กันดารวิถี 1 TNCV - Okubala 1 LCB

กันดารวิถี
Elegir capítulo 1

Thai New Contemporary Bible

กันดารวิถี 1

สำมะโนประชากร

1วันที่หนึ่งเดือนที่สองของปีที่สอง หลังจากชาวอิสราเอลออกจากประเทศอียิปต์ องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสกับโมเสสในเต็นท์นัดพบที่ถิ่นกันดารซีนายว่า “จงสำรวจสำมะโนประชากรชุมชนอิสราเอลทั้งหมด แยกเป็นรายตระกูลและครอบครัว ให้ทำบัญชีรายชื่อผู้ชายทุกคน เจ้ากับอาโรนจะต้องนับจำนวนผู้ชายในอิสราเอลที่มีอายุยี่สิบปีขึ้นไปซึ่งสามารถทำหน้าที่ในกองทัพได้ โดยแยกพวกเขาออกเป็นหมู่เหล่า ผู้นำจากแต่ละเผ่า เผ่าละหนึ่งคนจะเป็นผู้ช่วยของเจ้า ต่อไปนี้เป็นรายชื่อของผู้นำที่จะมาช่วยเจ้าได้แก่

จากเผ่ารูเบนคือ เอลีซูร์บุตรเชเดเออร์

จากเผ่าสิเมโอนคือ เชลูมิเอลบุตรศูริชัดดัย

จากเผ่ายูดาห์คือ นาห์โชนบุตรอัมมีนาดับ

จากเผ่าอิสสาคาร์คือ เนธันเอลบุตรศุอาร์

จากเผ่าเศบูลุนคือ เอลีอับบุตรเฮโลน

10 จากบุตรของโยเซฟคือ

จากเผ่าเอฟราอิมคือ เอลีชามาบุตรอัมมีฮูด

จากเผ่ามนัสเสห์คือ กามาลิเอลบุตรเปดาซูร์

11 จากเผ่าเบนยามินคือ อาบีดันบุตรกิเดโอนี

12 จากเผ่าดานคือ อาหิเยเซอร์บุตรอัมมีชัดดัย

13 จากเผ่าอาเชอร์คือ ปากีเอลบุตรโอคราน

14 จากเผ่ากาดคือ เอลียาสาฟบุตรเดอูเอล

15 จากเผ่านัฟทาลีคือ อาหิราบุตรเอนัน”

16 คนเหล่านี้ได้รับการแต่งตั้งจากชุมชนให้เป็นผู้นำเผ่าต่างๆ ตามบรรพบุรุษ พวกเขาเป็นหัวหน้าตระกูลต่างๆ ของอิสราเอล

17 โมเสสและอาโรนได้นำชายเหล่านี้ตามบัญชีรายชื่อที่ให้ไว้มา 18 และได้เรียกประชุมประชากรทั้งหมดในวันที่หนึ่งเดือนที่สอง ประชาชนได้ระบุบรรพบุรุษของตนตามตระกูลและครอบครัว และได้ขึ้นบัญชีรายชื่อผู้ชายที่มีอายุยี่สิบปีขึ้นไปทีละคน 19 ตามที่องค์พระผู้เป็นเจ้าทรงบัญชาโมเสส ดังนั้นเขาจึงนับจำนวนคนเหล่านี้ในถิ่นกันดารซีนาย

20 จากวงศ์วานของรูเบนบุตรชายหัวปีของอิสราเอล

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อทีละคนตามตระกูลและตามครอบครัว 21 จำนวนพลจากเผ่ารูเบน 46,500 คน

22 จากวงศ์วานของสิเมโอน

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อทีละคนตามตระกูลและตามครอบครัว 23 จำนวนพลจากเผ่าสิเมโอน 59,300 คน

24 จากวงศ์วานของกาด

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 25 จำนวนพลจากเผ่ากาด 45,650 คน

26 จากวงศ์วานของยูดาห์

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 27 จำนวนพลจากเผ่ายูดาห์ 74,600 คน

28 จากวงศ์วานของอิสสาคาร์

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 29 จำนวนพลจากเผ่าอิสสาคาร์ 54,400 คน

30 จากวงศ์วานของเศบูลุน

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 31 จำนวนพลจากเผ่าเศบูลุน 57,400 คน

32 จากวงศ์วานของเอฟราอิมบุตรโยเซฟ

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 33 จำนวนพลจากเผ่าเอฟราอิม 40,500 คน

