2 Samuel 9 – NVI & LCB

Nueva Versión Internacional

2 Samuel 9:1-13

David y Mefiboset

1El rey David averiguó si había alguien de la familia de Saúl a quien pudiera beneficiar en memoria de Jonatán 2y, como la familia de Saúl había tenido un administrador que se llamaba Siba, mandaron por él. Cuando Siba se presentó ante el rey David, este preguntó:

—¿Tú eres Siba?

—A sus órdenes —respondió.

3—¿No queda nadie de la familia de Saúl a quien yo pueda beneficiar en el nombre de Dios? —volvió a preguntar el rey.

—Sí, todavía le queda a Jonatán un hijo que está tullido de ambos pies —le respondió Siba al rey.

4—¿Y dónde está?

—En Lo Debar; vive en casa de Maquir, hijo de Amiel.

5Entonces el rey David mandó a buscarlo a casa de Maquir, hijo de Amiel, en Lo Debar.

6Cuando Mefiboset, que era hijo de Jonatán y nieto de Saúl, estuvo en presencia de David, se inclinó ante él rostro en tierra.

—¿Tú eres Mefiboset? —preguntó David.

—A sus órdenes —respondió él.

7—No temas, pues en memoria de tu padre Jonatán he decidido beneficiarte. Voy a devolverte todas las tierras que pertenecían a tu abuelo Saúl y de ahora en adelante te sentarás a mi mesa.

8Mefiboset se postró y dijo:

—¿Y quién es este siervo suyo para que usted se fije en él? ¡Si no valgo más que un perro muerto!

9Pero David llamó a Siba, el administrador de Saúl, y dijo:

—Todo lo que pertenecía a tu amo Saúl y a su familia se lo entrego a su nieto Mefiboset. 10Te ordeno que cultives para él la tierra y guardes la cosecha para el sustento de su casa. Que te ayuden tus quince hijos y tus veinte criados. En cuanto al nieto de tu amo, siempre comerá en mi mesa.

11—Tu servidor hará todo lo que mi señor el rey me ordene —respondió Siba.

A partir de ese día Mefiboset se sentó a la mesa de David9:11 la mesa de David (LXX); mi mesa (TM). como uno más de los hijos del rey.

12Toda la familia de Siba estaba al servicio de Mefiboset, quien tenía un hijo pequeño llamado Micaías. 13Tullido de ambos pies, Mefiboset vivía en Jerusalén, pues siempre se sentaba a la mesa del rey.

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 9:1-13

Dawudi ne Mefibosesi

19:1 1Sa 20:14-17, 42Dawudi n’abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okulaga ekisa ku lwa Yonasaani?”

29:2 2Sa 16:1-4; 19:17, 26, 29Awo waaliwo omuddu mu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba. Ne bamutumya, n’ajja mu maaso ga Dawudi.

Kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Ziba?” N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”

39:3 a 1Sa 20:14 b 2Sa 4:4Kabaka n’amubuuza nti, “Tewaliwo muntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okukolera ebirungi olw’ekisa kya Katonda?”

Ziba n’addamu kabaka nti, “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani, eyalemala ebigere.”

49:4 2Sa 17:27-29Kabaka n’amubuuza nti, “Ali ludda wa?”

Ziba n’amuddamu nti, “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.”

5Awo Dawudi n’amutumya, ne bamuleeta okuva mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.

69:6 2Sa 16:4; 19:24-30Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Sawulo n’ajja eri Dawudi n’avuunama mu maaso ge.

Dawudi n’amubuuza nti, “Ggwe Mefibosesi?”

N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”

79:7 nny 1, 3; 2Sa 12:8; 19:28; 1Bk 2:7; 2Bk 25:29Dawudi n’amugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.”

89:8 2Sa 16:9Mefibosesi ne yeeyanza n’ayogera nti, “Omuddu wo kye ki, okufaayo ku mbwa enfu nga nze?”

9Awo kabaka n’ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n’amugamba nti, “Mpadde muzzukulu wa mukama wo ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n’ennyumba ye. 109:10 nny 7, 11, 13; 2Sa 19:28Ggwe ne batabani bo n’abaddu bo munaamulimiranga ettaka ne muleeta ebibala ebirivaamu, muzzukulu wa mukama wo abenga n’ekyokulya. Mefibosesi muzzukulu wa mukama wo, ye anaaliiranga ku mmeeza yange nange, ennaku zange zonna.” Ziba yalina abaana aboobulenzi kkumi na bataano n’abaddu amakumi abiri.

119:11 Yob 36:7; Zab 113:8Awo Ziba n’agamba kabaka nti, “Nga bw’olagidde mukama wange kabaka, bwe kijja okukolebwa omuddu wo.” Mefibosesi n’aliiranga ku mmeeza ya Dawudi ng’omu ku balangira.

129:12 1By 8:34Mefibosesi yalina mutabani we omuto, eyayitibwanga Mikka, ne bonna abaali ab’ennyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi. 13Mefibosesi n’abeera mu Yerusaalemi kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka. Yali yalemala ebigere.