Левит 11 – NRT & LCB

New Russian Translation

Левит 11:1-47

Чистая и нечистая пища

(Втор. 14:3-21)

1Господь сказал Моисею и Аарону:

2– Скажите израильтянам: «Вот животные, живущие на земле, которых вы можете есть. 3Вы можете есть всякое животное, у которого раздвоенное копыто имеет глубокий разрез и которое жует жвачку.

4Есть животные, которые либо жуют жвачку, либо имеют раздвоенное копыто. Не ешьте из них: верблюда, потому что он жует жвачку, но у него копыто не раздвоено – он нечист для вас; 5дамана11:5 Даман – млекопитающие размером с кролика, внешне напоминающие грызунов. Живут, преимущественно, в горных районах., который жует жвачку, но у него нет раздвоенного копыта – он нечист для вас; 6кролика, который жует жвачку, но у него нет раздвоенного копыта – он нечист для вас. 7А свинья, хотя у нее копыто и раздвоено, и имеет глубокий разрез, не жует жвачку – она тоже нечиста для вас. 8Не ешьте их мясо и не прикасайтесь к их трупам: они нечисты для вас.

9Из существ, живущих в воде – в морях и реках, вы можете есть тех, у которых есть плавники и чешуя. 10Но теми существами из морей и рек, у которых нет плавников и чешуи, и пресмыкающимися, и другой водяной живностью гнушайтесь. 11Гнушаясь ими, не ешьте их мясо. Гнушайтесь их трупами. 12Вся водная живность, которая не имеет плавников и чешуи, пусть будет для вас мерзостью.

13Вот птицы, которыми вы должны гнушаться и которых не должны есть, потому что это мерзость: орел, бородач, скопа, 14коршун, любой вид сокола, 15любой вид ворона, 16сова, козодой, чайка, любой вид ястреба, 17домовой сыч, большой баклан, филин, 18белая сова, пустынная сова, стервятник, 19аист, любой вид цапли, удод и летучая мышь11:19 В ряде случаев невозможно точно установить, какие именно животные имеются в виду под тем или иным еврейским названием в стихах 13-19, 22 и 29-30..

20Все насекомые, которые могут и летать, и ползать, пусть будут для вас мерзостью. 21Из всех летающих и ползающих насекомых вы можете есть только тех, у которых ноги приспособлены к прыжкам. 22Из них вы можете есть любой вид саранчи, акрид, цикад и кузнечиков. 23Но остальными насекомыми, которые могут и летать, и ползать, гнушайтесь.

24Вы осквернитесь ими. Любой, кто прикоснется к их трупам, будет нечист до вечера. 25Любой, кто подберет такой труп, должен выстирать одежду и будет нечист до вечера.

26Любое животное, у которого копыто раздвоено, но не имеет глубокого разреза, или которое не жует жвачку, нечисто для вас. Всякий, кто прикоснется к ним, станет нечист. 27Те четвероногие животные, которые ходят на лапах, нечисты для вас. Любой, кто прикоснется к их трупам, будет нечист до вечера. 28Любой, кто подберет их труп, должен выстирать одежду и будет нечист до вечера. Эти животные нечисты для вас.

29Из ползающих по земле для вас нечисты: ласка, мышь, любой вид шипохвоста, 30геккон, варан, стенная ящерица, веретеница и хамелеон. 31Из всех ползающих эти животные нечисты для вас. Любой, кто прикоснется к их трупам, будет нечист до вечера. 32Если труп упадет на что-нибудь, та вещь, каким бы ни было ее назначение, станет нечиста, будь она из дерева, ткани, шкуры или мешковины. Ее нужно окунуть в воду. Она будет нечиста до вечера, а затем вновь станет чистой. 33Если труп упадет в глиняный горшок, все в нем станет нечистым, и горшок нужно разбить. 34Пища, на которую попала вода из такого горшка, нечиста, и любое питье станет в нем нечистым. 35Все, на что упадет труп, станет нечистым. Печь или горшок для стряпни11:35 Или: «очаг». нужно разбить. Они нечисты, обходитесь с ними как с нечистыми. 36Однако источник или хранилище для воды останутся чистыми, но все, что в них прикоснется к трупу, станет нечистым. 37Если труп упадет на семена, ждущие высадки, они останутся чистыми. 38Но если семена, на которые упал труп, были залиты водой, они станут нечисты для вас.

