Isaías 42 – NVI & LCB

Nueva Versión Internacional

Isaías 42:1-25

El siervo del Señor

1»Este es mi siervo, a quien sostengo,

mi escogido, en quien me deleito;

sobre él he puesto mi Espíritu

y llevará justicia a las naciones.

2No clamará, ni gritará,

ni alzará su voz en las calles.

3No acabará de romper la caña quebrada

ni apagará la mecha que apenas arde.

Con fidelidad hará justicia;

4no vacilará ni se desanimará

hasta implantar la justicia en la tierra.

En su enseñanza las costas lejanas pondrán su esperanza».

5Así dice Dios el Señor,

el que creó y desplegó los cielos;

el que expandió la tierra

y todo lo que ella produce;

el que da aliento al pueblo que la habita

y vida a los que en ella se mueven:

6«Yo, el Señor, te he llamado en justicia;

te tomaré de la mano.

Yo te preservaré, yo te constituiré

como pacto para el pueblo,

como luz para las naciones,

7para abrir los ojos de los ciegos,

para librar de la cárcel a los presos

y del calabozo a los que habitan en tinieblas.

8»Yo soy el Señor; ¡ese es mi nombre!

No entrego a otros mi gloria

ni mi alabanza a los ídolos.

9Las cosas pasadas se han cumplido

y ahora anuncio cosas nuevas;

las anuncio antes que sucedan».

Canción de alabanza al Señor

10Canten al Señor un cántico nuevo,

ustedes, que descienden al mar

y todo lo que hay en él;

canten su alabanza desde los confines de la tierra,

ustedes, costas lejanas y sus habitantes.

11Que alcen la voz el desierto, sus ciudades,

y los poblados donde Cedar habita.

Que canten de alegría los habitantes de Selá

y griten desde las cimas de las montañas.

12Den gloria al Señor

y proclamen su alabanza en las costas lejanas.

13El Señor marchará como un campeón;

como hombre de guerra despertará su celo.

Con gritos y alaridos se lanzará al combate

y triunfará sobre sus enemigos.

14«Por mucho tiempo he guardado silencio,

he estado callado y me he contenido.

Pero ahora voy a gritar como parturienta,

voy a resollar y jadear al mismo tiempo.

15Devastaré montañas y colinas

y consumiré toda su vegetación;

convertiré los ríos en islas

y secaré los estanques.

16Conduciré a los ciegos por caminos desconocidos,

los guiaré por senderos inexplorados;

ante ellos convertiré en luz las tinieblas,

y allanaré los lugares escabrosos.

Esto haré

y no los abandonaré.

17Pero retrocederán llenos de vergüenza

los que confían en las imágenes,

los que dicen a las imágenes:

“Ustedes son nuestros dioses”.

Israel ciego y sordo

18»Sordos, ¡escuchen!

Ciegos, ¡fíjense bien!

19¿Quién es más ciego que mi siervo

y más sordo que mi mensajero?

¿Quién es más ciego que mi enviado

y más ciego que el siervo del Señor?

20Tú has visto muchas cosas, pero no las has captado;

tienes abiertos los oídos, pero no oyes nada».

21Agradó al Señor,

por amor a su justicia,

hacer su ley grande y gloriosa.

22Pero este es un pueblo saqueado y despojado,

todos atrapados en cuevas

o encerrados en cárceles.

Son saqueados

y nadie los libra;

son despojados

sin que nadie reclame: ¡Devuélvanlos!

23¿Quién de ustedes escuchará esto

y prestará atención en el futuro?

24¿Quién entregó a Jacob para el despojo,

a Israel para el saqueo?

¿No es acaso el Señor

contra quien su pueblo ha pecado?

No siguieron sus caminos

ni obedecieron su Ley.

25Por eso él derramó sobre ellos

su ardiente ira y el furor de la guerra.

Los envolvió en llamas, pero no comprendieron;

los consumió, pero no lo tomaron en serio.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 42:1-25

Omuweereza wa Katonda

142:1 a Is 43:10; Luk 9:35; 1Pe 2:4, 6 b Is 11:2; Mat 3:16-17; Yk 3:34Laba omuweereza wange gwe mpanirira,

omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.

