Ester 8 – OL & LCB

O Livro

Ester 8:1-17

O édito do rei a favor dos judeus

1Nesse mesmo dia, Assuero deu a Ester o que pertencia a Hamã, o inimigo dos judeus. Mardoqueu foi trazido à presença do rei, porque Ester tinha declarado a relação familiar que os ligava. 2Assuero pegou no anel que retirara a Hamã e deu-o a Mardoqueu. Por seu lado, Ester nomeou Mardoqueu administrador das propriedades que recebera, confiscadas a Hamã.

3Mais uma vez, Ester foi ter com o rei, caindo a seus pés, rogando-lhe, banhada em lágrimas, que suspendesse a ação proposta por Hamã para destruir o povo judeu. 4De novo o rei estendeu o cetro na sua direção e ela, erguendo-se em frente do soberano, retomou: 5“Se o rei quiser dar-me ouvidos, e se realmente me ama, então que faça publicar um decreto anulando a ordem inspirada por Hamã, filho de Hamedata, de destruir os judeus em todas as províncias do reino. 6Como poderia eu resistir vendo o meu povo assassinado e destruído?”

7O rei Assuero disse à rainha Ester e ao judeu Mardoqueu: “Dei a Ester o palácio de Hamã, esse homem que acabou de ser enforcado porque tentou fazer-vos mal. 8Estou com certeza de acordo com o vosso desejo; mandem uma mensagem a todos os judeus, dizendo-lhes o que quiserem, em nome do rei; podem selá-la com o anel real, para que não possa ser revogada.”

9Os secretários do rei foram imediatamente chamados; era o dia 23 do terceiro mês, o mês de Sivan8.9 Mês de Sivan. Entre a lua nova do mês de maio e o mês de junho.. Escreveram, enquanto Mardoqueu ia ditando, um decreto dirigido diretamente aos judeus e para conhecimento de altos funcionários, governadores e chefes políticos de todas as províncias, desde a Índia até Cuche, ao todo 127. Este texto legal foi traduzido nas línguas e dialetos de todos os povos do império, 10foi selado com o anel real e fez-se acompanhar de cartas enviadas por mensageiros montados em cavalos, condutores de camelos, mulas e dromedários rápidos, usados ao serviço do rei.

11Este decreto concedia aos judeus de todas as cidades licença para se unirem na defesa das suas vidas e das suas famílias, e matar quem quisesse destruí-los, podendo mesmo apropriar-se dos seus bens. 12O dia escolhido para isto, em todas as províncias, era o dia 13 de Adar8.12 Décimo segundo mês do calendário hebraico. Entre a lua nova do mês de fevereiro e o mês de março.. 13O decreto estabelecia ainda que o mesmo deveria ser reconhecido por toda a parte como lei, e dado a conhecer ao resto da população, a fim de que os judeus não tivessem dificuldades em preparar-se para vencerem os seus inimigos. 14Os mensageiros partiram apressadamente, sob as ordens do rei, e o decreto foi tornado igualmente público no palácio de Susã.

15Mardoqueu vestiu as roupas reais azuis e brancas, colocou uma grande coroa de ouro e ainda um manto de linho fino e púrpura sobre os ombros; saiu da presença do soberano e atravessou as ruas da cidade que se encheram de gente manifestando a sua satisfação. 16Os judeus exultavam de alegria, regozijo e felicidade. 17Em cada cidade e província onde as cartas reais iam chegando, os judeus celebravam de alívio e satisfação, estabelecendo um dia feriado para comemorar o facto. Muitos até se fizeram passar por judeus, com receio daquilo que os judeus pudessem fazer-lhes.

Luganda Contemporary Bible

Eseza 8:1-17

Kabaka Awa Ekiragiro Obutatta Bayudaaya

18:1 Es 2:7; 7:6; Nge 22:22-23Awo ku lunaku olwo Kabaka Akaswero n’awa Nnabagereka Eseza ebintu byonna8:1 Mu kiseera ekyo, kabaka yaggyanga ku muntu asaliddwa omusango ogw’okufa ebintu by’omuntu oyo byonna. ebya Kamani omulabe w’Abayudaaya. Eseza n’ategeeza Kabaka nti alina oluganda ku Moluddekaayi, era okuva mu kiseera ekyo Moluddekaayi n’ajjanga mu maaso ga Kabaka. 28:2 a Lub 41:42; Es 3:10 b Nge 13:22; Dan 2:48Kabaka n’aggyako empeta ye gye yaggya ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, ate era ne Eseza n’afuula Moluddekaayi okuvunaanyizibwa ebintu ebyali ebya Kamani.

