เฉลยธรรมบัญญัติ 1 TNCV - Ekyamateeka Olwokubiri 1 LCB

เฉลยธรรมบัญญัติ
Elegir capítulo 1

Thai New Contemporary Bible

เฉลยธรรมบัญญัติ 1

พระบัญชาให้ออกจากโฮเรบ

1ต่อไปนี้เป็นถ้อยคำซึ่งโมเสสกล่าวแก่ชาวอิสราเอลทั้งปวงในถิ่นกันดารฟากตะวันออกของแม่น้ำจอร์แดน คือที่ราบอาราบาห์ ซึ่งอยู่ตรงข้ามเมืองสูฟ ที่แห่งนี้อยู่ระหว่างปารานกับโทเฟล ลาบาน ฮาเซโรท และดีซาหับ (การเดินทางจากโฮเรบไปยังคาเดชบารเนียผ่านไปทางภูเขาเสอีร์ ต้องใช้เวลาสิบเอ็ดวัน)

ในวันที่หนึ่ง เดือนที่สิบเอ็ด ปีที่สี่สิบ โมเสสประกาศแก่ชนอิสราเอลถึงสิ่งทั้งปวงที่องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงบัญชาโมเสสเกี่ยวกับพวกเขา ในเวลานั้นเขาเพิ่งรบชนะกษัตริย์สิโหนของชาวอาโมไรต์ผู้ปกครองเฮชโบน และพวกเขารบชนะกษัตริย์โอกแห่งบาชานผู้ปกครองอัชทาโรทที่เอเดรอี

โมเสสเริ่มชี้แจงบทบัญญัติที่ฟากตะวันออกของแม่น้ำจอร์แดนในดินแดนโมอับดังนี้ว่า

พระยาห์เวห์พระเจ้าของเราตรัสกับเราที่ภูเขาโฮเรบว่า “พวกเจ้าพักอยู่ที่ภูเขานี้นานพอแล้ว จงเลิกค่ายและรุกเข้าไปในแดนเทือกเขาของชาวอาโมไรต์ จงเข้าไปยังชนชาติที่อยู่ใกล้เคียงทั้งปวงในที่ราบอาราบาห์ ในภูเขา ในเชิงเขาทางตะวันตก ในเนเกบและชายฝั่งทะเล ไปยังดินแดนคานาอันและเลบานอน จนจดแม่น้ำใหญ่คือแม่น้ำยูเฟรติส ดูเถิดเราได้ยกดินแดนนี้ให้เจ้า จงไปครอบครองดินแดนที่องค์พระผู้เป็นเจ้าได้สัญญาว่าจะยกให้แก่บรรพบุรุษของเจ้าคืออับราฮัม อิสอัค และยาโคบ และกับวงศ์วานของพวกเขา”

การแต่งตั้งผู้นำ

ครั้งนั้นข้าพเจ้าได้กล่าวแก่พวกท่านว่า “พวกท่านเป็นภาระหนักเกินกว่าข้าพเจ้าจะรับผิดชอบเพียงคนเดียว 10 พระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านทรงให้ท่านทวีจำนวนขึ้นจนในวันนี้มีมากมายดุจดวงดาวในท้องฟ้า 11 ขอพระยาห์เวห์พระเจ้าของบรรพบุรุษของพวกท่านทรงเพิ่มพูนพวกท่านยิ่งขึ้นอีกพันเท่า และทรงอวยพรพวกท่านตามที่ทรงสัญญาไว้! 12 แต่ข้าพเจ้าเพียงคนเดียวจะรับปัญหา ภาระ และกรณีพิพาททั้งปวงของพวกท่านได้อย่างไร? 13 จงเลือกบางคนจากแต่ละเผ่า ซึ่งเป็นคนเฉลียวฉลาด มีความเข้าใจ และเป็นที่นับถือ ข้าพเจ้าจะแต่งตั้งคนเหล่านั้นให้เป็นผู้นำของพวกท่าน”

14 ท่านตอบข้าพเจ้าว่า “สิ่งที่ท่านเสนอมานั้นดีแล้ว”

