กันดารวิถี 6 TNCV - Okubala 6 LCB

กันดารวิถี
Elegir capítulo 6

Thai New Contemporary Bible

กันดารวิถี 6

นาศีร์

1องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโมเสสว่า “จงแจ้งชนอิสราเอลว่า ‘ชายหรือหญิงคนใดถวายสัตย์ปฏิญาณเป็นพิเศษว่าจะเป็นนาศีร์อุทิศตนแด่องค์พระผู้เป็นเจ้า เขาต้องงดเครื่องดื่มมึนเมาหรือเหล้าองุ่น น้ำองุ่น ผลองุ่นสดหรือลูกเกด และน้ำส้มสายชูที่ได้จากเหล้าองุ่น ตลอดระยะเวลาที่เขาเป็นนาศีร์นั้น เขาจะไม่กินสิ่งใดที่มาจากต้นองุ่น แม้แต่เมล็ดหรือเปลือกองุ่น

“ ‘ตลอดช่วงนั้นเขาจะไม่ตัดผม เขาต้องรักษาตนให้บริสุทธิ์ เขาจึงต้องไว้ผมยาว ตลอดระยะเวลาที่เขาเป็นนาศีร์[a]ถวายแด่องค์พระผู้เป็นเจ้าเขาจะต้องไม่ย่างกรายเข้าใกล้ซากศพ แม้ว่าจะเป็นศพของบิดามารดาหรือพี่น้องชายหญิง เขาจะต้องไม่ทำตัวให้เป็นมลทินตามระเบียบพิธี เพราะสัญลักษณ์แห่งการเป็นนาศีร์อยู่บนศีรษะของเขา ตลอดระยะเวลาที่เขาเป็นนาศีร์ เขาต้องชำระตัวให้บริสุทธิ์แยกไว้แด่องค์พระผู้เป็นเจ้า

“ ‘หากมีคนมาตายอยู่ข้างตัวเขาโดยปัจจุบันทันด่วน ทำให้ผมที่เขาถวายปฏิญาณไว้เป็นมลทิน เขาต้องโกนศีรษะในวันชำระตัวคือวันที่เจ็ด 10 ในวันที่แปดเขาต้องนำนกเขาหรือนกพิราบรุ่นสองตัวมามอบแก่ปุโรหิตตรงทางเข้าเต็นท์นัดพบ 11 ปุโรหิตจะถวายนกตัวหนึ่งเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป อีกตัวหนึ่งเป็นเครื่องเผาบูชาเพื่อลบบาปสำหรับผู้นั้น เพราะเขาได้ทำบาปโดยการอยู่ใกล้ซากศพ ในวันเดียวกันนั้นเขาต้องชำระศีรษะถวายอีกครั้ง 12 เขาต้องอุทิศตนแด่องค์พระผู้เป็นเจ้าตลอดระยะเวลาที่เขาเป็นนาศีร์ และนำแกะผู้อายุหนึ่งขวบตัวหนึ่งมาเป็นเครื่องบูชาลบความผิด วันอื่นๆ ก่อนหน้านั้นไม่นับ เพราะเขาได้เป็นมลทินตลอดระยะเวลาที่เขาเป็นนาศีร์

13 “ ‘เมื่อครบกำหนดการเป็นนาศีร์ตามกฎของนาศีร์แล้ว เขาจะต้องมาที่ทางเข้าเต็นท์นัดพบ 14 และถวายสัตว์ที่ไม่มีตำหนิแด่องค์พระผู้เป็นเจ้าคือ ถวายลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวเป็นเครื่องเผาบูชา ลูกแกะตัวเมียอายุหนึ่งขวบหนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาป และแกะผู้อีกหนึ่งตัวเป็นเครื่องสันติบูชา 15 พร้อมกับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา ขนมปังไม่ใส่เชื้อหนึ่งกระจาดอันได้แก่ ขนมปังที่ทำจากแป้งละเอียดเคล้าน้ำมัน และขนมปังแผ่นบางทาด้วยน้ำมัน

16 “ ‘ปุโรหิตจะยื่นถวายของเหล่านี้ต่อหน้าองค์พระผู้เป็นเจ้าแล้วถวายเครื่องบูชาไถ่บาปและเครื่องเผาบูชา 17 จากนั้นเขาจะถวายขนมปังไม่ใส่เชื้อกระจาดนั้น และแกะตัวผู้เป็นเครื่องสันติบูชาพร้อมด้วยธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาแด่องค์พระผู้เป็นเจ้า

18 “ ‘แล้วนาศีร์ต้องโกนผมออกตามที่ปฏิญาณอุทิศตนนั้นที่ทางเข้าเต็นท์นัดพบ และนำผมนั้นไปใส่ในไฟที่เผาเครื่องสันติบูชาอยู่

