Zechariah 3 – NIV & LCB

New International Version

Zechariah 3:1-10

Clean Garments for the High Priest

1Then he showed me Joshua the high priest standing before the angel of the Lord, and Satan3:1 Hebrew satan means adversary. standing at his right side to accuse him. 2The Lord said to Satan, “The Lord rebuke you, Satan! The Lord, who has chosen Jerusalem, rebuke you! Is not this man a burning stick snatched from the fire?”

3Now Joshua was dressed in filthy clothes as he stood before the angel. 4The angel said to those who were standing before him, “Take off his filthy clothes.”

Then he said to Joshua, “See, I have taken away your sin, and I will put fine garments on you.”

5Then I said, “Put a clean turban on his head.” So they put a clean turban on his head and clothed him, while the angel of the Lord stood by.

6The angel of the Lord gave this charge to Joshua: 7“This is what the Lord Almighty says: ‘If you will walk in obedience to me and keep my requirements, then you will govern my house and have charge of my courts, and I will give you a place among these standing here.

8“ ‘Listen, High Priest Joshua, you and your associates seated before you, who are men symbolic of things to come: I am going to bring my servant, the Branch. 9See, the stone I have set in front of Joshua! There are seven eyes3:9 Or facets on that one stone, and I will engrave an inscription on it,’ says the Lord Almighty, ‘and I will remove the sin of this land in a single day.

10“ ‘In that day each of you will invite your neighbor to sit under your vine and fig tree,’ declares the Lord Almighty.”

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 3:1-10

Okwolesebwa kwa Nnabbi Ku Kabona Asinga Obukulu

13:1 a Kag 1:1; Zek 6:11 b Zab 109:6Awo n’anjolesa Yoswa, kabona asinga obukulu, ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng’ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo okumulumiriza. 23:2 a Yud 9 b Is 14:1 c Am 4:11; Yud 23Mukama n’agamba Setaani nti, “Mukama akunenye ggwe Setaani, weewaawo Mukama eyeerondedde Yerusaalemi akunenye! Omusajja ono si kisiki ekyaka ekigibbwa mu muliro?” 3Awo Yoswa yali ayimiridde mu maaso ga malayika ng’ayambadde ebyambalo ebijjudde ekko. 43:4 a Ez 36:25; Mi 7:18 b Is 52:1; Kub 19:8Malayika n’agamba abaali bayimiridde mu maaso ge nti, “Mumwambulemu ebyambalo bye ebijjudde ekko.”

N’agamba Yoswa nti, “Laba nkuggyeeko ekibi kyo, era nnaakwambaza ebyambalo eby’omuwendo.”

53:5 Kuv 29:6Ne njogera nti, “Mumusibe ekiremba ekitukula ku mutwe gwe.” Awo ne bamusiba ekiremba ekitukula ku mutwe, ne bamwambaza n’engoye, nga malayika wa Mukama ayimiridde awo.

6Malayika wa Mukama n’akuutira nnyo Yoswa ng’ayogera nti, 73:7 Ma 17:8-11; Ez 44:15-16“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era noonywezanga bye nkukuutira, kale, onoofuganga ennyumba yange era onoolamulanga mu mbuga zange, era ndikuwa ekifo obeere mu abo abayimiridde wano.

83:8 a Ez 12:11 b Is 4:2“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi. 93:9 a Is 28:16 b Yer 50:20Kubanga laba, ku jjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa, ku jjinja erimu eririna amaaso omusanvu, laba nditeekako ebiwandiiko,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Mu lunaku lumu ndiggyawo ekibi ky’ensi eno.

103:10 1Bk 4:25; Mi 4:4“ ‘Ku lunaku luli, buli omu ku mmwe, aliyita muliraanwa we okutuulako wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”