Números 26 – OL & LCB

O Livro

Números 26:1-65

O segundo recenseamento

1Depois de ter passado a praga, o Senhor disse a Moisés e a Eleazar, filho de Aarão, o sacerdote: 2“Recenseia todos os homens de Israel, de 20 anos para cima, para se saber com quantas pessoas de cada tribo e família se poderá contar para a guerra.” 3-4Moisés e Eleazar instruíram os chefes de Israel nesse sentido. Toda a nação estava acampada nas planícies de Moabe, nas margens do rio Jordão, em frente de Jericó.

Seguem-se os resultados do recenseamento.

5-7Tribo de Rúben: 43 730. Rúben era o filho mais velho de Israel. Nesta tribo integravam-se as seguintes famílias, cujas designações correspondiam aos filhos de Rúben:

os descendentes de Hezrom,

os descendentes de Carmi,

os descendentes de Enoque.

Os descendentes de Palu; dentro destes, havia o subgrupo familiar

8de Eliabe, que era um dos filhos de Palu, 9e que se dividia ainda nos agregados familiares de Nemuel, Datã e Abirão. Estes últimos foram aqueles dois chefes que apoiaram Coré na conspiração contra Moisés e contra Aarão num desafio à autoridade do Senhor. 10Mas a terra abriu-se e engoliu-os vivos. Foram nessa altura destruídos igualmente pelo fogo de Deus 250 homens, como aviso a toda a nação. 11Mas os filhos de Coré não morreram.

12-14Tribo de Simeão: 22 200. Nesta tribo havia as seguintes famílias, segundo os filhos de Simeão:

de Nemuel, Jamim, Jaquim, Zera e de Saul.

15-18Tribo de Gad: 40 500. Eram as seguintes, as famílias de Gad, de acordo com os seus descendentes:

de Zefom, Hagi, Suni, de Ozni, Eri, Arodi e de Areli.

19-22Tribo de Judá: 76 500. As famílias dos descendentes de Judá eram estas, não incluindo nem Er nem Onã, os quais morreram na terra de Canaã:

de Sela, de Perez e de Zera.

Este recenseamento inclui também os seguintes subgrupos descendentes de Perez:

os descendentes de Hezrom e de Hamul.

23-25Tribo de Issacar: 64 300. As famílias de Issacar eram estas:

os descendentes de Tola, de Puva, de Jasube e de Simrom.

26-27Tribo de Zebulão: 60 500. As famílias desta tribo designavam-se assim:

Serede, Elom e Jaleel.

28-37Tribo de José: 32 500 da tribo de Efraim e 52 700 da tribo de Manassés.

Na tribo de Manassés, havia as famílias de:

Maquir, filho de Manassés. Da mesma tribo contaram-se ainda:

Os descendentes de Gileade, filho de Maquir, neto de Manassés:

Os descendentes de Iezer, de Heleque, de Asriel, de Siquem, de Semida e de Hefer; este último teve um filho, Zelofeade, o qual não teve descendentes do sexo masculino; teve cinco filhas, cujos nomes foram: Mala, Noa, Hogla, Milca e Tirza.

Constituíam as famílias da meia tribo de Efraim:

Os descendentes de Sutela, de Bequer e de Taã; havia ainda a família dos eranitas, descendentes de Erã, filho de Sutela, neto de Efraim.

38-41Tribo de Benjamim: 45 600. Nesta tribo havia as seguintes famílias:

Bela, Asbel, Airão, Sufão e Hufão.

Os filhos de Bela vieram a formar ainda estas famílias, incluídas na tribo de Benjamim: Arde e Naamã.

42-43Tribo de Dan: 64 400. Só uma família constituía esta tribo:

os descendentes de Suão.

44-47Tribo de Aser: 53 400. As famílias desta tribo foram:

os descendentes de Imna, de Isvi, de Beria;

os filhos deste constituíram mais duas famílias:

Heber e Malquiel.

Aser teve ainda uma filha Sera.

48-50A tribo de Naftali: 45 400. Nesta tribo havia as seguintes famílias:

Jazeel, Guni, Jezer e Silem.

51Portanto, o total dos homens aptos para o serviço militar foi de 601 730.

52Então o Senhor disse a Moisés 53que dividisse a terra por cada tribo, proporcionalmente à população de cada uma, conforme os dados do recenseamento; 54desta forma, as tribos maiores deveriam ter mais terra do que as mais pequenas. 55“Que os representantes das tribos sorteiem entre si as diversas zonas da terra, mas em duas vezes: 56as tribos maiores sortearão as zonas maiores e as outras as zonas mais pequenas.”

57São estas as famílias da tribo de Levi, conforme o recenseamento:

os descendentes de Gerson, de Coate e de Merari.

58Constavam ainda os seguintes agregados familiares:

os libnitas,

os hebronitas,

os malitas,

os musitas

os coraítas.

