Matthew 3 – NIVUK & LCB

New International Version – UK

Matthew 3:1-17

John the Baptist prepares the way

1In those days John the Baptist came, preaching in the wilderness of Judea 2and saying, ‘Repent, for the kingdom of heaven has come near.’ 3This is he who was spoken of through the prophet Isaiah:

‘A voice of one calling in the wilderness,

“Prepare the way for the Lord,

make straight paths for him.” ’3:3 Isaiah 40:3

4John’s clothes were made of camel’s hair, and he had a leather belt round his waist. His food was locusts and wild honey. 5People went out to him from Jerusalem and all Judea and the whole region of the Jordan. 6Confessing their sins, they were baptised by him in the River Jordan.

7But when he saw many of the Pharisees and Sadducees coming to where he was baptising, he said to them: ‘You brood of vipers! Who warned you to flee from the coming wrath? 8Produce fruit in keeping with repentance. 9And do not think you can say to yourselves, “We have Abraham as our father.” I tell you that out of these stones God can raise up children for Abraham. 10The axe has been laid to the root of the trees, and every tree that does not produce good fruit will be cut down and thrown into the fire.

11‘I baptise you with3:11 Or in water for repentance. But after me comes one who is more powerful than I, whose sandals I am not worthy to carry. He will baptise you with3:11 Or in the Holy Spirit and fire. 12His winnowing fork is in his hand, and he will clear his threshing-floor, gathering his wheat into the barn and burning up the chaff with unquenchable fire.’

The baptism of Jesus

13Then Jesus came from Galilee to the Jordan to be baptised by John. 14But John tried to deter him, saying, ‘I need to be baptised by you, and do you come to me?’

15Jesus replied, ‘Let it be so now; it is proper for us to do this to fulfil all righteousness.’ Then John consented.

16As soon as Jesus was baptised, he went up out of the water. At that moment heaven was opened, and he saw the Spirit of God descending like a dove and alighting on him. 17And a voice from heaven said, ‘This is my Son, whom I love; with him I am well pleased.’

Luganda Contemporary Bible

Matayo 3:1-17

Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama

13:1 Luk 1:13, 57-66; 3:2-19Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, 23:2 Dan 2:44; Mat 4:17; 6:10; Luk 11:20; 21:31; Yk 3:3, 5; Bik 1:3, 6“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” 33:3 Is 40:3; Mal 3:1; Luk 1:76; Yk 1:23Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,

“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,

‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,

muluŋŋamye amakubo ge!’ ”

43:4 a 2Bk 1:8 b Lv 11:22Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. 5Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. 6N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

73:7 a Mat 12:34; 23:33 b Bar 1:18; 1Bs 1:10Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? 83:8 Bik 26:20Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. 9Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 103:10 Mat 7:19; Luk 13:6-9; Yk 15:2, 6Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.

113:11 a Mak 1:8 b Is 4:4; Bik 2:3, 4“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 123:12 Mat 13:30Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Okubatizibwa kwa Yesu

133:13 Mak 1:4Awo Yesu n’ava e Ggaliraaya n’ajja ku mugga Yoludaani, abatizibwe Yokaana. 14Naye Yokaana n’ayagala okugaana, n’agamba nti, “Nze neetaaga ggwe okumbatiza, naye ate gw’ojja gye ndi?”

15Yesu n’amuddamu nti, “Kkiriza ombatize, kubanga kitugwanidde okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n’amukkiriza.

163:16 Is 11:2; 42:1Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 173:17 a Mat 17:5; Yk 12:28 b Zab 2:7; 2Pe 1:17, 18 c Is 42:1; Mat 12:18; 17:5; Mak 1:11; 9:7; Luk 9:35Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”