39Любой, кто прикоснулся к трупу животного, дозволенного вам в пищу, будет нечист до вечера. 40Любой, кто поест от трупа, должен выстирать одежду и будет нечист до вечера. Любой, кто подберет труп, должен выстирать одежду и будет нечист до вечера.

41Любое существо, которое пресмыкается по земле, мерзость. Его нельзя есть. 42Не ешьте пресмыкающихся, все равно ползают ли они на брюхе, передвигаются ли на четырех ногах или имеют много ног – это мерзость. 43Не оскверняйтесь ими, не делайтесь через них нечистыми. 44Я – Господь, ваш Бог; освящайтесь и будьте святы, потому что Я свят. Не оскверняйтесь никакой живностью, которая пресмыкается по земле. 45Я – Господь, Который вывел вас из Египта, чтобы быть вашим Богом. Будьте святы, потому что Я свят.

46Таков закон о зверях, птицах и всякой живности, которая кишит в воде и пресмыкается по земле. 47Отличайте нечистое от чистого, живность, которую можно есть, от той, которую есть нельзя».

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 11:1-47

Etteeka ku Bisolo Ebirongoofu

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 211:2 Bik 10:12-14“Mutegeeze abaana ba Isirayiri nti bino bye biramu bye munaayinzanga okulya mu bisolo byonna eby’oku nsi. 3Munaayinzanga okulya ensolo yonna erina ekigere ekyaseemu nga kyeyawulidde ddala, era ng’ezza obwenkulumu. 4Kyokka ezo ezizza obwenkulumu bwokka, oba ezirina ebigere ebyaseemu byokka, temuziryanga. Ggamba eŋŋamira, newaakubadde ng’ezza obwenkulumu naye ebigere byayo si byaseemu; noolwekyo si nnongoofu. 5N’omusu nagwo guzza obwenkulumu, naye ebigere byagwo si byaseemu; noolwekyo si mulongoofu. 6Ate n’akamyu ak’omu nsiko, newaakubadde nako kazza obwenkulumu naye ebigere byako si byaseemu, noolwekyo si kalongoofu, era temukalyanga. 711:7 Is 65:4; 66:3, 17Ate mulabe embizzi, newaakubadde ng’ekigere kyayo kyaseemu, ate nga kyeyawulidde ddala, naye tezza bwenkulumu; noolwekyo si nnongoofu gye muli. 811:8 Is 52:11; Beb 9:10Ebisolo ng’ebyo temulyanga nnyama yaabyo, wadde okukwatako ku mirambo gyabyo; kubanga si birongoofu gye muli.

9“Ku biramu ebiri mu mazzi ag’omu nnyanja n’ag’omu migga mulyangako ebyo ebirina amatu awamu n’amagagamba ku mubiri gwabyo. 1011:10 Lv 7:18Ebiramu byonna ebyekuluumulira mu nnyanja ne mu migga naye nga tebiriiko matu oba magagamba binaabanga bya muzizo gye muli. 11Nga bwe binaabanga eby’omuzizo gye muli, temuulyenga ku nnyama yaabyo, era n’emirambo gyabyo ginaabanga gya muzizo. 12Buli kiramu kyonna ekibeera mu mazzi naye nga tekiriiko matu wadde amagagamba kinaabanga kya muzizo gye muli.