15 ดังนั้นข้าพเจ้าจึงแต่งตั้งบรรดาผู้นำซึ่งเฉลียวฉลาดและเป็นที่นับถือจากเผ่าต่างๆ ให้เป็นผู้บังคับบัญชาคนพันคนบ้าง ร้อยคนบ้าง ห้าสิบคนบ้าง และสิบคนบ้าง และให้เป็นเจ้าหน้าที่ประจำเผ่า 16 ข้าพเจ้ากำชับบรรดาตุลาการ[a]ของท่านในครั้งนั้นว่าให้ฟังความและตัดสินอย่างยุติธรรม ไม่ว่าจะเป็นกรณีพิพาทระหว่างพี่น้องอิสราเอล หรือระหว่างพี่น้องอิสราเอลกับคนต่างด้าว 17 อย่าตัดสินความลำเอียงเข้าข้างใคร จงฟังความทั้งผู้ใหญ่และผู้น้อยเสมอหน้ากัน ไม่ต้องเกรงกลัวผู้ใด เพราะการพิพากษาเป็นของพระเจ้า ข้อพิพาทใดๆ ซึ่งยุ่งยากเกินกำลังก็ให้มาแจ้งข้าพเจ้า ข้าพเจ้าจะฟังความเอง 18 ครั้งนั้นข้าพเจ้าได้กำชับทุกสิ่งที่พวกท่านต้องทำ

ส่งสายสืบ

19 จากนั้นเราเดินทางออกจากโฮเรบตามที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของเราทรงบัญชา มุ่งหน้าไปยังแถบเทือกเขาของชาวอาโมไรต์ ผ่านถิ่นกันดารอันกว้างใหญ่และน่าสะพรึงกลัวตามที่ท่านเห็นแล้ว จนมาถึงคาเดชบารเนีย 20 ข้าพเจ้าจึงกล่าวแก่ท่านว่า “พวกท่านมาถึงแดนเทือกเขาของชาวอาโมไรต์ ซึ่งพระยาห์เวห์พระเจ้าของเราจะประทานแก่เรา 21 ดูเถิด พระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านได้ทรงยกดินแดนนี้ให้พวกท่าน จงขึ้นไปยึดครองตามที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของบรรพบุรุษตรัสไว้กับท่าน อย่ากลัว อย่าท้อแท้เลย”

22 แต่พวกท่านมาหาข้าพเจ้าและกล่าวว่า “ให้เราส่งสายสืบไปในดินแดนนั้นและกลับมารายงานเส้นทางกับเมืองที่เราควรจะเข้าไปยึดครองก่อน”

23 ความคิดนี้ฟังดูเข้าที ข้าพเจ้าจึงเลือกสายสืบสิบสองคนโดยเลือกมาเผ่าละหนึ่งคน 24 คนเหล่านั้นขึ้นไปยังแถบเทือกเขา ไปถึงหุบเขาเอชโคล์และสำรวจดูที่นั่น 25 พวกเขาเก็บผลไม้จากดินแดนนั้นลงมาให้เราและรายงานว่า “ดินแดนที่พระยาห์เวห์พระเจ้าของเรากำลังจะประทานให้เรานั้นอุดมสมบูรณ์”

ขัดขืนพระบัญชา

26 แต่พวกท่านไม่ยอมเข้าไปในดินแดนนั้น พวกท่านฝ่าฝืนพระบัญชาของพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่าน 27 พวกท่านบ่นอยู่ในเต็นท์ว่า “องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงเกลียดเรา จึงทรงนำเราออกจากอียิปต์เพื่อให้ชาวอาโมไรต์ทำลาย 28 เราจะไปไหนได้ พี่น้องของเราทำให้เราขวัญหนีดีฝ่อ เขาบอกว่า ‘ผู้คนแถบนั้นแข็งแรงและสูงใหญ่กว่าเรา เมืองทั้งหลายก็ใหญ่โต กำแพงสูงเสียดฟ้า ทั้งยังเห็นมนุษย์ยักษ์อานาคที่นั่นด้วย’ ”

29 ข้าพเจ้าจึงบอกท่านว่า “อย่าตระหนกตกใจ อย่ากลัวพวกเขาเลย 30 พระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่านทรงนำหน้าท่าน พระองค์จะทรงต่อสู้เพื่อท่าน เหมือนที่ทรงทำต่อหน้าต่อตาพวกท่านทั้งในอียิปต์ 31 และในถิ่นกันดาร ที่นั่นท่านได้เห็นพระยาห์เวห์พระเจ้าของท่านทรงโอบอุ้มท่านดั่งพ่อโอบอุ้มลูกตลอดทางมาจนถึงที่นี่”

