กันดารวิถี 22 TNCV - Okubala 22 LCB

กันดารวิถี
Elegir capítulo 22

Thai New Contemporary Bible

กันดารวิถี 22

บาลาคและบาลาอัม

1แล้วประชากรอิสราเอลเดินทางมาถึงที่ราบโมอับ และตั้งค่ายพักริมแม่น้ำจอร์แดน ตรงข้ามเมืองเยรีโค

ฝ่ายบาลาคบุตรศิปโปร์ได้เห็นการทั้งปวงซึ่งอิสราเอลทำแก่ชาวอาโมไรต์ และโมอับหวาดผวาเนื่องจากอิสราเอลมีกำลังคนมากมาย โมอับคร้ามกลัวชนอิสราเอลอย่างยิ่ง

ชาวโมอับจึงหารือกับบรรดาผู้นำมีเดียนว่า “ฝูงชนนี้จะมากลืนกินทุกอย่างเหมือนวัวกินหญ้า”

ดังนั้นบาลาคบุตรศิปโปร์ผู้เป็นกษัตริย์โมอับในเวลานั้น จึงส่งผู้สื่อสารไปเรียกตัวบาลาอัมบุตรเบโอร์ ซึ่งอยู่ที่เปโธร์บ้านเกิดเมืองนอนของเขาใกล้แม่น้ำยูเฟรติส กษัตริย์บาลาคกล่าวว่า

“ชนชาติหนึ่งออกมาจากอียิปต์ แห่กันมามืดฟ้ามัวดินและมาประชิดแดนข้าพเจ้าแล้ว โปรดมาแช่งคนเหล่านี้ให้เราด้วยเพราะพวกเขาแข็งแกร่งเกินกำลังของเรา เผื่อว่าเราจะได้ขับไล่พวกเขาออกจากดินแดน เพราะเราทราบมาว่าทุกคนที่ท่านอวยพรก็ได้รับพร ส่วนคนที่ท่านสาปแช่งก็ต้องคำสาป”

เหล่าผู้อาวุโสของโมอับและมีเดียนจึงจากไปและนำเงินค่าคำสาปไปด้วย เมื่อมาพบบาลาอัม ก็แจ้งตามที่บาลาคกล่าว

บาลาอัมกล่าวว่า “เชิญพักค้างคืนที่นี่ก่อน แล้วข้าพเจ้าจะนำคำตอบที่องค์พระผู้เป็นเจ้าประทานมาให้” ดังนั้นพวกเจ้านายแห่งโมอับจึงพักอยู่ด้วย

พระเจ้าเสด็จมาหาบาลาอัมและตรัสถามว่า “คนเหล่านี้ที่อยู่กับเจ้าเป็นใคร?”

10 บาลาอัมทูลพระเจ้าว่า “บาลาคบุตรศิปโปร์กษัตริย์แห่งโมอับส่งข่าวมาว่า 11 ‘ชนชาติหนึ่งที่ออกมาจากอียิปต์อย่างมืดฟ้ามัวดิน บัดนี้ขอเชิญท่านไปสาปแช่งพวกเขาให้เรา เผื่อว่าเราจะสามารถสู้รบและขับไล่พวกเขาออกไปได้’ ”

12 แต่พระเจ้าตรัสกับบาลาอัมว่า “อย่าไปกับพวกนั้น เจ้าจะสาปแช่งคนเหล่านั้นไม่ได้เพราะพวกเขาได้รับพรแล้ว”

13 เช้าวันรุ่งขึ้นบาลาอัมลุกขึ้นและบอกเจ้านายที่บาลาคส่งมาว่า “กลับไปประเทศของพวกท่านเถิด เพราะองค์พระผู้เป็นเจ้าไม่ทรงอนุญาตให้ข้าพเจ้าไปกับพวกท่าน”

14 ดังนั้นเจ้านายชาวโมอับจึงกลับไปรายงานบาลาคว่า “บาลาอัมไม่ยอมมากับพวกเรา”

15 บาลาคพยายามอีกครั้ง โดยส่งกองเกียรติยศยิ่งกว่าครั้งก่อนมา 16 พวกเขามาแจ้งบาลาอัมว่า

“บาลาคบุตรศิปโปร์กล่าวว่า อย่าให้มีสิ่งใดมาขัดขวางไม่ให้ท่านมาหาเรา 17 เพราะเราจะตอบแทนท่านอย่างงาม และทำตามทุกอย่างที่ท่านบอก มาแช่งชนชาตินี้ให้เราเถิด”

18 แต่บาลาอัมตอบว่า “แม้บาลาคจะยกปราสาทที่เต็มไปด้วยเงินและทองให้ ข้าพเจ้าก็ไม่อาจทำสิ่งใดนอกเหนือพระบัญชาของพระยาห์เวห์พระเจ้าของข้าพเจ้าได้ ไม่ว่าเรื่องเล็กหรือเรื่องใหญ่ 19 เอาเถอะ เชิญค้างคืนที่นี่ก่อน ข้าพเจ้าจะดูว่าองค์พระผู้เป็นเจ้าจะตรัสอะไรเพิ่มเติมบ้างหรือไม่”

20 คืนนั้นพระเจ้าเสด็จมาตรัสกับบาลาอัมว่า “ในเมื่อคนเหล่านี้มาเรียกเจ้า ก็จงไปกับเขา แต่จงทำตามที่เราสั่งเท่านั้น”

