New Russian Translation

Ezekiel 10

Божья слава покидает храм

1Я посмотрел, и увидел подобие престола из сапфира[a] над сводом, что над головами херувимов. 2Господь сказал человеку, одетому в льняную одежду:

– Войди между колесами под херувимами. Возьми полные пригоршни горящих углей, которые между херувимами, и брось на город.

Он вошел, а я смотрел. 3А херувимы стояли в южной части дома, когда тот человек вошел, и облако наполняло внутренний двор. 4Слава Господня поднялась с херувима и перенеслась к порогу дома. Облако наполнило дом, а двор оказался залит сиянием Господней славы. 5Шум от крыльев херувимов был слышен даже на внешнем дворе, словно голос Бога Всемогущего[b], когда Он говорит. 6И когда Господь повелел человеку, одетому в льняную одежду: «Возьми огонь между колесами, между херувимами», тот человек вошел и встал у колеса. 7Тогда один из херувимов протянул руку к огню, который был между херувимами, взял огонь и положил в руки человека, одетого в льняную одежду, который взял его и вышел. 8(Под крыльями херувимов видны были подобия человеческих рук.)

9Я посмотрел и увидел рядом с херувимами четыре колеса, по одному рядом с каждым из херувимов; колеса искрились, как хризолит. 10Что до их вида, то все четыре выглядели одинаково, словно колесо в колесе. 11Двигаясь, они могли направляться в любую из четырех сторон, куда были обращены херувимы; когда херувимы передвигались, колеса не поворачивались[c]. Херувимы шли в ту сторону, куда была обращена голова, не оборачиваясь на ходу. 12Все их тела, спины, руки и крылья были повсюду полны глаз, точно так же, как и их четыре колеса. 13Я слышал, как колеса называли «смерчами»[d]. 14У каждого из херувимов было четыре лица: одно лицо херувима, другое лицо человека, третье лицо льва, а четвертое – лицо орла.

15Херувимы поднялись. Это были те самые живые существа, которых я видел у реки Кевара. 16Когда херувимы двигались, двигались и колеса рядом с ними, а когда херувимы расправляли крылья, чтобы подняться с земли, то и колеса не покидали места рядом с ними. 17Когда херувимы останавливались, останавливались и колеса, а когда херувимы поднимались, и они поднимались с ними, потому что дух живых существ был в них.

18Слава Господня ушла с места над порогом дома и встала над херувимами. 19На моих глазах херувимы расправили крылья и поднялись с земли; когда они двигались, колеса двигались вместе с ними. Они остановились у входа в восточные ворота Господнего дома, и слава Бога Израиля была над ними.

20Это были живые существа, которых я видел под Богом Израиля у реки Кевара, и я понял, что это были херувимы. 21У каждого из них было по четыре лица и крыла, а под крыльями у них были подобия человеческих рук. 22Их лица выглядели так же, как и те, что я видел у реки Кевара. Каждый двигался прямо перед собой.

Notas al pie

  1. 10:1 Или: «лазурита».
  2. 10:5 Евр.: «Эль-Шаддай».
  3. 10:11 Или: «не меняли направления».
  4. 10:13 Евр.: «галгал».

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ezeekyeri 10

Ekitiibwa kya Mukama Kiva mu Yeekaalu

1Ne ntunula, laba, ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka eya safiro nga kiri waggulu w’ekibangirizi w’emitwe gya bakerubi. Mukama n’agamba omusajja ayambadde linena nti, “Genda wakati wa zinnamuziga wansi wa bakerubi, otoole amanda mu mukono gwo okuva wakati mu bakerubi, ogasaasaanye mu kibuga.” N’ayitawo nga ntunula.

Bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu; omusajja bwe yayingira ekire ne kijjula mu luggya olw’omunda. Awo ekitiibwa kya Mukama ne kyambuka okuva waggulu wa bakerubi ne kidda mu mulyango gwa yeekaalu. Ekire ne kijjula mu yeekaalu, n’oluggya ne lujjula okumasamasa okw’ekitiibwa kya Mukama. N’okuwuuma kw’ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulikika wala mu luggya olw’ebweru, ng’eddoboozi lya Mukama ow’Eggye bwe liwulikika ng’ayogedde.

Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde linena nti, “Toola omuliro okuva mu zinnamuziga, wakati mu bakerubi,” omusajja n’ayingira n’ayimirira ku mabbali ga nnamuziga emu. Awo omu ku bakerubi n’agolola omukono gwe eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi, n’addira ogumu ku gwo, n’aguteeka mu ngalo ez’omusajja ayambadde linena, eyagutwala n’afuluma. Wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi waalabika ng’awaali emikono gy’omuntu.

Ne ndaba zinnamuziga nnya ku mabbali ga bakerubi buli nnamuziga ng’eriraanye kerubi, zinnamuziga nga ziyakaayakana ng’ejjinja erya berulo. 10 Mu ndabika nga zifaanagana, nnamuziga emu ng’eri ng’etudde mu ginnaayo. 11 Mu kuseeseetuka, zaaseeseetukanga mu njuyi nnya bakerubi gye baatunulanga, era zinnamuziga z’omu maaso gye zaayiringitiranga, n’endala zonna gye zaayiringitiranga. 12 Omubiri gwabwe gwonna, n’emigongo gyabwe, n’emikono gyabwe, n’ebiwaawaatiro byabwe, ne zinnamuziga, nga zijjudde amaaso enjuuyi zonna. 13 Ne mpulira zinnamuziga nga ziyitibwa “ezeetooloola eziwulukuka.” 14 Buli emu ku zo yalina obwenyi buna: obwenyi obw’olubereberye bwali bwa kerubi, obwokubiri nga bwa musajja, obwokusatu nga bwa mpologoma, obwokuna nga bwa mpungu.

15 Awo bakerubi ne basituka. Bye biramu bye nalaba ku mabbali g’omugga Kebali. 16 Bakerubi bwe baaseeseetukanga, zinnamuziga ezaali ku mabbali ne ziseeseetukira wamu nabo; bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okusituka okuva ku ttaka, zinnamuziga nazo tezaavanga ku lusegere. 17 Bakerubi bwe baayimiriranga, nazo ne ziyimirira; bakerubi bwe baasitukanga, nnamuziga ne zisitukira wamu nabo, kubanga omwoyo ow’ebiramu yali mu zo.

18 Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva ku mulyango gwa yeekaalu ne kiyimirira waggulu wa bakerubi. 19 Ne ndaba bakerubi nga bayanjuluza ebiwaawaatiro byabwe, ne basituka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga nazo ne zigendera ku mabbali gaabwe. Ne bayimirira awayingirirwa ku luggi olw’ebuvanjuba olwa yeekaalu ya Mukama, n’ekitiibwa kya Katonda owa Isirayiri nga kiri waggulu waabwe.

20 Era ebyo bye biramu bye nalaba wansi wa Katonda wa Isirayiri ku mugga Kebali, olwo ne ntegeera nga bakerubi. 21 Buli omu yalina obwenyi buna n’ebiwaawaatiro bina, ne wansi w’ebiwaawaatiro byabwe nga waliyo ebyali ng’emikono gy’omuntu. 22 Obwenyi bwabwe bwanfaananira nga buli bwe nalaba ku mugga Kebali. Buli omu n’atambula n’agenda mu maaso.