32 ถึงอย่างนั้นท่านก็ยังไม่ไว้วางใจพระยาห์เวห์พระเจ้าของพวกท่าน 33 พระองค์ทรงนำหน้าท่านมาตลอดทางด้วยไฟในตอนกลางคืนและด้วยเมฆในตอนกลางวัน เพื่อเสาะหาที่ตั้งค่ายพักและเพื่อชี้แนะทางที่ท่านควรจะไป

34 เมื่อองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงได้ยินคำบ่นว่าของท่าน ก็ทรงพระพิโรธและทรงสัญญาอย่างหนักแน่นว่า 35 “ไม่มีสักคนเดียวในชั่วอายุอันเลวร้ายนี้จะได้เห็นดินแดนอันอุดมสมบูรณ์ซึ่งเราสัญญาว่าจะประทานแก่บรรพบุรุษของเจ้า 36 ยกเว้นคาเลบบุตรเยฟุนเนห์ เขาจะได้เห็นดินแดนนั้น และเราจะมอบดินแดนที่เขาเหยียบย่างให้แก่เขากับวงศ์วานของเขาเพราะเขาได้ติดตามองค์พระผู้เป็นเจ้าอย่างสุดใจ”

37 เพราะพวกท่านเป็นเหตุ องค์พระผู้เป็นเจ้าจึงทรงพระพิโรธข้าพเจ้าด้วยและตรัสว่า “เจ้าก็จะไม่ได้เข้าในดินแดนนั้นเช่นกัน 38 แต่โยชูวาบุตรนูนผู้ช่วยของเจ้าจะได้เข้าไป จงให้กำลังใจเขาเพราะเขาจะนำอิสราเอลเข้ายึดครองดินแดนนั้นเป็นกรรมสิทธิ์ 39 และเด็กเล็กๆ ซึ่งเจ้าพูดว่าจะถูกจับเป็นเชลย ลูกหลานของเจ้าผู้ยังไม่รู้ดีรู้ชั่ว พวกเขาจะได้เข้าในดินแดนนั้น เราจะมอบดินแดนนั้นให้เขาครอบครอง 40 แต่ส่วนพวกท่านจงวกกลับข้ามถิ่นกันดารไปยังทะเลแดง”

41 แล้วพวกท่านจึงตอบว่า “เราได้ทำบาปต่อองค์พระผู้เป็นเจ้าเราจะขึ้นไปต่อสู้ตามพระบัญชาของพระยาห์เวห์พระเจ้าของเรา” ดังนั้นท่านทุกคนจึงถืออาวุธพร้อมรบ คิดว่าจะบุกเข้าไปในแถบเทือกเขาได้อย่างง่ายดาย

42 แต่องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับข้าพเจ้าว่า “จงบอกพวกเขาว่า ‘อย่าขึ้นไปต่อสู้ เพราะเราจะไม่อยู่กับเจ้า เจ้าจะพ่ายแพ้ศัตรู’ ”

43 ข้าพเจ้าบอกพวกท่าน แต่ท่านไม่ยอมฟัง กลับฝ่าฝืนพระบัญชาขององค์พระผู้เป็นเจ้าอีก และบุกขึ้นไปยังแถบเทือกเขาด้วยความหยิ่งผยอง 44 ชาวอาโมไรต์ซึ่งอาศัยอยู่ในแถบเทือกเขานั้นยกทัพออกมาสู้รบกับท่าน พวกเขารุกไล่ท่านเหมือนฝูงผึ้ง และไล่ตีพวกท่านจากเสอีร์ตลอดทางมาถึงโฮรมาห์ 45 พวกท่านกลับมาร่ำไห้ต่อหน้าองค์พระผู้เป็นเจ้าแต่พระองค์ไม่ทรงสนพระทัยเสียงร่ำไห้ของท่านและไม่ทรงฟังท่าน 46 ท่านจึงพักอยู่ที่คาเดชเป็นเวลานาน

Notas al pie

  1. 1:16 หรือผู้วินิจฉัย

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ekyamateeka Olwokubiri 1

Musa Ayogera nga Katonda bw’Anaakulembera Abayisirayiri

1Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olw’ebuvanjuba w’omugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu. Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu[a] okuva e Kolebu[b] okutuuka e Kadesubanea, ng’okutte ekkubo eriyitira ku Lusozi Seyiri.

