Neno: Bibilia Takatifu

Matayo 26

Mpango Wa Kumwua Yesu

1Yesu alipomaliza kusema hayo yote, aliwaambia wanafunzi wake, “Mnafahamu kwamba sikukuu ya Pasaka inaanza baada ya siku mbili na mimi Mwana wa Adamu nitasalitiwa na kusulubiwa.”

Wakati huo makuhani wakuu na wazee walifanya mkutano katika ukumbi wa kuhani mkuu, jina lake, Kayafa. Wakashauriana jinsi ya kumkamata Yesu na kumwua kwa siri. Wakasema, “Lakini tusi fanye haya wakati wa sikukuu, watu wasije wakafanya ghasia.”

Yesu Anapakwa Mafuta Bethania

Yesu alipokuwa Bethania nyumbani kwa Simoni mkoma, mwa namke mmoja alimjia akiwa na chupa ya alabasta yenye manukato ya thamani kubwa; akammiminia Yesu manukato hayo kichwani akiwa ame kaa mezani. Lakini wanafunzi wake walipoona hayo waliudhika, wakasema, “Kwa nini kupoteza manukato bure? Haya yangaliuzwa kwa bei kubwa na fedha hizo wakapewa maskini.”

10 Yesu alifahamu mawazo yao kwa hiyo akawaambia, “Mbona mnamsumbua huyu mama? Amenifanyia jambo zuri sana. 11 Maskini mnao siku zote lakini hamtakuwa nami siku zote. 12 Aliponimimi nia haya manukato alikuwa akiandaa mwili wangu kwa mazishi. 13 Ninawaambia kweli, mahali po pote Habari Njema itakapohubi riwa ulimwenguni, jambo hili alilofanya litatajwa, kwa ukumbusho wake.”

Yuda Akubali Kumsaliti Yesu

14 Kisha mmojawapo wa wale wanafunzi kumi na wawili aitwaye Yuda Iskariote, alikwenda kwa kuhani mkuu akamwambia, “Mtanilipa kiasi gani nikimtoa kwenu?” 15 Wakamlipa vipande thelathini vya fedha. 16 Tangu wakati huo Yuda akawa anatafuta nafasi ya kumsaliti Yesu.

Matayarisho Ya Pasaka

17 Siku ya kwanza ya sikukuu ya Mikate isiotiwa chachu wale wanafunzi walikuja kwa Yesu wakamwuliza, “Ungependa tukuandalie wapi chakula cha Pasaka?”

18 Akajibu, “Nendeni kwa mtu fulani huko mjini mkamwambie, ‘Bwana anasema hivi: saa yangu imekaribia, napenda kula Pasaka pamoja na wanafunzi wangu nyumbani kwako.’ ” 19 Wanafunzi waka fanya kama Yesu alivyowaambia, wakaandaa Pasaka.

20 Ilipofika jioni, Yesu aliketi mezani pamoja na wanafunzi wake. 21 Walipokuwa wakila akawaambia, “Nawaambieni kweli, mmoja wenu atanisaliti.” 22 Wakasikitika sana, wakaanza kumwul iza mmoja mmoja, “Ni mimi, Bwana?” 23 Yesu akawaambia, “Yule aliyechovya mkono wake katika bakuli pamoja nami, ndiye ata kayenisaliti. 24 Mimi Mwana wa Adamu sina budi kufa kama ilivy oandikwa katika Maandiko, lakini ole wake mtu yule atakayenisal iti. Ingalikuwa nafuu kwake kama hakuzaliwa!”

25 Kisha Yuda, yule ambaye alimsaliti akasema, “Ni mimi, Bwana?” Yesu akamjibu, “Umetamka mwenyewe.”

Bwana?” Yesu akamjibu, “Umetamka mwenyewe.”

26 Walipokuwa wanakula, Yesu akachukua mkate, akashukuru, akaumega, akawapa wanafunzi wake akisema, “Chukueni mle; huu ni mwili wangu.” 27 Kisha akachukua kikombe, akashukuru, akawapa akisema, “Kunyweni nyote katika kikombe hiki. 28 Hii ni damu yangu ya agano ambayo inamwagika kwa ajili ya wengi ili wasame hewe dhambi. 29 Ninawahakikishia kuwa sitakunywa tena maji ya mzabibu mpaka siku nitakapoyanywa pamoja nanyi katika Ufalme wa Baba yangu.”

