี้” 41หลังจากกล่าวเช่นนี้แล้วเขาก็ให้เลิกชุมนุม

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 19:1-41

Pawulo mu Efeso

119:1 a Bik 18:1 b Bik 18:19Awo Apolo ng’ali mu Kkolinso, Pawulo n’atambula ng’ayita ku lukalu n’alaga mu Efeso. N’asangayo abayigirizwa bangiko, 2n’ababuuza nti, “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?” Ne bamuddamu nti, “Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu.” 3N’ababuuza nti, “Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bamuddamu nti, “Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza.” 419:4 Yk 1:7; Bik 13:24, 25Awo Pawulo n’abagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya eri abantu ng’agamba nti agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.” 5Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 619:6 a Bik 6:6; 8:17 b Bik 2:4 c Mak 16:17; Bik 10:46Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era n’okuwa obunnabbi. 7Bonna baali abantu nga kkumi na babiri.

819:8 a Bik 9:20 b Bik 1:3; 28:23Pawulo n’ayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ng’abuulira n’obuvumu bungi okumala emyezi esatu, n’abategeezanga ekyo ky’akkiriza era n’ensonga kyava akkiriza, n’asendasenda bangi okukkiriza ebintu by’obwakabaka bwa Katonda. 919:9 a Bik 14:4 b nny 23; Bik 9:2 c Bik 9:30; 11:26Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika n’okwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo n’abaviira, n’atwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge ky’essomero lya Tulaano buli lunaku. 1019:10 a Bik 20:31 b nny 22, 26, 27Ne bamala emyaka ebiri n’okusingawo nga bakola bwe batyo, era Abayudaaya bonna n’Abayonaani bonna abaabeeranga mu kitundu ekyo ekya Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama.

Batabani ba Sukewa

1119:11 Bik 8:13Katonda n’akozesanga Pawulo eby’amagero eby’ekitalo. 1219:12 Bik 5:15Obutambaala bwe n’ebiwero eby’engoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.

1319:13 a Mat 12:27 b Mak 9:38Waaliwo Abayudaaya abaagendanga nga bagoba baddayimooni ku bantu mu buli kibuga, ne bagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu, nga bagamba dayimooni ali ku mulwadde nti, “Mu linnya lya Yesu, Pawulo gw’abuulira, nkulagira omuveeko.” 14Waaliwo batabani ba Sukewa, eyali kabona omukulu Omuyudaaya, musanvu, nabo abaakolanga bwe batyo. 15Bwe baakigezaako ku musajja eyaliko dayimooni, dayimooni n’abagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe, mmwe b’ani?” 16N’ababuukira n’abasinza amaanyi bonna, n’abataagulataagula nnyo, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, era nga baliko ebiwundu.

1719:17 a Bik 18:19 b Bik 5:5, 11Ebigambo ebyo ne bibuna mangu mu Bayudaaya ne mu Bayonaani abaali mu Efeso, era bonna ne bakwatibwa entiisa nnene, n’erinnya lya Mukama waffe Yesu ne liweebwa ekitiibwa kingi. 18Bangi mu abo abakkiriza ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu ne baatula n’ebikolwa byabwe. 19Abamu abaali abalogo ne baleeta ebitabo byabwe ne babyokya ng’abantu bonna balaba. Bwe baabalirira omuwendo gw’ensimbi mu bitabo ebyayokebwa, nga guwera nga siringi emitwalo kkumi. 2019:20 Bik 6:7; 12:24Awo ekigambo kya Mukama ne kyeyongera okubuna mu maanyi n’okunywera.

Akasasamalo mu Efeso

2119:21 a Bik 20:16, 22; Bar 15:25 b Bik 16:9 c Bik 18:12 d Bar 15:24, 28Oluvannyuma lw’ebyo okutuukirira Pawulo n’alowooza mu mutima okugenda e Yerusaalemi ng’ayitira mu Makedoniya ne mu Akaya. N’agamba nti, “Bwe ndiva eyo kinsaanira nkyaleko ne mu Ruumi.” 2219:22 a Bik 13:5 b Bik 16:1 c Bar 16:23; 2Ti 4:20 d nny 10, 26, 27N’asindika babiri ku baamuyambanga, Timoseewo ne Erasuto e Makedoniya, ye n’asigala mu kitundu kya Asiya okumala ebbanga.

