Isaiah 35 – NIVUK & LCB

New International Version – UK

Isaiah 35:1-10

Joy of the redeemed

1The desert and the parched land will be glad;

the wilderness will rejoice and blossom.

Like the crocus, 2it will burst into bloom;

it will rejoice greatly and shout for joy.

The glory of Lebanon will be given to it,

the splendour of Carmel and Sharon;

they will see the glory of the Lord,

the splendour of our God.

3Strengthen the feeble hands,

steady the knees that give way;

4say to those with fearful hearts,

‘Be strong, do not fear;

your God will come,

he will come with vengeance;

with divine retribution

he will come to save you.’

5Then will the eyes of the blind be opened

and the ears of the deaf unstopped.

6Then will the lame leap like a deer,

and the mute tongue shout for joy.

Water will gush forth in the wilderness

and streams in the desert.

7The burning sand will become a pool,

the thirsty ground bubbling springs.

In the haunts where jackals once lay,

grass and reeds and papyrus will grow.

8And a highway will be there;

it will be called the Way of Holiness;

it will be for those who walk on that Way.

The unclean will not journey on it;

wicked fools will not go about on it.

9No lion will be there,

nor any ravenous beast;

they will not be found there.

But only the redeemed will walk there,

10and those the Lord has rescued will return.

They will enter Zion with singing;

everlasting joy will crown their heads.

Gladness and joy will overtake them,

and sorrow and sighing will flee away.

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 35:1-10

Essanyu ly’Abanunule

135:1 a Is 27:10; 41:18-19 b Is 51:3Eddungu n’ensi enkalu birijaguza;

Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu.

Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti 235:2 a Is 25:9; 55:12 b Is 32:15 c Lu 7:5 d Is 25:9birimeruka,

birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.

Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,

ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;

baliraba ekitiibwa kya Mukama,

ekitiibwa kya Katonda waffe.

335:3 Yob 4:4; Beb 12:12Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.

435:4 Is 1:24; 34:8Mugambe abo abalina omutima omuti nti,

Mubeere n’amaanyi temutya:

laba Katonda wammwe alijja;

alibalwanirira,

alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,

era alibalokola.

535:5 a Mat 11:5; Yk 9:6-7 b Is 29:18; 50:4Olwo amaaso g’abazibe galiraba,

era n’amatu ga bakiggala galigguka;

635:6 a Mat 15:30; Yk 5:8-9; Bik 3:8 b Is 32:4; Mat 9:32-33; 12:22; Luk 11:14 c Is 41:18; Yk 7:38omulema alibuuka ng’ennangaazi,

n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.

Amazzi galifubutuka

ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.

735:7 a Is 49:10 b Is 13:22N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,

n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.

Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,

n’essaalu, n’ebitoogo.

835:8 a Is 11:16; 33:8; Mat 7:13-14 b Is 4:3; 1Pe 1:15 c Is 52:1Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo,

eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu.

Abatali balongoofu tebaliriyitamu,

liriba ly’abali abalongoofu,

kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.

935:9 a Is 30:6 b Is 34:14 c Is 51:11; 62:12; 63:4Teribaayo mpologoma,

so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;

tezirirabikayo,

naye abanunule balitambulira eyo.

1035:10 a Is 25:9 b Is 30:19; 51:11; Kub 7:17; 21:4N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,

n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.

Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,

okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.