Иов 9 – NRT & LCB

New Russian Translation

Иов 9:1-35

Ответ Иова

Иов не в силах противостоять Богу

1Тогда Иов ответил:

2– Воистину, знаю, что это так.

Но будет ли смертный перед Богом прав?

3Если бы он захотел с Ним спорить,

не смог бы ответить ни на один из тысячи вопросов.

4Великий мудростью, крепкий силой –

кто с Ним спорил и остался цел?

5Он передвигает горы без ведома людей

и в Своем гневе рушит их.

6Он колеблет землю и сдвигает с места,

и основания ее дрожат.

7Он солнцу велит, и оно не светит;

печатью Он заключает звезды.

8Он один простирает небеса

и попирает волны морские.

9Он сотворил Большую Медведицу и Орион,

Плеяды и южные созвездия.

10Творит Он великое и непостижимое,

бессчетные чудеса.

11Вот, Он пройдет передо мной, а я Его не увижу,

пронесется мимо, а я Его не замечу.

12Вот, Он схватит, и кто Его остановит?

Кто скажет Ему: «Что ты делаешь?»

13Бог не станет удерживать Свой гнев;

Помощники Раава9:13 Раав – мистическое морское чудовище, символизирующее силы зла и разрушения. перед Ним падут.

14Как же мне спорить с Ним?

Где найти слова, чтобы Ему возразить?

15Пусть я и невиновен, я не смог бы ответить;

я бы мог лишь молить судью моего о милости.

16Если бы звал я, и Он ответил, –

не поверю, что Он выслушал бы меня.

17Тот, Кто налетает на меня, словно вихрь,

умножает мне раны безвинно;

18не дает мне дух перевести

и насыщает меня бедой.

19Если в силе дело, то Он могуч!

А если в правосудии, то кто приведет Его на суд?

20Пусть я невиновен – мои уста осудят меня;

если даже я безупречен, они вынесут мне приговор.

21Я безвинен, но мне уже все равно;

я презираю свою жизнь.

22Да, все одно, поэтому и говорю:

«Он губит и безвинного и нечестивого».

23Когда внезапно разит беда,

Он смеется отчаянию невинных.

24Когда страна в руках у нечестивых,

Он ослепляет ее судей.

Если не Он, то кто же?

Полное признание Иова в своей немощи

25Бегут мои дни быстрее гонца;

они улетают, не видя блага;

26ускользают прочь, как быстрые папирусные лодки,

как орлы, что падают на добычу.

27И даже если скажу: «Я позабуду жалобы,

изменю свой мрачный вид и улыбнусь»,

28я все равно боюсь своих страданий:

так как я знаю, что Ты не признаешь меня невинным.

29А раз я уже обвинен,

то зачем мне бороться впустую?

30Даже если вымоюсь снеговой водой9:30 Или: «с мылом».,

руки отмою щелоком,

31то и тогда Ты погрузишь меня в грязь,

что даже моя одежда мной побрезгует.

32Он не смертный, как я, чтобы мне ответить Ему,

чтобы сойтись нам в суде на тяжбу.

33Нет посредника между нами9:33 Или: «О если бы был между нами посредник».,

кто положил бы руку на нас обоих9:33 То есть «кто мог бы нас справедливо рассудить».,

34нет того, кто отвел бы Его жезл от меня,

чтобы Его ужас не терзал меня больше.

35Тогда я говорил бы, не страшась Его,

потому что сам по себе я не такой.

Luganda Contemporary Bible

Yobu 9:1-35

Yobu Ayanukula

1Yobu n’alyoka addamu nti,

29:2 Yob 4:17; Zab 143:2; Bar 3:20“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.

Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?

39:3 Yob 10:2; 40:2Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,

tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.

49:4 a Yob 11:6 b Yob 36:5 c 2By 13:12Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;

ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?

59:5 Mi 1:4Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde

era n’azivuunika ng’asunguwadde.

69:6 a Is 2:21; Kag 2:6; Beb 12:26 b Yob 26:11Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo

era n’akankanya empagi zaayo.

79:7 Is 13:10; Ez 32:8Ayogera eri enjuba ne teyaka,

akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.

89:8 a Lub 1:6; Zab 104:2-3 b Yob 38:16; Zab 77:19Ye yekka abamba eggulu

era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.

99:9 Lub 1:16; Yob 38:31; Am 5:8Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,

n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.

109:10 a Zab 71:15 b Yob 5:9Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,

n’akola n’ebyamagero ebitabalika.

119:11 Yob 23:8-9; 35:14Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,

bw’ampitako, sisobola kumutegeera.

129:12 a Yob 11:10 b Is 45:9; Bar 9:20Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?

Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?

139:13 Yob 26:12; Zab 89:10; Is 30:7; 51:9Katonda taziyiza busungu bwe;

n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.

14Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?

Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?

159:15 a Yob 10:15 b Yob 8:5Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,

mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.

16Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,

sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.

179:17 a Yob 16:12 b Yob 30:22 c Yob 16:14 d Yob 2:3Yandimenyeemenye mu muyaga

nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.

189:18 Yob 7:19; 27:2Teyandindese kuddamu mukka

naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.

19Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.

Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?

20Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.

Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.

219:21 a Yob 1:1 b Yob 7:16“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,

sikyefaako,

obulamu bwange mbunyooma.

229:22 Yob 10:8; Mub 9:2, 3; Ez 21:3Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,

Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.

239:23 a Beb 11:36 b Yob 24:1, 12Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,

Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.

249:24 a Yob 10:3; 16:11 b Yob 12:6Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.

Abikka ku maaso g’abagiramula.

Bw’aba nga si Mukama, kale ani?

259:25 Yob 7:6Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,

zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.

269:26 a Is 18:2 b Kbk 1:8Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo9:26 Amaato ag’ebitoogo gaakolebwanga mu Misiri agadduka ennyo,

ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.

279:27 Yob 7:11Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,

oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,

289:28 a Yob 3:25; Zab 119:120 b Yob 7:21ne neekokkola okubonaabona kwange,

mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.

299:29 Zab 37:33Omusango gunsinze,

lwaki nteganira obwereere?

309:30 a Yob 31:7 b Yer 2:22Ne bwe nandinaabye sabbuuni

n’engalo zange ne nzitukuza,

31era wandinsudde mu kinnya,

n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.

329:32 a Bar 9:20 b Zab 143:2; Mub 6:10Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,

era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.

339:33 1Sa 2:25Tewali mutabaganya

ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,

349:34 Yob 13:21; Zab 39:10eyandizigyeko omuggo gwa Katonda

entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.

359:35 Yob 13:21Olwo nno nandyogedde nga simutya;

naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”