13“Mu nnyonyi, zino ze z’omuzizo era temuuziryenga: empungu, ensega, makwanzi, 14kamunye, eddiirawamu erya buli ngeri, 15ne namuŋŋoona owa buli ngeri; 16maaya, olubugabuga, olusobe, enkambo eza buli ngeri, 17ekiwuugulu, enkobyokkobyo, ekkufufu, 18ekiwuugulu eky’amatu, ne kimbala, ensega, 19kasida, mpabaana owa buli ngeri, ekkookootezi, n’ekinyira.

2011:20 Bik 10:14“Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bitambuza amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli. 21Naye mu biwuka ebyo ebirina ebiwaawaatiro era nga bitambuza amagulu ana munaalyangamu ebyo ebirina ennyingo ku magulu gaabyo ebigenda nga bibuuka amacco ku ttaka. 2211:22 Mat 3:4; Mak 1:6Mu ebyo bino bye munaalyanga: enzige eza buli ngeri, n’enseenene eza buli ngeri, n’obunyeenyenkule obwa buli ngeri, n’amayanzi aga buli ngeri. 23Naye ebiwuka ebirala byonna eby’ebiwaawaatiro nga birina amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.

Etteeka ku Bisolo Ebitali Birongoofu

24“Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 2511:25 a Lv 14:8, 47; 15:5 b nny 40; Kbl 31:24Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

26“Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu. 27Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.

2911:29 Is 66:17“Mu nsolo ezigenda zisoobera ku ttaka; zino teziibenga nnongoofu gye muli: eggunju, emmese, amakonkome amanene aga buli ngeri; 30anaka, enswaswa, omunya, ekkonkome, ne nnawolovu. 31Mu ezo zonna ezisoobera ku ttaka ezo teziibenga nnongoofu gye muli. Era buli anaazikwatangako nga zimaze okufa anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 3211:32 Lv 15:12Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga. 3311:33 Lv 6:28; 15:12Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga. 34Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu. 35Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli. 36Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu. 37Singa omulambo gugwa ku nsigo ez’engeri yonna ezigenda okusimbibwa, zinaasigalanga nnongoofu. 38Naye singa ensigo ziyiyibbwako amazzi, omulambo ne guzigwako, teziibenga nnongoofu gye muli.

39“Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 4011:40 Lv 17:15; 22:8; Ez 44:31Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.

41“Buli kitonde kyonna ekitambulira ku ttaka kinaabanga kya muzizo, temuukiryenga. 42Temuulyenga kitonde kyonna ekyekululira ku ttaka, obanga kyewalulira ku lubuto lwakyo, oba nga kitambuza amagulu, oba nga kikozesa ebigere bingi; kinaabanga kya muzizo. 4311:43 Lv 20:25Temuganyanga kwonoonebwa bitonde ebyo n’ekimu. Temubikozesanga temulwa kweyonoona, era temubikkirizanga kubafuula abatali balongoofu. 4411:44 a Kuv 6:2, 7; Is 43:3; 51:15 b Lv 20:7 c Kuv 19:6 d Lv 19:2; Zab 99:3; Bef 1:4; 1Bs 4:7; 1Pe 1:15, 16*Kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, kale mwetukuzanga ne mubeera batukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. Temwesemberezanga ebitonde ebyo ebitambulira ku ttaka ne bibafuula abatali balongoofu. 4511:45 a Lv 25:38, 55; Kuv 6:7; 20:2 b Lub 17:7 c Kuv 19:6; 1Pe 1:16*Kubanga Nze Mukama eyabaggya mu nsi ey’e Misiri, okubeera Katonda wammwe; noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu.

46“Ago ge mateeka agakwata ku nsolo, ne ku nnyonyi, ne ku buli kiramu kyonna eky’omu mazzi, ne ku buli kitonde kyonna ekyewalulira ku ttaka. 4711:47 Lv 10:10Kibasaaniranga mwawulemu, mu bitonde ebiramu ebirongoofu ebisaana okuliibwanga, ne mu bitonde ebiramu ebitali birongoofu ebitasaana kuliibwanga.”