Baba yangu.”

30 Walipokwisha kuimba wimbo walikwenda kwenye mlima wa Mizeituni.

Yesu Amwambia Petro Atamkana

31 Kisha Yesu akawaambia, “Usiku wa leo kila mmoja wenu atanikimbia kwa maana Maandiko yanasema, ‘Nitampiga mchungaji, na kondoo wote wa kundi lake watatawanyika.’ 32 Lakini baada ya kufufuka, nitawatangulia kwenda Galilaya.”

33 Petro akasema, “Hata kama wote watakuacha, mimi sitaku acha.”

34 Yesu akamjibu, “Ninakuambia kweli, usiku huu huu, kabla jogoo hajawika, utanikana mara tatu.” 35 Lakini Petro akasema, “Hata kama itabidi nife pamoja na wewe, sitakukana.” Na wana funzi wote wakasema hivyo hivyo.

Gethsemane

36 Kisha Yesu akaenda nao mpaka kwenye bustani iitwayo Gethsemane. Akawaambia, “Kaeni hapa, mimi ninakwenda mbele zaidi kuomba.” 37 Akamchukua Petro, pamoja na wale wana wawili wa Zebedayo, akaanza kufadhaika na kuhuzunika. 38 Kisha Yesu akawaambia, “Moyo wangu umejaa majonzi karibu ya kufa. Kaeni hapa mkeshe pamoja nami.”

39 Akaenda mbele kidogo, akaanguka kifudifudi akaomba, “Baba yangu, kama inawezekana, niondolee kikombe hiki cha mateso, lakini si kama nipendavyo bali kama upendavyo wewe.”

40 Akarudi kwa wanafunzi wake, akawakuta wamelala. Akamwul iza Petro, “Hamkuweza kukesha nami hata kwa saa moja? 41 Kesheni muombe, msije mkaingia katika majaribu. Kwa maana roho i radhi lakini mwili ni dhaifu.” 42 Akaenda tena mara ya pili, akaomba, “Baba yangu, kama haiwezekani kikombe hiki kion dolewe pasipo mimi kukinywea, mapenzi yako yafanyike.” 43 Ali porudi tena aliwakuta wamelala kwa maana macho yao yalikuwa mazito. 44 Kwa hiyo akawaacha akaenda tena mara ya tatu, akaomba vile vile.

45 Kisha akarudi kwa wale wanafunzi akawaambia, “Bado mme lala na kupumzika? Angalieni, saa imefika ambapo mimi Mwana wa Adamu sina budi kukabidhiwa mikononi mwa wenye dhambi. 46 Amkeni, twendeni! Yule anayenisaliti atafika sasa hivi!”

Yesu Akamatwa

47 Alipokuwa anazungumza, Yuda, mmojawapo wa wale kumi na wawili, akafika,akifuatana na umati wa watu wenye mapanga na mar ungu. Walikuwa wametumwa na makuhani wakuu na wazee wa watu.

48 Yuda alikuwa amepatana na hao watu kuwa, ‘Nitakayembusu ndiye, mkamateni.’ 49 Basi alipofika, alimwendea Yesu moja kwa moja, akamsalimia, “Salaam, Rabi!” Akambusu. 50 Yesu akamjibu, “Rafiki, umekuja kufanya nini hapa?” Basi wale watu wakasogea, wakamkamata Yesu. 51 Ndipo mmojawapo wa wafuasi wa Yesu ali poona hivyo, akachukua panga lake, akampiga nalo mtumishi wa kuhani mkuu, akamkata sikio. 52 Yesu akamwambia, “Rudisha upanga wako mahali pake, kwa maana wote watumiao upanga watakufa kwa upanga. 53 Unadhani siwezi kumwomba Baba yangu aniletee mara moja majeshi kumi na mbili ya malaika? 54 Lakini nikifanya hivyo yatatimiaje Maandiko yale yasemayo kwamba mambo haya lazima yato kee?”

55 Wakati huo Yesu akawaambia ule umati, “Mmekuja kunika mata kama mnyang’anyi kwa mapanga na marungu? Mbona siku zote nilikaa Hekaluni na kufundisha lakini hamkunikamata? 56 Lakini haya yametokea ili Maandiko ya manabii yatiimie.” Ndipo wana funzi wake wote wakamwacha, wakakimbia.