ลาของบาลาอัม

21 ครั้นรุ่งเช้าบาลาอัมก็ลุกขึ้นผูกอานลาไปกับพวกเจ้านายของโมอับ 22 แต่พระเจ้าทรงพระพิโรธบาลาอัม ทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้ามายืนดักอยู่กลางถนนเพื่อขัดขวางเขา บาลาอัมขี่ลาไปและมีคนรับใช้สองคนไปด้วย 23 เมื่อลาเห็นทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้ายืนถือดาบอยู่กลางทาง ก็เบี่ยงออกนอกทางเข้าไปในทุ่งนา แต่บาลาอัมตีลาเพื่อบังคับให้มันกลับเข้าทางเดิม

24 จากนั้นทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้ามายืนอยู่ตรงทางแคบระหว่างกำแพงรั้วสวนองุ่นสองฟาก 25 เมื่อลาเห็นทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้าก็เบียดตัวชิดรั้วทำให้เท้าของบาลาอัมกระแทกกับกำแพงรั้ว เขาจึงตีลาอีก

26 แล้วทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้าล่วงหน้าไปและยืนอยู่ตรงที่แคบซึ่งลาไม่สามารถจะหันไปทางไหนได้เลย 27 เมื่อลาเห็นทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้าก็หมอบลงโดยที่บาลาอัมยังนั่งอยู่บนหลัง เขาจึงโกรธและเอาไม้เท้าตีลาอีก 28 องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงเปิดปากลา ลาจึงพูดกับบาลาอัมว่า “ข้าพเจ้าทำอะไรท่านหรือจึงมาตีข้าพเจ้าถึงสามครั้ง?”

29 บาลาอัมตอบว่า “ก็เจ้าน่ะสิ ทำให้เรากลายเป็นอ้ายงั่ง! ถ้าเรามีดาบสักเล่มอยู่ในมือ เราจะฆ่าเจ้าเสียเดี๋ยวนี้”

30 ลากล่าวกับบาลาอัมว่า “ข้าพเจ้าไม่ใช่ลาของท่านซึ่งท่านขี่มาจนถึงตอนนี้หรือ? ข้าพเจ้าเคยทำกับท่านเช่นนี้มาก่อนหรือเปล่า?”

เขาตอบว่า “ไม่เคย”

31 แล้วองค์พระผู้เป็นเจ้าทรงเปิดตาของบาลาอัม เขาเห็นทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้ายืนถือดาบอยู่กลางทาง เขาก็ทรุดกายและหมอบกราบซบหน้าลง

32 ทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้าถามว่า “เหตุใดเจ้าจึงตีลาถึงสามครั้ง? เรามาขัดขวางเจ้าเพราะเจ้ากำลังผลีผลามออกไปนอกลู่นอกทาง[a] 33 ลาเห็นเรา แล้วก็หลบเลี่ยงไปถึงสามครั้ง ไม่เช่นนั้นเราคงประหารเจ้าแน่นอน และปล่อยให้ลารอดชีวิตไป”

34 บาลาอัมกล่าวกับทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้าว่า “ข้าพเจ้าได้ทำบาปแล้ว ข้าพเจ้าไม่ทราบว่าท่านยืนอยู่กลางทางเพื่อขัดขวางข้าพเจ้า ถ้าท่านไม่อยากให้ข้าพเจ้าไป ข้าพเจ้าก็จะกลับ”

35 ทูตขององค์พระผู้เป็นเจ้ากล่าวกับบาลาอัมว่า “จงไปกับคนเหล่านี้เถิด แต่จงพูดตามที่เราสั่งเท่านั้น” ดังนั้นบาลาอัมจึงไปกับพวกเจ้านายที่บาลาคส่งมา

36 เมื่อบาลาคได้ยินว่าบาลาอัมกำลังมาก็ออกมาพบที่ชายแดน คือที่เมืองของชาวโมอับ ริมแม่น้ำอารโนน 37 บาลาคกล่าวกับบาลาอัมว่า “เราส่งคนไปเชิญท่านมาโดยด่วนไม่ใช่หรือ? เหตุใดท่านจึงไม่ยอมมา? เราไม่สามารถปูนบำเหน็จแก่ท่านหรือ?”

38 บาลาอัมตอบว่า “ข้าพเจ้ามาแล้วก็จริง แต่ไม่อาจพูดอะไรได้ ต้องพูดแต่สิ่งที่พระเจ้าทรงใส่ไว้ในปากของข้าพเจ้าเท่านั้น”

39 แล้วบาลาอัมก็ร่วมทางไปกับบาลาคถึงที่คีริยาทหุโซท 40 บาลาคเอาวัวและแกะถวายบูชา และยกบางส่วนให้บาลาอัมกับเหล่าเจ้านายที่มาด้วย 41 วันรุ่งขึ้นบาลาคพาบาลาอัมขึ้นไปบนบาโมทบาอัลซึ่งเขามองลงมาเห็นประชากรอิสราเอลบางส่วน

Notas al pie

  1. 22:32 ในภาษาฮีบรูข้อความนี้มีความหมายไม่ชัดเจน

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okubala 22

Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki

1Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.

Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10 Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11 ‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

12 Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

13 Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”

14 Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”

Katonda Akkiriza Balamu Okugenda

15 Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16 Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; 17 kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

18 Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. 19 Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”

20 Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”

Endogoyi ya Balamu Eyogera

21 Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu. 22 Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. 23 Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo.

24 Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. 25 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba.

26 Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. 27 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe. 28 Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?”

29 Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.”

30 Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.”

Malayika Alabula Balamu

31 Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama.

32 Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa. 33 Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”

34 Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”

35 Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki.

Balamu Akyalira Balaki

36 Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge. 37 Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”

38 Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.” 39 Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi. 40 Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye. 41 Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali[a], n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.

Notas al pie

  1. 22:41 Bamosi Baali Kitegeeza omununuzi. Ye yali lubaale wa laddu mu bantu abaabeeranga mu Busuuli ne mu Kanani.