New Russian Translation

Ezekiel 12

Пророчества о пленении

1Было ко мне слово Господа:

2– Сын человеческий, ты живешь среди мятежников. У них есть глаза, чтобы видеть, но они не видят, есть уши, чтобы слышать, но они не слышат, потому что они мятежный народ.

3Поэтому, сын человеческий, собери пожитки для переселения и днем, у них на глазах, тронься в путь. Пойди оттуда, где ты сейчас, в другое место. Может быть, они поймут, хотя они и мятежный дом. 4Днем, у них на глазах, вынеси пожитки, собранные для переселения, а вечером, у них на глазах, выйди, словно те, кто уходит в плен. 5Проломи у них на глазах отверстие в стене и вынеси через него пожитки. 6Возьми их на плечи у них на глазах и вынеси в потемках. Закрой себе лицо, чтобы не видеть этой земли, потому что Я сделал тебя знамением дому Израиля.

7Я сделал, как мне было велено. Днем я вынес вещи, собранные для переселения, вечером я руками проломил отверстие в стене и у всех на глазах вынес в потемках вещи, держа их на плечах. 8Утром было ко мне слово Господа:

9– Сын человеческий, неужели мятежный дом Израиля не спрашивал тебя: «Что ты делаешь?» 10Скажи им: «Так говорит Владыка Господь: Это пророчество для правителя[a] в Иерусалиме и для всего дома Израиля, который там». 11Скажи им: «Я для вас знамение: как я сделал, так и будет сделано с вами; вы отправитесь в изгнание, в плен.

12Правитель, который среди них, возьмет пожитки на плечи в потемках и тронется[b] в путь; в стене проломят отверстие, чтобы он мог через него выйти. Он закроет лицо, чтобы не видеть этой земли. 13Я раскину ему Свою сеть, и он попадется в Мою западню; Я отведу его в Вавилон, в страну халдеев, но он ее не увидит. Там он умрет. 14Я развею по всем ветрам всех, кто вокруг него – его помощников и воинов – и буду преследовать их с обнаженным мечом.

15Они узнают, что Я – Господь, когда Я рассею их между народами и развею их по странам. 16Но некоторых из них Я уберегу от меча, голода и мора, чтобы среди народов, к которым они пойдут, они рассказали о своих омерзительных обычаях. Тогда они узнают, что Я – Господь».

17Было ко мне слово Господа:

18– Сын человеческий, трепещи, когда ешь и содрогайся от страха, когда пьешь. 19Говори народу страны: «Так говорит Владыка Господь о жителях Иерусалима и о земле Израиля: Они будут есть в тревоге и пить в ужасе, потому что их земля будет лишена всего, что в ней есть, из-за жестокости ее жителей. 20Населенные города будут опустошены и страна разорена. Тогда вы узнаете, что Я – Господь».

Предсказанное непременно исполнится

21Было ко мне слово Господа:

22– Сын человеческий, что за поговорка у вас в земле Израиля: «Дни пройдут, и всякое пророческое видение развеется?» 23Скажи им: «Так говорит Владыка Господь: Я покончу с этой поговоркой, и ее больше не будут произносить в Израиле». Скажи им: «Приближаются дни, когда всякое пророческое видение исполнится. 24Ведь у народа Израиля не будет больше ложных видений и обманчивых откровений. 25Я, Господь, буду говорить, и слово, которое Я скажу, не замедлит исполниться. В ваши дни, мятежный дом, Я скажу слово и исполню», – возвещает Владыка Господь.

26Было ко мне слово Господа:

27– Сын человеческий, дом Израиля говорит: «Его видение исполнится через много лет; он пророчествует о далеком будущем». 28Поэтому скажи им: Так говорит Владыка Господь: «Ни одно из Моих слов больше не будет отсрочено; все, что Я говорю, исполнится», – возвещает Владыка Господь.

Notas al pie

  1. 12:10 Правитель в Иерусалиме – имеется в виду царь Цедекия; также в ст. 12.
  2. 12:12 Букв.: «они прокопают». Эти события также описываются в 4 Цар. 25.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ezeekyeri 12

1Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, “Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu.

“Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu. Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse. Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba. Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”

Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo.

Ku makya, ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, “Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’

10 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’ 11 Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’

“Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe.

12 “Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ng’obudde buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi. 13 Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira. 14 Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa.

15 “Balimanya nga nze Mukama bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi. 16 Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze Mukama.”

17 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 18 “Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, era nnywa amazzi go ng’ojugumira.” 19 Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo. 20 Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze Mukama.”

21 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 22 “Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’ 23 Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. 24 Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri. 25 Naye nze Mukama ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

26 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira ng’agamba nti, 27 “Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’

28 “Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”