อพยพ 1 TNCV - Okuva 1 LCB

อพยพ
Elegir capítulo 1

Thai New Contemporary Bible

อพยพ 1

ชนอิสราเอลถูกกดขี่ข่มเหง

1ต่อไปนี้เป็นรายชื่อบุตรชายของอิสราเอล ซึ่งติดตามยาโคบไปยังอียิปต์พร้อมด้วยครอบครัวของเขา ได้แก่ รูเบน สิเมโอน เลวี ยูดาห์ อิสสาคาร์ เศบูลุน เบนยามิน ดาน นัฟทาลี กาด และอาเชอร์ วงศ์วานของยาโคบที่เข้าไปในอียิปต์กับเขานับได้ทั้งหมดเจ็ดสิบคน[a] ส่วนโยเซฟอยู่ที่นั่นแล้ว

ต่อมาโยเซฟกับพวกพี่น้องและคนในชั่วอายุนั้นก็เสียชีวิตหมด แต่ชนอิสราเอลมีลูกเต็มบ้านมีหลานเต็มเมืองจนกลายเป็นชนชาติใหญ่อยู่คับคั่งในดินแดนนั้น

เมื่อกษัตริย์องค์ใหม่ซึ่งไม่ได้รู้จักโยเซฟขึ้นครองราชย์ในอียิปต์ พระองค์ตรัสกับประชากรของพระองค์ว่า “ดูสิ ชนอิสราเอลพวกนี้มีจำนวนมากเกินไปสำหรับเราแล้ว 10 เราต้องจัดการกับพวกเขาอย่างแยบยล มิฉะนั้นพวกเขาจะยิ่งมีจำนวนมากขึ้น และถ้าเกิดสงคราม พวกนี้จะสมคบกับศัตรูหันมารบกับเรา แล้วหนีออกนอกประเทศ”

11 ดังนั้นชาวอียิปต์จึงบีบบังคับพวกอิสราเอลให้เป็นทาส และตั้งนายงานคอยควบคุมพวกเขาให้ทำงานหนัก ให้สร้างเมืองปิธมและราเมเสสขึ้นเป็นเมืองพระคลังสำหรับฟาโรห์ 12 แต่ยิ่งชนอิสราเอลถูกกดขี่ข่มเหงมากเท่าไร พวกเขาก็ยิ่งเพิ่มจำนวนและแพร่ขยายมากขึ้นเท่านั้น ดังนั้นชาวอียิปต์จึงหวั่นเกรงชนอิสราเอล 13 และเคี่ยวเข็ญพวกเขาอย่างทารุณ 14 ชาวอียิปต์สร้างความขมขื่นในชีวิตให้แก่ชนอิสราเอล โดยให้พวกเขาทำงานหนัก ไม่ว่าจะเป็นการทำอิฐทำปูน และทำงานทุกชนิดในท้องทุ่ง ชาวอียิปต์ ใช้พวกเขาทำงานอย่างทารุณ

15 กษัตริย์อียิปต์ตรัสกับนางผดุงครรภ์ชาวฮีบรูชื่อชิฟราห์และปูอาห์ว่า 16 “เมื่อเจ้าทำคลอดให้หญิงชาวฮีบรูและดูแลหญิงนั้นขณะคลอด ถ้าทารกเป็นผู้ชายให้ฆ่าทิ้ง ถ้าเป็นผู้หญิงให้ไว้ชีวิต” 17 แต่นางผดุงครรภ์ทั้งสองยำเกรงพระเจ้า จึงไม่ได้ปฏิบัติตามคำสั่งของกษัตริย์อียิปต์ พวกนางปล่อยให้เด็กผู้ชายมีชีวิตอยู่ 18 กษัตริย์อียิปต์จึงรับสั่งให้นำตัวนางผดุงครรภ์ทั้งสองมาเข้าเฝ้าและตรัสถามว่า “เหตุใดเจ้าจึงทำเช่นนี้? เหตุใดเจ้าจึงปล่อยเด็กผู้ชายให้มีชีวิตอยู่?”

19 นางผดุงครรภ์ทั้งสองกราบทูลว่า “ผู้หญิงฮีบรูไม่เหมือนผู้หญิงอียิปต์ พวกเขาแข็งแรงและคลอดลูกก่อนที่นางผดุงครรภ์จะไปถึง”

20 ดังนั้นพระเจ้าทรงอวยพรนางผดุงครรภ์ทั้งสองนี้ และชาวอิสราเอลเพิ่มจำนวนและทวีมากขึ้น 21 เนื่องจากนางผดุงครรภ์ยำเกรงพระเจ้า พระองค์จึงทรงให้นางทั้งสองมีครอบครัวของตนเอง

22 ฟาโรห์รับสั่งแก่ประชาชนทั้งปวงของพระองค์ว่า “ให้จับเด็กผู้ชายฮีบรูแรกเกิดทุกคนโยนทิ้งลงในแม่น้ำไนล์ ส่วนเด็กผู้หญิงให้ไว้ชีวิต”

Notas al pie

  1. 1:5 ฉบับ DSS. และ LXX. (ดูปฐก.46:27; กจ.7:14 และ เชิงอรรถปฐก.46:27) ว่า75 คน

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okuva 1

Abayisirayiri Babonyaabonyezebwa

1Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye:

Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda,

ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini,

ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri.

Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu[a]; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.

Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa. Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.

Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi. 10 Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”

11 Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12 Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya. 13 Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe. 14 Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.

Falaawo Awa Abazaalisa Ekiragiro

15 Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa[b], n’abagamba nti, 16 “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.” 17 Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama. 18 Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”

19 Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”

20 Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo. 21 Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.

22 Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”

Notas al pie

  1. 1:5 ebiwandiiko ebimu bigamba nsanvu; kyokka ebiwandiiko ebyasangibwa mu Nnyanja ey’Omunnyo bigamba nsanvu mu bataano
  2. 1:15 Sifira ne Puwa baali abazaalisa Abaebbulaniya.