Jan 18 – SNC & LCB

Slovo na cestu

Jan 18:1-40

Ježíš je zrazen a zajat

1Po této modlitbě odešel Ježíš se svými učedníky do olivového háje za potok Kidrón. 2Zrádce Jidáš toto místo dobře znal, protože tam s Ježíšem a učedníky často chodíval. 3Teď tam vedl chrámovou stráž posílenou vojenskou jednotkou; byli ozbrojení a svítili si na cestu kahany a pochodněmi.

4Ježíš věděl, co ho čeká. Vyšel jim naproti a zeptal se: „Koho hledáte?“

5„Ježíše z Nazaretu,“ odpověděli.

„To jsem já,“ řekl jim.

6Když to uslyšeli, ustoupili zpět a padli na zem.

7„Koho hledáte?“ zeptal se jich Ježíš znovu.

„Ježíše Nazaretského,“ opakovali.

8„Vždyť jsem vám již řekl, že jsem to já. Tady mne máte, ale tyhle nechte odejít.“

9Tak se splnil jeho slib, že neztratí žádného z těch, které mu Otec svěřil.

10Šimon Petr vytasil meč, napadl jednoho z nich a uťal mu pravé ucho. Byl to Malchos, sluha nejvyššího kněze. 11Ale Ježíš řekl Petrovi: „Schovej svůj meč! Otec určil, abych trpěl.“

Annáš vyslýchá Ježíše

12V té chvíli se ozbrojenci Ježíše zmocnili a spoutali ho. 13Vedli ho nejprve k Annášovi, tchánovi úřadujícího velekněze Kaifáše. 14Byl to právě Kaifáš, který zastával ve veleradě názor, že je prospěšnější, aby zemřel jeden člověk, než aby byl vydán všanc národ.

15Petr Ježíše neopustil a sledoval ho s jiným učedníkem. Ten byl známým nejvyššího kněze, a tak se dostali za Ježíšem až na nádvoří veleknězova paláce. 16Petr zůstal před vraty. Jeho společník se přimluvil u vrátné, aby Petra pustila dovnitř. 17Ta se Petra zeptala: „Nepatříš i ty mezi společníky toho člověka?“

„Co tě nemá!“ ohradil se Petr.

18Protože bylo sychravo, zapálili si sluhové a strážci oheň a hřáli se kolem něho. Petr se šel také hřát.

19Mezitím Annáš zahájil výslech: „Kdo s tebou chodil? Čemu jsi učil?“

20„Mé učení je obecně známé,“ odpověděl Ježíš. „Mluvíval jsem veřejně v synagogách i v chrámu. Tam má každý Žid přístup. Potají jsem nemluvil nic. 21Co se vyptáváš mne? Ptej se mých posluchačů, ti vědí, co jsem říkal.“

22„Jak to mluvíš s veleknězem?“ obořil se na Ježíše jeden ze strážných a udeřil ho.

23Ježíš se ohradil: „Jestli nemám pravdu, tak to dokaž. Jsem-li v právu, proč mne biješ?“

24Annáš potom předal spoutaného vězně Kaifášovi.

Petr zapírá, že zná Ježíše

25Jak se tak Petr hřál u ohně, kdosi se ho zeptal: „Nejsi také jeden z Ježíšových učedníků?“

Petr to popřel.

26Jeden z veleknězových sluhů, příbuzný Malchose, kterého Petr poranil, ho obvinil: „Vždyť jsem tě s ním viděl tam v zahradě!“

27Petr to opět popřel a vtom zakokrhal kohout.

Ježíš je souzen Pilátem

28Ráno odvedli Ježíše od Kaifáše k římskému místodržiteli. Židovští žalobci do jeho domu nevstoupili, aby se neposkvrnili v den svátku a nebyli tak vyloučeni z účasti na velikonoční večeři. 29Pilát tedy vyšel k nim a ptal se: „Z čeho toho člověka obviňujete?“

30„Je to zločinec! Proč bychom ho sem jinak vodili,“ odpověděli.

31„Tak si ho nechte a suďte podle svých zákonů,“ odsekl Pilát.

„Vždyť víš, že nemáme právo nikoho popravit,“ bránili se Židé.

32Tak se naplnila Ježíšova slova, kterými předpověděl způsob své smrti.

33Pilát se vrátil dovnitř, nechal si Ježíše předvolat a zeptal se ho: „Ty jsi král Židů?“

34„Zajímá tě to osobně, nebo v souvislosti s žalobou?“ otázal se Ježíš.

