กิจการของอัครทูต 14 – TNCV & LCB

Thai New Contemporary Bible

กิจการของอัครทูต 14:1-28

ในเมืองอิโคนียูม

1ที่เมืองอิโคนียูมเปาโลกับบารนาบัสเข้าไปในธรรมศาลาของพวกยิวตามปกติ พวกเขาประกาศอย่างเกิดผลจนมีชาวยิวและชาวต่างชาติมากมายมาเชื่อ 2แต่พวกยิวที่ไม่ยอมเชื่อก็ปลุกปั่นคนต่างชาติและทำให้พวกเขามีใจคิดร้ายต่อพวกพี่น้อง 3ฝ่ายเปาโลกับบารนาบัสใช้เวลาอยู่ที่นั่นนานพอสมควร พวกเขาประกาศด้วยใจกล้าเพื่อองค์พระผู้เป็นเจ้าผู้ทรงยืนยันเรื่องราวแห่งพระคุณของพระองค์โดยให้เขาทั้งสองทำหมายสำคัญและปาฏิหาริย์ต่างๆ 4ชาวเมืองนั้นแยกเป็นสองฝ่าย พวกหนึ่งอยู่ฝ่ายพวกยิว อีกพวกอยู่ฝ่ายอัครทูต 5คนต่างชาติกับพวกยิวและหัวหน้าของพวกเขาคบคิดกันจะทำร้ายและเอาหินขว้างเปาโลกับบารนาบัส 6แต่เขาทั้งสองล่วงรู้แผนการนี้จึงหนีไปยังแคว้นลิคาโอเนีย ที่เมืองลิสตรา เมืองเดอร์บีกับแถบใกล้เคียงโดยรอบ 7และได้ประกาศข่าวประเสริฐที่นั่นต่อไป

ในเมืองลิสตราและเมืองเดอร์บี

8ที่เมืองลิสตรามีชายขาพิการคนหนึ่งนั่งอยู่ เขาเป็นง่อยมาตั้งแต่เกิด ไม่เคยเดินเลย 9คนนั้นนั่งฟังเปาโลพูด เปาโลมองตรงไปที่เขาเห็นว่าเขามีความเชื่อที่จะได้รับการรักษาให้หายได้ 10จึงร้องว่า “จงลุกขึ้นยืน!” คนนั้นก็กระโดดขึ้นยืนและเริ่มเดินไป

11เมื่อฝูงชนเห็นสิ่งที่เปาโลได้ทำก็ร้องตะโกนเป็นภาษาลิคาโอเนียว่า “เหล่าเทพเจ้าได้จำแลงเป็นมนุษย์ลงมาหาพวกเราแล้ว!” 12พวกเขาเรียกบารนาบัสว่าเทพเจ้าซุสและเรียกเปาโลว่าเทพเจ้าเฮอร์เมสเพราะส่วนใหญ่เปาโลเป็นผู้พูด 13ปุโรหิตของเทพเจ้าซุสซึ่งวิหารอยู่นอกเมืองไปเล็กน้อยได้นำโคและพวงมาลามาที่ประตูเมืองเพราะเขากับฝูงชนประสงค์จะถวายเครื่องบูชาแก่เปาโลกับบารนาบัส

14แต่เมื่ออัครทูตบารนาบัสกับเปาโลได้ยินเรื่องนี้ก็ฉีกเสื้อผ้าแล้วถลันเข้าไปกลางฝูงชนและตะโกนว่า 15“ท่านทั้งหลาย เหตุใดจึงทำเช่นนี้? เราเป็นเพียงมนุษย์ธรรมดาเช่นเดียวกับพวกท่าน เรานำข่าวประเสริฐมาเพื่อให้ท่านหันจากสิ่งไร้ค่าเหล่านี้มาหาพระเจ้าผู้ทรงพระชนม์อยู่ ผู้ทรงสร้างฟ้าสวรรค์ แผ่นดินโลก ทะเล และสรรพสิ่งในนั้น 16ในอดีตพระองค์ทรงปล่อยประชาชาติทั้งปวงไปตามทางของเขา 17กระนั้นพระองค์โปรดให้มีพยานหลักฐานถึงพระองค์เอง คือทรงสำแดงพระคุณโดยประทานฝนจากฟ้าสวรรค์และพืชผลตามฤดูกาล พระองค์ประทานอาหารอันอุดมสมบูรณ์แก่ท่านและให้จิตใจของท่านเปี่ยมด้วยความชื่นชมยินดี” 18แม้กล่าวเช่นนี้แล้วก็ยังยากที่เขาทั้งสองจะห้ามฝูงชนไม่ให้ถวายเครื่องบูชาแก่พวกเขา