19 “ ‘เมื่อนาศีร์นั้นโกนผมเสร็จแล้ว ปุโรหิตจะนำโคนขาหน้าของแกะผู้ที่ต้มแล้ว ขนมปังไม่ใส่เชื้อ และขนมปังแผ่นบางไม่ใส่เชื้อจากกระจาดนั้นใส่ไว้ในมือของเขา 20 แล้วปุโรหิตจะยื่นถวายสิ่งเหล่านั้นต่อหน้าองค์พระผู้เป็นเจ้าเป็นเครื่องบูชายื่นถวาย ทั้งหมดนั้นเป็นของบริสุทธิ์ เป็นส่วนของปุโรหิตพร้อมกับเนื้ออกและโคนขาซึ่งยื่นถวายแด่พระองค์ หลังจากนั้นนาศีร์ผู้นั้นจึงดื่มเหล้าองุ่นได้

21 “ ‘ทั้งหมดนี้คือบทบัญญัติของนาศีร์ ผู้ที่ถวายปฏิญาณแด่องค์พระผู้เป็นเจ้าตามการอุทิศตัวของเขา นอกจากนี้เขาจะถวายสิ่งอื่นอีกก็ได้ แต่เขาจะต้องทำตามคำปฏิญาณ ตามกฎของนาศีร์ให้สำเร็จ’ ”

พรจากปุโรหิต

22 องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโมเสสว่า 23 “จงบอกอาโรนกับบุตรชายว่า ‘นี่เป็นวิธีที่เจ้าจะอวยพรชนอิสราเอล จงกล่าวแก่พวกเขาดังนี้

24 “ ‘ “ขอองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงอำนวยพร
และทรงพิทักษ์รักษาท่าน
25 ขอให้พระพักตร์ขององค์พระผู้เป็นเจ้าทอแสงเหนือท่าน
ขอพระองค์ทรงเมตตากรุณาท่าน
26 ขอองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงโปรดปรานท่าน[b]
และประทานสันติสุขแก่ท่าน” ’

27 “ดังนั้นอาโรนกับบุตรชายจะประทับนามของเราเหนืออิสราเอล และเราจะอวยพรพวกเขา”

Notas al pie

  1. 6:6 ภาษาฮีบรูว่าตลอดระยะเวลาที่เขาแยกตัวออกเช่นเดียวกับข้อ 8 และ 12
  2. 6:26 หรือองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงหันพระพักตร์มาหาท่าน

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okubala 6

Etteeka ery’Obweyamo obw’Omunnazaalayiti

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti[a], anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo. Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.

“Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa. Ebbanga lyonna ly’anaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri Mukama Katonda, taasembererenga muntu afudde. Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero ak’obweyamo obw’okweyawula eri Mukama kanaabanga kali ku mutwe gwe. Okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda.

“Omuntu bw’anaafanga ekikutuko ng’aliraanye omuwonge oyo, bw’atyo n’afuula enviiri ze okuba ezitali nnongoofu, kale, anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw’okwerongoosa, lwe lunaku olw’omusanvu. 10 Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 11 Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa olw’okumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kw’anaatukulizangako omutwe gwe. 12 Aneewangayo eri Mukama Katonda okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, era anaaleetanga omwana gw’endiga omulume n’aguwaayo ng’ekiweebwayo olw’okusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga ery’obweyamo bwe obw’okweyawula.

13 “Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 14 Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe; 15 n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agafumba; n’obusukuuti obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo eby’ebyokunywa.

16 “Kabona anaabireetanga awali Mukama Katonda, n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa. 17 Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa.

18 “Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe.

19 “Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze. 20 Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo.

21 “Eryo lye tteeka ery’Omunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri Mukama Katonda ng’obweyamo bwe obw’okweyawula bwe bunaabanga, ng’agasseeko n’ebirala nga bw’anaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ng’etteeka ly’Omunnazaalayiti bwe liragira.”

Omukisa gwa Kabona

22 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 23 “Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:

24 “ ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
    akukuume;
25 Mukama Katonda akwakize amaaso ge
    akukwatirwe ekisa;
26 Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge
    akuwe emirembe.’ 

27 “Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.”

Notas al pie

  1. 6:2 Omunazaalayiti Omuntu yasobolanga okuba Omunazaalayiti okumala ennaku amakumi asatu oba obulamu bwe bwonna. Kyalinga kya kyenneyagalire, kyokka oluusi abazadde b’omwana bebeeyamanga ku lw’abaana baabwe abato, abaana ne bafuuka Abanazaalayiti obulamu bwabwe bwonna. Obweyamo bwalimu ebintu bisatu: obutakomba ku nvinnyo wadde ekintu kyonna ekitamiiza; enviiri ze tezaasalibwangako, wadde ekirevu kye okumwebwa; teyakwatanga ku mulambo