35„Jsem snad Žid, abys mohl být mým králem?“ ohradil se Pilát. „Tvůj vlastní národ a tvoji představení tě sem předvedli. Čeho ses dopustil?“

36Ježíš odpověděl: „Jsem král, ale nejde mi o politickou moc. Kdyby moje království bylo pozemské, moji poddaní by mne proti Židům ubránili. Má říše je jiného druhu.“

37„Přece jsi tedy král,“ konstatoval Pilát.

„Sám to připouštíš,“ odpověděl Ježíš. „Narodil jsem se proto, abych oznámil pravdu o tomto království. Kdo miluje pravdu, ten mne poslouchá.“

Pilát vydává Ježíše k ukřižování

38„Co je pravda?“ ukončil Pilát rozhovor a vyšel opět k Židům. „Ten člověk je nevinný,“ prohlásil. 39„Jestli ho vy považujete za zločince, udělím mu velikonoční amnestii, jak je tady zvykem. Chcete, abych vám propustil židovského krále?“

40Oni však křičeli: „Toho ne! Propusť Barabáše!“

Ten Barabáš byl buřič.

Luganda Contemporary Bible

Yokaana 18:1-40

Yesu Akwatibwa

118:1 a 2Sa 15:23 b nny 26 c Mat 26:36Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.

218:2 Luk 21:37; 22:39Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be. 318:3 a Bik 1:16 b nny 12Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.

418:4 a Yk 6:64; 13:1, 11 b nny 7Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?” 5Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 6Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi. 718:7 nny 4Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.” 8Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” 918:9 Yk 17:12Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”

10Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko. 1118:11 Mat 20:22Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”

1218:12 nny 3Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 1318:13 nny 24; Mat 26:3Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.18:13 mu biro ebyo, waaliwo ekibiina ekitono ekya Bakabona Abasinga Obukulu nga bakulemberwa Ana ne Kayaafa, abaafuganga Yerusaalemi. 1418:14 Yk 11:49-51Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”

Peetero Yeegaana Yesu Omulundi Ogusooka

1518:15 a Mat 26:3 b Mat 26:58; Mak 14:54; Luk 22:54Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, 16nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.

1718:17 nny 25Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?”

Peetero n’addamu nti, “Nedda.”

1818:18 a Yk 21:9 b Mak 14:54, 67Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.

Kabona Asinga Obukulu Abuuza Yesu Ebibuuzo

19Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.

2018:20 a Mat 4:23 b Mat 26:55 c Yk 7:26Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama. 21Lwaki obuuza Nze? Buuza abo abaawuliranga bye njogera. Bamanyi bye nnaayogera.”

2218:22 a nny 3 b Mat 16:21; Yk 19:3Yesu bwe yayogera ekyo omu ku baweereza eyali ayimiridde awo n’amukuba oluyi n’amugamba nti, “Oddamu otyo Kabona Asinga Obukulu?”

2318:23 Mat 5:39; Bik 23:2-5Yesu n’amuddamu nti, “Obanga njogedde bubi kinnumirize ekibi, naye obanga kirungi, kale onkubira ki?” 2418:24 nny 13; Mat 26:3Awo Ana n’aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.

Peetero Yeeyongera Okwegaana Yesu

2518:25 a nny 18 b nny 17Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?”

N’abaddamu nti, “Nedda.”

2618:26 a nny 10 b nny 1Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?” 2718:27 Yk 13:38Peetero n’addamu okwegaana. Amangwago enkoko n’ekookolima.

Yesu mu maaso ga Piraato

2818:28 a Mat 27:2; Mak 15:1; Luk 23:1 b nny 33; Yk 19:9 c Yk 11:55Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako. 29Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”

30Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”

31Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.”

Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”

3218:32 Mat 20:19; 26:2; Yk 3:14; 8:28; 12:32, 33Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.

3318:33 a nny 28, 29; Yk 19:9 b Luk 23:3; Mat 2:2Awo Piraato n’addayo mu lubiri n’ayita Yesu. N’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”

34Yesu n’addamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?”

35Piraato n’amubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”

3618:36 a Mat 3:2 b Mat 26:53 c Luk 17:21; Yk 6:15Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”

3718:37 a Yk 3:32 b Yk 8:47; 1Yk 4:6Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?”

Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”

3818:38 Luk 23:4; Yk 19:4, 6Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango. 39Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”

4018:40 Bik 3:14Bonna kyebaava baleekaanira waggulu nga bagamba nti, “Nedda, si oyo, wabula tuteere Balaba.” Balaba oyo yali munyazi.