Ndimuwa Omwoyo wange

era alireeta obwenkanya eri amawanga.

2Talireekaana

wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.

342:3 Zab 72:2Talimenya lumuli lubetentefu

oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;

mu bwesigwa alireeta obwenkanya.

442:4 Lub 49:10; Mat 12:18-21*Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.

N’ebizinga eby’ewala

biririndirira amateeka ge.

542:5 a Zab 24:2 b Bik 17:25Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,

eyatonda eggulu n’alibamba.

Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;

awa omukka abantu baakwo

era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.

642:6 a Is 43:1 b Yer 23:6 c Is 26:3 d Is 49:8 e Luk 2:32; Bik 13:47“Nze Mukama,

nakuyita mu butuukirivu.

Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.

Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,

era omusana eri bannamawanga.

742:7 a Is 35:5 b Is 49:9; 61:1 c Luk 4:19; 2Ti 2:26; Beb 2:14-15Okuzibula amaaso g’abazibe,

okuta abasibe okuva mu makomera

n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.

842:8 a Kuv 3:15 b Is 48:11“Nze Mukama,

eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,

newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.

9Laba, ebyo bye nagamba nti

biribaawo bituuse,

kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;

mbibategeeza nga tebinnabaawo.”

Oluyimba olw’Okutendereza Mukama

1042:10 a Zab 33:3; 40:3; 98:1 b Is 49:6 c 1By 16:32; Zab 96:11Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,

ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!

Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,

mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.

1142:11 a Is 32:16 b Is 60:7 c Is 52:7; Nak 1:15Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,

ebyalo Kedali mw’atuula.

Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.

Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi.

1242:12 Is 24:15Leka Mukama bamuwe ekitiibwa

era balangirire ettendo lye mu bizinga.

1342:13 a Is 9:6 b Is 26:11 c Kos 11:10 d Is 66:14Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,

era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,

n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.

Era aliwangula abalabe be.

Katonda Asuubiza Okuyamba Abantu be

14“Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba,

nga nsirise neekuumye.

Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala,

nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.

1542:15 a Ez 38:20 b Is 50:2; Nak 1:4-6Ndizikiriza ensozi n’obusozi,

egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa.

Era ndikaza ebinywa byabwe byonna

n’emigga ndigifuula ebizinga.

1642:16 a Luk 1:78-79 b Is 32:3 c Luk 3:5 d Beb 13:5Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi

n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.

Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe

n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.

Ebyo by’ebintu bye ndikola,

sirireka bantu bange.

1742:17 Zab 97:7; Is 1:29; 44:11; 45:16Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti,

‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi,

era baligobebwa, mu buswavu obungi.”

Ekibi ky’Eggwanga n’Okubonerezebwa

1842:18 Is 35:5“Muwulire mmwe bakiggala,

mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.

1942:19 a Is 43:8; Ez 12:2 b Is 41:8-9 c Is 44:26 d Is 26:3Ani muzibe okuggyako omuweereza wange,

oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma?

Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi,

oba omuzibe ng’omuweereza wa Mukama?

2042:20 Yer 6:10Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko,

amatu go maggule naye tolina ky’owulira.”

2142:21 nny 4Kyasanyusa Mukama olw’obulungi obw’obutuukirivu bwe

okukuza amateeka ge

n’okugassaamu ekitiibwa.

2242:22 a Is 24:18 b Is 24:22Naye bano, bantu be,

ababbibwa ne banyagibwa bonna

ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera.

Bafuuka munyago

nga tewali n’omu abanunula,

bafuuliddwa abanyage

nga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”

2342:23 Is 48:18Ani ku mmwe anaawuliriza kino,

oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja?

2442:24 Is 30:15Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago

ne Isirayiri eri abanyazi?

Teyali Mukama gwe twayonoona?

Ekyo yakikola

kubanga tebaagoberera makubo ge.

Tebaagondera mateeka ge.

2542:25 a 2Bk 25:9 b Is 29:13; 47:7; 57:1, 11; Kos 7:9Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka

n’obulumi bw’entalo.

Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.

Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.