Coate foi o antepassado de Amrão. 59Quando Levi estava no Egito nasceu-lhe uma filha, chamada Joquebede, que veio a casar com Amrão. Foram estes os pais de Aarão, Moisés e Miriam. 60Depois a Aarão nasceram-lhe Nadabe, Abiú, Eleazar e Itamar. 61Nadabe e Abiú morreram quando pretendiam oferecer fogo estranho ao Senhor.

62O resultado do recenseamento revelou haver 23 000 levitas do sexo masculino, com mais de um mês de idade. Mas estes não foram incluídos nos resultados finais, porque não lhes foi dada a terra, aquando da repartição por entre as tribos.

63Estes são os números relativos à contagem feita por Moisés e por Eleazar nas planícies do Moabe, nas margens do Jordão, em frente de Jericó. 64Nem um só indivíduo de todo este alistamento tinha sido contado no anterior recenseamento feito no deserto de Sinai. Todos os que naquela altura tinham sido alistados estavam agora mortos, 65de acordo com aquilo que o Senhor dissera, que haveriam de morrer no deserto; as únicas duas exceções foram Calebe, filho de Jefoné, e Josué, filho de Num.

Luganda Contemporary Bible

Okubala 26:1-65

Okubala Abantu Okwokubiri

1Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti, 226:2 a Kuv 30:11-16; 38:25-26; Kbl 1:2 b Kbl 1:3“Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.” 326:3 a Kbl 33:48 b Kbl 22:1Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti, 4“Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.”

Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:

526:5 a Lub 46:9 b 1By 5:3Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:

abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki;

abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;

6abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;

abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.

7Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).

8Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, 926:9 a Kbl 16:1 b Kbl 1:16 c Kbl 16:2ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. 1026:10 Kbl 16:35, 38Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. 1126:11 a Kuv 6:24 b Kbl 16:33; Ma 24:16Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.

1226:12 1By 4:24Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri;

abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini;

abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;

1326:13 Lub 46:10abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera;

abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli.

1426:14 Kbl 1:23Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).

1526:15 Lub 46:16Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni;

abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi;

abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni;

16abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni;

abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri;

17abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi;

abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri.

1826:18 Kbl 1:25; Yos 13:24-28Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

1926:19 Lub 38:2-10; 46:12Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.

2026:20 a 1By 2:3 b Yos 7:17Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera;

abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi;

abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.

2126:21 Lus 4:19; 1By 2:9Bazzukulu ba Pereezi be bano:

abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni

abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.

2226:22 Kbl 1:27Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).

2326:23 Lub 46:13; 1By 7:1Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola;

abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;

2426:24 Lub 46:13abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu;

abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni

2526:25 Kbl 1:29Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).

26Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi;

abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni;

abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri.

2726:27 Kbl 1:31Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).

28Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.

2926:29 a Yos 17:1 b Bal 11:1Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi.

Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.

3026:30 Yos 17:2; Bal 6:11Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri,

abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;

31abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri,

abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:

32abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida;

abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.

3326:33 a Kbl 27:1 b Kbl 36:11Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.

3426:34 Kbl 1:35Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).

35Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera;

abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri;

abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.

36Bano be bazzukulu ba Susera:

abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.

3726:37 Kbl 1:33Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500).

Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.

3826:38 Lub 46:21; 1By 7:6Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera;

abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi

abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu

39abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu;

abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.

4026:40 Lub 46:21; 1By 8:3Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda;

abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.

4126:41 Kbl 1:37Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).

4226:42 Lub 46:23Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu.

Abo be baava mu Ddaani. 43Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).

44Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna;

abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi;

abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.

45Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino:

abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi;

abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.

46Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.

4726:47 Kbl 1:41Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

4826:48 Lub 46:24; 1By 7:13Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri,

abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni

49abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri;

abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu.

5026:50 Kbl 1:43Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).

5126:51 Kuv 12:37; 38:26; Kbl 1:46; 11:21Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).

Okugabanya Ensi

52Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 5326:53 Yos 11:23; 14:1; Ez 45:8“Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli. 5426:54 Kbl 33:54Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi. 5526:55 Kbl 34:14Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo. 56Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”

Okubala Abaleevi

5726:57 Lub 46:11; Kuv 6:16-19Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:

abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni;

abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi;

abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.

5826:58 Kuv 6:20Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi:

olunyiriri lw’Ababalibuni,

olunyiriri lw’Abakebbulooni,

olunyiriri lw’Abamakuli,

olunyiriri lw’Abamusi,

n’olunyiriri lw’Abakoola.

Kokasi yazaala Amulaamu. 5926:59 a Kuv 2:1 b Kuv 6:20Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. 6026:60 Kbl 3:2Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 6126:61 a Lv 10:1-2 b Kbl 3:4Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.

6226:62 a Kbl 3:39 b Kbl 1:47 c Kbl 18:23 d Kbl 2:33; Ma 10:9Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.

6326:63 nny 3Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. 6426:64 Kbl 14:29; Ma 2:14-15; Beb 3:17Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi. 6526:65 a Kbl 14:28; 1Ko 10:5 b Yos 14:6-10Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.