Židům 6 – SNC & LCB

Slovo na cestu

Židům 6:1-20

Růst v poznání Krista je nutný

1Přestaňme stále jenom ohledávat základy Kristova učení a usilujme postoupit dále. Nevracejme se pořád jenom k lítosti nad nesprávným jednáním, k víře v Boha, 2k učení o křtu, ke vkládání rukou, k učení o vzkříšení mrtvých a o věčném odsouzení. 3Když Bůh dovolí, postupme k dalším věcem.

4-5Ten, kdo byl jednou osvícen, okusil Božího daru, získal podíl na Duchu svatém, poznal, jak vážná je Boží věc, zakusil moc přicházejícího světa, 6a potom od Boha odpadl, nemůže se vrátit zpátky, protože veřejně potupil a znovu ukřižoval Božího Syna.

7Země, která je často skrápěna deštěm a vydává těm, kdo ji obdělávají, hojnou úrodu, přijímá od Boha požehnání. 8Plodí-li však bodláky a trní, není vhodná k obdělávání, bude vypálena a ponechána svému osudu.

9I když říkám takové věci, milovaní, nemyslím, že by se týkaly vás. Jsem přesvědčen, že přinášíte dobré plody a spočíváte v Boží ochraně. 10Bůh je spravedlivý, nezapomíná na vaši práci a věrnost jeho věci, na vaši minulou i přítomnou službu, kterou prokazujete těm, kteří jsou mu cele oddáni. 11Napomínám každého z vás k horlivosti. Nebuďte leniví a zachovejte si až do konce plnou naději. 12Nebuďte tupí. Řiďte se příkladem těch, kteří vírou a trpělivostí dosáhli splnění Božích slibů.

Boží jisté sliby nám dávají naději

13-14Bůh dal Abrahamovi slib a chtěl ho potvrdit přísahou. A protože nemohl přísahat při nikom větším, přísahal při sobě, že bude Abrahama provázet svou přízní a že rozmnoží jeho rod. 15A Abraham svou trpělivostí skutečně dosáhl splnění tohoto slibu.

16Když se lidé přísahou dovolávají někoho mocnějšího, ukončují tím svůj spor. 17Bůh dědicům zaslíbení svou přísahou nepochybně prokázal nezměnitelnost své vůle. 18Protože je vyloučeno, aby Bůh lhal, můžeme se tedy neochvějně opírat jak o jeho slib, tak o jeho přísahu. Když jsme se k němu uchýlili, smíme čerpat mocné potěšení z nabízené naděje, které jsme se chopili. 19Je to bezpečná a pevná kotva celé naší bytosti, která nás spojuje s Bohem, 20k němuž nás předešel Ježíš, který se stal navždycky knězem podle řádu Malkísedekova. Malkísedek je předobrazem Božího Syna, který je knězem navždycky.

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 6:1-20

16:1 a Baf 3:12-14 b Beb 5:12 c Beb 9:14Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda. 26:2 a Yk 3:25 b Bik 6:6 c Bik 17:18, 32Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. 36:3 Bik 18:21Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo.

46:4 a Beb 10:32 b Bef 2:8 c Bag 3:2Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, 5ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, 66:6 2Pe 2:21; 1Yk 5:16naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

7Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa. 86:8 Lub 3:17, 18; Is 5:6Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.

96:9 1Ko 10:14Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi. 106:10 Mat 10:40, 42; 25:40; 1Bs 1:3Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza. 116:11 Beb 3:6Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira. 126:12 a Beb 13:7 b 2Bs 1:4; Yak 1:3; Kub 13:10 c Beb 10:36Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.

Obukakafu bw’ebisuubizo bya Katonda

136:13 Lub 22:16; Luk 1:73Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, nga bwe wataali mulala gw’ayinza kwerayirira amusinga, yeerayirira yekka. 146:14 Lub 22:17Yalayira ng’agamba nti, “Ndikuweera ddala omukisa, era n’okukwaza nnaakwazanga.” 156:15 Lub 21:5Bw’atyo Ibulayimu bwe yalindirira n’obugumiikiriza, n’aweebwa ekyasuubizibwa.

166:16 Kuv 22:11Abantu balayira omuntu abasinga obukulu, ku nkomerero kye balayidde kye kisalawo. 176:17 a Zab 110:4 b Beb 11:9Ne Katonda bw’atyo, kyeyava ateekawo ekirayiro ng’ayagala okukakasiza ddala abasika b’ekisuubizo nti talijjulula ekyo kye yasuubiza. 186:18 a Kbl 23:19; Tit 1:2 b Beb 3:6Katonda yakikola bw’atyo, okutulaga ebintu bibiri ebitajjulukuka, nti akuuma ekisuubizo kye awamu n’ekirayiro kye. Talimba. Noolwekyo ffe abaddukira gy’ali okutulokola, tusaana okuba abagumu kubanga talirema kutuwa ebyo bye yasuubiza. 196:19 Lv 16:2; Beb 9:2, 3, 7Essuubi eryo lye linywereza ddala emmeeme zaffe ng’ennanga bw’enyweza eryato. Essuubi eryo lituyingiza munda w’eggigi. 206:20 a Beb 4:14 b Beb 2:17 c Beb 5:6Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.