Awo ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwaka ogw’amakumi ana, Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebyo byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira. Mu kiseera ekyo Musa yali amaze okuwangula Sikoni kabaka w’Abamoli eyabeeranga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani eyabeeranga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

Ku ludda lw’eyo olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa n’atandika okulangirira amateeka gano ng’ayogera nti:

Mukama Katonda waffe yatugamba nga tuli ku Kolebu nti, ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala; kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi ey’ensozi ey’Abamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lw’ennyanja, ne mu nsi ya Bakanani n’ey’Abalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati. Mulabe, ensi eyo ngibawadde. Muyingire mwetwalire ensi eyo Mukama Katonda gye yeerayirira okugiwa bajjajjammwe: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo; okugibawa bo n’ezzadde lyabwe eririddawo.’ 

Okulonda Abakulembeze

“Mu biro ebyo nabagamba nti, ‘Sisobola kubalabirira nzekka bw’omu. 10 Mukama Katonda wammwe abongedde nnyo obungi, ne muwera nnyo; era, laba, kaakano muli ng’emmunyeenye ez’oku ggulu mu bungi bwammwe. 11 Nsaba Mukama Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza. 12 Kale, nze obw’omu nzekka nnaasobola ntya okwetikka omugugu gwammwe ogwo oguzitowa bwe gutyo, n’okubamalirawo ennyombo zammwe? 13 Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, ab’amagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’ 14 Nammwe mwanziramu nti, ‘Ekintu ky’otuteeserezza ffe okukola kirungi tukisiima.’

15 “Bwe ntyo ne nzirira abakulu b’ebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi b’enkumi, n’abalala ab’ebikumi, n’abalala ab’amakumi ataano, n’abalala ab’ekkumi, mu bika byammwe byonna. 16 Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati w’owooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gw’abeera naye. 17 Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’ 18 Mu biro ebyo ne mbakuutira ebintu byonna bye musaanira okukolanga.”

Alipoota y’Abakessi

19 Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene ery’entiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea. 20 Ne mbagamba nti, “Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwadde. 21 Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”

22 Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.”

23 Ekirowoozo ekyo kyandabikira nga kirungi, ne nkisiima; ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri; nga mu buli kika muvaamu omusajja omu omu. 24 Baasitula ne bambuka mu nsi eyo ey’ensozi, ne batuuka mu kiwonvu Esukoli, ne bakiketta. 25 Ne banoga ku bibala eby’omu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi Mukama Katonda waffe gy’atuwadde nnungi nnyo.

Okwemulugunya kwa Isirayiri

26 “Naye ate ne mutayambuka, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. 27 Ne mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga Mukama tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y’e Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gw’Abamoli batuzikirize. 28 Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, n’ebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki[c] nabo twabalabayo.’ ” 29 Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya. 30 Mukama Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala n’amaaso gammwe. 31 Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe w’omwana bw’asitula mutabani we, n’akuyisa mu lugendo lwonna n’okukutuusa n’akutuusa mu kifo kino.”

32 Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama Katonda wammwe temwamwesiga, 33 songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, n’empagi ey’omuliro ekiro, n’ekire mu budde obw’emisana, n’okubalaganga ekifo we munaasiisiranga.

34 Mukama bwe yawulira ebigambo byammwe n’asunguwala nnyo, n’alayira nti, 35 “Tewalibaawo n’omu ku bantu bano, ab’omulembe guno omubi, aliraba ku nsi eyo ennungi gye nalayirira okuwa bajjajjammwe, 36 okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu n’ezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera Mukama n’omutima gwe gwonna.”

37 Nange Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n’aŋŋamba nti, “Naawe toliyingira mu nsi omwo. 38 Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo. 39 Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira. 40 Naye mmwe, musitule mukyuke, mukwate olugendo olw’omu ddungu nga mwolekera Ennyanja Emyufu.”

Isirayiri Awangulwa mu Lutalo

41 Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye eby’olutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi ey’ensozi.

42 Mukama n’aŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ”

43 Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi ey’ensozi. 44 Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo ey’ensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ng’enjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri n’okubatuusiza ddala e Koluma. 45 Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga Mukama, naye Mukama n’atabawuliriza era ne bye mwamukaabirira n’atabibawa. 46 Bwe mutyo ne musigala e Kadesi, okumala ebbanga eryo lyonna lye mwabeera eyo.

Notas al pie

  1. 1:2 Mu biro biri entambula yali ya njawulo
  2. 1:2 Kolebu Erinnya ly’Olusozi Kolebu eddala ly’Olusozi Sinaayi.
  3. 1:28 Anaki baali batuuze b’omu Kanani, era baayitibwanga gasajja.