Исаия 50 – NRT & LCB

New Russian Translation

Исаия 50:1-11

Грех Израиля

1Так говорит Господь:

– Где разводное письмо вашей матери,

с которым Я прочь ее отослал?

Или кому из Своих кредиторов

продал Я вас?

Из-за грехов своих были вы проданы;

из-за ваших преступлений

была отослана ваша мать.

2Почему, когда Я приходил,

никого не было?

Почему, когда Я звал,

никто не ответил?

Разве Моя рука стала коротка,

чтобы давать вам искупление?

Разве мало у Меня силы,

чтобы вас избавлять?

Одним лишь укором иссушаю Я море

и пустыней делаю реки;

рыба их гниет без воды

и умирает от жажды.

3Я облекаю мраком небеса,

даю рубище в покров им.

Послушание Слуги Господа50:4-11 Это третья из песен о Слуге Господа (см. также 42:1-9; 49:1-13; 52:13–53:12). См. сноску на 42:1-9.

4– Владыка Господь дал Мне язык обучаемых,

чтобы Я знал, как уставшего поддержать словом.

Утро за утром Он будит Меня,

будит ухо Мое,

чтобы Я слушал, как ученик.

5Владыка Господь открыл Мне уши,

Я не противился,

назад Я не повернул.

6Я подставил спину бьющим Меня,

щеки – тем, кто рвал Мне бороду;

Я не прятал лицо

от насмешек и плевков.

7Владыка Господь помогает Мне,

поэтому Я не стыжусь.

Я сделал лицо Свое, как кремень50:7 Или: «камень».,

и знаю: не постыжусь Я.

8Близок Оправдывающий Меня.

Кто желает со Мной судиться?

Встанем лицом к лицу!

Кто желает Меня обвинить?

Пусть подойдет ко Мне!

9Владыка Господь – это Он помогает Мне.

Кто же Меня осудит?

Они все износятся, словно одежда;

моль их поест.

10Кто среди вас боится Господа

и слушается Его Слуги?

Пусть тот, кто ходит во тьме

и не имеет света,

возложит надежду на имя Господне

и положится на своего Бога.

11Но вы все, зажигающие огонь,

запасающиеся факелами,

ходите при свете своих огней,

с факелами, что вы разожгли!

Вот что вы примете из Моей руки:

в мучениях будете лежать.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 50:1-11

Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda

150:1 a Ma 24:1; Yer 3:8; Kos 2:2 b Nek 5:5; Mat 18:25 c Ma 32:30; Is 52:3Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?

Oba nabatunda eri ani?

Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;

olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.

250:2 a Is 41:28 b Kbl 11:23; Is 59:1 c Lub 18:14 d Kuv 14:22; Yos 3:16Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?

Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?

Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?

Mbuliddwa amaanyi agakununula?

Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,

emigga ne ngifuula eddungu,

ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,

ne bivunda olw’okubulwa amazzi.

350:3 Kub 6:12Nyambaza eggulu,

n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”

450:4 a Kuv 4:12 b Mat 11:28 c Zab 5:3; 119:147; 143:8Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi

oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.

Anzukusa buli nkya,

buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.

550:5 a Is 35:5 b Mat 26:39; Yk 8:29; 14:31; 15:10; Bik 26:19; Beb 5:8Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange

ne siba mujeemu.

Sizzeeyo mabega.

650:6 a Is 53:5; Mat 27:30; Mak 14:65; 15:19; Luk 22:63 b Kgb 3:30; Mat 26:67N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,

n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.

Saakweka maaso gange eri abo abansekerera

n’eri abo abanfujjira amalusu.

750:7 a Is 42:1 b Ez 3:8-9Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba

kyennaava siswazibwa.

Noolwekyo kyenvudde n’egumya

era mmanyi nti siriswazibwa.

850:8 a Is 43:26; Bar 8:32-34 b Is 41:1Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.

Ani alinnumiriza omusango?

Twolekagane obwenyi.

Ani annumiriza?

Ajje annumbe.

950:9 a Is 41:10 b Yob 13:28; Is 51:8Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.

Ani alinsalira omusango?

Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;

ennyenje ziribalya.

1050:10 a Is 49:3 b Is 26:4Ani ku mmwe atya Mukama,

agondera ekigambo ky’omuweereza we?

Oyo atambulira mu kizikiza,

atalina kitangaala

yeesige erinnya lya Mukama

era yeesigame ku Katonda we.

1150:11 a Nge 26:18 b Yak 3:6 c Is 65:13-15Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,

ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,

mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,

ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.

Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;

muligalamira mu nnaku.