19แล้วพวกยิวบางคนมาจากเมืองอันทิโอกและเมืองอิโคนียูมและชักจูงฝูงชนให้มาเป็นพวกตนได้สำเร็จ พวกเขาเอาหินขว้างเปาโลและลากออกนอกเมืองเพราะคิดว่าเขาตายแล้ว 20แต่หลังจากที่เหล่าสาวกเข้ามาห้อมล้อมเขาเปาโลก็ลุกขึ้นและกลับเข้าไปในเมือง วันรุ่งขึ้นเขากับบารนาบัสก็ออกเดินทางไปเมืองเดอร์บี

กลับมายังเมืองอันทิโอกในแคว้นซีเรีย

21พวกเขาประกาศข่าวประเสริฐในเมืองนั้นและมีคนมากมายมาเป็นสาวก จากนั้นพวกเขากลับไปยังเมืองลิสตรา เมืองอิโคนียูม และเมืองอันทิโอก 22เพื่อช่วยให้พวกสาวกเข้มแข็งขึ้นและให้กำลังใจพวกเขาให้สัตย์ซื่อมั่นคงในความเชื่อ พวกเขากล่าวว่า “เราต้องเผชิญความยากลำบากมากมายเพื่อเข้าอาณาจักรของพระเจ้า” 23เปาโลกับบารนาบัสแต่งตั้งเหล่าผู้ปกครอง14:23 หรือบารนาบัสสถาปนาเหล่าผู้ปกครองหรือบารนาบัสให้เลือกตั้งเหล่าผู้ปกครอง ในแต่ละคริสตจักรและอดอาหารอธิษฐานเพื่อมอบพวกเขาไว้กับองค์พระผู้เป็นเจ้าผู้ซึ่งพวกเขาเชื่อวางใจ 24หลังจากไปทั่วแคว้นปิสิเดียแล้วพวกเขามายังแคว้นปัมฟีเลีย 25และเมื่อประกาศพระวจนะในเมืองเปอร์กาแล้วก็ลงไปที่เมืองอัททาลิยา

26และจากเมืองอัททาลิยาพวกเขาลงเรือกลับมายังเมืองอันทิโอกที่ซึ่งพวกเขาถูกมอบไว้ในพระคุณของพระเจ้าให้ทำงานซึ่งบัดนี้พวกเขาได้ทำสำเร็จแล้ว 27เมื่อมาถึงที่นั่นพวกเขาเรียกประชุมคริสตจักรและรายงานสิ่งทั้งปวงที่พระเจ้าได้ทรงกระทำผ่านพวกเขาตลอดจนการที่ทรงเปิดประตูแห่งความเชื่อแก่คนต่างชาติ 28และพวกเขาอยู่กับเหล่าสาวกที่นั่นเป็นเวลานาน

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 14:1-28

114:1 Bik 13:51Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. 2Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. 314:3 a Bik 4:29 b Yk 4:48; Beb 2:4Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. 414:4 Bik 17:4, 5Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. 514:5 nny 19Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. 614:6 Mat 10:23Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, 714:7 a Bik 16:10 b nny 15, 21era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.

Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube

814:8 Bik 3:2Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. 914:9 Mat 9:28, 29N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 1014:10 Bik 3:8Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 1114:11 Bik 8:10; 28:6Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.

1414:14 Mak 14:63Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 1514:15 a Bik 10:26; Yak 5:17 b nny 7, 21; Bik 13:32 c 1Sa 12:21; 1Ko 8:4; 1Bs 1:9 d Mat 16:16 e Lub 1:1; Yer 14:22 f Zab 146:6; Kub 14:7“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 1614:16 a Bik 17:30 b Zab 81:12; Mi 4:5Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 1714:17 a Bik 17:27; Bar 1:20 b Ma 11:14; Yob 5:10; Zab 65:10Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.

1914:19 a Bik 13:45 b Bik 13:51 c 2Ko 11:25; 2Ti 3:11Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. 2014:20 nny 22, 28; Bik 11:26Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.

Balunabba ne Pawulo badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya

2114:21 Bik 13:51Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, 2214:22 a Bik 11:23; 13:43 b Yk 16:33; 1Bs 3:3; 2Ti 3:12ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” 2314:23 a Bik 11:30; Tit 1:5 b Bik 13:3 c Bik 20:32Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. 24Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, 25bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.

2614:26 a Bik 11:19 b Bik 15:40 c Bik 13:1, 3Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. 2714:27 a Bik 15:4, 12; 21:19 b 1Ko 16:9; 2Ko 2:12; Bak 4:3; Kub 3:8Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. 28Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.