Псалтирь 78 – NRT & LCB

New Russian Translation

Псалтирь 78:1-13

Псалом 78

1Псалом Асафа.

О Боже, чужие народы вторглись в удел Твой,

осквернили святой храм Твой

и превратили Иерусалим в развалины.

2Они отдали трупы Твоих слуг

на съедение небесным птицам,

тела верных Тебе – земным зверям.

3Они пролили кровь их, как воду,

вокруг всего Иерусалима,

и некому было похоронить их.

4Мы сделались посмешищем у наших соседей;

окружающие нас выказывают лишь упрек и презрение.

5Как долго, Господи, Твой гнев будет длиться – бесконечно?

Как долго Твоя ревность будет пылать, как огонь?

6Пролей Свой гнев на народы, которые не знают Тебя,

и на царства, которые не призывают Твоего имени,

7потому что они истребили народ Иакова

и его землю опустошили.

8Не вспоминай нам грехов наших предков;

пусть милость Твоя поспешит к нам навстречу,

потому что мы в полном отчаянии.

9Помоги нам, Боже, наш Спаситель,

ради славы Твоего имени.

Избавь нас и прости нам наши грехи

ради Твоего имени.

10Для чего народам говорить: «Где их Бог?»

Пусть станет известно между народами,

как отомстил Ты за пролитую кровь Твоего народа,

и пусть это увидят наши глаза.

11Пусть дойдет до Тебя стенание узника;

сильной рукою Своей сохрани обреченных на смерть.

12Семикратно возврати нашим соседям их оскорбление,

которое они Тебе нанесли, о Владыка.

13А мы, народ Твой и овцы пастбищ Твоих,

вечно будем восхвалять Тебя

и возвещать о славе Твоей

из поколения в поколение.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 78:1-72

Zabbuli 78

Oluyimba lwa Asafu.

178:1 Is 51:4; 55:3Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,

musseeyo omwoyo ku bye njogera.

278:2 Zab 49:4; Mat 13:35*Ndyogerera mu ngero,

njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,

378:3 Zab 44:1ebintu bye twawulira ne tumanya;

ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.

478:4 a Ma 11:19 b Zab 26:7; 71:17Tetuubikisenga baana baabwe,

naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo

ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,

n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.

578:5 a Zab 19:7; 81:5 b Zab 147:19Yawa Yakobo ebiragiro,

n’ateeka amateeka mu Isirayiri;

n’alagira bajjajjaffe

babiyigirizenga abaana baabwe,

678:6 Zab 22:31; 102:18ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,

n’abaana abalizaalibwa,

nabo babiyigirize abaana baabwe,

778:7 a Ma 6:12 b Ma 5:29balyoke beesigenga Katonda,

era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;

naye bagonderenga ebiragiro bye.

878:8 a 2By 30:7 b Kuv 32:9 c nny 37; Is 30:9Baleme okuba nga bajjajjaabwe,

omulembe ogw’abakakanyavu

era abajeemu abatali bawulize,

ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

978:9 a nny 57; 1By 12:2 b Bal 20:39Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,

naye ne badduka mu lutalo,

1078:10 2Bk 17:15tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;

ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.

1178:11 Zab 106:13Beerabira ebyo bye yakola,

n’ebyamagero bye yabalaga.

1278:12 a Zab 106:22 b Kuv 7–12 c Kbl 13:22Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali

mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.

1378:13 a Kuv 14:21; Zab 136:13 b Kuv 15:8Ennyanja yajaawulamu,

amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.

1478:14 Kuv 13:21; Zab 105:39Emisana yabakulemberanga n’ekire,

n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.

1578:15 Kbl 20:11; 1Ko 10:4Yayasa enjazi mu ddungu,

n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.

16Yaggya ensulo mu lwazi,

n’akulukusa amazzi ng’emigga.

1778:17 Ma 9:22; Is 63:10; Beb 3:16Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,

ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.

1878:18 a 1Ko 10:9 b Kuv 16:2; Kbl 11:4Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,

nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.

1978:19 Kbl 21:5Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,

“Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?

2078:20 a Kbl 20:11 b Kbl 11:18Weewaawo yakuba olwazi,

amazzi ne gakulukuta ng’emigga;

naye anaatuwa emmere?

Anaawa abantu be ennyama?”

2178:21 Kbl 11:1Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;

omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,

n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.

2278:22 Ma 1:32; Beb 3:19Kubanga tebakkiriza Katonda,

era tebeesiga maanyi ge agalokola.

