กันดารวิถี 29 TNCV - Okubala 29 LCB

กันดารวิถี
Elegir capítulo 29

Thai New Contemporary Bible

กันดารวิถี 29

เทศกาลเสียงแตร

1“ ‘ในวันที่หนึ่งเดือนที่เจ็ดของทุกปี จงจัดการประชุมนมัสการศักดิ์สิทธิ์และอย่าทำงาน ให้เจ้าเป่าแตรในวันนี้ จงถวายวัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบเจ็ดตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ เป็นเครื่องเผาบูชา เป็นกลิ่นหอมที่องค์พระผู้เป็นเจ้าพอพระทัย ถวายธัญบูชาคือ แป้งโม่ละเอียดประมาณ 6.5 ลิตร[a]เคล้าน้ำมันควบคู่กับวัวหนุ่ม ถวายแป้งประมาณ 4.5 ลิตร[b]ควบคู่กับแกะผู้ และถวายแป้งประมาณ 2 ลิตร[c]ควบคู่กับลูกแกะแต่ละตัว และจงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปเพื่อลบบาปของเจ้า นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชา ธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาที่ถวายเป็นประจำทุกวันและทุกเดือน จงถวายเครื่องบูชาตามที่กล่าวมานี้ เป็นเครื่องบูชาด้วยไฟถวายแด่องค์พระผู้เป็นเจ้าเป็นกลิ่นหอมที่พอพระทัย

วันลบบาป

“ ‘ในวันที่สิบของเดือนที่เจ็ดนั้น จงจัดการประชุมนมัสการศักดิ์สิทธิ์ เจ้าต้องบังคับตน[d]และอย่าทำงาน จงถวายวัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบเจ็ดตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ เป็นเครื่องเผาบูชา เป็นกลิ่นหอมที่องค์พระผู้เป็นเจ้าพอพระทัย ถวายธัญบูชาคือแป้งโม่ละเอียดประมาณ 6.5 ลิตรเคล้าน้ำมันควบคู่กับวัวหนุ่ม ถวายแป้งประมาณ 4.5 ลิตรควบคู่กับแกะผู้ 10 และถวายแป้งประมาณ 2 ลิตรควบคู่กับลูกแกะแต่ละตัว 11 นอกเหนือจากเครื่องบูชาไถ่บาปเพื่อลบบาป และเครื่องเผาบูชาที่ถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

เทศกาลอยู่เพิง

12 “ ‘ในวันที่สิบห้าของเดือนที่เจ็ด จงจัดการประชุมนมัสการศักดิ์สิทธิ์และอย่าทำงาน จงฉลองเทศกาลแด่องค์พระผู้เป็นเจ้าตลอดเจ็ดวัน 13 จงถวายเครื่องเผาบูชาได้แก่ วัวหนุ่มสิบสามตัว แกะผู้สองตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสี่ตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ เป็นเครื่องบูชาด้วยไฟ เป็นกลิ่นหอมที่องค์พระผู้เป็นเจ้าพอพระทัย 14 ถวายธัญบูชาคือแป้งโม่ละเอียดประมาณ 6.5 ลิตรเคล้าน้ำมันควบคู่กับวัวหนุ่มแต่ละตัว ถวายแป้งประมาณ 4.5 ลิตรควบคู่กับแกะผู้แต่ละตัว 15 และถวายแป้งประมาณ 2 ลิตรควบคู่กับลูกแกะแต่ละตัว 16 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

17 “ ‘ในวันที่สองของเทศกาล จงถวายวัวหนุ่มสิบสองตัว แกะผู้สองตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสี่ตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ 18 ควบคู่กับเครื่องธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาตามจำนวนที่กำหนดไว้ 19 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

20 “ ‘ในวันที่สาม จงถวายวัวหนุ่มสิบเอ็ดตัว แกะผู้สองตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสี่ตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ 21 ควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาตามจำนวนที่กำหนดไว้ 22 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

23 “ ‘ในวันที่สี่ จงถวายวัวหนุ่มสิบตัว แกะผู้สองตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสี่ตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ 24 ควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาตามจำนวนที่กำหนดไว้ 25 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

26 “ ‘ในวันที่ห้า จงถวายวัวหนุ่มเก้าตัว แกะผู้สองตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสี่ตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ 27 ควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาตามจำนวนที่กำหนดไว้ 28 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

29 “ ‘ในวันที่หก จงถวายวัวหนุ่มแปดตัว แกะผู้สองตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสี่ตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ 30 ควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาตามจำนวนที่กำหนดไว้ 31 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

32 “ ‘ในวันที่เจ็ด จงถวายวัวหนุ่มเจ็ดตัว แกะผู้สองตัว และลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบสิบสี่ตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ 33 ควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาตามจำนวนที่กำหนดไว้ 34 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

35 “ ‘ในวันที่แปด จงจัดการประชุมนมัสการศักดิ์สิทธิ์และอย่าทำงาน 36 จงถวายเครื่องเผาบูชาคือ วัวหนุ่มหนึ่งตัว แกะผู้หนึ่งตัว ลูกแกะตัวผู้อายุหนึ่งขวบเจ็ดตัว ทั้งหมดล้วนไม่มีตำหนิ เป็นเครื่องบูชาด้วยไฟ เป็นกลิ่นหอมที่องค์พระผู้เป็นเจ้าพอพระทัย 37 ควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชาตามจำนวนที่กำหนดไว้ 38 นอกเหนือจากเครื่องเผาบูชาซึ่งถวายเป็นประจำควบคู่กับธัญบูชาและเครื่องดื่มบูชา จงถวายแพะผู้หนึ่งตัวเป็นเครื่องบูชาไถ่บาปด้วย

39 “ ‘นอกเหนือจากของถวายตามสัตย์ปฏิญาณและเครื่องบูชาตามความสมัครใจของท่าน จงถวายเครื่องเผาบูชา ธัญบูชา เครื่องดื่มบูชา และเครื่องสันติบูชา จงถวายเครื่องบูชาเหล่านี้แด่องค์พระผู้เป็นเจ้าในเทศกาลต่างๆ ตามที่กำหนดไว้ด้วย’ ”

40 โมเสสจึงแจ้งพระบัญชาขององค์พระผู้เป็นเจ้าทั้งหมดนี้แก่ประชากรอิสราเอล

Notas al pie

  1. 29:3 ภาษาฮีบรูว่า สามในสิบเอฟาห์ เช่นเดียวกับข้อ 9 และ 14
  2. 29:3 ภาษาฮีบรูว่า สองในสิบเอฟาห์ เช่นเดียวกับข้อ 9 และ 14
  3. 29:4 ภาษาฮีบรูว่า หนึ่งในสิบเอฟาห์เช่นเดียวกับข้อ 10 และ 15
  4. 29:7 หรือต้องอดอาหาร

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okubala 29

Ebiweebwayo eby’Embaga ey’Amakondeere

1“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere. Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. Mugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza. Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.

Olunaku olw’Ebiweebwayo olw’Okwetangiririra

“Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna. Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 10 ne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu. 11 Mugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako.

Ebiweebwayo olw’Embaga ey’Ensiisira

12 “Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu. 13 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo. 14 Era munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume; 15 ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu. 16 Era munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

17 “Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. 18 Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 19 Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.

20 “Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 21 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 22 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

23 “Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 24 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 25 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

26 “Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. 27 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 28 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

29 “Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 30 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 31 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

32 “Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 33 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 34 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

35 “Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. 36 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 37 Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 38 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

39 “Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”

40 Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.