กันดารวิถี 7 TNCV - Okubala 7 LCB

กันดารวิถี
Elegir capítulo 7

Thai New Contemporary Bible

กันดารวิถี 7

ของถวายเมื่อถวายพลับพลา

1เมื่อโมเสสสร้างพลับพลาเสร็จแล้ว เขาเจิมและชำระพลับพลากับส่วนประกอบทั้งหมด รวมทั้งแท่นบูชาและภาชนะเครื่องใช้ทุกอย่างสำหรับแท่นบูชา บรรดาผู้นำของอิสราเอลและหัวหน้าครอบครัวต่างๆ ได้ถวายเครื่องบูชา พวกเขาเป็นหัวหน้าเผ่าต่างๆ ซึ่งรับผิดชอบผู้ที่ได้ขึ้นทะเบียนไว้ พวกเขานำเกวียนหกเล่มและวัวสิบสองตัวมาถวายแด่องค์พระผู้เป็นเจ้าผู้นำสองคนถวายเกวียนเล่มหนึ่งกับวัวคนละตัวตรงหน้าพลับพลา

องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโมเสสว่า “จงรับของถวายจากเขาเถิด และใช้วัวกับเกวียนเหล่านั้นสำหรับงานที่เต็นท์นัดพบ จงมอบของเหล่านั้นให้คนเลวีไว้ใช้ในงานของเขาแต่ละคน”

โมเสสจึงนำเกวียนและวัวไปมอบให้คนเลวี เขามอบเกวียนสองเล่มและวัวสี่ตัวให้คนเกอร์โชนเพื่อใช้สอยในงานของเขา มอบเกวียนสี่เล่มพร้อมวัวแปดตัวแก่คนเมรารีเพื่อใช้ในงานของเขา คนเหล่านี้อยู่ใต้บังคับบัญชาของปุโรหิตอิธามาร์บุตรของอาโรน แต่โมเสสไม่ได้มอบสิ่งใดให้คนโคฮาท เพราะพวกเขาจะต้องหามเครื่องใช้ศักดิ์สิทธิ์ตามที่พวกเขารับผิดชอบ

10 ในวันที่เจิมแท่นบูชา บรรดาผู้นำได้นำเครื่องบูชามาถวายที่แท่นบูชา 11 เพราะองค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโมเสสว่า “ให้ผู้นำแต่ละคนนำของถวายมาคนละวันเพื่อมอบถวายแท่นบูชา”

12 ในวันแรกนาห์โชนบุตรอัมมีนาดับแห่งเผ่ายูดาห์นำของมาถวาย ได้แก่

13 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม[a] อ่างประพรม ทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม[b] ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 14 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัม[c] บรรจุเครื่องหอม 15 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 16 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 17 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัว สำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากนาห์โชนบุตรอัมมีนาดับ

18 วันที่สอง เนธันเอลบุตรศุอาร์ผู้นำเผ่าอิสสาคาร์นำของมาถวาย ได้แก่

19 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 20 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 21 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัว สำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 22 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 23 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากเนธันเอลบุตรศุอาร์

24 วันที่สาม เอลีอับบุตรเฮโลนผู้นำเผ่าเศบูลุนนำของมาถวาย ได้แก่

25 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 26 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 27 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัว สำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 28 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 29 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากเอลีอับบุตรเฮโลน

30 วันที่สี่ เอลีซูร์บุตรเชเดเออร์ผู้นำเผ่ารูเบนนำของมาถวาย ได้แก่

31 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 32 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 33 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 34 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 35 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากเอลีซูร์บุตรเชเดเออร์

36 วันที่ห้า เชลูมิเอลบุตรศูริชัดดัยผู้นำเผ่าสิเมโอนนำของมาถวาย ได้แก่

37 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 38 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 39 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัว สำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 40 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 41 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากเชลูมิเอลบุตรศูริชัดดัย

42 วันที่หก เอลียาสาฟบุตรเดอูเอลผู้นำเผ่ากาดนำของมาถวาย ได้แก่

43 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 44 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 45 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 46 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 47 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากเอลียาสาฟบุตรเดอูเอล

48 วันที่เจ็ด เอลีชามาบุตรอัมมีฮูดผู้นำเผ่าเอฟราอิมนำของมาถวาย ได้แก่

49 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 50 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 51 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 52 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 53 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากเอลีชามาบุตรอัมมีฮูด

54 วันที่แปด กามาลิเอลบุตรเปดาซูร์ผู้นำเผ่ามนัสเสห์นำของมาถวาย ได้แก่

55 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 56 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 57 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 58 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 59 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากกามาลิเอลบุตรเปดาซูร์

60 วันที่เก้า อาบีดันบุตรกิเดโอนีผู้นำเผ่าเบนยามินนำของมาถวาย ได้แก่

61 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 62 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 63 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 64 แพะตัวผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 65 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากอาบีดันบุตรกิเดโอนี

66 วันที่สิบ อาหิเยเซอร์บุตรอัมมีชัดดัยผู้นำเผ่าดานนำของมาถวาย ได้แก่

67 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 68 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 69 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 70 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 71 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากอาหิเยเซอร์บุตรอัมมีชัดดัย

72 วันที่สิบเอ็ด ปากีเอลบุตรโอครานผู้นำเผ่าอาเชอร์นำของมาถวาย ได้แก่

73 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 74 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 75 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 76 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 77 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากปากีเอลบุตรโอคราน

78 วันที่สิบสอง อาหิราบุตรเอนันผู้นำเผ่านัฟทาลีนำของมาถวาย ได้แก่

79 จานเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินหนึ่งใบหนักประมาณ 800 กรัม ทั้งจานและชามใส่แป้งละเอียดเคล้าน้ำมันสำหรับเป็นธัญบูชา 80 จานทองคำหนึ่งใบหนักประมาณ 110 กรัมบรรจุเครื่องหอม 81 วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวสำหรับเป็นเครื่องเผาบูชา 82 แพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 83 วัวผู้สองตัว แกะผู้ห้าตัว แพะผู้ห้าตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบห้าตัวสำหรับเป็นเครื่องสันติบูชา นี่คือของถวายจากอาหิราบุตรเอนัน

84 สิ่งเหล่านี้คือของถวายจากบรรดาผู้นำอิสราเอล เพื่อการถวายแท่นบูชาเมื่อแท่นบูชาได้รับการเจิมคือ จานเงินสิบสองใบ อ่างประพรมทำจากเงินสิบสองใบ และจานทองคำสิบสองใบ 85 จานเงินแต่ละใบหนักประมาณ 1.5 กิโลกรัม อ่างประพรมทำจากเงินแต่ละใบหนักประมาณ 800 กรัม รวมแล้วหนักประมาณ 28 กิโลกรัม[d] 86 จานทองคำบรรจุเครื่องหอมสิบสองใบแต่ละใบหนักประมาณ 110 กรัม รวมแล้วหนักประมาณ 1.4 กิโลกรัม[e] 87 สัตว์ที่ใช้เป็นเครื่องเผาบูชาทั้งหมดมีวัวหนุ่มสิบสองตัว แกะผู้สิบสองตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสองตัวพร้อมด้วยเครื่องธัญบูชา มีแพะผู้สิบสองตัวใช้สำหรับเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป 88 สัตว์ที่ใช้เป็นเครื่องสันติบูชาทั้งหมดมีวัวผู้ 24 ตัว แกะผู้ 60 ตัว แพะผู้ 60 ตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบ 60 ตัว ทั้งหมดนี้คือของถวายเพื่อการถวายแท่นบูชาหลังจากแท่นบูชาได้รับการเจิม

89 เมื่อโมเสสเข้าไปในเต็นท์นัดพบเพื่อทูลองค์พระผู้เป็นเจ้าเขาได้ยินพระสุรเสียงตรัสกับเขาจากพระที่นั่งกรุณาเหนือหีบพันธสัญญาระหว่างเครูบทั้งสอง พระองค์ได้ตรัสกับเขาจากที่นั่น

Notas al pie

  1. 7:13 ภาษาฮีบรูว่า 130 เชเขล ตามเชเขลของสถานนมัสการ เช่นเดียวกับที่อื่นในบทนี้
  2. 7:13 ภาษาฮีบรูว่า 70 เชเขลตามเชเขลของสถานนมัสการ เช่นเดียวกับที่อื่นในบทนี้
  3. 7:14 ภาษาฮีบรูว่า 10 เชเขล ตามเชเขลของสถานนมัสการ เช่นเดียวกับที่อื่นในบทนี้
  4. 7:85 ภาษาฮีบรูว่า 2,400 เชเขลตามเชเขลของสถานนมัสการ
  5. 7:86 ภาษาฮีบรูว่า 120 เชเขลตามเชเขลของสถานนมัสการ

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okubala 7

Okutukuza Ekyoto

1Awo olwatuuka ku lunaku olwo, Musa bwe yamala okusimba Weema ya Mukama, n’agifukako amafuta ag’omuzeeyituuni n’agitukuza ne byonna ebikozesebwa mu yo, era n’afuka amafuta ag’omuzeeyituuni ku kyoto n’akitukuza n’ebintu byakyo byonna. Abakulembeze ba Isirayiri, abakulu b’empya za bakitaabwe era nga be bakulembeze b’ebika abaalina obuvunaanyizibwa eri abaabalibwa, ne baleeta ebiweebwayo byabwe. Baaleeta ebirabo byabwe eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, amagaali agabikkiddwako mukaaga n’ente kkumi na bbiri, nga buli mukulembeze aleeta ente emu, na buli bakulembeze babiri nga baleeta eggaali emu. Ebyo byonna ne babiweerayo mu maaso ga Weema ya Mukama.

Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Bye baleese bibaggyeeko, binaakozesebwanga ku mirimu gy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bikwase Abaleevi, nga buli mulimu gwa buli omu bwe gwetaagisa.”