3Awo Eseza n’agenda ewa Kabaka nate ng’amwegayirira ng’agwa ku bigere bye n’okukaaba nga bw’akaaba, ng’amusaba akomye enteekateeka embi zonna eza Kamani Omwagaagi, n’enkwe ze yali asalidde Abayudaaya. 48:4 Es 4:11; 5:2Kabaka n’agololera Eseza omuggo ogwa zaabu, amangu ago Eseza n’agolokoka n’ayimirira mu maaso ga Kabaka.

5Eseza n’ayogera nti, “Kabaka bw’anasiima, era obanga ŋŋaanze mu maaso ga Kabaka, nange obanga musanyusa, bawandiike ekiragiro okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi, ze yayiiya era n’awandiika okuzikiriza Abayudaaya mu bitundu byonna ebya kabaka. 68:6 Es 7:4; 9:1Nnyinza ntya okugumiikiriza okulaba obulabe obulijja ku bantu bange, era n’okulaba okuzikirizibwa okw’ennyumba yange?”

7Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnabagereka Eseza ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti, “Olw’okuba Kamani yali ayagala kuzikiriza Abayudaaya, ebintu bye mbiwadde Eseza, era n’okuwanikibwa awanikibbwa ku Kalabba. 88:8 a Es 3:12-14 b Lub 41:42 c Es 1:19; Dan 6:15Noolwekyo muwandiike ekiwandiiko ekirala mu linnya lya Kabaka ku lw’Abayudaaya nga bwe musiima, era mukisseeko akabonero n’empeta ya Kabaka, kubanga tewali kiwandiiko ekiwandiikiddwa mu linnya lya Kabaka era ekiteekeddwako akabonero n’empeta ya Kabaka ekiyinza okujjululwa.”

98:9 a Es 1:1 b Es 1:22Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu mu mwezi ogwokusatu, gwe mwezi Sivaani abawandiisi ba Kabaka ne bayitibwa ne bawandiika byonna Moluddekaayi bye yalagira Abayudaaya, ebbaluwa n’eweerezebwa eri abaamasaza, ne bagavana n’abakungu abaafuganga mu bitundu ekikumi mu abiri mu omusanvu (127) okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya. Ebiragiro by’awandiikibwa eri buli ssaza ng’empandiika yaalyo bwe yali, n’eri buli ggwanga ng’olulimi lwabwe bwe lwali, n’eri Abayudaaya mu mpandiika yaabwe era ne mu lulimi lwabwe. 10Moluddekaayi n’awandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero, ebbaluwa n’azissaako akabonero n’empeta ya Kabaka, n’aziweereza zitwalibwe ababaka abeebagala embalaasi ezidduka ennyo ate nga zaakuzibwa mu bisibo bya Kabaka.

118:11 Es 9:10, 15, 16Ekiragiro kya Kabaka ky’awa Abayudaaya mu buli kibuga olukusa okukuŋŋaana n’okwekuuma; okuzikiriza, n’okutta, n’okusaanyaawo eggye lyonna ery’eggwanga lyonna oba essaza lyonna erinaabalumba, abakazi baabwe n’abaana baabwe abato, ate era n’okunyaga ebintu by’abalabe baabwe. 128:12 Es 3:13; 9:1Olunaku olwalondebwa Abayudaaya okukola bino mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero lwe lwali olunaku olw’ekkumi n’essatu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, gwe mwezi Adali. 138:13 Es 3:14Ebyaggyibwa mu kiragiro ekyo byali bya kuba nga tteeka mu buli kitundu, era n’okumanyibwa eri abantu aba buli ggwanga, nti ku lunaku olwo Abayudaaya beeteekereteekere okulwanyisa abalabe baabwe.

14Awo ababaka abeebagala embalaasi za Kabaka, ne bagenda mbiro, ku kiragiro kya Kabaka, era n’ekiragiro ekiwandiikiddwa ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani.

Abayudaaya Bawangula Abalabe Baabwe

158:15 a Es 9:4 b Lub 41:42 c Es 3:15Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga Kabaka ng’ayambadde ebyambalo bya Kabaka ebya kaniki n’ebyeru, era ng’atikkiddwa engule ennene eya zaabu, era ng’ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu. Ekibuga ekya Susani ne kisanyuka nnyo. 168:16 a Zab 97:10-12 b Zab 112:4Ate n’eri Abayudaaya kyali kiseera kya ssanyu, n’okujaguza n’ekitiibwa. 178:17 a Es 9:19, 27; Zab 35:27; Nge 11:10 b Kuv 15:14, 16; Ma 11:25 c Es 9:3Mu buli kitundu, ne mu buli kibuga, ekiragiro kya Kabaka we kyatuuka, waaliyo essanyu n’okujaguza n’embaga nnene ddala mu Bayudaaya. Era abantu bangi abamawanga amalala ne bafuuka Abayudaaya olw’entiisa ey’Abayudaaya eyali ebakutte.