2319:23 Bik 9:2Mu kiseera ekyo ne wabaawo akasasamalo ak’amaanyi ku bigambo by’ekkubo. 24Waaliwo omusajja erinnya lye Demeteriyo, yali muweesi wa bintu bya ffeeza, era nga y’akola obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwaleetanga amagoba mangi. 2519:25 Bik 16:16, 19, 20Awo Demeteriyo n’ayita abakozi be bonna wamu n’abo abakola emirimu egikwatagana n’egigye, ne bakuba olukuŋŋaana. N’alyoka ayogera nabo nti, “Mumanyi nti mu mulimu guno mwe tuggya obugagga. 2619:26 a Bik 18:19 b Ma 4:28; Zab 115:4; Is 44:10-20; Yer 10:3-5; Bik 17:29; 1Ko 8:4; Kub 9:20Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti bakatonda abakolebwa n’emikono si bakatonda. 27Kino kya kabi gye tuli naye si mu Efeso mwokka naye ne mu kitundu kyonna ekya Asiya ne ku yeekaalu ya Atemi ne ku mukazi Oweekitiibwa Atemi. Kubanga ettutumu ly’alina lijja kumuggwaako, mu bitundu byonna ebya Asiya ne mu nsi gy’asinzibwa.”

2819:28 Bik 18:19Awo bwe baawulira ebyo, ne basunguwala, ne batandika okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” 2919:29 a Bik 20:4; Bar 16:23; 1Ko 1:14 b Bik 20:4; 27:2; Bak 4:10; Fir 24 c Bik 16:9Ekibuga ne kijjula akayuuguumo, abantu bonna ne badduka nga balaga mu kifo omwazanyirwanga emizannyo nga bwe basikaasikanya Gayo ne Alisutaluuko, abaatambulanga ne Pawulo, babatwale babawozese. 30Pawulo n’ayagala naye okuyingira mu kibiina, kyokka abayigirizwa ne batamukkiriza. 31N’abamu ku b’omu Asiya, abaali mikwano gya Pawulo, ne bamutumira aleme kwewaayo kuyingira mu kifo omwazanyirwanga emizannyo.

3219:32 Bik 21:34Abantu abaali munda ne bamala galeekaana, ng’abamu boogera kino n’abalala kiri kubanga ekibiina kyali kitabusetabuse. Abasinga obungi nga n’okumanya tebamanyi nsonga yennyini ebakuŋŋaanyisizza. 3319:33 Bik 12:17Abayudaaya abamu bwe baalengera Alegezanda ng’ali mu kibiina ne bamusika okumuleeta mu maaso. N’akoma ku bantu basirike abeeko ky’abagamba. 34Naye ekibiina bwe kyategeera nga Muyudaaya, bonna ne baddamu buto okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” Ne bakiddiŋŋana emirundi n’emirundi okumala ng’essaawa bbiri nnamba.

3519:35 Bik 18:19Awo omukulu w’ekibuga n’abasirisa n’ayogera nabo nti, “Abasajja Abaefeso, buli muntu yenna amanyi nti Efeso mwe mukuumirwa essabo ekkulu ery’omukulu Atemi, gwe tumanyi ng’ekifaananyi ekyava mu ggulu. 36Olw’okubanga ebyo tewali abiwakanya, temusaana kwecanga olw’ebyo ebyogerwa, era temusaana kwanguyiriza kukola kya bulabe. 3719:37 Bar 2:22Kale muleese wano abasajja bano abatabbye kintu kya Atemi n’ekimu, wadde okumunyoomoola. 3819:38 Bik 13:7, 8, 12Obanga Demeteriyo n’abakozi be balina ensonga ze bavunaana abasajja bano, embuga z’amateeka weeziri era abalamuzi bajja kuyingira mangu mu nsonga zaabwe. Kirungi bakwate amakubo amatongole. 39Obanga waliwo abeemulugunya ku nsonga endala, ebyo biyinza okutereezebwa mu Lukiiko lw’Ekibuga olwa bulijjo. 40Kubanga singa tetwegendereza, tujja kuvunaanibwa olw’akasasamalo ka leero, kubanga tetujja kuba na kya kwogera.” 41Awo n’abasiibula, ne basaasaana.