Yesu Ashtakiwa Mbele Ya Baraza

57 Wale waliomkamata Yesu wakampeleka nyumbani kwa Kayafa, kuhani mkuu, ambapo walimu wa sheria pamoja na wazee walikuwa wamekutanika.

58 Lakini Petro alimfuata kwa mbali mpaka uani kwa kuhani mkuu akaingia ndani pamoja na walinzi aone litakalotokea. 59 Basi makuhani wakuu na baraza zima wakatafuta ushahidi wa uongo ili wamwue Yesu, 60 lakini hawakupata, ingawa mashahidi wengi wa uongo walijitokeza. Hatimaye wakajitokeza watu wawili, 61 wakasema: “Huyu mtu alisema, ‘Nina uwezo wa kuvunja Hekalu la Mungu na kulijenga tena katika muda wa siku tatu .’ ”

62 Kisha kuhani mkuu akasimama, akamwambia Yesu, “Huna jibu? Husikii huo ushahidi waliotoa watu hao?” 63 Lakini Yesu hakusema neno. Basi kuhani mkuu akamwambia, “Nakuapisha kwa jina la Mungu aliye hai, tuambie kama wewe ndiye Kristo, Mwana wa Mungu.”

Mungu.”

64 Yesu akajibu, “Umetamka mwenyewe. Lakini nina waambieni nyote kwamba baada ya hapa, mtamwona Mwana wa Adamu ameketi mkono wa kulia wa Mungu mwenye uweza na akija juu ya mawingu ya mbin guni.”

65 Aliposikia maneno hayo, kuhani mkuu alirarua mavazi yake akasema, “Amekufuru! Tunahitaji ushahidi gani zaidi? Si mmemsi kia akikufuru? 66 Mnaamuaje?” Wakajibu, “Anastahili kufa!”

67 Kisha wakamtemea mate usoni; wengine wakampiga ngumi na makofi, 68 wakasema, “Hebu toa unabii wewe Kristo! Ni nani ame kupiga?”

69 Wakati huo Petro alikuwa amekaa uani. Mtumishi mmoja wa kike akamjia akamwambia, “Wewe pia ulikuwa pamoja na Yesu wa Galilaya.” 70 Lakini Petro akakana mbele yao wote akisema, “Sijui usemalo.”

71 Kisha alipotoka nje, mlangoni mtumishi mwingine wa kike alimwona, akawaambia watu waliokuwapo, “Huyu mtu alikuwa pamoja na Yesu Mnazareti.” 72 Akakana tena kwa kiapo akisema, “Simfa hamu mtu huyo!” 73 Baada ya muda mfupi wale waliokuwa wamesi mama pale walimwendea Petro wakamwambia, “Hakika wewe ni mmoja wao kwa maana namna yako ya kusema ni kama yao.” 74 Ndipo Petro akalaani na kuapa, akawaambia, “Simfahamu mtu huyo!” Wakati huo huo jogoo akawika. 75 Na Petro akakumbuka Yesu alivyomwambia, “Kabla jogoo hajawika utanikana mara tatu.” Akaenda nje, akalia kwa uchungu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Matayo 26

Olukwe olw’Okutta Yesu

1Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti, “Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”

Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte. Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.

Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi,[a] n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.

Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”

10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. 11 Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. 12 Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika. 13 Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”

14 Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 15 N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

17 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”

18 Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ” 19 Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.

20 Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde 21 ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”

22 Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”

23 Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo. 24 Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”

25 Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”

26 Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”

27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna, 28 kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi. 29 Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”

30 Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

31 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira.

“Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba
    n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’

32 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” 33 Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”

34 Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.” 35 Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.

Gesusemane

36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” 37 N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo. 38 N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”

39 N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

40 N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu? 41 Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”

42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”

43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.

45 Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 46 Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”

Yesu Akwatibwa

47 Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya. 48 Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata. 49 Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.

50 Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.”[b] Awo abalala ne bakwata Yesu.

51 Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.

52 Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala. 53 Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? 54 Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”

55 Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata. 56 Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.

Yesu mu maaso g’Olukiiko

57 Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”

62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 Naye Yesu n’asirika busirisi.

Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”

64 Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 65 Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 66 Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”

67 Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”

Peetero Yeegaana Yesu

69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”

70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”

71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”

72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”

73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”

74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.

75 Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.

Notas al pie

  1. 26:7 Eccupa eyo ey’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi yabumbibwa mu mabo
  2. 26:50 oba nti, “Owoomukwano odukidde ki?”