Isaiah 4 – NIVUK & LCB

New International Version – UK

Isaiah 4:1-6

1In that day seven women

will take hold of one man

and say, ‘We will eat our own food

and provide our own clothes;

only let us be called by your name.

Take away our disgrace!’

The Branch of the Lord

2In that day the Branch of the Lord will be beautiful and glorious, and the fruit of the land will be the pride and glory of the survivors in Israel. 3Those who are left in Zion, who remain in Jerusalem, will be called holy, all who are recorded among the living in Jerusalem. 4The Lord will wash away the filth of the women of Zion; he will cleanse the bloodstains from Jerusalem by a spirit4:4 Or the Spirit of judgment and a spirit4:4 Or the Spirit of fire. 5Then the Lord will create over all of Mount Zion and over those who assemble there a cloud of smoke by day and a glow of flaming fire by night; over everything the glory4:5 Or over all the glory there will be a canopy. 6It will be a shelter and shade from the heat of the day, and a refuge and hiding-place from the storm and rain.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 4:1-6

14:1 a Is 13:12 b 2Bs 3:12 c Lub 30:23Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti,

Tuyitibwenga erinnya lyo,

otuggyeko ekivume.

Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.

Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya

24:2 a Is 11:1-5; 53:2; Yer 23:5-6; Zek 3:8; 6:12 b Zab 72:16Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. 34:3 a Bar 11:5 b Is 52:1; 60:21 c Luk 10:20Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. 44:4 a Is 3:24 b Is 1:15 c Is 28:6 d Is 1:31; Mat 3:11Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. 54:5 a Kuv 13:21 b Is 60:1Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. 64:6 a Zab 27:5 b Is 25:4Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.