34 จากวงศ์วานของมนัสเสห์บุตรโยเซฟ

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 35 จำนวนพลจากเผ่ามนัสเสห์ 32,200 คน

36 จากวงศ์วานของเบนยามิน

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 37 จำนวนพลจากเผ่าเบนยามิน 35,400 คน

38 จากวงศ์วานของดาน

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 39 จำนวนพลจากเผ่าดาน 62,700 คน

40 จากวงศ์วานของอาเชอร์

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 41 จำนวนพลจากเผ่าอาเชอร์ 41,500 คน

42 จากวงศ์วานของนัฟทาลี

ผู้ชายอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ออกรบได้ ขึ้นบัญชีรายชื่อตามตระกูลและตามครอบครัว 43 จำนวนพลจากเผ่านัฟทาลี 53,400 คน

44 ทั้งหมดนี้คือจำนวนผู้ชายที่โมเสส อาโรนและผู้นำทั้งสิบสองเผ่าของอิสราเอลได้นับไว้ แต่ละคนเป็นตัวแทนครอบครัวของเขา 45 คือผู้ชายอิสราเอลอายุยี่สิบปีขึ้นไปทุกคนที่ร่วมทัพได้ ได้ถูกนับไว้ตามครอบครัวของเขา 46 รวมทั้งสิ้น 603,550 คน

47 แต่จำนวนนี้ไม่รวมคนเผ่าเลวี 48 องค์พระผู้เป็นเจ้าได้ตรัสกับโมเสสไว้ว่า 49 “ยกเว้นเผ่าเลวี ไม่ต้องลงจำนวนในสำมะโนประชากรของอิสราเอล 50 แต่จงตั้งคนเลวีให้รับผิดชอบงานเกี่ยวกับพลับพลาแห่งพันธสัญญา พวกเขาต้องเคลื่อนย้ายพลับพลา ดูแลเครื่องใช้และทุกสิ่งที่อยู่ในพลับพลา พวกเขาต้องตั้งเต็นท์อาศัยอยู่รอบพลับพลา 51 เมื่อใดก็ตามที่มีการเคลื่อนย้ายพลับพลา คนเลวีจะเป็นผู้ปลดพลับพลาลงหรือตั้งขึ้นใหม่ ผู้อื่นที่เข้าใกล้พลับพลาจะต้องถูกประหารชีวิต 52 ชาวอิสราเอลจะต้องตั้งเต็นท์ของตนเป็นหมู่เหล่า แต่ละคนอยู่ในค่ายของตนภายใต้ธงประจำกอง 53 ส่วนคนเลวีจะต้องตั้งเต็นท์รอบพลับพลาแห่งพันธสัญญาเพื่อพระพิโรธของพระเจ้าจะไม่ตกแก่ชุมชนอิสราเอล ให้คนเลวีรับผิดชอบดูแลพลับพลาแห่งพันธสัญญา”

54 ประชากรอิสราเอลก็ปฏิบัติตามทุกสิ่งที่องค์พระผู้เป็นเจ้าตรัสสั่งโมเสส

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okubala 1

Okubala Abantu

1Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri[a]. N’amugamba nti: “Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.

“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:

“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;

mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;

mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;

mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;

mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.

10 Okuva mu baana ba Yusufu:

mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;

mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.

11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;

12 mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;

13 mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;

14 mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;

15 mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”

16 Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.

Ebika n’obunene bwabyo

17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 18 ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19 nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:

20 Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 21 Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).

22 Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 23 Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

24 Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. 25 Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

26 Ab’omu bazzukulu ba Yuda:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 27 Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

28 Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 29 Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

30 Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 31 Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

32 Okuva mu batabani ba Yusufu:

Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 33 Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

34 Ab’omu bazzukulu ba Manase:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 35 Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

36 Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 37 Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

38 Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 39 Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).

40 Ab’omu bazzukulu ba Aseri:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 41 Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).

42 Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 43 Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

44 Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45 Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 46 Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).

Abaleevi bo Tebaabalibwa

47 Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48 Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, 49 “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 50 Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 51 Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 52 Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 53 Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”

54 Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Notas al pie

  1. 1:1 Kino kyabaawo oluvannyuma lw’omwezi gumu nga Abayisirayiri batuuse mu ddungu lya Sinaayi (Kuv 9:1), ate nga wayiseewo omwezi gumu bukya Eweema ya Mukama ezimbibwa (Kuv 40:17), ate n’oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano nga kyebajje bakwate Embaga ey’Okuyitako mu Sinaayi