Bw’atyo Musa n’addira amagaali n’ente n’abiwa Abaleevi. Amagaali abiri n’ente nnya yaziwa batabani ba Gerusoni, ng’emirimu gyabwe bwe gyali, n’addira amagaali ana n’ente munaana n’abiwa batabani ba Merali, ng’emirimu gyabwe bwe gyali; bonna nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni, kabona. Naye abaana ba Kokasi, Musa teyabawaako, kubanga ebintu ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baabitwaliranga ku bibegabega byabwe.

10 Bwe batyo abakulembeze ne bawaayo ebiweebwayo mu maaso g’ekyoto olw’okukitukuza, ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 11 Mukama n’agamba Musa nti, “Buli lunaku omukulembeze omu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’okutukuza ekyoto.”

Ebiweebwayo bya Nakusoni ne Nesaneri

12 Eyaleeta ekiweebwayo kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow’omu kika kya Yuda.

13 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza, ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza eky’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, byombi, essowaani n’ekibya, nga bipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

14 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

15 ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

16 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

17 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.

18 Ku lunaku olwokubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulembeze wa Isakaali, n’aleeta ekiweebwayo kye.

19 Ekirabo kye yaleeta yali

sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

20 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

21 ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

22 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

23 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nesaneri mutabani wa Zuwaali.

Ebiweebwayo bya Eriyaabu ne Erizuuli

24 Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni, yaleeta ekiweebwayo kye.

25 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

26 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

27 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

28 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

29 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyaabu mutabani wa Keroni.

30 Ku lunaku olwokuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni, n’aleeta ekiweebwayo kye.

31 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

32 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

33 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

34 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

35 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.

Ebiweebwayo bya Serumiyeeri ne Eriyasaafu

36 Ku lunaku olwokutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Simyoni, yaleeta ekiweebwayo kye.

37 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

38 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

39 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

40 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

41 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.

42 Ku lunaku olw’omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulembeze w’abantu ba Gaadi, n’aleeta ekiweebwayo kye.

43 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

44 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

45 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

46 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

47 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.

Ebiweebwayo bya Erisaama ne Gamalyeri

48 Ku lunaku olw’omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze w’abantu ba Efulayimu, n’aleeta ekiweebwayo kye.

49 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya kya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

50 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

51 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

52 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

53 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erisaama mutabani wa Ammikudi.

54 Ku lunaku olw’omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulembeze w’abantu ba Manase, n’aleeta ekiweebwayo kye.

55 Ekiweebwayo kye yali

esowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

56 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

57 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

58 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

59 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.

Ebiweebwayo bya Abidaani ne Akiyezeeri

60 Ku lunaku olw’omwenda Abidani mutabani wa Gidyoni, omukulembeze w’abantu ba Benyamini, n’aleeta ekiweebwayo kye.

61 Ekiweebwayo kye yali

sowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

62 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

63 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

64 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

65 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Abidaani mutabani wa Gidyoni.

66 Ku lunaku olw’ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Ddaani, n’aleeta ekiweebwayo kye.

67 Ekiweebwayo kye yali

essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

68 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

69 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

70 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

71 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.

Ebiweebwayo bya Pagiyeeri ne Akira

72 Ku lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze w’abantu ba Aseri, n’aleeta ekiweebwayo kye.

73 Ekiweebwayo kye yali

essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

74 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;

75 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

76 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

77 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Pagiyeeri mutabani wa Ekulaani.

78 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulembeze w’abantu ba Nafutaali, yaleeta ekiweebwayo kye.

79 Ekiweebwayo kye yali

essowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke;

80 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi nga kijjudde ebyakaloosa;

81 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa;

82 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi;

83 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.

Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akira mutabani wa Enani.

84 Bino bye biweebwayo abakulembeze ba Isirayiri bye baaleeta olw’okutukuza ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni:

essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya omubeera eby’okumansira kkumi na bibiri, n’ebijiiko ebinene ebya zaabu kkumi na bibiri. 85 Buli sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, na buli kibya omubeera eby’okumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bw’essowaani ezo zonna n’obw’ebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ng’ebipimo by’awatukuvu bwe byali. 86 Ebijiiko ebya zaabu ebinene ekkumi n’ebibiri ebyali bijjudde ebyakaloosa buli kimu, byali bipima obuzito kilo kikumi mu kkumi na musanvu, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. Okugatta awamu ebijiiko byonna byapima obuzito bwa kilo emu ne desimoolo nnya.

87 Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olw’ekiweebwayo ekyokebwa gwali bwe guti: ente ento ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu gumu baali kkumi na babiri, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ebigenderako. Embuzi ennume kkumi na bbiri ze zaakozesebwa olw’ekiweebwayo olw’ekibi.

88 Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olwa ssaddaaka y’ekiweebwayo olw’emirembe gwali bwe guti: ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga n’abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu ogumu ogumu nabo nkaaga.

Ebyo bye byali ebiweebwayo olw’okutukuza ekyoto nga kimaze okufukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni.

89 Awo Musa bwe yayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, n’awulira eddoboozi nga lyogera gy’ali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu w’entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano. Ne lyogera naye.