2378:23 Lub 7:11; Mal 3:10Naye era n’alagira eggulu;

n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.

2478:24 Kuv 16:4; Yk 6:31*N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.

Yabawa emmere eyava mu ggulu.

25Abantu ne balya emmere ya bamalayika;

Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.

2678:26 Kbl 11:31N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,

era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.

27Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;

n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.

28Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;

okwetooloola eweema zaabwe.

2978:29 Kbl 11:20Awo ne balya ne bakkuta nnyo;

kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.

3078:30 Kbl 11:33Naye bwe baali nga bakyalulunkana,

nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,

3178:31 Is 10:16obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,

n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;

abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

3278:32 a nny 11 b nny 22Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;

newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.

3378:33 Kbl 14:29, 35Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,

n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.

3478:34 Kos 5:15Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,

ne beenenya ne badda gy’ali.

3578:35 a Ma 32:4 b Ma 9:26Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;

era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.

3678:36 Ez 33:31Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,

nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,

3778:37 nny 8; Bik 8:21so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,

era nga tebatuukiriza ndagaano ye.

3878:38 a Kuv 34:6 b Is 48:10 c Kbl 14:18, 20Naye ye n’abakwatirwanga ekisa

n’abasonyiwanga,

n’atabazikiriza;

emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,

n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.

3978:39 a Lub 6:3; Zab 103:14 b Yob 7:7; Yak 4:14Yajjukira nga baali mubiri bubiri;

ng’empewo egenda n’etedda!

4078:40 a Beb 3:16 b Zab 95:8; 106:14 c Bef 4:30Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;

ne banakuwaza nnyo omutima gwe.

4178:41 a Kbl 14:22 b 2Bk 19:22; Zab 89:18Ne baddamu ne bakema Katonda,

ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.

42Tebajjukira buyinza bwe;

wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;

43bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,

n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,

4478:44 Kuv 7:20-21; Zab 105:29yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,

ne batanywa mazzi gaagyo.

4578:45 a Kuv 8:24; Zab 105:31 b Kuv 8:2, 6Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,

n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.

4678:46 Kuv 10:13Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige

ne bulusejjera.

4778:47 Kuv 9:23; Zab 105:32Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,

era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.

4878:48 Kuv 9:25Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;

n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.

4978:49 Kuv 15:7Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,

n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.

N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.

50Yabalaga obusungu bwe,

n’atabasonyiwa kufa,

n’abasindikira kawumpuli.

5178:51 a Kuv 12:29; Zab 135:8 b Zab 105:23; 106:22Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,

nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.

5278:52 Zab 77:20N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,

n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.

5378:53 a Kuv 14:28 b Zab 106:10N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,

ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.

5478:54 Kuv 15:17; Zab 44:3N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;

ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.

5578:55 a Zab 44:2 b Yos 13:7Yagobamu amawanga nga balaba,

n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;

n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.

56Naye era ne bakema Katonda;

ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,

ne bagaana okugondera ebiragiro bye.

5778:57 a Ez 20:27 b Kos 7:16Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,

ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.

5878:58 a Bal 2:12 b Lv 26:30 c Kuv 20:4; Ma 32:21Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,

ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.

5978:59 Ma 32:19Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.

6078:60 Yos 18:1N’ava mu weema ey’omu Siiro78:60 Siiro kye kyali ekifo ekitukuvu awasinzibwanga edda mu biro bya Yoswa. Kyali mu bitundu bya Efulayimu wakati wa Beseri ne Sekemu. Essanduuko y’Endagaano yaterekebwanga eyo okutuusa mu biro bya Samwiri; kyokka Abafirisuuti baakizikiriza,

eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.

6178:61 a Zab 132:8 b 1Sa 4:17N’awaayo amaanyi ge mu busibe,

n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.

62Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,

n’asunguwalira omugabo gwe.

6378:63 a Kbl 11:1 b Yer 7:34; 16:9Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,

ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.

6478:64 1Sa 4:17; 22:18Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

6578:65 Zab 44:23Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,

ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.

6678:66 1Sa 5:6N’akuba abalabe be ne badduka;

n’abaswaza emirembe gyonna.

67Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,

n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;

6878:68 Zab 87:2naye n’alonda ekika kya Yuda,

lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.

69N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;

ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.

7078:70 1Sa 16:1Yalonda Dawudi omuweereza we;

n’amuggya mu kulunda endiga.

7178:71 2Sa 5:2; Zab 28:9Ave mu kuliisa endiga,

naye alundenga Yakobo, be bantu be,

era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.

7278:72 1Bk 9:4N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,

n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.